Yakuwa Tajja Kulwa
“Newakubadde nga kulwawo, kulindirirenga; kubanga tekulirema kujja, tekulirwawo.”—KAABAKUUKU 2:3.
1. Abantu ba Yakuwa balaze bumalirivu ki, era kino kibaleetedde kukola ki?
“NDIYIMIRIRA we nkuumira.” Bw’atyo nnabbi wa Katonda, Kaabakuuku, bwe yamalirira. (Kaabakuuku 2:1) Abantu ba Yakuwa ab’omu kyasa ekya 20 balaze obumalirivu bwe bumu. N’olwekyo, baanukudde omulanga guno ogwakubibwa mu lukuŋŋaana olunene olw’ebyafaayo olwaliwo mu Ssebutemba 1922: “Luno lwe lunaku olusingayo obukulu mu nnaku zonna. Mulabe, Kabaka afuga! Mmwe babaka be. N’olwekyo mulangirire, mulangirire, mulangirire, Kabaka n’obwakabaka bwe.”
2. Bwe baayambibwa okuddamu okukola n’amaanyi oluvannyuma lwa Ssematalo I, Abakristaayo abaafukibwako amafuta baali bayinza kulangirira ki?
2 Oluvannyuma lwa Ssematalo I, Yakuwa yayamba ensigalira y’abaafukibwako amafuta okuddamu okukola n’amaanyi. Okufaananako Kaabakuuku, buli omu ku bo yali asobola okwogera nti: “Nnaayimiriranga ku kigo; era nnaatunulanga [“nnaabanga bulindaala,” NW] okulaba by’anaayogera okuyitira mu nze.” Ebigambo by’Olwebbulaniya ebivvuunulwa okuba ‘obulindaala’ ‘n’okukuuma’ bikozesebwa enfunda n’enfunda mu bunnabbi bungi.
“Tekulirwawo”
3. Lwaki tuteekwa okubeera obulindaala?
3 Ng’Abajulirwa ba Yakuwa bawa okulabula kwa Katonda mu biseera bino, bateekwa okugoberera ebigambo ebyafundikira obunnabbi bwa Yesu obukulu: “Mutunule [“Mubeere bulindaala,” NW]: kubanga temumanyi mukama w’ennyumba w’alijjira, oba kawungeezi, oba ttumbi, oba ng’enkoko ekookolima, oba nkya; atera okujja amangu ago n’abasanga nga mwebase. Era kye mbagamba mmwe mbagamba mmwenna nti Mutunule.” (Makko 13:35-37) Okufaananako Kaabakuuku, era nga tutuu- kana n’ebigambo bya Yesu ebyo, tuteekwa okubeera obulindaala!
4. Embeera yaffe efaanana etya ey’omu kiseera kya Kaabakuuku awo nga mu 628 B. C. E.?
4 Kaabakuuku ayinza okuba yamaliriza okuwandiika obunnabbi bwe awo nga mu 628 B.C.E., nga ne Babulooni tennafuuka bufuzi kirimaanyi mu nsi. Omusango Yakuwa gwe yali asalidde Yerusaalemi ekijeemu gwali gulangiriddwa okumala emyaka mingi. Kyokka, tewaaliwo kintu kyonna kiraga kiseera kyennyini omusango gwe yali asaze lwe gwandituukiriziddwa. Ani yandikkirizza nti yali esigaddeyo emyaka 21 gyokka gutuu- kirizibwe era nti Babulooni ye yali agenda okuba omumbowa wa Yakuwa? Ne mu kiseera kyaffe, tetumanyi ‘lunaku na kiseera,’ eby’okuzikiririzaako embeera z’ebintu zino, naye Yesu atulabudde: “Mweteeketeeke: kubanga mu kiseera kye mutalowoolezaamu Omwana w’omuntu ky’ajjiramu.”—Matayo 24:36, 44.
