EKITUNDU EKY’OKUSOMA 51
OLUYIMBA 132 Tufuuse Muntu Omu
Amagezi Agasobola Okukuyamba Okuteekateeka Embaga Enaaweesa Yakuwa Ekitiibwa
“Ebintu byonna bikolebwe mu ngeri esaanira era entegeke obulungi.”—1 KOL. 14:40.
EKIGENDERERWA
Tugenda kulaba amagezi agasobola okuyamba Abakristaayo abagenda okufumbiriganwa okuteekateeka embaga enaaweesa Yakuwa ekitiibwa.
1-2. Yakuwa ayagala owulire otya ku lunaku lw’embaga yo?
OMAZE ebbanga ng’olina gw’oyogerezeganya naye era muteekateeka mbaga? Bwe kiba kityo, oteekwa okuba nga weesunga nnyo olunaku lwo olw’embaga, era olina bingi by’okola okugiteekateeka. Yakuwa ayagala onyumirwe olunaku lwo olw’embagaa era mubeere basanyufu ekiseera kyonna mu bufumbo bwammwe.—Nge. 5:18; Luy. 3:11.
2 Kikulu nnyo okukakasa nti embaga yo eweesa Yakuwa ekitiibwa. Lwaki, era ekyo oyinza kukikola otya? Wadde ng’ekitundu kino okusingira ddala kikwata ku abo abagenda okufumbiriganwa era nga bateekateeka embaga, emisingi egikirimu gisobola okutuyamba ffenna okuweesa Yakuwa ekitiibwa singa tuba tuyitiddwa ku mbaga, oba singa wabaawo atusaba okumuwa ku magezi ng’ateekateeka embaga.
ENSONGA LWAKI EMBAGA YO ESAANIDDE OKUWEESA YAKUWA EKITIIBWA
3. Kiki Abakristaayo abateekateeka okufumbiriganwa kye basaanidde okulowoozaako nga bateekateeka embaga, era lwaki?
3 Abakristaayo abateekateeka okufumbiriganwa bwe baba bateekateeka embaga yaabwe, basaanidde okugoberera emisingi Yakuwa gye yatuwa egiri mu Bayibuli. Lwaki? Kubanga Yakuwa ye yatandikawo obufumbo. Ye yateekateeka embaga eyasooka, bwe yagatta Adamu ne Kaawa ne bafuuka omwami n’omukyala. (Lub. 1:28; 2:24) N’olwekyo abo abateekateeka okufumbiriganwa bwe baba bateekateeka embaga, basaanidde okuteekateeka embaga eweesa Yakuwa ekitiibwa.
4. Nsonga ki endala eyandireetedde abo abagenda okufumbiriganwa okuweesa Yakuwa ekitiibwa ku lunaku lwabwe olw’embaga?
4 Olina ensonga ennungi ekuleetera okuweesa Yakuwa ekitiibwa ku lunaku lw’embaga yo, era ensonga eyo y’eno: Yakuwa ye Kitaawo ow’omu ggulu, era ye Mukwano gwo asingayo. (Beb. 12:9) Awatali kubuusabuusa oyagala okweyongera okubeera n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa. Tewandyagadde kintu kyonna ekisobola okunyiiza Yakuwa kubeerawo ku lunaku lw’embaga yo oba ku lunaku olulala lwonna. (Zab. 25:14) Bw’olowooza ku bintu byonna Yakuwa by’akukoledde n’ebyo by’ajja okukukolera mu biseera eby’omu maaso, wandifubye okukiraga nti osiima ng’okakasa nti embaga yo emuweesa ekitiibwa.—Zab. 116:12.
