LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w01 4/1 lup. 19-24
  • “Ekigambo kya Yakuwa ne Kigenda nga Kyeyongera”

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • “Ekigambo kya Yakuwa ne Kigenda nga Kyeyongera”
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Okweyongera mu Muwendo gw’Abayigirizwa
  • Okweyongera kw’Ebitundu Ebibuulirwamu
  • Okweyongera Okwatuuka ku Buwanguzi
  • Omwoyo Omutukuvu Gukola Omulimu
  • “Okutuuka mu Bitundu by’Ensi Ebisingayo Okuba eby’Ewala”
    ‘Okuwa Obujulirwa Obukwata ku Bwakabaka bwa Katonda mu Bujjuvu’
  • Obukristaayo obw’Amazima Buwangula!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Okukulemberwa Omwoyo Gwa Katonda—Mu Kyasa Ekyasooka ne Leero
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Ka Bonna Balangirire Ekitiibwa kya Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
w01 4/1 lup. 19-24

“Ekigambo kya Yakuwa ne Kigenda nga Kyeyongera”

“Aweereza ekiragiro kye ku nsi; ekigambo kye kidduka embiro nnyingi.”​—ZABBULI 147:15.

1, 2. Mulimu ki Yesu gwe yawa abayigirizwa be, era gwali guzingiramu ki?

OBUMU ku bunnabbi obusingirayo ddala okwewuunyisa mu Baibuli busangibwa mu Ebikolwa 1:8. Nga anaatera okulinnya mu ggulu, Yesu yagamba abagoberezi be abeesigwa: “Muliweebwa amaanyi, [o]mwoyo [o] mutukuvu bw’alimala okujja ku mmwe, nammwe munaabanga bajulirwa bange . . . okutuusa ku nkomerero y’ensi.” Nga guno gwandibadde mulimu gwa maanyi nnyo!

2 Okulangirira ekigambo kya Katonda mu nsi yonna guteekwa okuba nga gwali mulimu ogusoomooza ennyo eri abayigirizwa abo abatono abaaguweebwa. Lowooza ku kyali kizingirwamu. Bandibadde bayamba abantu okutegeera amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda. (Matayo 24:14) Era okuwa obujulirwa ku Yesu kyali kyetaagisa okubuulira abalala enjigiriza ze ez’amaanyi era n’okubannyonnyola ekifo kye mu kigendererwa kya Yakuwa. Ate era, omulimu gwalimu okufuula abantu abayigirizwa n’okubabatiza. Era kino kyalina okukolebwa mu nsi yonna!​—Matayo 28:19, 20.

3. Yesu yakakasa ki abagoberezi be, era baatwala batya omulimu ogwabaweebwa?

3 Wadde kyali kityo, Yesu yakakasa abagoberezi be nti omwoyo omutukuvu gwandibadde nabo mu kutuukiriza omulimu gwe yali abawadde. Bwe kityo, wadde omulimu gwali munene nnyo era nga n’abaziyiza bafuba nnyo okubasirisa, abayigirizwa ba Yesu abaasooka baatuukiriza kye baalagirwa. Kino kintu ekyaliwo ddala mu byafaayo.

4. Okwagala kwa Katonda kweyoleka kutya mu mulimu gw’okubuulira n’okuyigiriza abalala?

4 Kaweefube w’okubuulira n’okuyigiriza mu nsi yonna kyali kikolwa ekyoleka okwagala kwa Katonda eri abo abaali batamumanyi. Kyabawa omukisa okusemberera Yakuwa n’okusonyiyibwa ebibi. (Ebikolwa 26:18) Omulimu gw’okubuulira n’okuyigiriza era gwayoleka okwagala kwa Katonda eri abo abategeeza obubaka, okuva bwe gubasobozesa okwoleka okwagala kwabwe eri Yakuwa era ne bantu bannaabwe. (Matayo 22:37-39) Omutume Pawulo yatwala obuweereza obw’Ekikristaayo ng’eky’omuwendo ennyo era n’atuuka n’okubuyita ‘eky’obugagga.’​—2 Abakkolinso 4:7.

5. (a) Wa we tusanga ebyafaayo ebisingirayo ddala okwesigika ebikwata ku Bakristaayo abaasooka, era kweyongera ki okwogerwako mu kitabo ekyo? (b) Lwaki ekitabo ky’Ebikolwa by’Abatume kya makulu eri abaweereza ba Katonda leero?

