LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w00 5/1 lup. 29-32
  • Embaga z’Obugole Ezisanyusa era Eziweesa Yakuwa Ekitiibwa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Embaga z’Obugole Ezisanyusa era Eziweesa Yakuwa Ekitiibwa
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Okwewala Ebinyumu
  • Embaga Yesu Gye Yaliko
  • Ani Avunaanyizibwa?
  • Okuteekateeka Obulungi era n’Obutagwa Lubege
  • Amagezi Agasobola Okukuyamba Okuteekateeka Embaga Enaaweesa Yakuwa Ekitiibwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • Yoleka Okukkiriza Kwo mu Ngeri Gye Weeyisaamu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • Embaga z’Abajulirwa ba Yakuwa Ziba Zitya?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bajulirwa ba Yakuwa Abantu Bye Batera Okwebuuza
  • Akasanduuko k’Ebibuuzo
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
w00 5/1 lup. 29-32

Embaga z’Obugole Ezisanyusa era Eziweesa Yakuwa Ekitiibwa

Welsh ne Elthea baafumbiriganwa mu kibuga Soweto, eky’omu South Africa, mu 1985. Buli luvannyuma lw’akabanga baddamu ne bakebera ebifaananyi byabwe eby’embaga nga bali ne kawala kaabwe, Zinzi, ne bejjukanya olunaku olwo olw’essanyu. Zinzi anyumirwa okulaba abagenyi abaali ku mbaga, n’okusingira ddala anyumirwa okulaba ebifaananyi bya maama we eyali ayambadde obulungi ennyo.

EMBAGA yatandika n’emboozi ekwata ku bufumbo eyaweebwa mu kisenge ekikuŋŋaanirwamu mu kibuga Soweto. Oluvannyuma abavubuka Abakristaayo ne bayimba ennyimba ez’amaloboozi amatabule ezitendereza Katonda. Oluvannyuma lw’ekyo, abagenyi baafuna ekijjulo ng’eno bwe bawuliriza obuyimba obuseneekerevu obw’Obwakabaka. Tebaagabula bitamiiza, era tewaaliwo nnyimba mu maloboozi aga waggulu wadde amazina. Mu kifo ky’ekyo, abagenyi banyumirwa okubeera awamu era ne bayozaayoza abafumbiriganiddwa. Bino byonna byatwala essaawa nga ssatu. “Yali mbaga endeetera essanyu buli lwe ngijjukira” bw’atyo Raymond, omukadde mu kibiina Ekikristaayo, bw’agamba.

Mu kiseera embaga yaabwe we yabeererawo, Welsh ne Elthea baali bakozi bannakyewa ku ttabi lya Watch Tower Bible and Tract Society ery’omu South Africa. Baali basobola kukola mbaga ntonotono. Abakristaayo abamu basazewo okuleka obuweereza obw’ekiseera kyonna bafune emirimu eginaabasobozesa okukola embaga gagadde. Naye, Welsh ne Elthea tebejjusa n’akatono olw’okusalawo okukola embaga entonotono kubanga yabasobozesa okweyongera okuweereza ng’abaweereza ba Katonda ab’ekiseera kyonna okutuuka Zinzi lwe yazaalibwa.

Naye, kiba kitya singa abafumbiriganwa basalawo okuba n’ennyimba ez’ensi era n’amazina ku mbaga yaabwe? Kiba kitya singa basalawo okugabula wayini oba eby’okunywa ebirala ebitamiiza? Kiba kitya singa basobola okukola embaga ennene? Banaakakasa batya nti omukolo ogwo gunaabeera gwa ssanyu ogusaanira abasinza ba Katonda? Ebibuuzo ng’ebyo byetaaga okwetegereza obulungi, kubanga Baibuli eragira nti: ‘Oba nga mulya oba nga munywa oba nga mukola ekintu kyonna kyonna mukolenga byonna olw’ekitiibwa kya Katonda.’​—1 Abakkolinso 10:31.

Okwewala Ebinyumu

Kizibu okulowooza ku mbaga eteriimu ssanyu. Naye, waliwo akabi ak’amaanyi ak’okugwa olubege amasanyu ne gasukkirira. Ku mbaga nnyingi ezitali za Bajulirwa, ebeerayo ebintu ebikolebwa bingi ebitaweesa Katonda kitiibwa. Ng’ekyokulabirako, okunywa omwenge okutuukira ddala ku kutamiira kya bulijjo. Eky’ennaku, kino kibaddewo ne ku mbaga ezimu ez’Abakristaayo.

