LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w00 3/1 lup. 29-31
  • Okunoonya Yakuwa ng’Otegese Omutima Gwo

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okunoonya Yakuwa ng’Otegese Omutima Gwo
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Okutegeka Omutima Gwaffe
  • Ensonga Ezirongoosa “Ettaka” ly’Omutima Gwaffe
  • Obwetoowaze Bugonza Omutima
  • Obwesigwa n’Okutya Katonda
  • Omutima Ogutegekeddwa Guba n’Okukkiriza kwa Maanyi
  • Okwagala​—Engeri Esinga Obukulu
  • Funa Omutima Ogusanyusa Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Kuuma Omutima Gwo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Weereza Yakuwa n’Omutima Gwo Gwonna
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Olina ‘Omutima Ogumanyi’ Yakuwa?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
w00 3/1 lup. 29-31

Okunoonya Yakuwa ng’Otegese Omutima Gwo

EZERA kabona Omuisiraeri yali munoonyereza, mwekenneenya, mukoppolozi, era omuyigiriza w’Amateeka ow’enkukunala. Era yassizaawo Abakristaayo leero ekyokulabirako ekirungi eky’okuweereza n’omutima gwonna. Mu ngeri ki? Mu ngeri nti yeemalira ku Katonda wadde nga yali mu Babulooni, ekibuga ekyali kijjudde bakatonda ab’obulimba era n’okusinza balubaale.

Ezera okuba nti yeemalira ku Katonda tekyajjawo kyokka. Yakikolerera. Mazima ddala, atugamba nti ‘yali ategese omutima gwe okunoonya amateeka ga Yakuwa n’okugagobereranga.’​—Ezera 7:10, NW.

Okufaananako Ezera, abantu ba Yakuwa leero baagala okukola byonna Yakuwa by’abasaba nga bali mu nsi ey’obulabe eri okusinza okw’amazima. N’olwekyo, ka twekkaanye engeri naffe gye tuyinza okutegekamu omutima gwaffe, ekyo kye tuli munda​—nga mw’otwalidde n’ebirowoozo byaffe, engeri zaffe, bye twegomba, n’ebitukubiriza​—‘okunoonya amateeka ga Yakuwa n’okugagobereranga.’

Okutegeka Omutima Gwaffe

“Okutegeka” kitegeeza “okuteekateeka nga bukyali olw’ekigendererwa ekimu: okuteeka mu mbeera esobozesa okukola ekintu, enkola emu, oba okwoleka engeri emu.” Kya lwatu bw’oba ofunye okumanya okutuufu okw’Ekigambo kya Katonda era ng’owaddeyo obulamu bwo eri Yakuwa, mazima ddala omutima gwo guba gutegekeddwa era nga guyinza okugeraageranyizibwa “ku ttaka eddungi” Yesu lye yayogerako mu lugero lwe olw’omusizi.​—Matayo 13:18-23.

Wadde kiri kityo, omutima gwaffe gwetaaga okufiibwako n’okulongoosebwa buli kiseera. Lwaki? Lwa nsonga bbiri. Esooka, lwa kuba engeri ez’akabi, ng’omuddo mu nnimiro, ziyinza okusimba amakanda, naddala mu ‘mu nnaku zino ez’oluvannyuma’ nga “empewo” y’embeera za Setaani ejjudde ensigo ez’akabi ez’endowooza y’omubiri. (2 Timoseewo 3:1-5; Abaefeso 2:2, NW) Ensonga ey’okubiri ekwata ku ttaka lyennyini. Nga terifiiriddwako, ettaka liyinza okukala, okukaluba, era ne lirekera awo okubaza ebintu. Oba abantu bangi bayinza okulinnyirira ennimiro ettaka ne likaluba. Ettaka ery’akabonero ery’omutima gwaffe lifaananako bwe lityo. Liyinza obutavaamu bibala singa terifiibwako oba singa lirinnyirirwa abantu abatafaayo ku mbeera yaffe ey’eby’omwoyo.

