LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • lmd essomo 7
  • Tokoowa Kubayamba

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Tokoowa Kubayamba
  • Yoleka Okwagala—Ng’ofuula Abantu Abayigirizwa
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Ekyo Pawulo Kye Yakola
  • Kiki Kye Tuyigira ku Pawulo?
  • Koppa Pawulo
  • Beera Mwetoowaze
    Yoleka Okwagala—Ng’ofuula Abantu Abayigirizwa
  • Yogera ku Ebyo Ebinaakwata ku Bantu
    Yoleka Okwagala—Ng’ofuula Abantu Abayigirizwa
  • Beera Mugumiikiriza
    Yoleka Okwagala—Ng’ofuula Abantu Abayigirizwa
  • Ddi Lwe Twandizzeeyo eri Abo Abaalaga Okusiima?
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2009
See More
Yoleka Okwagala—Ng’ofuula Abantu Abayigirizwa
lmd essomo 7

WEEYONGERE OKUYAMBA ABANTU

Omutume Pawulo ng’abuulira amawulire amalungi mu kisenge ky’essomero.

Bik. 19:8-10

ESSOMO 7

Tokoowa Kubayamba

Omusingi: “Beeyongera okuyigiriza n’okubuulira amawulire amalungi . . . awatali kuddirira.”​—Bik. 5:42.

Ekyo Pawulo Kye Yakola

Omutume Pawulo ng’abuulira amawulire amalungi mu kisenge ky’essomero.

VIDIYO: Pawulo Yeeyongera Okuyamba Abantu b’Omu Efeso

1. Laba VIDIYO, oba soma Ebikolwa 19:​8-10, oluvannyuma ofumiitirize ku bibuuzo bino:

  1. Mu kifo ky’okulekera awo okubuulira olw’okuba abamu baamuwakanya, Pawulo yeeyongera atya okuyamba abo abaali baagala okumanya ebisingawo?

  2. Mirundi emeka Pawulo gye yaddayo okuyigiriza abantu abo abaali baagala okumanya ebisingawo, era yakikola kumala bbanga ki?

Kiki Kye Tuyigira ku Pawulo?

2. Kitwetaagisa okuwaayo ebiseera era n’okufuba okusobola okuddayo eri abantu ababa baagala okumanya ebisingawo era n’okutandika okubayigiriza Bayibuli.

Koppa Pawulo

3. Ba mwetegefu okukyalira omuntu mu kiseera ekimwanguyira. Weebuuze: ‘Kiseera ki lwe kiyinza okuba ekirungi okumutuukirira? Ddi na wa we kijja okumwanguyira okwogerako nange?’ Ba mwetegefu okuddayo okwogerako naye ne bwe kiba nti kiyinza obutaba kyangu gy’oli okuddayo mu kiseera ky’ayagala.

4. Kola enteekateeka ne gw’oyogedde naye. Buli luvannyuma lw’okwogerako n’omuntu, gezaako okumanya ekiseera ekituufu lw’oyinza okuddamu okwogerako naye. Kakasa nti oddayo gy’ali nga bwe muba mulagaanye.

5. Beera n’endowooza ennuŋŋamu. Toyanguwa kulowooza nti omuntu atatera kubeera waka oba atera okuba n’eby’okukola ebingi, aba tayagala kuwuliriza bubaka bwaffe. (1 Kol. 13:​4, 7) Weeyongere okufuba okwogera n’omuntu oyo, naye kozesa bulungi ebiseera byo.​—1 Kol. 9:26.

LABA NE

Bik. 10:42; 1 Kol. 9:​22, 23; 2 Kol. 4:1; Bag. 6:9

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share