Baibuli erabula nti “ekitamiiza muleekaanyi.” (Engero 20:1) Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekikyusiddwa “muleekaanyi” kitegeeza “okuleekaanira waggulu.” Bwe kibeera nti omwenge guyinza okuleekaanya omuntu omu, lowooza ku kye guyinza okukola ekibiina ky’abantu ekinene abakuŋŋaanye awamu era ne banywa nnyo! Kya lwatu, emikolo ng’egyo giyinza okuvaamu “obutamiivu, ebinyumu n’ebiringa ebyo,” ebyogerwako mu Baibuli nga “ebikolwa by’omubiri.” Ebikolwa ng’ebyo biyinza okusubya omuntu yenna ateenenya okusikira obulamu obutaggwaawo wansi w’obufuzi bw’Obwakabaka bwa Katonda.​—Abaggalatiya 5:19-21.

Ekigambo ky’Oluyonaani ekikyusibwa “ebinyumu” kyakozesebwa okwogera ku bavubuka abatamiddemu abagenda baleekaanira mu kkubo nga bayimba, nga bazina, era nga bakuba n’ebivuga. Singa omwenge gunywebwa awatali kukugirwa kwonna ku mbaga, era singa wabeerawo ebivuga ebireekaana, era n’amazina ag’ekigwenyufu, wabaawo akabi nti omukolo ogwo gujja kubeera ng’ekinyumu. Mu mbeera ng’eyo, abanafu mu by’omwoyo bayinza okugwa mu kukemebwa era ne bakola ebikolwa ebirala eby’omubiri nga ‘obukaba, obugwenyufu, obugwagwa, n’okuyomba.’ Kiki ekiyinza okukolebwa okuziyiza ebikolwa ng’ebyo eby’omubiri okumalawo essanyu ku mbaga ey’Ekikristaayo? Okusobola okuddamu ekibuuzo ekyo, ka twekenneenye Baibuli ky’eyogera ku mbaga emu eyaliwo.

Embaga Yesu Gye Yaliko

Yesu n’abayigirizwa be baayitibwa okubeerawo ku mbaga e Kaana eky’omu Ggaliraaya. Bakkiriza okubaawo, era Yesu alina kye yakola okwongera ku ssanyu ly’omukolo ogwo. Omwenge bwe gwaggwaawo, mu ngeri ey’eky’amagero yakolayo omulala omulungi ennyo. Awatali kubuusabuusa ogwafikkawo gwakozesebwa omugole omusajja n’ab’omu maka ge okumala ekiseera oluvannyuma lw’embaga.​—Yokaana 2:3-11.

Waliwo eby’okuyiga ebiwerako bye tuyinza okufuna okuva ku mbaga eyo Yesu gye yaliko. Okusookera ddala, Yesu n’abayigirizwa be embaga tebagigwamu bugwi. Baibuli eraga bulungi nti baayitibwa. (Yokaana 2:1, 2) Mu ngeri y’emu, mu ngero bbiri ezikwata ku mbaga z’obugole, Yesu yagamba nti abagenyi abaaziriko baali bayitiddwa.​—Matayo 22:2-4, 8, 9; Lukka 14: 8-10.

Mu nsi ezimu omuntu yenna mu kitundu aba wa ddembe okubeerawo ku mbaga y’obugole, ka kibeere nti ayitiddwa oba nedda. Kyokka, kino kiyinza okuleetawo obuzibu bw’eby’ensimbi. Abagenda okufumbiriganwa bwe bataba bagagga bayinza okugwa mu mabanja okusobola okukakasa nti wanaabaawo eby’okulya n’eby’okunywa ebinaamala abantu abangi abatamanyiddwa muwendo abanaabaawo. N’olwekyo, singa Abakristaayo abagenda okufumbiriganwa basalawo okuyita abantu batono ku mbaga yaabwe, kino kirina okussibwamu ekitiibwa Bakristaayo bannaabwe ababa tebayitiddwa. Omusajja omu eyawasizza mu kibuga Cape Town, eky’omu South Africa, ajjukira nti yayita abagenyi 200 ku mbaga ye. Naye, 600 be bajja, era eby’okulya byaggwaawo mangu ddala. Mu abo abaali batayitiddwa mwalimu bbaasi nnamba eyali ekubyeko abagenyi abaali bazze okulambula Cape Town ku wiikendi embaga we yabeererawo. Kondakita wa bbaasi eno ey’abalambuzi yalina oluganda ku mugole omukazi, era yalowooza nti wa ddembe okuleeta abantu abo bonna nga tamaze na kwebuuza ku mugole omusajja oba omukazi!