5. Naddala kiki ekizzaamu amaanyi mu bigambo bya Katonda ebiri mu Kaabakuuku 2:2, 3?
5 Ng’alina ensonga ennungi, Yakuwa yawa Kaabakuuku omulimu guno: “Wandiika okwolesebwa okwo, okwole bulungi ku bipande, akusoma adduke mbiro. Kubanga okwolesebwa okwo kukyali kwa ntuuko zaakwo ezaalagirwa, era kwanguwa okutuusa enkomerero, so tekulirimba: newakubadde nga kulwawo, kulindirirenga; kubanga tekulirema kujja, tekulirwawo.” (Kaabakuuku 2:2, 3) Leero, obubi n’ettemu byeyongedde nnyo okwetooloola ensi yonna, nga kiraga nti tuli ku njegoyego ‘y’olunaku lwa Yakuwa olukulu era olw’entiisa.’ (Yoweeri 2:31) Ekizzaamu ennyo amaanyi bye bigambo bya Yakuwa nti: “Tekulirwawo“!
6. Tuyinza tutya okuwonawo ku lunaku olujja olw’okutuukiririzaako omusango Katonda gw’asaze?
6 Kati olwo, tuyinza tutya okuwonawo ku lunaku olwo lw’alituukiririzaako omusango gw’asaze? Yakuwa addamu ng’alaga enjawulo eriwo wakati w’omutuukirivu n’atali mutuukirivu: “Laba, emmeeme ye yeegulumizizza, si ngolokofu mu ye: naye omutuukirivu aliba mulamu lwa kukkiriza kwe.” (Kaabakuuku 2:4) Abafuzi era n’abantu ab’amalala n’omulugube bayiye omusaayi gw’abantu abatalina musango mu kiseera kyaffe, naddala mu ssematalo ebbiri era ne mu kuttiŋŋana okw’ekikungo okw’ebika by’abantu. Okwawukana ku ekyo, abaweereza ba Katonda abaafukibwako amafuta abaagala emirembe bagumiikirizza n’obwesigwa. Be boogerwako nga “eggwanga ettuukirivu erikuuma empisa ez’obwesigwa.” Eggwanga lino awamu ne bannaa- bwe, “endiga endala,” bagoberera okubuulirira kuno: “Mwesigenga Yakuwa ennaku zonna, kubanga mu Ya Yakuwa mwe muli Olwazi olutaliggwaawo.”—Isaaya 26:2-4, NW; Yokaana 10:16.
7. Nga tutuukana n’engeri Pawulo gye yakozesaamu Kaabakuuku 2:4, tuteekwa kukola ki?
7 Omutume Pawulo, ng’awandiikira Abakristaayo Abebbulaniya, yajuliza Kaabakuuku 2:4 n’agamba abantu ba Yakuwa: “Mwetaaga okugumiikiriza, bwe mulimala okukola Katonda by’ayagala mulyoke muweebwe ekyasuubizibwa. Kubanga wakyasigaddeyo akaseera katono nnyo, ajja alituuka, so talirwa. Naye omutuukirivu wange aliba mulamu lwa kukkiriza: era bw’addayo ennyuma, emmeeme yange temusanyukira.” (Abaebbulaniya 10:36-38) Kino si kiseera kya kuddirira oba kutwalirizibwa makubo g’ensi ya Setaani ag’okululunkanira ebintu n’okwemalira ku by’amasanyu. Tuteekwa kukola ki nga “akaseera akatono” tekannaggwaako? Okufaananako Pawulo, ffe ab’eggwanga lya Yakuwa ettukuvu, tuteekwa ‘okukununkiriza ebiri mu maaso, nga tuluubirira’ okufuna obulamu obutaggwaawo. (Abafiripi 3:13, 14) Okufaananako Yesu, tuteekwa ‘okugumiikiriza olw’essanyu eriteekeddwa mu maaso gaffe.’—Abaebbulaniya 12:2.
8. “Omusajja” ow’omu Kaabakuuku 2:5 y’ani, era lwaki tajja kutuuka ku buwanguzi?
