WEEYONGERE OKUYAMBA ABANTU
ESSOMO 9
Lumirirwa Abalala
Omusingi: “Musanyuke n’abo abasanyuka; mukaabire wamu n’abo abakaaba.”—Bar. 12:15.
Ekyo Yesu Kye Yakola
1. Laba VIDIYO, oba soma Makko 6:30-34, oluvannyuma ofumiitirize ku bibuuzo bino:
Lwaki Yesu n’abatume be baali baagala ‘okubeerako bokka’ nga tebali na bantu balala?
Kiki ekyaleetera Yesu okuyigiriza abantu abo?
Kiki Kye Tuyigira ku Yesu?
2. Tubuulira abantu olw’okuba tubalumirirwa era tubafaako.
Koppa Yesu
3. Wuliriza bulungi. Leka omuntu ayogere ekimuli ku mutima. Tomusala kirimi ng’akubuulira engeri gye yeewuliramu, ebimweraliikiriza, oba ebyo by’abuusabuusa. Bw’ossaayo omwoyo ng’ayogera, oba okiraga nti ofaayo ku ndowooza ye.
4. Lowooza ku muntu aba alaze nti ayagala okumanya ebisingawo. Okusinziira ku ekyo ky’oba oyogeddeko naye, weebuuze:
‘Lwaki yeetaaga okuwulira amazima?’
‘Okuyiga Bayibuli kinaamuganyula kitya mu kiseera kino ne mu biseera eby’omu maaso?’
5. Yogera ku bintu ebisobola okumuyamba. Mangu ddala, mulage engeri okuyiga Bayibuli gye kisobola okumuyamba okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo bye yeebuuza, era n’engeri gye kisobola okumuyamba mu bulamu bwe.