BY’OYINZA OKUKOLA OKUWEESA YAKUWA EKITIIBWA
5. Bayibuli eyinza etya okuyamba Abakristaayo abateekateeka embaga?
5 Bayibuli tewa lukalala lw’amateeka ku ngeri Abakristaayo gye basaanidde okuteekateekamu embaga, oba ebyo bye basaanidde okukola nga basembeza abagenyi baabwe oluvannyuma lw’okugattibwa. Abo abagenda okufumbiriganwa basobola okuteekateeka embaga yaabwe okusinziira ku mbeera yaabwe, obuwangwa bw’omu kitundu, oba ebyo bye baagala. Ate era Abakristaayo ab’amazima basaanidde okugondera amateeka ga gavumenti agakwata ku bufumbo. (Mat. 22:21) Wadde kiri kityo, Abakristaayo bwe bateekateeka embaga nga basinziira ku misingi gya Bayibuli, baweesa Yakuwa ekitiibwa era bamusanyusa. Misingi ki egya Bayibuli gye basaanidde okulowoozaako?
6. Lwaki kikulu abo abagenda okufumbiriganwa okugondera amateeka ga gavumenti agakwata ku bufumbo?
6 Gondera amateeka ga gavumenti. (Bar. 13:1, 2) Mu nsi nnyingi, gavumenti zissaawo amateeka abo abaagala okufumbiriganwa ge basaanidde okugoberera. Abakristaayo abaagala okufumbiriganwa balina okumanya amateeka g’omu nsi mwe babeera agakwata ku bufumbo. Bw’oba tomanyi bulungi bikwata mu mateeka ago, osobola okusaba abakadde okukuyamba.b
7. Ebimu ku ebyo abagenda okufumbiriganwa bye basaanidde okulowoozaako bye biruwa?
7 Kakasa nti embaga yo eweesa ekitiibwa. (1 Kol. 10:31, 32) Ku mbaga yo kakasa nti ebintu ebikolebwa biraga nti okulemberwa omwoyo gwa Katonda so si mwoyo gwa nsi. (Bag. 5:19-26) Olw’okuba omugole omusajja y’aba agenda okufuuka omutwe gw’amaka agaba ganaatera okutandikibwawo, y’avunaanyizibwa okukakasa nti omukolo gw’embaga guba gwa ssanyu era nga guweesa ekitiibwa. Kiki ekisobola okumuyamba? Kwe kuba n’okwogera okwesigamiziddwa ku Bayibuli okukwata ku bufumbo. Bwe kuweebwa mu ngeri ey’ebbugumu, ey’okwagala, era eweesa omukolo ogwo ekitiibwa, kiyamba abo bonna abaliwo okusiima enteekateeka ya Katonda ey’obufumbo. Ate era kibayamba okutwala omukolo ogwo nga mukulu nnyo. Bwe kityo, Abakristaayo bangi basalawo okufuna okwogera okwo ku Kizimbe ky’Obwakabaka bwe kiba kisoboka. Bw’oba oyagala okukozesa Ekizimbe ky’Obwakabaka, osaanidde okuwandiikira abakadde n’obasaba nga wakyabulayo ekiseera.
8. Bwe kiba nti onoosembeza abagenyi bo oluvannyuma lw’okugattibwa, biki by’osaanidde okulowoozaako? (Abaruumi 13:13)
8 Soma Abaruumi 13:13. Bw’osalawo okusembeza abagenyi bo oluvannyuma lw’okugattibwa, biki by’osaanidde okukola okukakasa nti omukolo gwo tegwoleka mwoyo gwa nsi? Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa “ebinyumu,” kyakozesebwanga ku bubaga oba ebivvulu ebyabeerangako abantu nga banywa omwenge omungi, era nga bawuliriza ennyimba okutuukira ddala mu matumbi budde. (Laba “ebinyumu,” study note ku Abaruumi 13:13.) Bw’oba onoogabula omwenge ku mbaga yo, kakasa nti abantu tebanywa mwenge mungi.c Bwe kiba nti oteeseteese abagenyi bo bawulirize ennyimba, kakasa nti amaloboozi si ga waggulu nnyo kibasobozese okunyumya. Beera mwegendereza ng’olonda ekika ky’ennyimba ezinaakubibwa, era weetegereze ebigambo byazo zireme okwesittaza abalala.
