LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 12/15 lup. 1
  • Mugoberere Ekyokulabirako kya Bannabbi—Kaabakuuku

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Mugoberere Ekyokulabirako kya Bannabbi—Kaabakuuku
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2015
  • Similar Material
  • Weesige Yakuwa Obeere Mulamu!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2018
  • Okusanyukira mu Katonda ow’Obulokozi Bwaffe
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Ababi Basigazzaayo Bbanga ki?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Yakuwa Tajja Kulwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
See More
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2015
km 12/15 lup. 1

Mugoberere Ekyokulabirako kya Bannabbi​—Kaabakuuku

1. Embeera gye tulimu efaananako etya n’eyo Kaabakuuku gye yalimu?

1 Ng’ensi gye tulimu yeeyongera okuba embi, emirundi egimu tuyinza okuwulira nga nnabbi Kaabakuuku eyagamba nti: “Onjoleseza ki obutali butuukirivu n’otunuulira obukyamu?” (Kaab. 1:3; 2 Tim. 3:1, 13) Okufumiitiriza ku ebyo Kaabakuuku bye yawandiika ne ku bwesigwa bwe, kijja kutuyamba nnyo nga bwe tulindirira olunaku lwa Yakuwa olw’omusango.​—2 Peet. 3:7.

2. Tuyinza tutya okukiraga nti tulina okukkiriza okunywevu leero?

2 Beera n’Okukkiriza Okunywevu: Mu kifo ky’okweraliikirira ebizibu bye yalina, Kaabakuuku yasigala ng’atunula mu by’omwoyo era ng’aweereza Yakuwa. (Kaab. 2:1) Yakuwa yakakasa nnabbi we nti ekigambo kye kyandituukiridde mu kiseera kyennyini ekigereke era nti “omutuukirivu aliba mulamu lwa kukkiriza kwe.” (Kaab. 2:2-4) Ekyo kitukwatako kitya ffe abaliwo kati mu nnaku ez’oluvannyuma? Ekisinga obukulu kwe kuba abakakafu nti enkomerero ejja kujja so si kumanya lunaku lw’enejja. Okukkiriza kutuyamba okusigala nga tuli bulindaala era nga tuli banyiikivu mu mulimu gw’okubuulira.​—Beb. 10:38, 39.

3. Lwaki tusaanidde okusigala nga tuli basanyufu nga tuweereza Yakuwa?

3 Sigala ng’Oli Musanyufu ng’Oweereza Yakuwa: Googi ow’e Magoogi bw’anaalumba abaweereza ba Yakuwa, okukkiriza kwaffe kujja kugezesebwa. (Ez. 38:​2, 10-​12) Bwe wabaawo olutalo abantu bangi babonaabona nga mw’otwalidde n’abo abaluwangudde. Wayinza okubaawo enjala, ebintu biyinza okwonoonebwa, era n’embeera y’obulamu bw’abantu eyinza okuddirira ennyo. Bwe tuneesanga mu mbeera ng’ezo, tunaakola ki? Kaabakuuku yali akimanyi nti wajja kubaawo ebiseera ebizibu, naye yasigala nga musanyufu ng’aweereza Yakuwa. (Kaab. 3:16-19) Naffe ‘essanyu lya Yakuwa’ lijja kutuyamba okugumira ebizibu bye tujja okufuna mu biseera eby’omu maaso.​—Nek. 8:10; Beb. 12:2.

4. Kiki kye tusaanidde okukola kati era kye tujja okweyongera okukola ne mu biseera eby’omu maaso?

4 Abo Yakuwa b’anaawonyaawo ku lunaku olw’omusango, bajja kweyongera okuyigirizibwa ebyo Katonda by’ayagala. (Kaab. 2:14) Abanaazuukizibwa nabo bajja kuyigirizibwa ebikwata ku Yakuwa. Ka tukozese buli kakisa ke tufuna okubuulira abalala ebikwata ku Yakuwa n’ebikolwa bye eby’ekitalo!​—Zab. 34:1; 71:17.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share