N’olwekyo, kikulu nnyo fenna okugoberera okubuulirira kwa Baibuli kuno: “Onyiikiranga nnyo nnyini okukuumanga omutima gwo; kubanga omwo mwe muva ensulo z’obulamu.”​—Engero 4:23.

Ensonga Ezirongoosa “Ettaka” ly’Omutima Gwaffe

Ka twekkaanye ensonga, oba engeri ezijja okulongoosa “ettaka” ly’omutima gwaffe ne wabaawo okukula obulungi. Kya lwatu waliwo ebintu bingi ebijja okulongoosa omutima gwaffe, naye tujja kwekkaanyaako mukaaga: okutegeera obwetaavu bwaffe obw’eby’omwoyo, obwetoowaze, obwesigwa, okutya Katonda, okukkiriza, n’okwagala.

“Balina essanyu abo abamanyi obwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo,” bw’atyo Yesu bwe yagamba. (Matayo 5:3, NW) Okufaananako ng’enjala bw’etujjukiza obwetaavu bw’okulya, okumanya obwetaavu bwaffe obw’eby’omwoyo kutuleetera enjala y’emmere ey’eby’omwoyo. Mu butonde, abantu beegomba emmere ng’eyo kubanga ewa obulamu bwabwe amakulu n’ekigendererwa. Okunyigirizibwa okuva eri embeera za Setaani ez’ebintu oba okugayaalirira okwesomesa biyinza okukendeeza obwetaavu buno. Wadde kiri kityo, Yesu yagamba: “Omuntu taba mulamu na mmere yokka, wabula na buli kigambo ekiva mu kamwa ka Katonda.”​—Matayo 4:4.

Mu ngeri eya bulijjo, obutayosa kulya mmere erimu ebiriisa byonna, era ezimba omubiri kireetera omubiri okubeera omulamu obulungi, era n’okwesunga ekijjulo ekiddako ng’ekiseera kituuse. Era bwe kiri mu ngeri y’eby’omwoyo. Oyinza obuteerowoozaako ng’omuntu ayagala ennyo okuyiga, naye singa ogifuula mpisa yo okusoma Ekigambo kya Katonda buli lunaku awamu n’ebitabo ebyesigamiziddwa ku Baibuli obutayosa, ojja kukisanga nti okwegomba kwo okw’okulya kweyongera. Mu butuufu ojja kwesunga ebiseera ebyo by’oyigiramu Baibuli. N’olwekyo tolekulira mangu, fuba nnyo okukulaakulanya okwegomba okulya emmere ey’eby’omwoyo.

Obwetoowaze Bugonza Omutima

Obwetoowaze bukulu nnyo mu kutegeka omutima kubanga butufuula abantu abayigirizika era butuyamba okukkiriza amangu okubuulirirwa n’okuwabulwa okw’okwagala. Lowooza ku kyokulabirako ekirungi ekya Kabaka Yosiya. Mu bufuzi bwe ekiwandiiko ekirimu Amateeka ga Katonda agaaweebwa okuyitira mu Musa kyazuulibwa. Yosiya bwe yawulira ebigambo ebiri mu Mateeka era n’ategeera engeri bajjajjaabe gye baawaba okuva ku kusinza okulongoofu, yayuzaamu ebyambalo bye n’akaaba mu maaso ga Yakuwa. Lwaki Ekigambo kya Katonda kyakwata nnyo ku mutima gwa kabaka? Ebyawandiikibwa bigamba nti omutima gwe gwali “mugonvu,” ne yeetoowaza bwe yawulira ebigambo bya Yakuwa. Yakuwa yeetegereza omutima gwa Yosiya omwetoowaze, oguwuliriza era n’amuwa omukisa.​—2 Bassekabaka 22:11, 18-20.

