Embaga z’Abajulirwa ba Yakuwa Ziba Zitya?
Embaga z’Abajulirwa ba Yakuwa zikolebwa mu ngeri ennyangu, eweesa ekitiibwa, era emirundi mingi zibaako n’okwogera okwesigamiziddwa ku Bayibuli. Oluvannyuma lw’abagole okugattibwa, bayinza okugendako mu kifo ekimu ne basanyukirako wamu n’ab’eŋŋanda zaabwe ne mikwano gyabwe.a Ne Yesu bwe yali yaakatandika obuweereza bwe, yayitibwa ku kijjulo ky’embaga e Kaana.—Yokaana 2:1-11.
Biki ebikolebwa ku mukolo ogw’okugattibwa?
Emikolo gy’Abajulirwa ba Yakuwa egy’embaga gibeera wa?
Baani be bayita ku mbaga zaabwe?
Waliwo engeri ey’enjawulo gye bambalamu ku mbaga zaabwe?
Ku mbaga zaabwe ebaayo okugaba ebirabo?
Ku mbaga zaabwe ebaayo okukoonaganya amagiraasi?
Eriyo ekintu eky’enjawulo kye bakola okuwa abagole emikisa?
Wabaayo eby’okulya n’eby’okunywa?
Wabaayo ennyimba n’okuzina?
Abajulirwa ba Yakuwa bakuza olunaku lwe baafumbiriganwako?
Biki ebikolebwa ku mukolo ogw’okugattibwa?
Ekintu ekikulu ekiba ku mukolo ogwo, kwe kwogera okwesigamiziddwa ku Bayibuli. Okwogera okwo kutwala eddakiika nga 30 era kuweebwa omu ku Bajulirwa ba Yakuwa. Omwogezi akozesa Bayibuli okulaga abagole ebisobola okubayamba okuba n’obufumbo obw’essanyu, obulimu okwagala era obuwangaazi.—Abeefeso 5:33.
Mu nsi nnyingi, gavumenti ziwa olukusa abamu ku Bajulirwa ba Yakuwa okugatta abagole. Okwogera bwe kuggwa abagole bakuba ebirayiro era bayinza n’okwambala empeta. Oluvannyuma lw’ekyo, oyo aba abagasse alangirira nti kati bafuuse mwami na mukyala.
Mu nsi endala, abagole balina kugenda ku ofiisi za gavumenti okugattibwa. Ekyo bakikola nga tebannafuna kwogera okukwata ku kugattibwa. Abagole bwe baba nga tebaakubye birayiro ku ofiisi za gavumenti, basobola okubikuba oluvannyuma lw’okwogera. Ne bwe baba nga baakubye ebirayiro, bayinza okusalawo okubiddamu. Oluvannyuma lw’ekyo, omukolo gufundikirwa n’okusaba Katonda awe omukisa obufumbo bwabwe.
Emikolo gy’Abajulirwa ba Yakuwa egy’embaga gibeera wa?
Bangi ku Bajulirwa ba Yakuwa bagattirwa ku kifo gye basinziza ekiyitibwa Kingdom Hall, bwe kiba nga weekiri.b Abagole bwe basalawo okusembeza abagenyi baabwe, be balonda ekifo gye banaabasembereza.
Baani be bayita ku mbaga zaabwe?
Embaga bw’eba ku Kingdom Hall, Abajulirwa ba Yakuwa n’abatali Bajulirwa ba Yakuwa bonna baanirizibwa okubaawo. Abagole bwe baba nga banaasembeza abagenyi baabwe oluvannyuma, be basalawo be banaayita.
Waliwo engeri ey’enjawulo gye bambalamu ku mbaga zaabwe?
