LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w00 2/1 lup. 25-29
  • Okusanyukira mu Katonda ow’Obulokozi Bwaffe

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okusanyukira mu Katonda ow’Obulokozi Bwaffe
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Kaabakuuku Asaba Obusaasizi bwa Katonda
  • Yakuwa Atabaala!
  • Obulokozi Bukakafu eri Abantu ba Katonda!
  • Olunaku lwa Yakuwa Lujja!
  • Weesige Yakuwa Obeere Mulamu!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2018
  • Ababi Basigazzaayo Bbanga ki?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Yakuwa Tajja Kulwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Mugoberere Ekyokulabirako kya Bannabbi—Kaabakuuku
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2015
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
w00 2/1 lup. 25-29

Okusanyukira mu Katonda ow’Obulokozi Bwaffe

“Newakubadde nga kulwawo,kulindirirenga; kubanga tekulirema kujja, tekulirwawo.”​—KAABAKUUKU 2:3.

1. Okwolesebwa Danyeri kwe yafuna nga Babulooni tekinnagwa mu 539 B. C. E. kwali kukwata ku ki?

EMYAKA egisukka mu kkumi nga Babulooni tekinnagwa mu 539 B.C.E., nnabbi Danyeri eyali akaddiye yafuna okwolesebwa okubuguumiriza. Kwalagula ebyali eby’okubaawo mu nsi okutuukira ddala ku lutalo olwa nsalesale wakati w’abalabe ba Yakuwa ne Kabaka gwe yateekawo, Yesu Kristo. Danyeri yawulira atya? Yagamba: “Ne nzirika . . . ne nneewuunya ebyanjolesebwa.”​—Danyeri 8:27.

2. Lutalo ki Danyeri lwe yalaba mu kwolesebwa, era owulira otya bw’otegeera nti luli kumpi?

2 Ate ffe? Tuli mu biseera byaluvannyuma nnyo n’okusingawo! Tuwulira tutya bwe tukitegeera nti olutalo olwo Danyeri lwe yalaba mu kwolesebwa​—olutalo lwa Katonda olwa Kalumagedoni​—luli kumpi nnyo? Tweyisa tutya bwe tumanya nti obubi obwogerwako mu bunnabbi bwa Kaabakuuku bweyongedde nnyo ne kiba nti okuzikirizibwa kw’abalabe ba Katonda kuteekwa buteekwa okubaawo? Kyandiba nga tulina endowooza efaananako eya Kaabakuuku, eyogerwako mu ssuula ey’okusatu ey’ekitabo kye eky’obunnabbi.

Kaabakuuku Asaba Obusaasizi bwa Katonda

3. Kaabakuuku yasaba ku lw’ani, era ebigambo bye bitukwatako bitya?

3 Kaabakuuku essuula 3 erimu kusaba. Okusinziira ku lunyiriri 1, okusaba okwo kuli mu nnyimba ez’ennaku oba ez’okukungubaga. Okusaba kwa nnabbi kulabika ng’eyali yeesabira. Kyokka, Kaabakuuku asabira eggwanga lya Katonda eddonde. Mu kiseera kyaffe, okusaba kwe kwa makulu nnyo eri abantu ba Katonda, abenyigidde mu mulimu gw’okubuulira Obwakabaka. Bwe tujjukira kino nga tusoma Kaabakuuku essuula 3, ebigambo byayo bituleetera okulowooza ku kabi akabindabinda naye ate era bituleetera essanyu. Okusaba kwa Kaabakuuku, oba oluyimba lwe olw’okukungubaga, kutuwa ensonga ey’amaanyi okusanyukira mu Yakuwa, Katonda ow’obulokozi bwaffe.

