Mwoyo Ki gw’Oyoleka?
“Ekisa eky’ensusso ekya Mukama waffe Yesu Kristo kibeere n’omwoyo gwe mulaga.”—FIR. 25.
1. Mu mabaluwa ge yawandiikira ebibiina, kiki Pawulo kye yali ayagala?
MU MABALUWA ge yawandiikira ebibiina, enfunda n’enfunda omutume Pawulo yakiraga nti yali ayagala Katonda ne Kristo basiime omwoyo ebibiina gwe byali byoleka. Ng’ekyokulabirako, yawandiikira ab’oluganda ab’omu Ggalatiya n’abagamba nti: “Ab’oluganda, ekisa eky’ensusso ekya Mukama waffe Yesu Kristo kibeere n’omwoyo gwe mulaga. Amiina.” (Bag. 6:18) ‘Mwoyo’ ki Pawulo gwe yali ayogerako?
2, 3. (a) Ebiseera ebimu Pawulo bwe yakozesanga ekigambo “omwoyo” yabanga ategeeza ki? (b) Bwe kituuka ku mwoyo gwe twoleka, bibuuzo ki bye tusaanidde okwebuuza?
2 Pawulo yakozesa ekigambo “omwoyo” mu lunyiriri olwo ng’ategeeza endowooza gye tuba nayo. Endowooza gye tuba nayo y’etuleetera okwogera oba okukola ekintu mu ngeri emu oba endala. Omuntu omu ayinza okuba nga mukwatampola, ng’afaayo ku balala, nga wa kisa, nga mugabi, era ng’asonyiwa abalala. Bayibuli eraga nti kirungi okuba ‘n’omwoyo omuteefu era omuwombeefu’ era nti kirungi okwefuga. (1 Peet. 3:4; Nge. 17:27) Omuntu omulala ayinza okuba nga tafaayo ku nneewulira z’abalala, ng’ayagala nnyo ssente, ng’anyiiga mangu, era ng’alina omwoyo gwa kyetwala. Ate waliwo n’abantu nga bo buli kiseera baba balowooza ku bintu eby’obugwenyufu era nga balina omwoyo ogw’obujeemu.
3 Bwe kityo, Pawulo bwe yakozesa ebigambo, gamba nga “Mukama waffe abeere n’omwoyo gw’olaga,” yali akubiriza bakkiriza banne okukoppa Kristo n’okuba n’endowooza etuukagana n’ebyo Katonda by’ayagala. (2 Tim. 4:22; soma Abakkolosaayi 3:9-12.) N’olwekyo, buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza: ‘Mwoyo ki gwe njoleka? Nnyinza ntya okwongera okwoleka omwoyo omulungi nsobole okusanyusa Katonda? Nnyinza kukola ki okusobola okuyamba abalala mu kibiina okuba n’omwoyo omulungi?’ Lowooza ku nnimiro ey’ebimuli erabika obulungi. Buli kimuli ekiba mu nnimiro eyo kirina engeri gye kiyambamu ennimiro eyo okulabika obulungi. Okufaananako buli kimu ku bimuli ebiri mu nnimiro eyo, buli omu ku ffe asaanidde okubaako ky’akola okuyamba ekibiina okuba n’omwoyo omulungi. Kati ka tulabe engeri gye tuyinza okwoleka omwoyo omulungi tusobole okusanyusa Katonda.
WEEWALE OMWOYO GW’ENSI
4. ‘Omwoyo gw’ensi’ kye ki?
4 Bayibuli egamba nti: “Tetwaweebwa mwoyo gwa nsi wabula twaweebwa omwoyo oguva eri Katonda.” (1 Kol. 2:12) ‘Omwoyo gw’ensi’ kye ki? Gwe mwoyo gwe gumu ogwogerwako mu Abeefeso 2:2, awagamba nti: ‘Edda mwatambulanga nga mutuukana n’enteekateeka y’ebintu ey’ensi eno, era nga mutuukana n’ebyo omufuzi w’obuyinza obw’empewo by’ayagala, omwoyo ogukolera kaakano mu baana ab’obujeemu.’ “Empewo” eyo, oba omwoyo gw’ensi, ye ndowooza abantu b’ensi gye balina. Okufaananako empewo, omwoyo gw’ensi guli buli wamu. Ng’ekyokulabirako, abantu bangi leero balina endowooza egamba nti, ‘Tewali alina kundagira kya kukola!’ oba nti ‘Olina okulwanirira eddembe lyo!’ Abantu abo be “baana ab’obujeemu” ab’ensi ya Sitaani.