Abajulirwa ba Yakuwa tebalina mateeka gakwata ku ngeri abo abajja ku mbaga zaabwe gye basaanidde kwambalamu. Wadde kiri kityo, bafuba okwambala ebyambalo ebisaanira era ebiweesa ekitiibwa. (1 Timoseewo 2:9) Kibasanyusa nnyo n’abalala bwe bambala mu ngeri eweesa ekitiibwa nga bazze ku mbaga zaabwe.
Ku mbaga zaabwe ebaayo okugaba ebirabo?
Bayibuli etukubiriza okuba abagabi. (Zabbuli 37:21) Abajulirwa ba Yakuwa bafuna essanyu bwe bagabira abalala ebirabo era nabo kibasanyusa nnyo abalala bwe babawa ebirabo. (Lukka 6:38) Kyokka tebasaba bantu kubawa birabo ku mbaga zaabwe oba kusoma mannya g’abo ababa babawadde ebirabo. (Matayo 6:3, 4; 2 Abakkolinso 9:7; 1 Peetero 3:8) Ng’oggyeko okuba nti enkola ezo si za mu Byawandiikibwa, zisobola n’okuleetera abo ababa batawaddeeyo okuwulira nga baswadde.
Ku mbaga zaabwe ebaayo okukoonaganya amagiraasi?
Bayibuli tevumirira kukoonaganya magiraasi, naye abagole bayinza okusaba abagenyi baabwe obutagakoonaganya baleme kwesittaza balala.—Abaruumi 14:21.
Eriyo ekintu eky’enjawulo kye bakola okuwa abagole emikisa?
Nedda. Mu bitundu ebimu, abantu bayiira abagole omuceere, obupapula, oba ebintu ebirala ku mbaga yaabwe. Baba balowooza nti ekyo kijja kuleetera obufumbo bwabwe emikisa, kibusobozese okuwangaala n’okubaamu essanyu. Naye Abajulirwa ba Yakuwa beewala okukola ekintu kyonna ekirina akakwate n’eby’obusamize. Nga muno mwemuli n’ebyo abantu bye bakola okwagaliza abagole emikisa kyokka nga bikontana ne Bayibuli.—Isaaya 65:11.
Wabaayo eby’okulya n’eby’okunywa?
Abagole bwe bagattirwa ku Kingdom Hall, tewabaayo kugabula bya kulya oba bya kunywa. Kyokka abagole abamu basalawo okufunayo ekifo gye bagenda ne basanyukirako wamu n’abagenyi baabwe era wayinza okubaayo eby’okulya n’eby’okunywa. (Omubuulizi 9:7) Bwe basalawo okugabula omwenge, bakakasa nti gujja kuba gwa kigero era nti guweebwa abo bokka abakkirizibwa mu mateeka okunywa omwenge.—Lukka 21:34; Abaruumi 13:1, 13.
Wabaayo ennyimba n’okuzina?
Abagole bwe basalawo okubaako ekifo gye bagenda okusanyukirako awamu n’abalala, wayinza okubaayo ennyimba n’okuzina. (Omubuulizi 3:4) Abagole be beerondera ennyimba ezinaakubibwa okusinziira ku ekyo kye baagala oba ku buwangwa bwabwe. Ennyimba eziteekebwako mu Kingdom Hall ziba zeesigamiziddwa ku Byawandiikibwa.
Abajulirwa ba Yakuwa bakuza olunaku lwe baafumbiriganwako?
Olw’okuba Bayibuli ensonga eyo tegivumirira, abafumbo Abajulirwa ba Yakuwa beesalirawo obanga banaakuza olunaku lwe baafumbiriganwako oba nedda. Bwe basalawo okulukuza, bayinza okulukuza bokka oba okuyita mikwano gyabwe oba ab’eŋŋanda okubeegattako.
a Ebikolebwa ku mbaga z’Abajulirwa ba Yakuwa biyinza okwawukanamuko okusinziira ku mpisa n’amateeka g’omu kitundu.
b Oyo aba awadde okwogera tasaba bagole ssente; ate era abagole tebasabibwa ssente olw’okukozesa Kingdom Hall.