LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w01 4/1 lup. 24-29
  • Obukristaayo obw’Amazima Buwangula!

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Obukristaayo obw’Amazima Buwangula!
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Okweyongera kw’Ekigambo Leero
  • Omwoyo Omutukuvu Gukola Leero
  • Ekigambo kya Katonda Kiwangula Okuyitira mu Bakozi Abanyiikivu
  • Okwagala kwa Katonda Kuteekwa Okuwangula
  • “Ekigambo kya Yakuwa ne Kigenda nga Kyeyongera”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Okuwa ‘Obujulirwa mu Mawanga Gonna’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • Abakristaayo Bonna ab’Amazima Babuulizi b’Amawulire Amalungi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
w01 4/1 lup. 24-29

Obukristaayo obw’Amazima Buwangula!

“Ekigambo kya Yakuwa ne kyeyongeranga mu maanyi ne kiwangula.”​—EBIKOLWA 19:20, NW.

1. Nnyonnyola okweyongera kw’Obukristaayo mu kyasa ekyasooka.

NGA balina amaanyi g’omwoyo omutukuvu, Abakristaayo abaasooka baalangirira ekigambo kya Katonda n’obunyiikivu obwali butayinza kukendeezebwa. Munnabyafaayo omu yawandiika: “Obukristaayo bwabuna mangu nnyo mu nsi y’Abaruumi. Omwaka 100 we gwatuukira, oboolyawo buli ssaza eryalina ensalo ne Mediterranean lyalimu Abakristaayo.”

2. Setaani yagezaako atya okuziyiza amawulire amalungi, era kino kyali kiraguddwa kitya?

2 Setaani Omulyolyomi yali tayinza kusirisa Bakristaayo abaasooka. Wabula, yagezaako okuziyiza amawulire amalungi ng’akozesa engeri endala​—obwewagguzi. Yesu kino yali akiragudde mu lugero lwe olw’eŋŋaano ennungi n’ey’omu nsiko. (Matayo 13:24-30, 36-43) Omutume Peetero naye yali alagudde nti abayigiriza ab’obulimba bandiyimuseewo mu kibiina, ne baleetawo obubiinabiina obw’akabi. (2 Peetero 2:1-3) Mu ngeri y’emu, omutume Pawulo yali alabudde nti obwewagguzi bwe bwandisoose olunaku lwa Yakuwa okubaawo.​—2 Abasessaloniika 2:1-3.

3. Kiki ekyaliwo oluvannyuma lw’okufa kw’abatume?

3 Oluvannyuma lw’okufa kw’abatume, amawulire amalungi gaabuutikirwa enjigiriza ez’ekikaafiiri n’obufirosoofo. Nga bwe kyalagulwa, abayigiriza ab’obulimba baannyoolannyoola era ne boonoona obubaka obw’amazima. Mpola mpola, Obukristaayo obw’amazima bwabuutikirwa obw’obulimba obuyitibwa Kristendomu. Ekibiina ky’abakadde b’ekkanisa kyayimukawo era ne kigezaako okulemesa abantu aba bulijjo okufuna Baibuli. Wadde omuwendo gw’abo abeeyita Abakristaayo gweyongera, okusinza kwabwe tekwali kulongoofu. Kristendomu yeeyongera mu bitundu ebirala era n’efuuka enteekateeka ey’amaanyi era ey’obuyinza mu mpisa y’Ebugwanjuba, naye tebwalina mikisa gya Katonda wadde omwoyo gwe.