5. Mwoyo ki omubi Abaisiraeri abamu gwe baayoleka?
5 Okuva edda n’edda, abantu babadde booleka endowooza ng’ezo enkyamu. Mu kiseera kya Musa, Koola yajeemera abo abaali batwala obukulembeze mu ggwanga lya Isiraeri. Okusingira ddala, yayogera bubi ku Alooni ne batabani be abaali baweereza nga bakabona. Oboolyawo Koola yali amanyi obunafu bwabwe. Oba ayinza okuba nga yali alowooza nti Musa yabawa enkizo eyo ey’enjawulo olw’okuba baali ba ŋŋanda ze. Ka kibe ki ekyamuleetera okweyisa bw’atyo, kyeyoleka lwatu nti Koola yali takyatunuulira bintu nga Yakuwa bw’abitunuulira. Yalaga nti yali tassa kitiibwa mu abo Yakuwa be yali alonze. Yagamba nti: “Muyinga okwekuza . . . Kale mwegulumiriza ki okusinga ekibiina kya Mukama?” (Kubal. 16:3) Dasani ne Abiraamu nabo beemulugunya nga bagamba nti Musa yali ‘yeefuula mulangira waabwe.’ Musa bwe yayita Dasani ne Abiraamu okujja gy’ali, baagamba nti: “Tetujja kwambuka.” (Kubal. 16:12-14) Omwoyo ogw’obujeemu abasajja abo gwe baayoleka tegwasanyusa Yakuwa. Yakuwa yatta abasajja abo awamu n’abajeemu abalala bonna.—Kubal. 16:28-35.
6. Abamu mu kyasa ekyasooka baalaga batya nti baalina endowooza enkyamu, era kiki ekiyinza okuba nga kyabaleetera okuba n’endowooza eyo?
6 Ne mu kyasa ekyasooka waliwo abasajja abaali “banyooma ababafuga.” Baali tebassa kitiibwa mu abo abaali batwala obukulembeze mu kibiina era nga baboogerako bubi. (Yud. 8) Abasajja abo bayinza okuba nga tebaali bamativu na nkizo ze baalina. Baagezaako n’okusendasenda abalala okujeemera abo Katonda be yali alonze okutwala obukulembeze mu kibiina era abaali bakola emirimu gyabwe obulungi.—Soma 3 Yokaana 9, 10.
7. Mwoyo ki gwe tusaanidde okwewala?
7 Omwoyo ng’ogwo omubi tegusaanidde kuba mu kibiina Ekikristaayo, era ffenna tulina okugwewala. Okufaananako abakadde abaaliwo mu kiseera kya Musa ne mu kiseera ky’abatume, abakadde mu kibiina leero nabo tebatuukiridde. Omukadde ayinza okukola ekintu ne kituyisa bubi. Singa ekyo kibaawo, tusaanidde okwewala okwoleka omwoyo gw’ensi, oboolyawo ne tutuuka n’okugamba nti “ow’oluganda oyo takyasaanira kuweereza nga mukadde”! Tulina okukijjukira nti Yakuwa ayinza okusalawo okubuusa amaaso ensobi ezimu ezitali za maanyi abakadde ze baba bakoze. Tusaanidde okukoppa Yakuwa. Ab’oluganda abamu ababa bakoze ekibi eky’amaanyi bayinza okugaana okulabika mu kakiiko k’abakadde ababa balondeddwa okubayamba olw’okuba waliwo ekintu kye batayagala ku bakadde abo. Bwe bakola bwe batyo, baba bafaananako omulwadde agaana omusawo okumujjanjaba olw’okuba alina ekintu ky’atayagala ku musawo oyo.