Okuggyako nga buli omu ayitiddwa, omugoberezi wa Yesu ow’amazima yandyewaze okubeera ku kugabula kw’abagole nga tayitiddwa era n’okulya ku mmere oba okunywa eby’okunywa ebiweereddwa abagenyi abayite. Abo abaagala okugendayo nga tebayitiddwa basaanidde okwebuuza nti, ‘Okubeerawo kwange ku mbaga eno tekuube butalaga kwagala abaakafumbiriganwa? Siibakaluubirize era ne mmalawo essanyu ery’omukolo ogwo? Mu kifo ky’okunyiiga olw’obutayitibwa, Omukristaayo ayoleka okutegeera, mu ngeri ey’okwagala yandiweerezza obubaka obuyozayoza abafumbiriganye era n’abaagaliza emikisa gya Yakuwa. Era ayinza n’okulowooza ku kubaweerezaayo ekirabo okusobola okwongera ku ssanyu lyabwe ku lunaku lw’embaga.​—Omubuulizi 7:9; Abaefeso 4:28.

Ani Avunaanyizibwa?

Mu bitundu ebimu ebya Afirika, kya bulijjo ab’eŋŋanda okutwala obuvunaanyizibwa bw’okuteekateeka embaga. Abagenda okufumbiriganwa kino bayinza okukisanyukira, okuva bwe kibawewulako ku buvunaanyizibwa obw’eby’ensimbi. Era bayinza okulowooza nti kino kibaggyako obuvunaanyizibwa obw’ekintu kyonna ekinaabeerawo. Kyokka, nga tebannakkiriza buyambi bwonna okuva eri ab’eŋŋanda abaagala okuyamba, abagenda okufumbiriganwa balina okubeera abakakafu nti bye baagala binassibwamu ekitiibwa.

Wadde nga Yesu yali Mwana wa Katonda ‘eyava mu ggulu,’ tewaliwo kiraga nti yatwala obuvunaanyizibwa era n’awa ebiragiro ku byonna ebyali birina okukolebwa ku mbaga e Kaana. (Yokaana 6:41) Okwawukana ku ekyo, Baibuli eraga nti waliwo omuntu omulala eyali alondeddwa okukola nga “omugabuzi w’embaga.” (Yokaana 2:8) Omusajja ono, yali avunaanyizibwa eri omutwe gw’amaka omuppya, kwe kugamba omugole omusajja.​—Yokaana 2:9, 10.

Ab’eŋŋanda Abakristaayo balina okussa ekitiibwa mu mutwe gw’amaka amappya alondeddwa Katonda. (Abakkolosaayi 3:18-20) Y’alina okutwala obuvunaanyizibwa ku buli kimu ekikolebwa ku mbaga ye. Kya lwatu, omugole omusajja tasaanidde kubeera mukakanyavu era bwe kiba kisoboka, aleme kusuula muguluka omugole omukazi by’ayagala, bazadde be, ne bakoddomi be. Naye era, singa ab’eŋŋanda bafunvubirira ku ky’okukola entegeka ezikontana n’ekyo abagenda okufumbiriganwa kye baagala, olwo nno, abagenda okufumbiriganwa bayinza okugaana obuyambi bwabwe era ne beekolera embaga yaabwe bokka entonotono. Mu ngeri eno, tewajja kubaawo kikyamu kikolebwa abagenda okufumbiriganwa kye banajjukiranga. Ng’ekyokulabirako, ku mbaga emu ey’Ekikristaayo mu Afirika, omu ku b’eŋŋanda atali mukkiriza eyakola nga kalabalaba yakola ekikolwa eky’okusinza abafu!

Emirundi egimu abafumbiriganiddwa bavaawo ng’embaga tennaggwa. Mu mbeera ng’eyo, omugole omusajja alina okukola enteekateeka wabeewo abantu ab’obuvunaanyizibwa abanaakakasa nti emitindo gya Baibuli gikuumibwa era nti omukolo guggwa mu kiseera ekisaanidde.