4. Lwaki olukwe lwa Setaani okulemesa ekigendererwa kya Katonda lwagwa butaka?

4 Kyokka, olukwe lwa Setaani okulemesa ekigendererwa kya Yakuwa lwagwa butaka. Wadde mu biseera ebizibu eby’obwewagguzi, Obukristaayo obw’amazima bwali bukyaliwo mu bamu. Abasajja abaakoppolola Baibuli beegendereza ne bagikoppolola mu ngeri entuufu. Bwe kityo Baibuli yasigala nga tekyuseeko, wadde obubaka bwayo bwataputibwa mu bukyamu abo abeegamba nti baalina obuyinza okugiyigiriza. Ebyasa bwe byagenda biyitawo abeekenneenya nga Jerome ne Tyndale, bavvuunula era ne babunyisa Ekigambo kya Katonda n’obuvumu. Obukadde n’obukadde bw’abantu baafuna Baibuli era ne bamanya n’Obukristaayo, wadde nga bwali bwa bulimba.

5. Nnabbi Danyeri yalagula ki ku bikwata ku ‘kumanya okw’amazima’?

5 Oluvannyuma, nga bwe kyalagulwa mu kitabo kya Danyeri, ‘okumanya okw’amazima kweyongera.’ Kino kibaddewo mu ‘kiseera ky’enkomerero’​—ekiseera kye tulimu kati. (Danyeri 12:4) Omwoyo omutukuvu guleetedde abaagazi b’amazima mu nsi yonna okufuna okumanya okutuufu okukwata ku Katonda ow’amazima n’ebigendererwa bye. Wadde oluvannyuma lw’ebyasa n’ebyasa eby’okuyigiriza kwa bakyewaggula, ekigambo kya Katonda kiwangula! Leero, amawulire amalungi galangirirwa wonna wonna, nga gategeeza abantu ku ssuubi ery’ensi empya ennungi ennyo. (Zabbuli 37:11) Kati ka twekenneenye okweyongera okw’ekigambo kya Katonda mu kiseera kyaffe.

Okweyongera kw’Ekigambo Leero

6. Mazima ki Abayizi ba Baibuli ge baategeera omwaka 1914 we gwatuukira?

6 Mu nkomerero y’ekyasa 19, amazima ga Baibuli gaawa amaanyi akabinja akatono ak’Abayizi ba Baibuli, leero abayitibwa Abajulirwa ba Yakuwa. Omwaka 1914 we gwatuukira, baali batandise okutegeera obulungi Baibuli. Baategeera amazima ag’ekitalo agakwata ku kigendererwa kya Katonda. Baakwatibwako nnyo okwagala kwa Yakuwa mu kutuma Omwana we ku nsi, bw’atyo n’aggulawo ekkubo erituusa mu bulamu obutaggwaawo. Baategeera era ne basiima erinnya lya Katonda n’engeri ze. Ate era, baakitegeera nti ‘ebiseera by’ab’amawanga’ byali bikomye, nga kiraga nti ekiseera kyali kisembedde gavumenti y’Obwakabaka bwa Katonda okuleetera abantu emikisa. (Lukka 21:24) Nga mawulire malungi nnyo! Amazima gano ag’ekitalo gaali ga kubuulirwa eri buli omu, buli wamu. Obulamu bw’abantu bwali mu kabi!

7. Amazima ga Baibuli gawangudde gatya mu biseera byaffe?

7 Yakuwa yawa omukisa Abakristaayo abo abatono abaafukibwako amafuta. Leero, omuwendo gw’abo abakkirizza Obukristaayo obw’amazima basusse mu bukadde mukaaga. Ekigambo kya Katonda era kibunye mu bitundu ebirala, kubanga kati Abajulirwa ba Yakuwa basangibwa mu nsi 235. Ate era, amazima ga Baibuli goolesezza amaanyi, nga gawangula enkonge zonna, ez’eddiini n’endala. Omulimu guno ogw’okubuulira mu nsi yonna gwongera okukakasa nti Yesu ali mu buyinza obw’Obwakabaka.​—Matayo 24:3, 14, NW.