9. Biki abo abagenda okufumbiriganwa bye basaanidde okulowoozaako bwe kituuka ku ebyo ebirina okwogerwa oba eby’okwesanyusaamu ebinaaba ku mukolo gwabwe?
9 Mu bitundu ebimu, abagole bayinza okulondayo ab’eŋŋanda oba ab’emikwano okubaako bye boogera. Ate era, ku mbaga ezimu kubaako ebifaananyi ebiraga abagole oba vidiyo eziraga abagole, era kubaako n’ebintu ebirala ebisanyusa. Ebintu ebyo bisobola okuleetera omukolo okuba omulungi. Wadde kiri kityo, kakasa nti ebyo ebyogerwa oba ebiragibwa bizimba. (Baf. 4:8) Weebuuze: ‘Ebyo ebinaayogerwa oba ebinaalagibwa binaaweesa abalala ekitiibwa? Binaaweesa enteekateeka y’obufumbo ekitiibwa?’ N’ekisinga obukulu weebuuze: ‘Binaaweesa Yakuwa ekitiibwa?’ Wadde nga si kikyamu okwogera ebigambo ebisesa, abo abaliko bye bagenda okwogera basaanidde okwewala okwogera ebigambo ebitasaana oba ebyekuusa ku by’okwegatta. (Bef. 5:3) Kakasa nti abo b’olonze okubaako bye boogera ekyo bakimanyi bulungi.
10. Lwaki abo abagenda okufumbiriganwa basaanidde okwewala okwejalabya? (1 Yokaana 2:15-17)
10 Weewale okwejalabya. (Soma 1 Yokaana 2:15-17.) Yakuwa asiima nnyo bw’alaba ng’abaweereza be bafuba okumuweesa ekitiibwa, mu kifo ky’okukola ebyo ebireetera abalala okubassaako ebirowoozo. Abakristaayo abeetoowaze beewala “okweraga” nga bateekateeka emikolo gyabwe. Emu ku ngeri gye bakikolamu kwe kwewala okwejalabya n’okusaasaanya ssente ezisukkiridde. Onooganyulwa otya bw’onookola embaga etali ya kwejalabya? Lowooza ku w’oluganda Mike, abeera mu Norway. Agamba nti: “Twewala amabanja era ekyo kyatusobozesa okweyongera okuweereza nga bapayoniya. Wadde ng’embaga yaffe teyali ya kwejalabya yali nnungi nnyo era waliwo ebintu ebirungi bingi bye tukyagijjukirako.” Ate ye mwannyinaffe Tabitha, ow’omu Buyindi agamba nti: “Olw’okuba twakola omukolo omutonotono, tetwalina bintu bingi bitweraliikiriza. Tetwalina bintu bingi bya kuteekateeka, era tewaaliwo bingi biyinza kutuleetera butakkaanya.”
Abakristaayo ka babe nga babeera mu nsi ki, basobola okukola embaga ey’essanyu, eweesa Yakuwa ekitiibwa, era gye bajja okujjukiranga (Laba akatundu 10-11)
11. Biki abagenda okufumbiriganwa bye basaanidde okulowoozaako bwe kituuka ku kwambala n’okwekolako? (Laba n’ebifaananyi.)
11 Omaze okusalawo ky’onooyambala? Awatali kubuusabuusa ku lunaku lw’embaga yo oyagala okulabika mu ngeri esingayo obulungi. Ne mu biseera eby’edda, abagole baafangayo nnyo ku ngeri gye baalabikangamu. (Is. 61:10) Kyo kituufu nti by’ogenda okwambala ku mbaga yo biyinza okwawukana ku ebyo by’oyambala ku nnaku endala, naye birina okuba nga biweesa omukolo ekitiibwa. (1 Tim. 2:9) Ebyo bye munaayambala n’engeri gye muneekolako tebisaanidde kuleetera bagenyi bammwe kubamalirako nnyo birowoozo.—1 Peet. 3:3, 4.