4. Lwaki Kaabakuuku yatya, era tuyinza okuba abakakafu nti Katonda anaakozesa atya amaanyi ge?

4 Nga bwe twalabye mu bitundu ebibiri ebivuddeko, embeera Yuda gye yalimu mu kiseera kya Kaabakuuku yali mbi nnyo. Naye Katonda tajja kuleka mbeera eno kweyongera mu maaso. Yakuwa ajja kubaako ky’akola nga bwe yakola mu biseera ebyayita. Tekyewuunyisa nti nnabbi yakoowoola bw’ati: “Ai Yakuwa, mpulidde ebikukwatako. Ntidde, Ai Yakuwa, olw’omulimu gwo”! Yali ategeeza ki? ‘Ebikwata ku Yakuwa’ bye byafaayo ebyali mu buwandiike ebikwata ku bikolwa bya Katonda eby’amaanyi, gamba ng’ebyo bye yakola ku Nnyanja Emmyufu, mu ddungu, era n’e Yeriko. Ebikolwa bino Kaabakuuku yali abimanyi bulungi, era byamuleetera okutya kubanga yakimanya nti Yakuwa yali ajja kuddamu nate okukozesa amaanyi ge ku balabe be. Bwe tulaba obubi bw’abantu leero, naffe tumanya nti Yakuwa ajja kukola nga bwe yakola mu biseera eby’edda. Ekyo kituleetera entiisa? N’akatono! Wadde kiri kityo, tusaba nga Kaabakuuku bwe yasaba: “Zuukiza omulimu gwo wakati mu myaka, gumanyise wakati mu myaka; awali obusungu, jjukira okusaasira.”(Kaabakuuku 3:2, NW) Mu kiseera kya Katonda ekitegeke, “wakati mu myaka,” ka addemu nate okwoleka amaanyi ge ag’ekyamagero. Era mu kiseera ekyo, k’ajjukire okulaga obusaasizi abo abamwagala!

Yakuwa Atabaala!

5. ‘Katonda yajja okuva Temani’ mu ngeri ki, era kino kiraga ki ku bikwata ku Kalumagedoni?

5 Kiki ekinaabaawo nga Yakuwa azzeemu okusaba kwaffe okw’okulagibwa obusaasizi? Eky’okuddamu tukisanga mu Kaabakuuku 3:3,4. Okusooka,nnabbi agamba bw’ati: “Katonda yajja ng’ava ku Temani, era Omutukuvu yajja ng’ava ku lusozi Palani.” Emabega eri mu biseera bya Musa, Temani ne Palani bye bimu ku bifo Abaisiraeri bye baayitamu mu ddungu nga bagenda e Kanani. Ng’eggwanga lino eddene erya Isiraeri liri ku lugendo olwo, kyalabika nga Yaku wa kennyini eyali atambula nabo era nga tewali kintu kyonna kyali kiyinza kwekiika mu kkubo lye. Musa bwe yali abuzaayo ekiseera kitono afe, yagamba: “Yakuwa​—yajja okuva e Sinaayi, n’aboolekera ng’ava e Seyiri. Yamasamasa okuva mu nsozi z’e Palani, era yali wamu n’obukuumi [bwa bamalayika] abatukuvu.” (Ekyamateeka 33:2, NW) Yakuwa bw’anaayolekera abalabe be ku Kalumagedoni, ajja kwolesa amaanyi ge ag’ensusso mu ngeri y’emu.

6. Ng’oggyeko ekitiibwa kya Katonda, Abakristaayo abeetegereza balaba ki ekirala?

6 Kaabakuuku era agamba: “Ekitiibwa [kya Yakuwa] kyabikka ku ggulu, ensi n’ejjula ettendo lye. N’okumasamasa kwe kwali ng’omusana.” Nga kwali kwolesebwa kwa kitalo nnyo! Kituufu nti, abantu tebayinza kulaba Yakuwa Katonda ne baba balamu. (Okuva 33:20) Kyokka, eri abaweereza ba Katonda abeesigwa, amaaso g’emitima gyabwe gasamaalirira bwe balowooza ku kitiibwa kye eky’ekitalo. (Abaefeso 1:18) Era, ng’oggyeeko ekitiibwa kya Yakuwa, Abakristaayo abeetegereza balina ekirala kye balaba. Kaabakuuku 3:4, lufundikira bwe luti: “Yalina amayembe nga gava mu mukono gwe: era omwo mwe mwali okukweka amaanyi ge.” Yee, tulaba nti Yakuwa mwetegefu okubaako ky’akola, ng’akozesa omukono gwe ogwa ddyo ogw’amaanyi n’obuyinza.