8. Abamu boogedde ki ku kweyongera kw’Abajulirwa ba Yakuwa?

8 Nga bannabyafaayo bwe baayogera ku kweyongera okw’amaanyi okw’Obukristaayo mu kyasa ekyasooka, abeekenneenya bangi boogedde ku kweyongera kw’abantu ba Yakuwa mu kiseera kyaffe. Mu Amereka, abeekenneenya babiri baawandiikira wamu nti: “Mu myaka 75 egiyise Abajulirwa ba Yakuwa beeyongedde nnyo . . . era beeyongedde ku kigero eky’ensi yonna.” Akatabo akamu mu Afirika ow’Ebuvanjuba kaayogera ku Bajulirwa nga “emu ku ddiini esingayo okweyongera era essibwamu ekitiibwa mu nsi yonna olw’okunywerera ku njigiriza za Baibuli.” Era akatabo k’Abakatuliki akakubibwa mu Bulaaya, koogera ku “kweyongera okw’amaanyi okw’Abajulirwa ba Yakuwa.” Kiki ekireeseewo okweyongera kuno?

Omwoyo Omutukuvu Gukola Leero

9. (a) Ensonga enkulu lwaki ekigambo kya Katonda kiwangula leero y’eruwa? (b) Yakuwa asika atya abantu gy’ali?

9 Ensonga enkulu lwaki ekigambo kya Katonda kiwangula leero eri nti omwoyo gwa Yakuwa gukola n’amaanyi leero, nga bwe kyali mu kyasa ekyasooka. Yesu yagamba: ‘Tewali muntu ayinza kujja gye ndi Kitange eyantuma bw’atamusika.’ (Yokaana 6:44) Ebigambo bino biraga nti Katonda asikiriza abo ab’emitima emyesigwa, ng’akubiriza emitima gyabwe. Okuyitira mu mulimu gw’okubuulira ogw’Abajulirwa be, Yakuwa asika eri okusinza kwe ‘ebyegombebwa okuva mu mawanga gonna’​—abantu abawombeefu, abalinga endiga mu nsi.​—Kaggayi 2:6, 7.

10. Bantu ba ngeri ki abalina kye bakozeewo nga bawulidde ekigambo kya Katonda?

10 Omwoyo omutukuvu teguwadde bantu ba Katonda maanyi okutwala ekigambo kye mu bitundu by’ensi ebyesudde kyokka; naye era guleetedde abantu aba buli kika okubaako kye bakolawo nga bawulidde amawulire amalungi. Mazima ddala, abo abakkiriza ekigambo kya Katonda bavudde ‘mu buli kika n’ennimi n’amawanga.’ (Okubikkulirwa 5:9; 7:9, 10) Basangibwa mu bagagga n’abaavu, abayivu n’abataasoma. Abamu bakkirizza ekigambo mu kiseera eky’entalo n’okuyigganyizibwa, ng’ate abalala bakikkiriza mu biseera eby’emirembe n’okukulaakulana. Mu buli kika kya gavumenti, mu bifo ebitali bimu, mu nkambi z’abasibe, ne mu mbiri, abasajja n’abakazi balina kye bakozeewo nga bawulidde amawulire amalungi.

11. Omwoyo omutukuvu gukolera gutya mu bulamu bw’abantu ba Katonda, era njawulo ki eyeeyoleka?

11 Wadde ng’abantu ba Katonda ba njawulo, bali bumu. (Zabbuli 133:1-3) Kino kyongera ku bujulizi nti omwoyo omutukuvu gukola mu bulamu bw’abo abaweereza Katonda. Omwoyo gwe gwa maanyi era gusobozesa abaweereza be okulaga okwagala, essanyu, emirembe, ekisa, n’engeri endala ezisikiriza. (Abaggalatiya 5:22, 23) Leero, tutegeera bulungi nnabbi Malaki kye yalagula edda ennyo: “Awo lwe mulidda ne mwawula omutuukirivu n’omubi, oyo aweereza Katonda n’oyo atamuweereza.”​—Malaki 3:18.

Ekigambo kya Katonda Kiwangula Okuyitira mu Bakozi Abanyiikivu

12. Abajulirwa ba Yakuwa batwala batya omulimu gw’okubuulira enjiri, era abantu babasuubira kwanukula batya omulimu gwabwe ogw’okubuulira?