Okuteekateeka Obulungi era n’Obutagwa Lubege

Mu butuufu, waaliwo eby’okulya bingi ebirungi ku mbaga Yesu gye yagendako, kubanga Baibuli egyogerako ng’embaga y’obugole. Nga bwe twalabye, era waaliwo n’omwenge mungi. Awatali kubuusabuusa, waaliwo ennyimba ezisaanidde era n’amazina ag’ekitiibwa kubanga bino byateranga okubeera ku mikolo gy’Abayuddaaya egy’okwesanyusaamu. Kino Yesu yakiraga mu lugero lwe olwatiikirivu olw’omwana omujaajaamya. Taata omugagga ayogerwako mu lugero olwo yasanyukira nnyo okudda kw’omwana we eyali yenenyeza era n’agamba nti: “Tulye, tusanyuke.” Okusinziira ku Yesu, embaga eyo yaliko “eŋŋoma n’amazina.”​—Lukka 15:23, 25.

Kyokka, Baibuli teyogera ku bivuga n’amazina ku mbaga y’e Kaana. Mu butuufu, amazina tegoogerwako mu mbaga yonna eyogerwako mu Baibuli. Kirabika nti, mu baweereza ba Katonda abeesigwa ab’omu biseera bya Baibuli, okuzina kwabanga kwa lumu na lumu so si ekintu ekikulu ennyo ku mbaga zaabwe. Waliwo kye tuyinza okuyiga mu kino?

Ku mbaga ezimu ez’Ekikristaayo mu Afirika, ebivuga eby’amaloboozi ag’amaanyi bikozesebwa. Ennyimba ziyinza okuba mu maloboozi aga waggulu ennyo abagenyi ne balemererwa n’okunyumya obulungi. Ebiseera ebimu eby’okulya biyinza okuba ebitono naye go amazina nga mangi ddala awatali kukugirwa kwonna. Mu kifo ky’okubeera embaga y’obugole, emikolo ng’egyo giyinza okufuulibwa egy’amazina. Okwongereza ku ekyo, ebivuga eby’amaloboozi aga waggulu bitera okusikiriza abakozi b’ebibi, abantu abajja nga tebayitiddwa.

Okuva Baibuli bw’etassa ssira ku bivuga na mazina ng’eyogera ku mbaga, kino tekyandiwadde obulagirizi abagenda okufumbiriganwa okuteekateeka embaga eneeweesa Yakuwa ekitiibwa? Kyokka, embaga eziwerako ezaali ziteekebwateekebwa gye buvuddeko awo mu Afirika ow’omu bukiika kkono, abavubuka Abakristaayo abaalondebwa okubeera abamu ku mperekeze z’omugole omukazi baatwala ebiseera bingi nga beegezaamu bwe banaazina. Okumala emyezi ebiseera byabwe bingi byaweebwayo ku ekyo. Naye Abakristaayo balina “okwegulira ebiseera” okukola ‘ebintu ebisinga obukulu,’ gamba ng’omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi, okweyigiriza bokka, n’okubeerawo mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo.​—Abaefeso 5:16; Abafiripi 1:10.

Okusinziira ku bungi bw’omwenge Yesu gwe yakola, kirabika ng’embaga y’omu Kaana yali nnene. Naye tuyinza okubeera abakakafu nti tewaaliwo kuleekaana era nti abagenyi tebaakozesa bubi eby’okunywa ebitamiiza nga bwe kyabanga ku mbaga ezimu ez’Ekiyudaaya. (Yokaana 2:10) Tuyinza tutya okukakasa kino? Kubanga Mukama waffe Yesu Kristo yaliwo. Mu bantu bonna, Yesu ye yandibadde asingirayo ddala okubeera omwegendereza mu kugondera ekiragiro kya Katonda ekikwata ku mikwano emibi. “Tobanga ku muwendo gw’abo abeekamirira omwenge.”​—Engero 23:20.