8. Byawandiikibwa ki ebisobola okutuyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku bakadde mu kibiina?
8 Okusobola okwewala omwoyo ogwo omubi, tusaanidde okukijjukiranga nti Yesu ayogerwako mu Bayibuli ng’alina “emmunyeenye musanvu mu mukono gwe ogwa ddyo.” “Emmunyeenye” ezo zikiikirira abakadde abaafukibwako amafuta, naye ebyo ebyogerwa ku mmunyeenye ezo bisobola okukwata ne ku bakadde bonna mu bibiina. Yesu alina obuyinza ku ‘mmunyeenye’ eziri mu mukono gwe. (Kub. 1:16, 20) Yesu gwe mutwe gw’ekibiina Ekikristaayo era amanyi buli kimu ekikwata ku bakadde mu bibiina. Olw’okuba ‘amaaso ge gali ng’ennimi ez’omuliro,’ Yesu bw’alaba nga waliwo omukadde eyeetaaga okukangavvulwa, akikola nga bw’aba asazeewo era mu kiseera kye ekituufu. (Kub. 1:14) Yesu bw’aba akyalese omukadde okuweereza mu kibiina, tuba tulina okugondera omukadde oyo. Pawulo yagamba nti: “Muwulirenga abo ababakulembera era mubagonderenga, kubanga batunula olw’obulamu bwammwe ng’abo abaliwoza; kino balyoke bakikole n’essanyu so si na kusinda, kubanga ekyo kiba kya kabi gye muli.”—Beb. 13:17.
9. (a) Mwoyo ki Abakristaayo abamu gwe booleka nga bawabuddwa oba nga bakangavvuddwa? (b) Kiki kye tusaanide okukola nga tuwabuddwa?
9 Omukristaayo era asobola okulaga obanga ddala alina omwoyo omulungi singa abakadde bamuwabula oba singa aggibwako enkizo mu kibiina. Omuvubuka omu eyali atandise okuzannya emizannyo gya kompyuta egirimu ebikolwa eby’obukambwe abakadde baagezaako okumutereeza. Eky’ennaku, yagaana okukyusaamu, bw’atyo n’aggibwako enkizo ey’okuba omuweereza mu kibiina olw’okuba yali takyatuukiriza bisaanyizo bya mu Byawandiikibwa. (Zab. 11:5; 1 Tim. 3:8-10) Oluvannyuma ow’oluganda oyo yatandika okubuulira buli omu nti yali takkiriziganya n’ekyo abakadde kye baali basazeewo era yatuuka n’okuwandiika amabaluwa ku ofiisi y’ettabi ng’ayogera bubi ku bakadde abo. Yakubiriza n’abalala mu kibiina okukola kye kimu. Nga tekiba kya magezi kugootanya mirembe mu kibiina olw’okwagala okulaga nti ffe batuufu! Abakadde bwe batuwabula, tusaanidde okugezaako okulaba ensobi yaffe era ne twoleka obuwombeefu nga tukolera ku bulagirizi bwe baba batuwadde.—Soma Yobu 42:6; Kung. 3:28, 29.
10. (a) Yakobo 3:16-18 walaga watya omwoyo omubi gwe tusaanidde okwewala n’omwoyo omulungi gwe tusaanidde okuba nagwo? (b) Biki ebivaamu singa tukolera ku magezi agava eri Katonda?
10 Yakobo 3:16-18 watulaga omwoyo omubi gwe tusaanidde okwewala n’omwoyo omulungi gwe tusaanidde okuba nagwo mu kibiina. Wagamba nti: “Kubanga awaba obuggya n’okuyomba wabaawo okutabuka na buli kintu ekibi. Naye amagezi agava waggulu, okusooka malongoofu, ate ga mirembe, si makakanyavu, mawulize, gajjudde obusaasizi n’ebibala ebirungi, tegasosola era tegaliimu bunnanfuusi. Ate era, ekibala eky’obutuukirivu, ensigo yaakyo esigibwa mu mbeera ez’emirembe ku lw’abo abaleeta emirembe.” Bwe tunaakolera ku magezi agava eri Katonda, tujja kwoleka engeri ng’eza Katonda era ekyo kijja kuyamba ekibiina okuba n’omwoyo omulungi.
