OLUYIMBA 152
Ekifo Ekinaakuleetera Ettendo
(1 Bassekabaka 8:27; 1 Ebyomumirembe 29:14)
- 1. Yakuwa, ’Mutonzi w’eggulu. - Ekitiibwa kyo kingi nnyo. - Eggulu n’ensi tobigyaamu, - Naye otuw’o mwoyo gwo. - Ekifo kino kye tuzimbye - Tujja kukikozesanga - Mu kusinza okw’amazima - Tukuleetere ettendo. - (BRIDGE) - Buli kye tulina - Kiva gy’oli, Yakuwa. - Byonna bye tukuwa ffe - Ggwe eyabituwa. - (CHORUS) - Otukoledde ’bintu bingi; - Kyetuva tukuyimbira. - Weebale ’kutusobozesa - Kkuzimbir’e kifo kino. 
- 2. Yakuwa wali okimanyi - Nti twetaag’e kifo kino - Okusobola okukola - Ebiganyula ’bantu bo. - Ekifo kino kye tuzimbye. - Ka kitusobozesenga - Okukola omulimu gwo - Omwana wo gw’atuwadde. - (BRIDGE) - Ka tuweeyo gy’oli - Ebising’o bulungi; - Kubanga ebirungi— - Byonna biva gy’oli. - (CHORUS) - Otukoledde ’bintu bingi; - Kyetuva tukuyimbira. - Weebale ’kutusobozesa - Kkuzimbir’e kifo kino.