8 Kaabakuuku 2:5 (NW)lwogera ku ‘musajja ow’amaanyi,’ obutafaananako baweereza ba Yakuwa, alemwa okutuuka ku kiruubirirwa kye, wadde nga ‘yagaziya emmeeme ye ng’amagombe.’ Omusajja ono atayinza “kumatira” y’aluwa? Okufaananako Babulooni mu kiseera kya Kaabakuuku ekyali kitayinza kumatira, “omusajja” ono akiikirira ab’eby’obufuzi—ka babe Bannaakyemalira, ba Nazi, Bakomunisiti, oba yadde abo abagamba nti bagoberera demokulase—alwana entalo okugayiza ensi ye. Era ajjuza amagombe n’emmeeme z’abantu abatalina musango. Naye “omusajja” ono ow’enkwe ow’ensi ya Setaani, eyeekulumbaza ennyo, tatuuka ku buwanguzi ng’agezaako ‘okukuŋŋaanya awamu amawanga gonna n’ebika byonna.’ Yakuwa Katonda yekka y’ayinza okugatta awamu abantu bonna, era ajja kukikola okuyitira mu Bwakabaka bwa Masiya.—Matayo 6:9, 10.
Eky’Obuyinike Ekisooka ku Bitaano
9, 10. (a) Kiki Yakuwa ky’alangirira okuyitira mu Kaabakuuku? (b) Ku bikwata ku magoba agatali ga butuukirivu, embeera eri etya leero?
9 Okuyitira mu nnabbi we Kaabakuuku, Yakuwa alangirira eby’obuyinike bitaano, emisango gy’asaze egiteekwa okutuukirizibwa okusobola okulongoosa ensi esobole okutuulibwamu abasinza ba Katonda abeesigwa. Abantu abo ab’emitima emirungi ‘boogera engero’ Yakuwa z’abawa. Tusoma tuti mu Kaabakuuku 2:6: “Zimusanze oyo ayaza ebyo ebitali bibye! [A]lituusa wa? [E]ra eyeebinika emisingo!”
10 Wano essira liteekebwa ku magoba agatali ga butuukirivu. Mu nsi etwetoolodde, abagagga beeyongera kugaggawala, ate abaavu ne beeyongera kwavuwala. Abakukusa amalagala n’abakumpanya beetuumira obugagga obutayogerekeka, ng’eno abantu aba bulijjo bafa njala. Kimu kya kuna eky’abantu bonna abali ku nsi babalirwa mu baavu lukumpe. Embeera y’obulamu mbi nnyo mu nsi nnyingi. Abo abayaayaanira obutuukirivu ku nsi bakaaba: Obubi buno bwonna obweyongera ‘bulituusa wa’? Naye, enkomerero eri kumpi! Mazima ddala okwolesebwa kuno “tekulirwawo.”
11. Kiki Kaabakuuku ky’ayogera ku kuyiwa omusaayi gw’abantu, era lwaki tuyinza okugamba nti omusaayi mungi nnyo guyiiriddwa leero?
11 Nnabbi agamba omubi: “Kubanga wanyaga amawanga mangi, ekitundu kyonna ekifisseewo ku mawanga balikunyaga; olw’omusaayi gw’aba ntu n’olw’ekyejo [“ebikolwa eby’ettemu,” NW] ebyagirirwa ensi n’ekibuga ne bonna abakibeeramu.” (Kaabakuuku 2:8) Nga musaayi mungi nnyo oguyiiriddwa mu nsi leero! Yesu yagamba: “Abo bonna abakwata ekitala balifa kitala.” (Matayo 26:52) Kyokka, mu kyasa kino kyokka ekya 20, amawanga n’ebika by’abantu bivunaanibwa okuyiwa omusaayi olw’okutta abantu abasukka mu bukadde ekikumi. Zibasanze abayiye omusaayi ogwo!
Obuyinike Obw’Okubiri
12. Obuyinike obw’okubiri Kaabakuuku bwe yawandiika bwe buluwa era tuyinza tutya okuba abakakafu nti obugagga obw’obukuusa tebujja kubaako kye bugasa?