SSA EKITIIBWA MU ABO ABATWALA OBUKULEMBEZE MU KIBIINA
11. (a) Okuba n’omwoyo omulungi kinaatuyamba kwewala ki? (b) Kiki kye tuyigira ku Dawudi?
11 Tusaanidde okukijjukira nti Yakuwa y’awa abakadde obuvunaanyizibwa ‘okulunda ekibiina kya Katonda.’ (Bik. 20:28; 1 Peet. 5:2) Tusaanidde okukkiriza ekyo ky’aba asazeewo, ka tube nga tuli bakadde oba nga tetuli bakadde. Bwe tuba n’omwoyo omulungi, kijja kutuyamba obutalulunkanira nkizo mu kibiina. Kabaka Sawulo owa Isiraeri bwe yatandika okulowooza nti Dawudi yali agenda kutwala entebe ye ey’obwakabaka, yatandika okumwekengera. (1 Sam. 18:9) Sawulo yafuna omwoyo omubi n’ayagala okutta Dawudi. Mu kifo ky’okuba nga Sawulo eyali ayagala ennyo obukulu, tusaanidde okuba nga Dawudi. Wadde ng’emirundi mingi yayisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya, Dawudi yassanga ekitiibwa mu abo Katonda be yabanga alonze okukulembera abantu be.—Soma 1 Samwiri 26:23.
12. Kiki ekinaatuyamba okukuuma obumu bw’ekibiina?
12 Olw’okuba ebiseera ebisinga tuba n’endowooza ezaawukana ku z’abalala, ekyo oluusi kiyinza okuleetawo obutategeeragana. Ekyo kisobola n’okubaawo mu bakadde mu kibiina. Naye ekyo bwe kibaawo, Bayibuli eraga endowooza gye tusaanidde okuba nayo. Egamba nti: “Mu kuwa abalala ekitiibwa mmwe muba musooka” era, “Temwetwalanga kuba ba magezi mu maaso gammwe mwekka.” (Bar. 12:10, 16) Mu kifo ky’okukalambira ku ekyo kye tulowooza nti kye kituufu, tusaanidde okukijjukira nti ekintu ekimu kiyinza okukolebwa mu ngeri ez’enjawulo naye nga zonna ntuufu. Bwe tugezaako okutegeera obulungi ekyo abalala kye balowooza, tusobola okuyamba ekibiina okusigala nga kiri bumu.—Baf. 4:5.
13. Kiki kye tusaanidde okukola oluvannyuma lw’okuwa endowooza yaffe? Waayo ekyokulabirako okuva mu Bayibuli.
13 Ekyo kitegeeza nti tetulina kubaako kye twogera bwe tulaba nga waliwo ekintu ekitagenda bulungi kye tulowooza nti kyetaaga okukolebwako? Nedda. Mu kyasa ekyasooka, waaliwo ensonga ab’oluganda bangi gye baali batakkiriziganyaako. Ab’oluganda ‘baateekateeka okutuma Pawulo ne Balunabba n’abamu ku bo eri abatume n’abakadde e Yerusaalemi babategeeze ku nkaayana ezo.’ (Bik. 15:2) Kya lwatu nti buli omu ku b’oluganda abo yali alina endowooza ye ku ngeri y’okugonjoolamu ensonga eyo. Kyokka bwe baamala okuwa endowooza zaabwe era abatume n’abakadde ne basalawo ku nsonga eyo nga bakolera ku bulagirizi bw’omwoyo omutukuvu, ab’oluganda abo tebaakalambira ku ndowooza zaabwe. Ab’oluganda mu bibiina bwe baafuna ebbaluwa eraga ekyo ekyali kisaliddwawo, “ba[a]sanyuka olw’ebigambo ebizzaamu amaanyi ebyagirimu” era ne ‘banywezebwa mu kukkiriza.’ (Bik. 15:31; 16:4, 5) Ne leero, bwe tumala okutegeeza abakadde ku nsonga gye tulowooza nti yeetaaga okukolebwako, tulina okuba abakakafu nti ensonga eyo bajja kugikolako bulungi.