12. Lwaki abo ababa bagenda okufumbiriganwa basaanidde okwewala obulombolombo obukontana ne Bayibuli obukolebwa mu kitundu kyabwe?
12 Weewale obulombolombo obukontana n’ebyawandiikibwa. (Kub. 18:4) Embaga nnyingi mu nsi leero zibaako ebintu eby’esigamiziddwa ku njigiriza ez’ekikaafiiri, eby’obusamize, oba obulombolombo obulala. Yakuwa atukubiriza okwewala ebintu ng’ebyo ebitali birongoofu. (2 Kol. 6:14-17) Bwe kiba nti mu kitundu kyammwe waliwo obulombolombo bwe mutategeera bulungi, mubunoonyerezeeko era mukozese emisingi gya Bayibuli nga musalawo biki ebinaakolebwa ku mbaga yammwe.
13. Abo abagenda okufumbiriganwa bayinza batya okukoppa endowooza Yakuwa gy’alina ku birabo?
13 Mu bitundu ebimu omuntu bw’ayitibwa ku mbaga asuubirwa okubaako ekirabo ky’awa abagole. Kya lwatu, ekirabo omuntu ky’awaayo kisinziira ku mbeera ye ey’eby’enfuna. Abakristaayo bakubirizibwa okugaba kubanga okugaba kuleeta essanyu. (Nge. 11:25; Bik. 20:35) Wadde kiri kityo, tetusaanidde kuleetera bagenyi baffe kuwulira nti kibakakatako okutuwa ekirabo. Ate era tetusaanidde kubaleetera kuwulira nti ekirabo kye batuwadde tetukisiimye olw’okuba si kya bbeeyi. Tukoppa Yakuwa nga tusiima ebirabo abalala bye baba batuwadde okusinziira ku busobozi bwabwe. Ate era tukijjukire nti tekibakakatako kutuwa birabo, naye baba babituwadde olw’okuba batwagala.—2 Kol. 9:7.
ENGERI GY’OYINZA OKUVVUUNUKAMU EBISOOMOOZA
14. Kusoomooza ki abamu ku abo abagenda okufumbiriganwa kwe boolekagana nakwo?
14 Oyinza okufuna ebikusoomooza ng’oteekateeka embaga eneewesa Yakuwa ekitiibwa. Ng’ekyokulabirako, oyinza okuzibuwalirwa okutegeka embaga etali ya bbeeyi nnyo. Charlie, ow’omu Solomon Islands, agamba nti: “Kyatuzibuwalira okulonda abo be twalina okuyita gye twasembereza abagenyi baffe. Tulina emikwano mingi, ate mu buwangwa bwaffe, osuubirwa okuyita kumpi buli muntu!” Tabitha, eyayogeddwako waggulu, agamba nti: “Mu kitundu gye mbeera, abantu batera okukola embaga eziriko abantu abangi. Kyatutwalira ekiseera okumatiza bazadde baffe okukkiriza ekyo kye twali tusazeewo, okuyita abantu nga 100 bokka.” Sarah, abeera mu Buyindi, agamba nti: “Abantu abamu mu kitundu kyaffe bassa nnyo essira ku ssente mmeka omuntu z’alina n’engeri gy’atwalibwamu mu kitundu. Waliwo kizibwe wange eyakola embaga ey’ebbeeyi ennyo, era muli nnawulira nga nange mpikirizibwa okukola embaga esinga eyiye.” Kiki ekiyinza okukuyamba okuvvuunuka ebintu ng’ebyo ebiyinza okukusoomooza?