12 Obuyinike obw’okubiri,obwogerwako mu Kaabakuuku 2:9-11, butuuka ku “oyo afunira ennyumba ye amagoba amabi, azimbe ekisu kye waggulu, awonyezebwe mu mukono gw’obubi!” Amagoba ag’obukuusa tegajja kubaako kye gagasa ng’omuwandiisi wa Zabbuli bw’akiraga obulungi: “Totyanga ggwe omuntu bw’agaggawala, ekitiibwa eky’ennyumba ye bwe kyeyongera: kubanga bw’alifa talitwala kintu: ekitiibwa kye tekirikka kumugoberera.” (Zabbuli 49:16, 17) N’olwekyo, amagezi gano omutume Pawulo ge yawa malungi: “Okuutirenga abagagga ab’omu mirembe gya kaakano obuteegulumizanga, newakubadde okwesiga obugagga obutali bwa lubeerera, wabula Katonda, atuwa byonna olw’obugagga tulyoke twesanyusenga n’ebyo.”—1 Timoseewo 6:17.
13. Lwaki twandyeyongedde okuwa okulabula kwa Katonda?
13 Nga kikulu nnyo obubaka bwa Katonda obw’omusango gw’asaze okulangirirwa leero! Abafalisaayo bwe baagezaako okukugira ebibiina okutendereza Yesu nga “Kabaka ajjira mu linnya lya Mukama,” yabaddamu: “Mbagamba nti Abo bwe banaasirika, amayinja ganaayogerera waggulu.” Lukka 19:38-40) Mu ngeri y’emu, singa abantu ba Katonda leero bandiremereddwa okwanika obubi obuliwo mu nsi, ‘ejjinja lyandyogeredde waggulu nga liyima ku kisenge.’ (Kaabakuuku 2:11) N’olwekyo tweyongere okuwa okulabula kwa Katonda n’obuvumu!
Obuyinike Obw’Okusatu n’Ensonga y’Okuyiwa Omusaayi
14. Amadiini g’ensi gavunaanibwa kuyiwa musaa- yi ki?
14 Obuyinike obw’okusatu obwalangirirwa okuyitira mu Kaabakuuku bukwata ku nsonga y’okuyiwa omusaayi. Kaabakuuku 2:12 lugamba: “Zimusanze oyo azimba ekibuga n’omusaayi, n’anyweza ekibuga n’obutali butuukirivu.” Mu mbeera zino ez’ebintu, obutali butuukirivu n’okuyiwa omusaayi bitera okugendera awamu. Naddala, amadiini g’ensi gavunaanibwa ebikolwa ebibi ennyo eby’okuyiwa omusaayi ebibaddewo mu byafaayo. Tuyinza okwogera ku Crusade, omwali okulwanagana wakati w’abo abeeyita Abakristaayo n’Abasiraamu; Okutulugunya Abaali Bawakanya Enzikiriza z’Ekikatuliki okwali mu Spain ne Latin America; Olutalo olw’Emyaka Amakumi Asatu olwaliwo mu Bulaaya, wakati wa Abaprotestanti n’Abakatuliki; era n’entalo ezikyasingidde ddala okutokomokeramu obulamu bw’abantu, ssematalo ebbiri ez’omu kyasa kyaffe, zombi ezaatandikira mu ttwale lya Kristendomu.
15. (a) Amawanga geeyongera kukola ki ng’eno bwe gawagirwa era nga bwe gasembebwa ekkanisa? (b) Ekibiina ky’Amawanga Amagatte kiyinza okukugira ensi okutuuma eby’okulwanyisa?