YOLEKA OMWOYO OMULUNGI NG’OKOLAGANA N’ABALALA
14. Tuyinza tutya okwoleka omwoyo omulungi nga tukolagana n’abalala?
14 Tusobola okwoleka omwoyo omulungi nga tukolagana n’abalala. Tusaanidde okuba abeetegefu okusonyiwa abalala bwe baba nga batusobezza. Ekigambo kya Katonda kigamba nti: “Mweyongere okugumiikirizigananga n’okusonyiwagananga omuntu yenna bw’aba n’ensonga ku munne. Era nga Yakuwa bwe yabasonyiyira ddala, nammwe mukole bwe mutyo.” (Bak. 3:13) Ebigambo “omuntu yenna bw’aba n’ensonga ku munne” biraga nti oluusi wayinza okubaawo ensonga entuufu eba etuleetedde okunyiiga. Naye mu kifo ky’okukuliriza ensobi za baganda baffe, ekintu ekiyinza okumalawo emirembe mu kibiina, tusaanidde okufuba okukoppa Yakuwa nga tuba beetegefu okusonyiwa baganda baffe n’okweyongera okuweerereza awamu nabo.
15. (a) Yobu yatuteerawo kyakulabirako ki ekirungi bwe kituuka ku kusonyiwa abalala? (b) Okusaba kuyinza kutya okutuyamba okwoleka omwoyo omulungi?
15 Yobu yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi bwe kituuka ku kusonyiwa abalala. Abasajja abasatu abandibadde bamubudaabuda baayogera ebigambo ebyali bimumalamu amaanyi. Wadde kyali kityo, Yobu yabasonyiwa. Kiki ekyamuyamba okubasonyiwa? Bayibuli egamba nti Yobu “yasabira mikwano gye.” (Yob. 16:2; 42:10) Bwe tusabira abo ababa batunyiizizza, kisobola okutuyamba okukyusa endowooza gye tubalinako. Bwe tusabira ab’oluganda bonna, kituyamba okubatunuulira nga Kristo bw’abatunuulira. (Yok. 13:34, 35) Ate era tusaanidde okusaba Yakuwa atuwe omwoyo gwe omutukuvu. (Luk. 11:13) Omwoyo gwa Katonda gujja kutuyamba okwoleka engeri ennungi nga tukolagana n’abalala.—Soma Abaggalatiya 5:22, 23.
OMWOYO OMULUNGI GW’OYOLEKA GUGANYULA EKIBIINA KYONNA
16, 17. Mwoyo ki gw’omaliridde okwoleka?
16 Ffenna bwe tufuba okwoleka omwoyo omulungi, ekibiina kyonna kiganyulwa. Ekitundu kino kiyinza okuba nga kikuyambye okulaba engeri gy’oyinza okwongera okwoleka omwoyo omulungi osobole okuzzaamu abalala mu kibiina amaanyi. Bwe kiba kityo, kkiriza Ekigambo kya Katonda kikuyambe okukola enkyukakyuka mu bulamu bwo. (Beb. 4:12) Pawulo, eyali ayagala okuteerawo ebibiina ekyokulabirako ekirungi yagamba nti: “Simanyiiyo kintu kyonna kinvunaanibwa. Kyokka ekyo tekiraga nti ndi mutuukirivu, naye ansalira omusango ye Yakuwa.”—1 Kol. 4:4.
17 Bwe tufuba okukolera ku magezi agava eri Katonda, ne twewala okwetwala okuba aba waggulu ku balala era ne twewala okululunkanira enkizo mu kibiina, tujja kuyamba ekibiina okuba n’omwoyo omulungi. Bwe tuba abeetegefu okusonyiwa abalala era ne tuba n’endowooza ennuŋŋamu ku balala, ekyo kijja kutuyamba okuba n’enkolagana ennungi ne bakkiriza bannaffe. (Baf. 4:8) Bwe tukola tutyo, Yakuwa ne Yesu bajja kutusiima ‘olw’omwoyo omulungi gwe tulaga.’—Fir. 25.