5 Ebyafaayo ebisingirayo ddala okwesigika ebikwata ku mulimu gw’okubuulira ogw’Abakristaayo abaasooka bisangibwa mu kitabo ky’Ebikolwa by’Abatume ekyaluŋŋamizibwa, ekyawandiikibwa omuyigirizwa Lukka. Kyogera ku kweyongera okwewuunyisa era okw’amaanyi. Okweyongera kuno okw’Ekigambo kya Katonda kutujjukiza Zabbuli 147:15, olugamba: “[Yakuwa] aweereza ekiragiro kye ku nsi; ekigambo kye kidduka embiro nnyingi.” Ebyaliwo ebikwata ku Bakristaayo abaasooka, abaaweebwa amaanyi okuyitira mu mwoyo omutukuvu, bibuguumiriza era bya makulu nnyo gye tuli leero. Abajulirwa ba Yakuwa beenyigidde mu mulimu gwe gumu ogw’okubuulira n’okufuula abayigirizwa, naye ku kigero ekisingawo obunene. Era twolekaganye n’ebizibu ebifaanana ebyo Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka bye baayolekagana nabyo. Nga twekenneenya engeri Yakuwa gye yawaamu omukisa n’amaanyi Abakristaayo abaasooka, obwesige bwe tulina mu buwagizi bwe bweyongera.

Okweyongera mu Muwendo gw’Abayigirizwa

6. Bigambo ki ebikwata ku kweyongera ebirabika emirundi esatu mu kitabo ky’Ebikolwa by’Abatume, era bitegeeza ki?

6 Engeri emu ey’okwekenneenyamu okutuukirizibwa kwa Ebikolwa 1:8 kwe kwekkaanya ebigambo “ekigambo kya Yakuwa ne kigenda nga kyeyongera,” ebigambo ebirabika emirundi esatu gyokka mu Baibuli mu kitabo ky’Ebikolwa by’Abatume naye nga byawukanamu katono. (Ebikolwa 6:7, NW; 12:24, NW; 19:20, NW) “Ekigambo kya Yakuwa,” oba “ekigambo kya Katonda,” mu nnyiriri zino bitegeeza amawulire amalungi​—obubaka obubuguumiriza obw’amazima, obubaka obulamu obw’amaanyi obwakyusa obulamu bw’abo abaabukkiriza.​—Abaebbulaniya 4:12.

7. Okweyongera kw’ekigambo kya Katonda kukwataganyizibwa ku ki mu Ebikolwa 6:7, era kiki ekyaliwo ku lunaku lwa Pentekooti 33 C.E.?

7 Ebigambo okweyongera kw’ekigambo kya Katonda bisooka kwogerwako mu Ebikolwa 6:7. Awo tusoma: “Bwe kityo ekigambo kya Katonda ne kigenda nga kyeyongera, era omuwendo gw’abayigirizwa mu Yerusaalemi ne gweyongera nnyo; ekibiina kinene ekya bakabona ne bagondera okukkiriza.” Wano, okweyongera kukwataganyizibwa n’okweyongera mu muwendo gw’abayigirizwa. Emabegako, ku lunaku lwa Pentekooti 33 C.E., omwoyo gwa Katonda omutukuvu gwafukibwa ku bayigirizwa 120 abaali bakuŋŋaanidde mu kisenge ekya waggulu. Mu kiseera ekyo omutume Peetero n’awa emboozi ebuguumiriza, era abo abaawuliriza, nga 3,000, baafuuka bakkiriza olunaku olwo. Nga wateekwa okuba nga waaliwo oluyoogaano ng’enkumi n’enkumi z’abantu bagenda mu bidiba ebyali mu Yerusaalemi n’ebyo ebyali bikiriraanye babatizibwe mu linnya lya Yesu, omusajja eyali akomereddwa ng’omumenyi w’amateeka ennaku 50 emabega!​—Ebikolwa 2:41.

