LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • lmd essomo 4
  • Beera Mwetoowaze

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Beera Mwetoowaze
  • Yoleka Okwagala—Ng’ofuula Abantu Abayigirizwa
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Ekyo Pawulo Kye Yakola
  • Kiki Kye Tuyigira ku Pawulo?
  • Koppa Pawulo
  • Yakuwa Ayagala Nnyo Abaweereza Be Abeetoowaze
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2019
  • Beera Mwetoowaze
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • Yesu Yali Mwetoowaze
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Kulaakulanya Engeri Ennungi—Obuwombeefu
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2017
See More
Yoleka Okwagala—Ng’ofuula Abantu Abayigirizwa
lmd essomo 4

OKUTANDIKA OKUNYUMYA N’ABANTU

Omutume Pawulo asibiddwa ku lujegere era olusibiddwa ku mukuumi, ng’ayogera ne Kabaka Agulipa, Gavana Fesuto, ne Berenike.

Bik. 26:2, 3

ESSOMO 4

Beera Mwetoowaze

Omusingi: “Mu bwetoowaze mukitwale nti abalala babasinga.”​—Baf. 2:3.

Ekyo Pawulo Kye Yakola

Omutume Pawulo asibiddwa ku lujegere era olusibiddwa ku mukuumi, ng’ayogera ne Kabaka Agulipa, Gavana Fesuto, ne Berenike.

VIDIYO: Pawulo Abuulira Kabaka Agulipa

1. Laba VIDIYO, oba soma Ebikolwa 26:2, 3, oluvannyuma ofumiitirize ku bibuuzo bino:

  1. Pawulo yayoleka atya obwetoowaze mu ngeri gye yayogeramu ne Kabaka Agulipa?

  2. Pawulo yaleetera atya abalala okussa ebirowoozo ku Yakuwa ne ku Byawandiikibwa mu kifo ky’okubissa ku ye?​—Laba Ebikolwa 26:22.

Kiki Kye Tuyigira ku Pawulo?

2. Tusobola okusikiriza abalala okutuwuliriza singa twogera nabo mu ngeri eraga nti tuli beetoowaze era nti tubassaamu ekitiibwa.

Koppa Pawulo

3. Yogera mu ngeri eraga nti ossaamu abalala ekitiibwa. Weewale okuleetera omuntu okulowooza nti omanyi buli kintu era nti ye talina ky’amanyi. Yogera naye mu ngeri eraga nti omussaamu ekitiibwa.

4. Kyoleke bulungi nti ebyo by’obabuulira biva mu Bayibuli. Ekigambo kya Katonda kirimu obubaka obukwata ku mitima gy’abantu. Bwe tukikozesa, tuba tubayamba okuzimba okukkiriza kwabwe ku musingi omulungi.

5. Sigala ng’oli mukkakkamu. Tokalambira ku nsonga ng’ogezaako okukiraga nti ggwe mutuufu. Tetwagala kuwakana na bantu. Yoleka obwetoowaze ng’osigala oli mukkakkamu era ng’omanyi ddi lw’olina okulekera awo okwogera n’omuntu. (Nge. 17:14; Tit. 3:2) Bw’osigala ng’oli mukkakkamu, oboolyawo omuntu ayinza okuwuliriza obubaka bwaffe omulundi omulala.

LABA NE

Bar. 12:​16-18; 1 Kol. 8:1; 2 Kol. 3:5

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share