7. Okutambula kwa Katonda okw’obuwanguzi kutegeeza ki eri abo abamujeemedde?

7 Okutabaala kwa Katonda okw’obuwanguzi kutegeeza kabi eri abajeemu. Kaabakuuku 3:5 lugamba: “Kawumpuli yatambula okumukulembera, obusaale obw’omuliro ne bufuluma awali ebigere bye.” Abaisiraeri bwe baali ku njegoyego y’Ensi Ensuubize mu 1473 B.C.E., bangi baajeema, ne benyigira mu bwenzi n’okusinza ebifaananyi. Era ekyavaamu, abasukka mu 20,000 battibwa kawumpuli eyava eri Katonda. (Okubala 25:1-9) Mu biseera ebitali by’ewala, Yakuwa bw’anaatabaala mu ‘lutalo olw’oku lunaku olukulu olwa Katonda Omuyinza w’ebintu byonna,’ abo abamujeemedde bajja kubonerezebwa mu ngeri efaananako bw’etyo olw’ebibi byabwe. Abamu bayinza n’okuttibwa kawumpuli yennyini.​—Okubikkulirwa 16:14, 16.

8. Okusinziira ku Kaabakuuku 3:6, kiki ekirindiridde abalabe ba Katonda?

8 Kati wulira engeri nnabbi gy’annyonnyolamu Yakuwa ow’eggye ng’ali mu nkola. Mu Kaabakuuku 3:6 (NW), tusoma tuti: “[Yakuwa Katonda] yayimirira mu kifo kimu, ayuguumye ensi. Yalaba, era n’aleetera amawanga okupaala. N’ensozi ezitaggwaawo zamenyeka; obusozi obw’olubeerera bwavuunama. Okutambula kwe kwalinga okw’edda.” Okusooka, Yakuwa ‘ayimirira mu kifo kimu,’ ng’omugabe eyeetegereza eddwaniro. Abalabe be bakankana olw’okutya. Balaba gwe balwanyisa era ensisi n’ebakwata, ne babuna emiwabo. Yesu yalagula ekiseera ‘ebika byonna eby’ensi bwe birikuba ebiwoobe.’ (Matayo 24:30) Balikitegeera obudde nga buweddeyo nti teri muntu ayinza kuziyiza Yakuwa. Entegeka z’abantu​—n’ezo ezirabika nga nnywevu nga “ensozi ezitaggwaawo” oba “obusozi obw’olubeerera”​—zijja kusaanawo. Kujja kubeera nga ‘okutambula kwa Katonda okw’edda,’ engeri gye yakolamu mu biseera ebyayita.

9, 10. Kaabakuuku 3:7-11 zitujjukiza ki?

9 ‘Obusungu’ bwa Yakuwa bwolekezeddwa eri abalabe be. Naye akozesa bya kulwanyisa ki mu lutalo luno? Wulira nnabbi bw’abinnyonnyola, ng’agamba: “Omutego gwo gwasowolerwa ddala; ebirayiro bye walayirira ebika byali kigambo kya nkalakkalira. Ensi wagyasaamu n’emigga. Ensozi zaakulaba ne zitya; amataba ag’amazzi ne gayitawo: ennyanja yaleeta eddoboozi lyayo, n’eyimusa emikono gyayo waggulu. Enjuba n’omwezi ne biyimirira mu kifo kyabyo mwe bibeera; olw’okutangaala kw’obusaale bwo nga butambula, olw’okwakaayakana kw’effumu lyo erimasamasa.”​—Kaabakuuku 3:7-11.

10 Mu biseera bya Yoswa, Yakuwa yaleetera enjuba n’omwezi okuyimirira mu kifo kimu mu ngeri ey’ekyewuunyo eyayolesa amaanyi ge. (Yoswa 10:12-14) Obunnabbi bwa Kaabakuuku butujjukiza nti amaanyi gano ge gamu, Yakuwa ajja kugakozesa ku Kalumagedoni. Mu 1513 B. C. E., Yakuwa yalaga bw’alina obuyinza ku nnyanja ez’oku nsi bwe yeeyambisa Ennyanja Emmyufu okuzikiriza eggye lya Falaawo. Nga wayiseewo emyaka amakumi ana, omugga Yoludaani ogwali gwanjadde amazzi tegwakugira Isiraeri kugusomoka kutuuka mu Nsi Ensuubize. (Yoswa 3:15-17) Mu nnaku za nnabbi Debola, nnamutikwa w’enkuba yakuluggusa amagaali ga Sisera omulabe wa Isiraeri. (Ekyabalamuzi 5:21) Amaanyi gano ge gamu ag’amataba, nnamutikwa w’enkuba, era n’ennyanja, Yakuwa ajja kuba asobola okugeeyambisa ku Kalumagedoni. Okubwatuka ne laddu nabyo biri mu buyinza bwe okubikozesa, ng’effumu oba omufuko gw’obusaale.