8. Omuwendo gw’abayigirizwa gweyongera gutya mu myaka egyaddirira Pentekooti 33 C.E.?

8 Kya lwatu eyo yali ntandikwa. Okufuba kw’abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya okulemesa omulimu gw’okubuulira kwali kwa bwereere. Ekyamaliramu ddala amaanyi abakulembeze abo, “Mukama [y]’abongerangako bulijjo abaalokokanga.” (Ebikolwa 2:47) Mu banga ttono, “omuwendo gw’abasajja gwawera ng’enkumi ttaano.” Oluvannyuma lw’ekyo, “abasajja n’abakazi bangi abakkiririza mu Mukama waffe, ne bongerwako.” (Ebikolwa 4:4; 5:14, NW) Ate ku bikwata ku kiseera eky’omu maaso tusoma: “Ekkanisa eyali mu Buyudaaya bwonna ne mu Ggaliraaya ne mu Samaliya, n’eba n’emirembe, ng’ezimbibwanga; era ng’etambuliranga mu kutya Yakuwa ne mu ssanyu ery’[o]mwoyo [o]mutukuvu ne yeeyongera.” (Ebikolwa 9:31) Nga wayiseewo emyaka egiwera, oboolyawo mu 58 C.E., baayogera ku ‘nkumi n’enkumi ez’abakkiriza.’ (Ebikolwa 21:20) Mu kiseera ekyo, waaliwo abakkiriza abataali Bayudaaya bangi.

9. Wandyogedde otya ku Bakristaayo abaasooka?

9 Okweyongera kuno mu muwendo okusingira ddala kwaliwo olw’abappya abaali bagattibwako. Eddiini yali mpya​—naye baali banyiikivu. Mu kifo ky’okubeera abatali banyiikivu mu kkanisa, abayigirizwa beemalira ku Yakuwa n’Ekigambo kye, ng’emirundi egimu bayiga amazima okuva ku abo abaali bayigganyiziddwa ennyo. (Ebikolwa 16:23, 26-33) Abo abakkiriza Obukristaayo baasalawo ekyo nga bakozesa okutegeera era nga beekenneenya ensonga n’obwegendereza. (Abaruumi 12:1) Baayigirizibwa amakubo ga Katonda; amazima gaali mu birowoozo ne mu mitima gyabwe. (Abaebbulaniya 8:10, 11) Baali beetegefu okufiirira kye baali bakkiriza.​—Ebikolwa 7:51-60.

10. Buvunaanyizibwa ki Abakristaayo abaasooka bwe bakkiriza, era kufaanagana ki kwe tulaba leero?

10 Abo abakkiriza enjigiriza y’Ekikristaayo baategeera obuvunaanyizibwa bwabwe obw’okubuulira abalala amazima. Kino kyavaamu okweyongera mu muwendo. Omwekenneenya omu owa Baibuli yagamba: “Okumanyisa okukkiriza tekwatwalibwa ng’okwabo abanyiikivu bokka oba ababuulizi abatongozeddwa mu butongole. Okubuulira enjiri yali nkizo era obuvunaanyizibwa obwa buli yenna eyali mu kkanisa. . . . Okunyiikira okw’Abakristaayo bonna kwawa amaanyi Obukristaayo okuviira ddala ku ntandikwa.” Yayongera n’awandiika: “Okubuulira enjiri kye kyawa amaanyi Abakristaayo abaasooka.” Era bwe kiri eri Abakristaayo ab’amazima leero.

