OLUYIMBA 146
‘Ebintu Byonna Abizzizza Buggya’
1. ’Bwakabaka bwa Katonda bufuga,
Omwana we atudde ku ntebe.
Awangudd’o lutalo mu ggulu,
Ne ku nsi kinaaba kityo mangu.
(CHORUS)
Sanyuka kuba Katonda
Anaabeeranga n’abantu.
Obulumi tebulibeerawo,
Era n’okufa tekulibaawo;
Kuba byonna abizzizza buggya.
’Bigambo bya mazima.
2. Mulabe Yerusaalemi Ekiggya,
Omugole w’Omwana gw’Endiga.
Yenna kati anekaanekanye;
Yakuwa yekka gwe musana gwe.
(CHORUS)
Sanyuka kuba Katonda
Anaabeeranga n’abantu.
Obulumi tebulibeerawo,
Era n’okufa tekulibaawo;
Kuba byonna abizzizza buggya.
’Bigambo bya mazima.
3. Ekibuga kino kisanyusa nnyo;
Kiggule emisana n’ekiro.
Mmwe abaweereza ba Katonda,
’Musana gwakyo mugwolekenga.
(CHORUS)
Sanyuka kuba Katonda
Anaabeeranga n’abantu.
Obulumi tebulibeerawo,
Era n’okufa tekulibaawo;
Kuba byonna abizzizza buggya.
’Bigambo bya mazima.
(Laba ne Mat. 16:3; Kub. 12:7-9; 21:23-25.)