15 Ekimu ku bikolobero ebisingayo obubi ebyaliwo mu ssematalo ow’okubiri kwali okutta okw’ekikungo okwakolebwa aba Nazi, okwafiiramu obukadde n’obukadde bw’Abayudaaya n’abantu abalala mu Bulaaya abataalina musango. Abakulu b’eddiini y’Ekikatuliki mu Bufalansa gye buvuddeko awo baakikkiriza nti baalemwa okuziyiza ekikolwa eky’okutwala enkumi n’enkumi z’abantu mu nfo aba Nazi gye battiranga abantu. Kyokka, amawanga geeyongera okwetegekera okuyiwa omusaayi, nga gawagirwa oba nga gasembebwa amakanisa. Nga koogera ku Kkanisa y’Abasodokisi mu Russia, magazini akayitibwa Time (akabunyisibwa mu nsi yonna), gye buvuddeko awo kaagamba bwe kati: “Ekkanisa ezziddwa obuggya nayo yenyigidde nnyo mu bintu bye yali tesuubirwa n’akatono kwenyigiramu: enteekateeka za Russia ez’okulwana. . . . Okuwa emikisa ennyonyi ennwanyi n’enkambi z’abaserikale kumpi kifuuse nkola ya bulijjo. Mu Noovemba, mu Danilovsky Monastery ey’omu Moscow, nga kino kye kitebe ekikulu eky’Ekkanisa ya Russia, ekkanisa yatuuka n’okutukuza eby’okulwanyisa bya Russia eby’amaanyi ga nu- kiriya.” Ekibiina ky’Amawanga Amagatte kiyinza okukugira ensi okutuuma eby’okulwanyisa eby’akabi ennyo? N’akatono! Omuwanguzi w’Ekirabo kya Nobel eky’Emirembe yayogera bw’ati okusinziira ku lupapula lw’amawulire oluyitibwa Guardian (olw’omu London, e Bungereza: “Ekisinga okwewuunyisa kwe kuba nti amawanga gamemba ag’enkalakkalira ku Kakiiko k’Eby’Okwerinda ak’ekibiina ky’Amawanga Amagatte ge mawanga ataano agasinga okutunda eby’okulwanyisa mu nsi.”
16. Yakuwa anaakola ki amawanga agakubiriza entalo?
16 Yakuwa anaatuukiriza omusango gw’asalidde amawanga agakubiriza entalo? Kaabakuuku 2:13 lugamba: “Laba, tekyava eri Mukama w’eggye abantu okutengejjera omuliro, n’amawanga okwe[k]ooyeseza obutaliimu?” ‘Yakuwa ow’eggye’! Yee, Yakuwa alina eggye ery’omu ggulu, ly’ajja okukozesa okuzikiriza abantu n’amawanga abakubiriza entalo!
17. Okumanya Yakuwa kunajjula ensi kutuuka wa oluvannyuma lw’okutuukiriza omusango ku mawa- nga agenyigira mu bikolwa eby’ettemu?
17 Kiki ekiriddirira nga Yakuwa amaze okutuukiriza omusango gw’asalidde amawanga ago agenyigira mu bikolwa eby’ettemu? Kaabakuuku 2:14 luwa eky’okuddamu: “Kubanga ensi erijjula okumanya ekitiibwa kya Mukama, ng’amazzi bwe gasaanikira ku nnyanja.” Nga ssuubi lya kitalo nnyo! Ku Kalumagedoni, obufuzi bwa Yakuwa bujja kugulumizibwa emirembe gyonna. (Okubikkulirwa 16:16) Atukakasa nti ‘aliwa ekitiibwa ekifo eky’ebigere bye,’ ensi eno kwe tuli. (Isaaya 60:13) Abantu bonna bajja kuyigirizibwa ekkubo lya Katonda ery’obulamu, okumanya kw’ebigendererwa bya Yakuwa eby’ekitiibwa kubeere ng’amazzi agajjuza agayanja aganene.
Obuyinike Obw’Okuna n’Obw’Okutaano
18. Obuyinike obw’okuna obwalangirirwa okuyitira mu Kaabakuuku bwe buluwa, era bweyoleka butya mu mbeera ey’obugwenyufu eriwo mu nsi leero?
18 Obuyinike obw’okuna bwogerwako mu Kaabakuuku 2:15 n’ebigambo bino: “Zimusanze oyo awa munne ebyokunywa, n’oyongerako n’obutwa bwo, n’okutamiiza n’omutamiiza olyoke otunuulire ensonyi zaabwe!” Kino kiraga embeera eriwo mu nsi eno ey’obuteefuga n’akamu era ey’obujeemu. Obugwenyufu bwayo, obu- sembebwa n’ebibiina by’eddiini ebikkiriza buli kimu, bweyongeredde ddala nnyo. Endwadde, ng’eya AIDS n’endwadde endala ezisaasaanira mu kwetaba, zibunye ensi yonna. Mu kifo ky’okwoleka ‘ekitiibwa kya Yakuwa,’ omulembe guno ogwerowoozaako gwokka oguliwo leero gweyongera kukkirira mu ddubi ery’obugwenyufu era n’okusemberera okutuukirizibwa kw’omusango Katonda gw’asalidde omulembe guno. Nga ‘ejjudde eby’ensonyi mu kifo ky’eby’ekitiibwa,’ ensi eno enjeemu eneetera okunywa ku kikompe eky’ekiruyi kya Yakuwa, ekikiikirira ky’agenda okugikolera. ‘Walibaawo ensonyi ku kitiibwa kyayo.’—Kaabakuuku 2:16.
