LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • lmd essomo 3
  • Laga Abantu Ekisa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Laga Abantu Ekisa
  • Yoleka Okwagala—Ng’ofuula Abantu Abayigirizwa
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Ekyo Yesu Kye Yakola
  • Kiki Kye Tuyigira ku Yesu?
  • Koppa Yesu
  • Yogera ku Ebyo Ebinaakwata ku Bantu
    Yoleka Okwagala—Ng’ofuula Abantu Abayigirizwa
  • Kolera ku ‘Tteeka ery’Ekisa’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
  • Okulaga Ekisa mu Nsi Ejjudde Obukambwe
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
  • Abantu ba Katonda Bateekwa Okwagala Ekisa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
See More
Yoleka Okwagala—Ng’ofuula Abantu Abayigirizwa
lmd essomo 3

OKUTANDIKA OKUNYUMYA N’ABANTU

Yesu ng’agenda okuwonya omusajja omuzibe w’amaaso.

Yok. 9:1-7

ESSOMO 3

Laga Abantu Ekisa

Omusingi: “Okwagala . . . kwa kisa.”​—1 Kol. 13:4.

Ekyo Yesu Kye Yakola

Yesu ng’agenda okuwonya omusajja omuzibe w’amaaso.

VIDIYO: Yesu Awonya Omusajja Omuzibe w’Amaaso

1. Laba VIDIYO, oba soma Yokaana 9:​1-7, oluvannyuma ofumiitirize ku bibuuzo bino:

  1. Kiki Yesu kye yasooka okukola​—yasooka kuwonya musajja oyo eyali omuzibe, oba yasooka kumubuulira mawulire malungi?​—Laba Yokaana 9:​35-38.

  2. Olowooza lwaki omusajja oyo yali mwetegefu okuwuliriza Yesu?

Kiki Kye Tuyigira ku Yesu?

2. Omuntu bw’akiraba nti tumufaako, ayinza okwagala okuwuliriza obubaka bwaffe.

Koppa Yesu

3. Wesse mu bigere by’omuntu. Gezaako okufumiitiriza ku ngeri gy’awuliramu.

  1. Weebuuze: ‘Biki ebiyinza okuba nga bimweralikiriza? Kiki kye nnyinza okwogerako ekiyinza okumuyamba n’okumukwatako ennyo?’ Okwebuuza ebibuuzo ng’ebyo kijja kukusobozesa okulaga abalala ekisa mu ngeri etuukirawo era mu bwesimbu.

  2. Laga nti ofaayo ku muntu ng’omuwuliriza bulungi. Bw’akubuulira endowooza gy’alina ku kintu oba ekizibu ky’ayolekagana nakyo, tokyusa mboozi kwogera ku kintu kirala.

4. Yogera mu ngeri ey’ekisa era eraga omuntu nti omussaamu ekitiibwa. Bw’oba ng’osaasira omuntu era nga ddala oyagala okumuyamba, kijja kweyolekera mu ngeri gy’oyogeramu naye. Weegendereze by’oyogera n’engeri gy’obyogeramu. Era weewale okwogera ebintu ebiyinza okunyiiza omuntu.

5. Baako ky’okolawo okumuyamba. Lowooza ku by’oyinza okukola okuyamba omuntu oyo. Bw’olaga omuntu ekisa, ayinza okuba omwetegefu okunyumya naawe.

LABA NE

Bar. 12:​15, 16; Bag. 6:10; Beb. 13:16

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share