LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • lmd essomo 8
  • Beera Mugumiikiriza

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Beera Mugumiikiriza
  • Yoleka Okwagala—Ng’ofuula Abantu Abayigirizwa
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Ekyo Yesu Kye Yakola
  • Kiki Kye Tuyigira ku Yesu?
  • Koppa Yesu
  • Weeyongere Okugumiikiriza
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
  • Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okuyigiriza nga Tukozesa Vidiyo
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Eteekateeka y’Enkuŋŋaana—2016
  • Yogera ku Ebyo Ebinaakwata ku Bantu
    Yoleka Okwagala—Ng’ofuula Abantu Abayigirizwa
  • Tokoowa Kubayamba
    Yoleka Okwagala—Ng’ofuula Abantu Abayigirizwa
See More
Yoleka Okwagala—Ng’ofuula Abantu Abayigirizwa
lmd essomo 8

WEEYONGERE OKUYAMBA ABANTU

Yesu ng’azze awali muganda we Yakobo, mu bbajjiro. Yakobo yeewuunya okumulaba.

Yok. 7:3-5; 1 Kol. 15:3, 4, 7

ESSOMO 8

Beera Mugumiikiriza

Omusingi: “Okwagala kugumiikiriza.”​—1 Kol. 13:4.

Ekyo Yesu Kye Yakola

Yesu ng’azze awali muganda we Yakobo, mu bbajjiro. Yakobo yeewuunya okumulaba.

VIDIYO: Yesu Ayoleka Obugumiikiriza ng’Ayamba Muganda We

1. Laba VIDIYO, oba soma Yokaana 7:​3-5 ne 1 Abakkolinso 15:​3, 4, 7, oluvannyuma ofumiitirize ku bibuuzo bino:

  1. Mu kusooka baganda ba Yesu baatwala batya obubaka bwe yali abuulira?

  2. Kiki ekiraga nti Yesu teyaggwaamu ssuubi nti muganda we, Yakobo, yali asobola okufuuka omuyigirizwa?

Kiki Kye Tuyigira ku Yesu?

2. Twetaaga okuba abagumiikiriza, kubanga abantu abamu kibatwalira ekiseera kiwanvu okukkiriza amawulire amalungi.

Koppa Yesu

3. Gezaako enkola endala. Omuntu bw’atakkiririzaawo kuyiga Bayibuli, tomukaka. Oyinza okukozesa vidiyo oba ebitundu ebimu ebiri mu bitabo byaffe okumuyamba okutegeera engeri gye tuyigirizaamu abantu Bayibuli, era n’engeri gy’ajja okuganyulwa singa anakkiriza okuyiga.

4. Togeraageranya bantu. Buli muntu wa njawulo. Omu ku b’eŋŋanda zo oba omuntu gw’ozzeeyo okwogerako naye bw’agaana okuyiga Bayibuli oba bw’agaana okukkiriza emu ku njigiriza za Bayibuli, lowooza ku nsonga eyinza okuba nga y’emuviiriddeko okugaana. Waliwo enjigiriza emu ey’eddiini gy’atwala nti nkulu nnyo gy’ali? Apikirizibwa ab’eŋŋanda ze oba baliraanwa be? Sooka omuweeyo ekiseera okufumiitiriza ku ebyo by’omugambye era n’okulaba omuganyulo oguli mu ekyo Bayibuli ky’egamba.

5. Sabira omuntu ayagala okumanya ebisingawo. Saba Yakuwa akuyambe osigale ng’olina endowooza ennuŋŋamu ku muntu oyo, era oyogere naye mu ngeri ey’amagezi. Saba Yakuwa akuyambe okumanya obanga ddala omuntu tasiima by’ayiga, osobole okulekera awo okugendayo okumuyigiriza.​—1 Kol. 9:26.

LABA NE

Mak. 4:​26-28; 1 Kol. 3:​5-9; 2 Peet. 3:9

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share