LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 11/08 lup. 3
  • Akasanduuko k’Ebibuuzo

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Akasanduuko k’Ebibuuzo
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
  • Similar Material
  • Amagezi Agasobola Okukuyamba Okuteekateeka Embaga Enaaweesa Yakuwa Ekitiibwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • Embaga z’Obugole Ezisanyusa era Eziweesa Yakuwa Ekitiibwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Embaga ez’Ekitiibwa mu Maaso ga Katonda n’Abantu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • Embaga z’Abajulirwa ba Yakuwa Ziba Zitya?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bajulirwa ba Yakuwa Abantu Bye Batera Okwebuuza
See More
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
km 11/08 lup. 3

Akasanduuko k’Ebibuuzo

◼ Abagenda okufumbiriganwa bwe baba baagala okukozesa Ekizimbe ky’Obwakabaka, biki bye balina okukubaganyaako ebirowoozo n’abakadde?

Embaga ezitegekebwa mu ngeri etuukagana n’emisingi gya Baibuli ziweesa Yakuwa ekitiibwa naddala singa ziba mu Kizimbe ky’Obwakabaka, okuva bwe kiri nti abantu bakimanyi nti byonna ebikolebwa mu kifo ekyo birina akakwate n’okusinza kwaffe. ‘Ebintu byonna okusobola okukolebwa mu ngeri esaanira era entegeke obulungi,’ kiba kirungi abakadde ne bakubaganya ebirowoozo n’abo abaagala okukolera embaga yaabwe mu Kizimbe ky’Obwakabaka.​—1 Kol. 14:40.

Abaagala okufumbiriganwa bwe baba baagala okukozesa Ekizimbe ky’Obwakabaka basaanidde okuwandiikira akakiiko k’obuweereza ak’ekibiina ekikozesa Ekizimbe ky’Obwakabaka ekyo. Basaanidde okuweereza ebbaluwa eyo nga bukyali n’okulaga ennaku z’omwezi n’ekiseera we baagalira okukozesa Ekizimbe ky’Obwakabaka. Basaanidde okukijjukira nti abakadde tebajja kukyusakyusa mu nteekateeka y’enkuŋŋaana z’ekibiina olw’okusobozesa embaga eyo okubaawo. Ate era, abo abagenda okufumbiriganwa balina okuba nga beeyisa mu ngeri etuukana n’emisingi gya Baibuli era nga bagoberera emitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu.

Okusobola okukakasa nti omukolo ogwo guweesa Katonda ekitiibwa, abo abagenda okufumbiriganwa basaanidde okukubaganya ebirowoozo n’akakiiko k’ekibiina ak’obuweereza ng’enteekateeka zonna ez’embaga yaabwe tezinnamalirizibwa. Wadde ng’abakadde tebajja kukakaatika ndowooza zaabwe ku abo abagenda okufumbiriganwa, singa ebimu ku ebyo ebiteekebwateekebwa okubaawo ku mbaga eyo biba tebisaanira, enkyukakyuka zisaanidde okukolebwa. Ennyimba z’Obwakabaka eziri ku ntambi oba ezo eziri mu katabo kaffe ak’ennyimba, ze zokka ezisaanidde okukozesebwa. Okutimba Ekizimbe ky’Obwakabaka n’engeri entebe gye zijja okutegekebwamu birina okusooka okukkirizibwa abakadde. Bwe kiba nti wajja kubaawo okukuba ebifaananyi oba okukwata vidiyo, ekyo kisaanidde okukolebwa mu ngeri eweesa omukolo ekitiibwa. Abakadde basobola okukkiriza Ekizimbe ky’Obwakabaka okukozesebwa mu kwegezaamu kasita kiba nga tekitaataaganya nteekateeka za kibiina. Ebirango ebiyita abantu ku mbaga tebirina kuteekebwa mu kifo awatimbibwa amabaluwa g’ekibiina. Wadde kiri kityo, mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza, abakadde bayinza okutegeeza ekibiina mu bufunze nti wajja kubaawo embaga mu Kizimbe ky’Obwakabaka ekyo.

Wadde nga tekiri nti abo bonna abanaabeera emperekeze oba abo abanaayamba ku mugole omusajja n’omukazi balina kuba nga babatize, tekisaanira kukozesa bantu abalina empisa ezimenya emisingi gya Baibuli era nga bayinza okwesittaza abo abanaabeera ku mukolo. Bwe kiba kisoboka, emboozi ekwata ku kufumbiriganwa esaanidde kuweebwa mukadde. Okuva bwe kiri nti abakadde balina obumanyirivu mu kuyigiriza Ekigambo kya Katonda, basobola bulungi okunnyonnyola emisingi gya Baibuli egikwata ku mukolo guno. (1 Tim. 3:2) Oyo amateeka gwe gakkiriza okugatta abagole y’asaanidde okubalayiza.

Oyo agatta abagole asaanidde okutegeezebwa nga bukyali ku nteekateeka z’embaga, okuva bwe kiri nti omukolo ogwo gulina engeri gye gukwata ku linnya lye. Omukadde oyo ajja kwogerako n’abo abagenda okufumbiriganwa asobole okutegeera engeri gye beeyisaamu mu kiseera kye baamala nga boogerezeganya; tebasaanidde kumukweeka kintu kyonna. Bwe kiba nti omu ku abo abagenda okufumbiriganwa yafumbirwako oba yawasaako, asaanidde okuwa obukakafu obulaga nti mu Byawandiikibwa ne mu mateeka ga gavumenti akkirizibwa okuddamu okufumbiriganwa n’omuntu omulala. (Mat. 19:9) Kino kiyinza okuzingiramu okulaga omukadde ebbaluwa eraga nti baagattululwa mu mateeka.

Abo abagenda okufumbiriganwa bwe bakolagana obulungi n’abakadde, omukolo gw’embaga gujja kuba gwa ssanyu eri bonna.​—Nge. 15:22; Beb. 13:17.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share