N’olw’ensonga eyo, singa abagenda okufumbiriganwa basalawo okugabula wayini oba ebitamiiza ebirala ku mbaga yaabwe, balina okukola enteekateeka birabirirwe butiribiri abantu ab’obuvunaanyizibwa. Era singa basalawo okubeera n’ennyimba, balina okulonda ezo ezisaana era bafune omuntu ow’obuvunaanyizibwa anaalabirira eby’amaloboozi. Abagenyi tebalina kukkirizibwa kutwala buvunaanyizibwa ku mbaga n’okuteekako ennyimba ezitasaana oba okwongeza amaloboozi okutuuka ku kigero ekitasaana. Singa wanaabeerawo amazina, gayinza okutandikibwa mu ngeri eweesa ekitiibwa ate mu ngeri esaanira. Singa ab’eŋŋanda abatali bakkiriza oba Abakristaayo abatannakula mu by’omwoyo batandika okuzina mu ngeri embi oba etesaana, kiyinza okwetaagisa omugole omusajja okukyusa ekika ky’ennyimba ekyo oba mu ngeri ey’amagezi okusaba amazina gakomezebwe. Bwe kitaba kityo embaga eyinza okwonooneka oba okwesittaza.​—Abaruumi 14:21.

Olw’akabi akali mu bika by’amazina agamu ag’ennaku zino, ennyimba ez’amaloboozi ag’awaggulu, n’omwenge okubeera ogw’ejjenjeero, abagole abasajja Abakristaayo bangi basazewo obutabeera na bintu ebyo ku mbaga zaabwe. Abamu boogeddwako bubi olw’ekyo, naye bandibadde basiimibwa olw’okufuba okwewala ekintu kyonna ekiyinza okuvumisa erinnya lya Katonda ettukuvu. Ku luuyi olulala, abagole abasajja abamu bateekateeka ennyimba ezisaana, ekiseera eky’okuzinirako, n’okugabula omwenge mu kigero ekisaana. Mu buli ngeri, omugole omusajja avunaanyizibwa olw’ebyo byonna by’akkiriza okukolebwa ku mbaga ye.

Mu Afirika abamu abatannakula mu bya mwoyo banyooma embaga ez’ekitiibwa ez’Ekikristaayo era ne bagamba nti kifaananako n’okubeera ku kuziika. Naye, endowooza eyo eba egudde olubege. Ebikolwa ebibi eby’omubiri biyinza okuleetawo essanyu ery’akaseera obuseera, naye birekera Abakristaayo omuntu ow’omunda omubi era ne bivumisa erinnya lya Katonda. (Abaruumi 2:24) Ku luuyi olulala, omwoyo gwa Katonda omutukuvu guleeta essanyu erya nnamaddala. (Abaggalatiya 5: 22) Abakristaayo bangi abafumbo bajjukira n’essanyu olunaku lw’embaga yaabwe, nga bamanyi nti gwali mukolo gwa ssanyu so si ‘ogwesittaza.’​—2 Abakkolinso 6:3, NW.

Welsh ne Elthea bakyajjukira ebigambo bingi ebirungi ebyayogerwa ab’eŋŋanda zaabwe abatali bakkiriza abaaliwo ku mbaga yaabwe. Omu yagamba: “Tukooye embaga ezikolebwa mu biseera bino ezirimu okuleekaana. Kyatusanyusa nnyo okubeera ku mbaga etegekeddwa obulungi.”

Ekisinga obukulu, embaga ez’Ekikristaayo ezisanyusa era ez’ekitiibwa zigulumiza oyo Eyatandikawo obufumbo, Yakuwa Katonda.

[Akasanduuko/​Ekifaananyi ekiri ku lupapula 32]

EBY’OKWETEGEREZA NG’OTEGEKA EMBAGA

• Singa oyita omu ku b’eŋŋanda zo atali mukkiriza okubaako ky’ayogera, oli mukakafu nti taaleetewo bulombolombo obutali bwa Kikristaayo?

• Singa ennyimba zinaakozesebwa, olonzemu ezo zokka ezisaanidde?

• Ennyimba zinaateekebwako mu ddoboozi erisaanira?

• Amazina bwe gabaawo ganaazinibwa mu ngeri ey’ekitiibwa?

• Omwenge gunaagabibwa mu kigero ekisaanira?

• Abantu ab’obuvunaanyizibwa banaalabirira engabula yaagwo?

• Olonze ekiseera ekituufu embaga w’enaggweera?

• Abantu ab’obuvunaanyizibwa banaabeerawo okulaba nti waliwo obutebenkevu okutuukira ddala ku nkomerero y’embaga?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share