11. Kiki ekinaabaawo Yakuwa bw’anaakozesa amaanyi ge ag’ekitalo?

11 Mazima ddala, kijja kuba kya ntiisa nnyo Yakuwa bw’anaakozesa amaanyi ge ag’ekitalo. Ebigambo bya Kaabakuuku biraga nti ekiro kijja kufaanana ng’emisana ate emisana watangaale nnyo n’okusinga enjuba bw’eyinza okukisobozesa. Ebigambo bino eby’obunnabbi ebyogera ku Kalumagedoni ka bibe nti binaatuukirira ddala mu ngeri eyo oba mu ngeri ya kabonero, ekintu kimu kikakafu​—Yakuwa ajja kuwangula, tajja kukkiriza mulabe yenna kuwonawo.

Obulokozi Bukakafu eri Abantu ba Katonda!

12. Kiki Katonda ky’anaakola abalabe be, naye baani abanaawonawo?

12 Nnabbi yeeyongera okunnyonnyola engeri Yakuwa gy’anaazikirizaamu abalabe Be. Mu Kaabakuuku 3:12, tusoma tuti: “Watambula okuyita mu nsi ng’oliko ekiruyi, n’owuula amawanga ng’oliko obusungu.” Wadde kiri bwe kityo, Yakuwa tajja kumala gazikiriza. Abantu abamu bajja kuwonawo. Kaabakuuku 3:13 lugamba nti: “Wafuluma okuleetera abantu bo obulokozi, okuleetera obulokozi oyo gwe wafukako amafuta.” Yee, Yakuwa ajja kulokola abaweereza be abeesigwa. Olwo nno okuzikirizibwa kwa Babulooni Ekinene, obwakabaka bw’eddiini ez’obulimba, kujja kuba kuwedde. Kyokka, leero, amawanga gagezaako okumalawo okusinza okulongoofu. Mu kiseera ekitali ky’ewala, abaweereza ba Yakuwa bajja kulumbibwa eggye lya Googi ow’e Magoogi. (Ezeekyeri 38:1-39:13; Okubikkulirwa 17:1-5, 16-18) Okulumba okwo okwa Setaani kunaatuuka ku buwanguzi? Nedda! Mu kiseera ekyo Yakuwa ajja kuwuula abalabe be, ng’ababetenta wansi w’ebigere bye ng’eŋŋaano mu gguuliro. Naye ajja kulokola abo abamusinza mu mwoyo n’amazima.​—Yokaana 4:24.

13. Kaabakuuku 3:13 lunaatuukirizibwa lutya?

13 Okuzikirizibwa ddala okw’ababi kwalagulwa mu bigambo bino: “[Yakuwa] wafumita omutwe ogw’omu nnyumba y’omubi, ng’oyerula omusingi okutuuka ne ku nsingo.” (Kaabakuuku 3:13) ‘Ennyumba’ eno ze mbeera embi ezaateekebwawo Setaani Omulyolyomi. Ejja kuzikirizibwa. “Omutwe,” oba abakulembeze abawakanya Katonda, bajja kusaanyizibwawo. Enteekateeka yonna ejja kuseseggulwa, okutuukira ddala ku musingi gwayo. Ejja kuba eviiriddewo ddala. Nga bujja kuba buweerero bwa maanyi nnyo!

14-16. Okusinziira ku Kaabakuuku 3:14, 15, kiki ekinaatuuka ku bantu ba Yakuwa n’abalabe be?