19. Ekikulembera obuyinike obw’okutaano ekyalangirirwa Kaabakuuku kikwata ku ki, era lwaki ebigambo ng’ebyo bya makulu mu nsi leero?
19 Ekikolwa ekikulembera obuyinike obw’okutaano kiwa okulabula okw’amaanyi ku bikwata ku kusinza ebifaananyi ebyole. Yakuwa akozesa nnabbi okulangirira ebigambo bino eby’amaanyi: “Zimusanze oyo agamba omuti nti Zuukuka; agamba ejjinja essiru nti Golokoka! Kino kinaayigiriza? Laba, kibikkiddwako zaabu ne ffeeza, so tewali mukka n’akamu kokka wakati mu kyo.” (Kaabakuuku 2:19) Na guno gujwa, Kristendomu n’abo abatwalibwa nti tebakkiririza mu Katonda wa Baibuli bakyavunnamira emisaalaba, Babiikira Mariya, ebibumbe, n’ebifaananyi ebirala eby’abantu n’ensolo. Tewali na kimu ku bino kiyinza kuwonya basinza baakyo Yakuwa bw’anaatuukiriza omusango gw’asaze. Zaabu ne feeza abikkiddwa ku bintu ebyo, taba na makulu gonna bw’omugeraageranya n’obukulu bwa Katonda, Yakuwa, ataggwaawo,era n’ekitiibwa ky’ebitonde bye ebiramu. Ka tutenderezenga erinnya lye eritageraageranyizika emirembe gyonna!
20. Mu nteekateeka ki eya yeekaalu gye tulina enki- zo okuweererezaamu leero?
20 Yee, Katonda waffe, Yakuwa, agwanidde okuweebwa ettendo. Nga tumuwa ekitiibwa eky’amaanyi ekimugwanidde, ka tugondere okulabula kuno okw’amaanyi okukwata ku kusinza ebifaananyi. Naye wuliriza! Yakuwa akyayogera: “Mukama ali mu yeekaalu ye entukuvu: ensi zonna zibunire mu maaso ge.” (Kaabakuuku 2:20) Awatali kubuusabuusa nnabbi yali ategeeza yeekaalu ey’omu Yerusaalemi. Kyokka, ffe mu kiseera kino tulina enkizo ey’okusinziza mu nteekateeka ya yeekaalu ey’eby’omwoyo esingira ewala obukulu, nga Mukama waffe Yesu Kristo ateekeddwawo nga Kabona Omukulu. Wano, mu luggya lw’oku nsi olwa yeekaalu eyo, tukuŋŋaana, tuweereza, era tusaba, nga tuwa Yakuwa ekitiibwa ekigwanira erinnya lye ery’ekitiibwa. Era nga tulina essanyu ppitirivu okusinza Kitaffe ow’omu ggulu ow’okwagala!
Okyajjukira?
• Otunuulira otya ebigambo bya Yakuwa nti: “Tekulirwawo”?
• Amakulu g’eby’obuyinike ebyalangirirwa okuyitira mu Kaabakuuku ge galuwa mu kiseera kyaffe?
• Lwaki twandyeyongedde okuwa okulabula kwa Yakuwa?
• Mu luggya lwa yeekaalu ki mwe tulina enki zo okuweerereza leero?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 21]
Okufaananako Kaabakuuku, abaweereza ba Katonda mu kiseera kino bamanyi nti Yakuwa tajja kulwa
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 24]
Osiima enkizo ey’okusinza Yakuwa mu luggya lwa yeekaalu ye ey’eby’omwoyo?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 22]
U.S Army photo