Okweyongera kw’Ebitundu Ebibuulirwamu

11. Kweyongera kwa ngeri ki okwogerwako mu Ebikolwa 12:24, era kwabaawo kutya?

11 Ebigambo okweyongera kw’ekigambo kya Katonda bisangibwa omulundi ogw’okubiri mu Ebikolwa 12:24 (NW): “Ekigambo kya Yakuwa ne kigenda nga kyeyongera era ne kibuna.” Wano ebigambo bino bikwataganyizibwa n’okweyongera okw’ebitundu ebibuulirwamu. Wadde waaliwo okuziyizibwa okuva mu gavumenti, omulimu gweyongera okukulaakulana. Omwoyo omutukuvu gwasooka kufukibwa mu Yerusaalemi, era okuva ku olwo, ekigambo kyabuna mangu. Okuyigganyizibwa okwali mu Yerusaalemi kwasaasaanya abayigirizwa mu bitundu byonna mu Buyudaaya ne Samaliya. Ekyavaamu? “Abaasaasaana ne bagenda nga babuulira ekigambo.” (Ebikolwa 8:1, 4) Firipo yaweebwa obulagirizi n’awa omusajja obujulirwa era oluvannyuma lw’okubatizibwa omusajja oyo yatwala obubaka mu Esiyopya. (Ebikolwa 8:26-28, 38, 39) Mangu ddala amazima gaasimba amakanda mu Luda, ku Nsenyi za Saloni, ne Yopa. (Ebikolwa 9:35, 42) Oluvannyuma, omutume Pawulo yatambula enkumi n’enkumi za mayiro ku nnyanja ne ku lukalu, ng’atandikawo ebibiina mu nsi zonna eza Mediterranean. Omutume Peetero yagenda e Babulooni. (1 Peetero 5:13) Emyaka 30 oluvannyuma lw’okuyiibwa kw’omwoyo omutukuvu ku Pentekooti, Pawulo yawandiika nti amawulire amalungi gaali ‘gabuuliddwa mu bitonde byonna wansi w’eggulu,’ oboolyawo ng’ategeeza ekitundu ky’ensi ekyali kimanyiddwa mu kiseera ekyo.​—Abakkolosaayi 1:23.

12. Abaali baziyiza Obukristaayo bakkiriza batya nti waaliwo okweyongera kw’ebitundu ebibuulirwamu ekigambo kya Katonda?

12 N’abo abaali baziyiza Obukristaayo baakikkiriza nti ekigambo kya Katonda kyali kisimbye amakanda mu Bwakabaka bwa Rooma bwonna. Ng’ekyokulabirako, Ebikolwa 17:6 lugamba nti mu Ssessaloniika, Buyonaani ow’omu bukiika kkono, abaziyiza baagamba: “Bano abavuunika ensi bazze ne wano.” Ate era, ku ntandikwa y’ekyasa eky’okubiri, Pliny the Younger, yawandiikira Trajan, Empura w’Abaruumi okuva e Bisuniya ku bikwata ku Bukristaayo. Yeemulugunya: “Tebuli mu bibuga byokka, naye bubunye mu byalo eby’omuliraano.”

13. Mu ngeri ki okweyongera kw’ebitundu ebibuulirwamu gye kwayolekamu okwagala kwa Katonda eri abantu?

13 Okweyongera kw’ebitundu ebibuulirwamu, kyali kikolwa ekyoleka okwagala kwa Yakuwa okw’amaanyi eri abantu abaali bayinza okununulwa. Peetero bwe yalaba ng’omwoyo omutukuvu gukolera mu Munnaggwanga Koluneeriyo, yagamba: “Mazima ntegedde nga Katonda tasosola mu bantu: naye mu ggwanga lyonna lyonna amutya n’akola obutuukirivu amukkiriza.” (Ebikolwa 10:34, 35) Yee, amawulire amalungi gaali era gakyali obubaka eri abantu bonna, era okweyongera kw’ekigambo kya Katonda mu bitundu ebibuulirwamu kwawa abantu wonna wonna omukisa okubaako kye bakolawo ku kwagala kwa Katonda. Mu kyasa kino ekya 21, ekigambo kya Katonda kumpi kibunye mu bitundu byonna eby’oku nsi.

Okweyongera Okwatuuka ku Buwanguzi

14. Kweyongera kwa ngeri ki okwogerwako mu Ebikolwa 19:20, era ekigambo kya Katonda kyawangula ki?

14 Ebigambo okweyongera kw’ekigambo kya Katonda birabika omulundi ogw’okusatu mu Ebikolwa 19:20 (NW): “Ekigambo kya Yakuwa ne kyeyongeranga mu maanyi ne kiwangula.” Ekigambo ky’Oluyonaani ekyasooka ekivvuunulwa ‘okuwangula’ kiwa amakulu ‘g’okukozesa amaanyi.’ Ennyiriri ezisookawo zigamba nti bangi mu Efeso baafuuka bakkiriza, era abo abeenyigiranga mu by’obulogo, baayokya ebitabo byabwe mu maaso ga buli omu. Bwe kityo, ekigambo kya Katonda ne kiwangula enjigiriza z’eddiini ez’obulimba. Amawulire amalungi era gaawangula enkonge endala, gamba ng’okuyigganyizibwa. Tewali kyali kiyinza kugayimiriza. Mu kino era tulabamu ekifaanagana n’Obukristaayo obw’amazima mu kiseera kyaffe.