14 Ku Kalumagedoni, abo abagezaako okuzikiriza oyo Yakuwa ‘gwe yafukako amafuta’ bajja kutabulwatabulwa. Okusinziira ku Kaabakuuku 3:14, 15 (NW), nnabbi ayogera eri Katonda, ng’agamba: “Wafumita n’emiggo gye gyennyini omutwe gw’abalwanyi be bwe bajja ng’embuyaga okunsaasaanya. Okusanyuka kwabwe kwali kulya munaku mu kyama. Wayita mu nnyanja n’embalaasi zo, wayita mu ntuumu ey’amazzi ag’amaanyi.”

15 Kaabakuuku bw’agamba nti “abalwanyi be bajja . . . ng’embuyaga okunsaasaanya,” nnabbi oyo aba ayogera ku lw’abaweereza ba Yakuwa abaafukibwako amafuta. Okufaananako abaziggu abateega mu makubo, amawanga gajja kulumba abasinza ba Yakuwa okubazikiriza. Abalabe ba Katonda era ab’abantu be bajja kuba ‘basanyufu,’ nga basuubira obuwanguzi. Abakristaayo abeesigwa bajja kulabika ng’abanafu, ‘ng’omunaku.’ Naye amagye agawakanya Katonda bwe ganaalumba, Yakuwa ajja kugaleetera okwolekeza eby’okulwanyisa byago buli limu eri linaalyo. Bajja kukozesa emikono gyabwe, oba “emiggo” gyabwe, okuttiŋŋana bo bennyini.

16 Naye wakyaliyo ebirala. Mu kiseera ekyo Yakuwa ajja kukozesa eggye lye ery’ebitonde eby’omyoyo okumaliriza okuzikiriza abalabe be. Ng’akozesa “embalaasi” ez’eggye lye ery’omu ggulu wansi wa Yesu Kristo, ajja kugenda ng’awangula okuyita mu “nnyanja” era ne “entuumu ey’amazzi ag’amaanyi,” kwe kugamba, mu nnamungi w’abantu abalabe be. (Okubikkulirwa 19:11-21) Olwo nno ababi bajja kuggibwawo ku nsi. Nga kujja kuba kweyoleka kwa kitalo okw’amaanyi ga Katonda n’obwenkanya bwe!

Olunaku lwa Yakuwa Lujja!

17. (a) Lwaki tuyinza okuba abakakafu nti ebigambo bya Kaabakuuku bijja kutuukirira? (b) Tuyinza tutya okubeera nga Kaabakuuku nga tulindirira olunaku lwa Yakuwa olukulu?

17 Tuyinza okuba abakakafu nti ebigambo bya Kaabakuuku bijja kutuukirizibwa mu kiseera ekitali ky’ewala. Tebijja kulwa. Owulira otya okumanya ebyo nga tebinnabaawo? Jjukira nti Kaabakuuku yaluŋŋamizibwa Katonda okuwandiika ebigambo ebyo. Yakuwa ajja kubaako ky’akola, era wajja kubaawo okuzikirizibwa okw’amaanyi ku nsi bw’anaakikola. Tekyewuunyisa nti nnabbi yawandiika bw’ati: “Nawulira, olubuto lwange ne lukankana, emimwa gyange ne gijugu[u]mirira eddoboozi eryo; okuvunda ne kuyingira mu magumba gange, ne nkankanira mu kifo kyange: mpummulire ku lunaku olw’okulabiramu ennaku, bwe zirisanga abantu abamutabaala ebibiina.” (Kaabakuuku 3:16) Kaabakuuku yatya nnyo​—era nga tekyewuunyisa. Naye okukkiriza kwe kwaddirira? N’akatono! Yali mwetegefu okulindirira olunaku lwa Yakuwa olukulu. (2 Peetero 3:11, 12) Eyo si ye ndowooza naffe gye tulina? Mazima ddala yee! Tulina okukkiriza okujjuvu nti obunnabbi bwa Kaabakuuku bujja kutuukirizibwa. Naye ng’ekyo tekinnabaawo, tujja kulindirira n’obugumiikiriza.