Obwetoowaze bwasobozesa abayigirizwa ba Yesu “abatamanyi kusoma era abataayigirizibwa nnyo” okutegeera n’okukozesa amazima g’eby’omwoyo “abagezi n’abakabakaba” ‘mu mubiri’ ge bataategeera. (Ebikolwa 4:13; Lukka 10:21; 1 Abakkolinso 1:26) Tebaali beetegefu kukkiriza kigambo kya Yakuwa kubanga emitima gyabwe gyakakanyala olw’amalala. Kyewuunyisa nti Yakuwa akyawa amalala?​—Engero 8:13; Danyeri 5:20.

Obwesigwa n’Okutya Katonda

Nnabbi Yeremiya yawandiika nti “omutima mulimba okusinga ebintu byonna, era gulwadde endwadde etewonyezeka: ani ayinza okugumanya?” (Yeremiya 17:9) Obulimba buno bweyoleka mu ngeri nnyingi, gamba nga bwe tubaako bye twekwasa nga tusobezza. Era bweyoleka bwe tubuusa amaaso obunafu obw’amaanyi. Kyokka, obwesigwa bujja kutuyamba okuwangula omutima omulimba nga butuyamba okulabira ddala mu bwesimbu kye tuli tusobole okulongoosaamu. Omuwandiisi wa Zabbuli yayoleka obwesigwa ng’obwo bwe yasaba: “Onkebere, ai Mukama, onkeme; ongezeeko emmeeme yange n’omutima gwange.” Kya lwatu, omuwandiisi wa Zabbuli yali ategese omutima gwe okukkiriza okulongoosebwa n’okugezesebwa Yakuwa, wadde nga kyanditegeezezza okukkiriza nti alina engeri embi asobole okuzivvuunuka.​—Zabbuli 17:3; 26:2.

Okutya Katonda, okutwaliramu ‘okukyawa ekibi,’ kukulu nnyo mu nkola eno ey’okulongoosa. (Engero 8:13) Wadde ng’asiima okwagala kwa Yakuwa n’obulungi bwe, omuntu atya Yakuwa aba akimanyi nti Yakuwa alina obuyinza okubonereza, n’okutta abo abatamugondera. Yakuwa yakiraga nti abo abamutya era bandimugondedde bwe yayogera bw’ati ku Isiraeri: “Singa bakulaakulanya omutima gwabwe okuntya era ne bakwata amateeka gange ennaku zonna, bandirabye ebirungi n’abaana baabwe emirembe gyonna!”​—Ekyamateeka 5:29, NW.

Kya lwatu, ekigendererwa ky’okutya Katonda, si kutufuula bawulize olw’okutya, naye okutuleetera okugondera Kitaffe ow’okwagala, gwe tumanyi nti atufaako nnyo. Mu butuufu, okutya Katonda ng’okwo kuganyula era kuleeta n’essanyu, ebintu ebyeyoleka mu Yesu Kristo kennyini.​—Isaaya 11:3; Lukka 12:5.

Omutima Ogutegekeddwa Guba n’Okukkiriza kwa Maanyi

Omutima ogulina okukkiriza okw’amaanyi gumanyi nti kyonna Yakuwa ky’asaba oba ky’alagira okuyitira mu Kigambo kye kiba kituufu era nga kiganyula ffe. (Isaaya 48:17, 18) Omuntu alina omutima ng’ogwo afuna okumatira kwa maanyi bw’assa mu nkola okubuulira okuli mu Engero 3:5, 6, ezigamba: “Weesigenga Mukama n’omutima gwo gwonna. So teweesigamanga ku kutegeera kwo ggwe: mwatulenga mu makubo go gonna, kale anaaluŋŋamyanga olugendo lwo.” Kyokka, omutima ogutalina kukkiriza, tegwagala kwesiga Yakuwa, naddala singa okukikola kyanditwaliddemu okwefiiriza, gamba ng’obutaluubirira bintu okusobola okwemalira ku bigendererwa eby’Obwakabaka. (Matayo 6:33) N’olwekyo, Yakuwa alina ensonga ennungi okutunuulira omutima ogutalina kukkiriza nga “omubi.”​—Abaebbulaniya 3:12.