15. Lwaki kikulu nnyo abo ababa bagenda okufumbiriganwa okusaba bwe baba bateekateeka embaga?
15 Musabe Yakuwa nga muteekateeka embaga yammwe. Bwe muba musaba Yakuwa mumutegeeze byonna ebibeeraliikiriza n’engeri gye mwewuliramu. (Baf. 4:6, 7 ne study note ku “mu buli nsonga yonna”) Musobola okumusaba abayambe okusalawo obulungi, okusigala nga muli bakkakkamu nga mulina ebibeeraliikiriza, oba okubawa obuvumu bwe mwetaaga. (1 Peet. 5:7) Bwe munaalaba engeri Yakuwa gy’abayambamu, mujja kweyongera okumwesiga. Tabitha, eyayogeddwako waggulu, agamba nti: “Nze n’omwami wange bwe twali tuteekateeka embaga yaffe, twatyanga nnyo okufuna obutakkaanya wakati waffe oba n’ab’eŋŋanda zaffe. N’olwekyo buli lwe twabanga twogera ku nteekateeka z’embaga, twasookanga kusaba. Twalaba engeri Yakuwa gye yatuyambamu era twabanga basanyufu.”
16-17. Lwaki kirungi okuwuliziganya obulungi nga muteekateeka embaga?
16 Muwuliziganye bulungi. (Nge. 15:22) Abo ababa bagenda okufumbiriganwa baba n’ebintu bingi bye beetaaga okusalawo ebikwata ku mbaga yaabwe. Ebintu ebyo bizingiramu olunaku embaga yaabwe lw’eneebaawo, embalirira, abantu be balina okuyita, n’ebintu ebirala bingi. Nga temunnasalawo, mwogere ku ekyo buli omu ku mmwe ky’alowooza era mukubaganye ebirowoozo ku misingi gya Bayibuli egisobola okubayamba. Ate era kirungi okwebuuza ku Bakristaayo abakulu mu by’omwoyo era abalina obumanyirivu. Bw’oba otegeeza munno ekyo kye wandyagadde, yogera naye mu ngeri ey’ekisa, etegeerekeka obulungi, era beera mwetegefu okukyusaamu we kiba kyetaagisizza. Ate era ab’eŋŋanda zammwe, gamba nga bazadde bammwe, bwe babaako ekiteeso kye babawa nga tekikontana na misingi gya Bayibuli era nga kisoboka, muyinza okukikolerako. Wadde ng’omukolo gwammwe, nabo gubakwatako. Bwe kiba nti kye bateesezza kiyinza obutasoboka, mubannyonnyole mu ngeri ey’ekisa. (Bak. 4:6) Mubategeeze nti ekisinga obukulu gye muli kwe kuba nti embaga yammwe eba ya ssanyu era ng’eweesa Yakuwa ekitiibwa.
17 Kiyinza okuba ekizibu okunnyonnyola bazadde bammwe ekyo kye muba musazeewo naddala bwe kiba nti si Bajulirwa ba Yakuwa. Wadde kiri kikyo, Yakuwa asobola okubayamba. Ow’oluganda Santhosh, abeera mu Buyindi, agamba nti: “Waliwo obulombolombo bw’Abahindu ab’eŋŋanda zaffe bwe baali baagala tukole ku mbaga yaffe. Nze ne mukyala wange kyatutwalira ekiseera ekiwerako okubannyonnyola ekyo kye twali tusazeewo. Waliwo bye twakyusaamu ne tukola ebimu ku bintu bye baali batusabye kubanga byali tebikontana na misingi gya Bayibuli. Ng’ekyokulabirako, twakyusa emmere gye twali twagala okufumba ne tufumba bo gye baali baagala, era twasalawo obutabeera na nnyimba na mazina ku mbaga yaffe kubanga abantu b’omu kitundu kyaffe tebatera kukola bintu ng’ebyo.”
18. Kiki ekiyinza okukuyamba okukakasa nti ku lunaku lw’embaga yo ebintu bitambula bulungi? (1 Abakkolinso 14:40) (Laba n’ekifaananyi.)
18 Ebintu mubikole mu ngeri entegeke obulungi. Bwe munaakola bwe mutyo, kijja kubayamba okukendeeza ku bibeeraliikiriza ku lunaku lw’embaga yammwe. (Soma 1 Abakkolinso 14:40.) Wayne, ow’omu Taiwan, agamba nti: “Bwe waali wabulayo ennaku ntono embaga yaffe etuuke, twakola olukuŋŋaana olutonotono n’abo abaali batuyambako okuteekateeka ebintu ebitali bimu. Twayogera ku ebyo bye twali tuteeseteese okukola ku lunaku lw’embaga, era twegezaamu ebintu ebitali bimu okukakasa nti buli kimu kijja kutambula bulungi.” Kirage nti ossaamu abagenyi bo ekitiibwa ng’ebintu ofuba okubikolera mu budde.