18. Wadde Kaabakuuku yasuubira obuzibu, yalina ndowooza ki?

18 Bulijjo entalo zireetawo obuzibu, yadde n’eri abo abawangudde. Emmere eyinza okuba ey’ebbula. Ebintu biyinza okwonoonebwa. Embeera y’obulamu eyinza okwonooneka. Singa ekyo kitutuukako, tunneeyisa tutya? Kaabakuuku yalina endowooza gye tuyinza okukoppa, kubanga yagamba: “Omutiini newakubadde nga tegwanya, so n’emizabbibu nga tegiriiko bibala; ne bwe bateganira omuzeyituuni obwereere, ennimiro ne zitaleeta mmere yonna; embuzi nga zimaliddwawo ku kisibo, so nga tewali nte mu biraalo: era naye ndisanyukira Mukama, ndijaguliza Katonda ow’obulokozi bwange.” (Kaabakuuku 3:17, 18) Kaabakuuku yakimanya nga wayinza okubaawo obuzibu, gamba enjala. Wadde kyali kityo, teyalekera awo kusanyukira mu Yakuwa, ensibuko y’obulokozi bwe.

19. Abakristaayo bangi balina buzibu ki, naye tuyinza kuba bakakafu ku ki singa tukulembeza Yakuwa mu bulamu bwaffe?

19 Leero, nga Yakuwa tannatabaala babi, bangi balina ebizibu bya maanyi nnyo. Yesu yalagula nti entalo, enjala, musisi, n’endwadde bye bimu ku ebyo ebiriba mu kabonero akalaga okubeerawo kwe mu buyinza bw’obwakabaka. (Matayo 24:3-14; Lukka 21:10, 11) Bakkiriza bannaffe bangi bali mu nsi ezikoseddwa ennyo okutuukirizibwa kw’ebigambo bya Yesu, era n’olw’ensonga eyo babonyeebonye nnyo. Abakristaayo abalala bayinza okukosebwa mu ngeri y’emu mu biseera eby’omu maaso. Eri bangi ku ffe, kisoboka okuba nti ‘omutiini tegujja kwanya’ ng’enkomerero tennatuuka. Naye, tumanyi lwaki ebintu bino weebiri, era ekyo kituwa amaanyi. Ate era, tulina obuwagizi. Yesu yasuubiza: “Musooke munoonye obwakabaka bwe n’obutuukirivu bwe; era ebyo byonna mulibyongerwako.” (Matayo 6:33) Ekyo tekituwa kakalu nti obulamu bujja kuba bwangu, naye kitukakasa nti singa tukulembeza Yakuwa mu bulamu bwaffe, ajja kutulabirira.​—Zabbuli 37:25.

20. Wadde nga tufuna obuzibu obw’akaseera obuseera, twandibadde bamalirivu kukola ki?

20 Ka bibe bizibu ki eby’akaseera obuseera bye tunaayolekagana nabyo, tetujja kuggya bwesige mu maanyi ga Yakuwa ag’obulokozi. Bangi ku baganda baffe mu Afirika, Bulaaya ow’Ebuvanjuba, era n’ebifo ebirala boolekaganye n’obuzibu obw’amaanyi, naye beeyongera ‘okusanyukira mu Yakuwa.’ Naffe, okufaanana nga bo, tukolenga bwe tutyo bulijjo. Jjukira nti Mukama Afuga Byonna, Yakuwa ye Nsibuko ‘y’amaanyi’ gaffe. (Kaabakuuku 3:19) Tajja kutulekulira. Mazima ddala Kalumagedoni ajja kujja, era n’ensi ya Katonda empya. (2 Peetero 3:13) Awo nno, “ensi erijjula okumanya ekitiibwa kya [Yakuwa], ng’amazzi bwe gasaanikira ku nnyanja.” (Kaabakuuku 2:14) Ng’ekyo tekinnabaawo, ka tugoberere ekyokulabirako ekirungi ekya Kaabakuuku. Ka bulijjo ‘tusanyukirenga mu Yakuwa era tujagulize mu Katonda ow’obulokozi bwaffe.’

Okyajjukira?

• Okusaba kwa Kaabakuuku kuy nza kutya okutukwatako?

• Lwaki Yakuwa atabaala?

• Obunnabbi bwa Kaabakuuku bwogera ki ku bulokozi?

• Twandirindiridde olunaku lwa Yakuwa olukulu nga tulina ndowooza ki?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share