Okukkiriza kwe tulina mu Yakuwa kweyoleka mu ngeri nnyingi, nga mw’otwalidde n’ebintu bye tukola mu kyama mu maka gaffe. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku musingi oguli mu Abaggalatiya 6:7: “Temulimbibwanga; Katonda tasekererwa: kubanga omuntu kyonna ky’asiga era ky’alikungula.” Okukkiriza kwe tulina mu musingi guno kujja kweyoleka mu bintu nga firimu ze tulaba, ebitabo bye tusoma, engeri gye tuyigamu Baibuli, era n’okusaba kwaffe. Yee, okukkiriza okw’amaanyi kutuleetera okusiga ‘mu mwoyo’ ekintu ekikulu ennyo mu kutegeka omutima gusobole okukkiriza Ekigambo kya Yakuwa n’okukigondera.​—Abaggalatiya 6:8.

Okwagala​—Engeri Esinga Obukulu

Okusinga engeri endala zonna, okwagala mazima ddala kuleetera omutima gwaffe okukkiriza Ekigambo kya Yakuwa. Bwe kityo, bwe yali akugeraageranya n’okukkiriza n’essuubi, omutume Pawulo yayogera ku kwagala nga ‘okusinga obukulu’ engeri zino. (1 Abakkolinso 13:13) Omutima ogujjudde okwagala Katonda gufuna okumatira kungi n’essanyu olw’okumugondera; era mazima ddala tegwemulugunya Katonda by’atwetaagisa. Omutume Yokaana yagamba: “Kuno kwe kwagala kwa Katonda ffe okukwatanga ebiragiro bye: era ebiragiro bye tebizitowa.” (1 Yokaana 5:3) Ku nsonga y’emu, Yesu yagamba: “Omuntu bw’anjagala, anaakwatanga ekigambo kyange: ne Kitange anaamwagalanga.” (Yokaana 14:23) Weetegereze nti alaga okwagala ng’okwo naye kimuviirako okwagalibwa. Yee, Yakuwa, ayagala nnyo abo abamwagala.

Yakuwa akimanyi nti tetutuukiridde era nti tusobya mu maaso ge buli kiseera. Wadde kiri kityo, tatwesamba. Yakuwa ky’anoonya mu baweereza be gwe ‘mutima ogutuukiridde,’ ogutuleetera okumuweereza kyeyagalire ‘n’emmeeme ensanyufu.’ (1 Ebyomumirembe 28:9) Kya lwatu, Yakuwa akimanyi nti kyetaagisa ekiseera n’okufuba okukulaakulanya engeri ennungi mu mitima gyaffe tusobole okubala ebibala eby’omwoyo. (Abaggalatiya 5:22, 23) N’olwekyo mugumiikiriza gye tuli, “kubanga amanyi omubiri gwaffe; ajjukira nga ffe tuli nfuufu.” (Zabbuli 103:14) Ng’ayoleka endowooza y’emu, Yesu teyavumiriranga bayigirizwa be olw’ensobi zaabwe naye mu bugumiikiriza yabayambanga era n’abazzangamu amaanyi. Okwagala, ekisa, n’obugumiikiriza Yakuwa ne Yesu bye balaga tebikuleetera okweyongera okubaagala ennyo?​—Lukka 7:47; 2 Peetero 3:9.

Singa emirundi egimu okisanga nga kizibu okulekayo emize egisimbye amakanda ng’emirandira gy’omuddo oba okuvvuunuka engeri embi ezaakwata edda ng’ebbumba, toggwaamu maanyi. Mu kifo ky’ekyo fuba okulongoosaamu ‘ng’onyiikirira okusaba,’ nga mw’otwalidde okusaba Yakuwa buli kiseera akuwe omwoyo gwe. (Abaruumi 12:12) Awamu n’obuyambi bwe, okufaananako Ezera ojja kusobola okubeera n’omutima ogutegekeddwa ‘okunoonya amateeka ga Yakuwa n’okugagobereranga.’

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]

Ezera yeemalira ku Katonda wadde ng’ali mu Babulooni

[Ensibuko y’ekifaananyi ekiri ku lupapula 29]

Garo Nalbandian

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share