Bwe muteekateeka obulungi embaga yammwe, buli kimu kijja kutambula bulungi (Laba akatundu 18)
19. Kiki ekijja okubayamba okukakasa nti ebintu bitambula bulungi mu kifo gye munaasembereza abagenyi bammwe?
19 Bwe munaalowooza nga bukyali ku bintu ebitali bimu ebiyinza okubaawo, kisobola okubayamba okwewala ebizibu bingi. (Nge. 22:3) Ng’ekyokulabirako, bw’oba obeera mu kitundu abantu gye batera okujja ku mikolo nga tebayitiddwa, lowooza ku ekyo ky’osobola okukola okwewala ekyo okubaawo. Kakasa nti onnyonnyola ab’eŋŋanda zo abatali Bajulirwa ba Yakuwa b’oyise ku mbaga yo ebyo bye bayinza okusangayo, n’endowooza gy’olina ku bulombolombo bw’embaga obutali bumu. Osobola n’okukozesa ebyo ebiri mu kitundu “Embaga z’Abajulirwa ba Yakuwa Ziba Zitya?” ekiri ku jw.org. Okusobola okukakasa nti buli kimu kitambula bulungi mu kifo gye munaasembereza abagenyi bammwe, kiba kirungi okufunayo ow’oluganda omukulu mu by’omwoyo n’akola nga “kalabaalaba w’omukolo.” (Yok. 2:8) Ow’oluganda oyo bwe munaamubuulira bye muteeseteese okukola, ajja kukakasa nti omukolo gutambula bulungi era guweesa Yakuwa ekitiibwa.
20. Kiki abo abagenda okufumbiriganwa kye basaanidde okujjukira?
20 Bw’olowooza ku ebyo ebizingirwa mu kuteekateeka embaga, oyinza okuwulira nti buvunaanyizibwa bwa maanyi nnyo. Kyokka kijjukire nti embaga eba ya lunaku lumu lwokka. Olunaku olwo y’eba entandikwa eri abafumbo okuweerereza awamu Yakuwa. Weesige Yakuwa era kola kyonna ky’osobola okukakasa nti embaga yo etegekeddwa obulungi era eneemuweesa ekitiibwa. Bwe munaakolera ku bulagirizi bwa Yakuwa, kijja kubasobozesa okuteekateeka obulungi embaga yammwe. Ate era ne bwe wanaayitawo ebbanga, buli lwe munaalowoozanga ku mbaga yammwe mujja kuba n’ebintu ebirungi bingi bye mujjukira, era temujja kwejjusa.—Zab. 37:3, 4.
OLUYIMBA 107 Ekyokulabirako kya Katonda eky’Okwagala
a EBIGAMBO EBINNYONNYOLWA: Mu buwangwa bungi, ku mbaga abagole bakuba ebirayiro mu maaso ga Katonda. Oluvannyuma lw’okugattibwa abagole bayinza okubaako ekifo we basembereza abagenyi baabwe. Ne mu bitundu abantu gye batatera kukola mbaga ng’ezo ezimanyiddwa mu bitundu by’ensi ebisinga obungi, Abakristaayo baganyulwa nnyo bwe bakolera ku misingi gya Bayibuli.
b Okumanya ebisingawo ku ndowooza Abakristaayo gye basaanidde okuba nayo ku mateeka gavumenti g’essaawo agakwata ku bufumbo, laba ekitundu “Embaga ez’Ekitiibwa mu Maaso ga Katonda n’Abantu” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Okitobba 15, 2006.
c Laba ku jw.org/lg vidiyo erina omutwe, Ngabule Omwenge?