15. (a) Omukugu mu byafaayo bya Baibuli yawandiika ki ku Bakristaayo abaasooka? (b) Ani abayigirizwa gwe baagamba nti yabayamba okutuuka ku buwanguzi?

15 Abatume n’Abakristaayo abalala abaasooka baalangirira ekigambo kya Katonda n’obunyiikivu. Ku bibakwatako, omwekenneenya w’ebyafaayo bya Baibuli yagamba: “Abantu bwe baba baagala okwogera ku Mukama waabwe, bafuna amakubo mangi ag’okukikolamu. Mazima ddala, obunyiikivu bw’abasajja n’abakazi bano bwe butuwuniikiriza okusinga n’enkola ze beeyambisa.” Wadde kiri kityo, Abakristaayo abo abaasooka baakitegeera nti obuwanguzi bwe baatuukako mu buweereza bwabwe tebwesigama ku kufuba kwabwe kwokka. Baaweebwa omulimu ogw’okukola okuva eri Katonda, era Katonda yabawa obuwagizi okusobola okugutuukiriza. Okweyongera kw’eby’omwoyo kuva eri Katonda. Omutume Pawulo kino yakyoleka mu bbaluwa gye yawandiikira ekibiina ky’e Kkolinso. Yawandiika: “Nze nnasiga, Apolo n’afukirira; naye Katonda ye yakuza. Kubanga Katonda tuli bakozi banne.”​—1 Abakkolinso 3:6, 9.

Omwoyo Omutukuvu Gukola Omulimu

16. Kiki ekiraga nti omwoyo omutukuvu gwawa abayigirizwa amaanyi okwogera n’obuvumu?

16 Jjukira nti Yesu yakakasa abayigirizwa be nti omwoyo omutukuvu gwandibadde n’ekifo mu kweyongera kw’ekigambo kya Katonda era nti omwoyo omutukuvu gwandiwadde abayigirizwa amaanyi mu mulimu gwabwe ogw’okubuulira. (Ebikolwa 1:8) Kino kyaliwo kitya? Ekiseera kitono oluvannyuma lw’okuyiwa omwoyo ku bayigirizwa ku Pentekooti, Peetero ne Yokaana baayitibwa okwogera mu maaso g’Olukiiko lw’Abayudaaya, kkooti eyali esingayo obukulu mu nsi, era ng’abalamuzi baayo be baali bavunaanyizibwa ku kufa kwa Yesu Kristo. Abatume bandikankanye mu maaso g’olukiiko ng’olwo olw’obulabe? N’akatono! Omwoyo omutukuvu gwawa Peetero ne Yokaana amaanyi okwogera n’obuvumu ne kiba nti abalabe baabwe beewuunya, era ne ‘bakitegeera nti baabeeranga ne Yesu.’ (Ebikolwa 4:8, 13) Omwoyo omutukuvu era gwaleetera Suteefano okuwa obujulirwa n’obuvumu eri Olukiiko lw’Abayudaaya. (Ebikolwa 6:12; 7:55, 56) Emabegako, omwoyo omutukuvu gwasobozesa abayigirizwa okubuulira n’obuvumu. Lukka agamba: “Bwe baamala okusaba, mu kifo we baakuŋŋaanira ne wakankana; bonna ne bajjula [o]mwoyo [o]mutukuvu, ne boogera ekigambo kya Katonda n’obuvumu.”​—Ebikolwa 4:31.

17. Mu ngeri ki endala omwoyo omutukuvu gye gwayamba abayigirizwa mu buweereza bwabwe?

17 Okuyitira mu mwoyo gwe omutukuvu ogw’amaanyi, Yakuwa awamu ne Yesu eyazuukizibwa, baawa obulagirizi omulimu gw’okubuulira. (Yokaana 14:28; 15:26) Omwoyo bwe gwafukibwa ku Koluneeriyo, ab’eŋŋanda ze, n’emikwano gye egy’oku lusegere, omutume Peetero yategeera nti Bannaggwanga abataali bakomole baali basobola okubatizibwa mu linnya lya Yesu Kristo. (Ebikolwa 10:24, 44-48) Oluvannyuma, omwoyo gulina kinene kye gwakola mu kulonda Balunabba ne Sawulo (omutume Pawulo) okukola omulimu gw’obuminsani n’okubalagirira gye basaanidde okugenda n’obutagenda. (Ebikolwa 13:2, 4; 16:6, 7) Gwawa obulagirizi abatume n’abakadde mu Yerusaalemi mu kusalawo kwabwe. (Ebikolwa 15:23, 28, 29) Omwoyo omutukuvu era gwawa obulagirizi mu kulonda abalabirizi mu kibiina Ekikristaayo.​—Ebikolwa 20:28.

18. Abakristaayo abaasooka baayoleka batya okwagala?

18 Okugatta ku ekyo, omwoyo omutukuvu era gweyoleka mu Bakristaayo bennyini, nga gubala ebibala eby’okutya Katonda ng’okwagala. (Abaggalatiya 5:22, 23) Okwagala kwaleetera Abakristaayo okugabana ebintu. Ng’ekyokulabirako, oluvannyuma lwa Pentekooti 33 C.E., baakuŋŋaanyizanga wamu ssente okusobola okukola ku byetaago eby’omubiri eby’abayigirizwa mu Yerusaalemi. Baibuli egamba: “Kubanga tewaali mu bo eyeetaaganga; kubanga bonna abaalina ensuku oba ennyumba baazitundanga ne baleeta omuwendo gwazo ezaatundibwanga: ne baguteeka ku bigere by’abatume: ne bagabiranga buli muntu nga bwe yeetaaganga.” (Ebikolwa 4:34, 35) Okwagala kuno tekwakoma ku bakkiriza bannaabwe bokka naye era n’eri abalala, nga bababuulira amawulire amalungi era nga babalaga ebikolwa ebirala eby’ekisa. (Ebikolwa 28:8, 9) Yesu yagamba nti okwagala okw’okwerekereza kwandibaawuddewo ng’abagoberezi be. (Yokaana 13:34, 35) Mazima ddala okwagala kwasikiriza abantu eri Katonda era ne kusobozesa okweyongera mu kyasa ekyasooka ng’era bwe kiri leero.​—Matayo 5:14, 16.

19. (a) Mu ngeri ki esatu ekigambo kya Yakuwa gye kyeyongeramu mu kyasa ekyasooka? (b) Kiki kye tujja okwekenneenya mu kitundu ekiddako?

19 Okutwalira awamu, ebigambo “omwoyo omutukuvu” birabika emirundi 41 mu kitabo ky’Ebikolwa by’Abatume. Kya lwatu, okweyongera kw’Ekikristaayo mu kyasa ekyasooka kwakwataganyizibwa n’amaanyi n’obulagirizi bw’omwoyo omutukuvu. Omuwendo gw’abayigirizwa gweyongera, ekigambo kya Katonda kyabuna mu kifo ekinene, era ne kiwangula amadiini n’obufirosoofo eby’omu kiseera ekyo. Okweyongera kuno okw’omu kyasa ekyasooka kukwataganyizibwa n’omulimu gw’Abajulirwa ba Yakuwa leero. Mu kitundu ekiddako, tujja kwekenneenya okweyongera okw’enkukunaala okw’ekigambo kya Katonda mu kiseera kyaffe.

Ojjukira?

• Abayigirizwa abaasooka beeyongera batya mu muwendo?

• Mu ngeri ki ekigambo kya Katonda gye kyabuna mu bitundu ebirala?

• Ekigambo kya Katonda kyawangula kitya mu kyasa ekyasooka?

• Kifo ki omwoyo omutukuvu kye gwalina mu kweyongera kw’ekigambo kya Katonda?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 22]

Firipo yabuulira Omuwesiyopya, n’abunya amawulire amalungi mu bitundu ebirala

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]

Omwoyo omutukuvu gwawa obulagirizi abatume n’abakadde mu Yerusaalemi

[Ensibuko y’ekifaananyi ekiri ku lupapula 20]

Waggulu ku ddyo: Reproduction of the City of Jerusalem at the time of the Second Temple located on the grounds of the Holyland Hotel, Jerusalem

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share