12 Abajulirwa ba Yakuwa leero tebalinga abo abagenda obugenzi ku kkanisa ne batabaako kye bakolawo. Banyiikirira omulimu gw’okubuulira enjiri. Okufaananako Abakristaayo abaasooka, beewaayo kyeyagalire okukola Katonda ky’ayagala, nga bafuba okuyamba abalala okuyiga ebikwata ku bisuubizo by’Obwakabaka bwa Yakuwa. Bakolera wamu ne Katonda, era nga bakozesa omwoyo gwe omutukuvu, bakuŋŋaanya abalala mu buweereza bwa Yakuwa. Mu kukola ekyo, booleka obusaasizi bwa Yakuwa n’okwagala kwe eri abantu abatakkiriza. Era bakola ekyo nga boolekagana n’obuteefiirayo, okusekererwa, era n’okuyigganyizibwa. Yesu yateekateeka abagoberezi be eri engeri ez’enjawulo abantu ze bandyanukuddemu amawulire amalungi. Yagamba: “Omuddu tasinga mukama we. Oba nga banjigganya nze, nammwe bannabayigganyanga; oba nga baakwata ekigambo kyange, n’ekyammwe banaakikwatanga.”​—Yokaana 15:20.

13. Ngeri ki ezitali mu Kristendomu ezeeyoleka mu Bajulirwa ba Yakuwa?

13 Tetuyinza kulemererwa kulaba kufaanagana okuliwo wakati w’Abajulirwa ba Yakuwa leero n’abo abakkirizza Obukristaayo obw’amazima mu kyasa ekyasooka. Ekirala ekirabika, y’enjawulo eriwo wakati w’Abajulirwa ba Yakuwa ne Kristendomu leero. Oluvannyuma lw’okuwandiika ku ngeri Abakristaayo abaasooka gye baabuuliramu enjiri n’obunyiikivu, omwekenneenya omu yagamba: “Okuggyako nga wazzeewo enkyukakyuka mu nkola y’ekkanisa ne kiba nti omulimu gw’okubuulira enjiri gulabibwa ng’ogwa buli Mukristaayo omubatize, era ng’abagukola beeyisa mu ngeri esingira ewala ey’abatali bakkiriza, tetuyinza kukulaakulana.” Engeri Kristendomu z’etalina zeeyoleka mu Bajulirwa ba Yakuwa! Balina okukkiriza okulamu, okukkiriza okwa nnamaddala era okukkiriza okwesigamye ku mazima ga Baibuli ge bawulira nga balina okubuulira abalala abaagala okuwulira.​—1 Timoseewo 2:3, 4.

14. Yesu yatwala atya obuweereza bwe, era abayigirizwa be balina ndowooza ki leero?

14 Yesu yatwala obuweereza bwe nga bukulu, era n’aba nga bw’akulembeza. Yagamba Piraato: “Nze nnazaalirwa ekyo, n’ekyo kye kyandeeta mu nsi, ntegeeze amazima.” (Yokaana 18:37) Abantu ba Katonda bawulira nga Yesu. Nga balina amazima ga Baibuli mu mitima gyabwe, bafuba okunoonya amakubo ag’okubuulira abantu bangi nga bwe kisoboka. Agamu ku makubo gano gooleka amagezi.

15. Abamu balaze batya amagezi mu kubuulira amawulire amalungi?

15 Mu nsi emu ey’omu Amereka ow’omu Bukiika Ddyo, Abajulirwa baasaabala eryato ne bayita ku kikono ky’Omugga Amazon okusobola okutuusa amazima ku bantu. Kyokka, obutabanguko bwe bwabalukawo mu 1995, abantu baakugirwa okuyita ku mugga. Nga bamalirivu okweyongera okutwalira abaagala okuyiga ebitabo ebikwata ku Baibuli, Abajulirwa baasalawo okuyisa obubaka ku mugga. Baawandiika amabaluwa ne bagasonseka mu maccupa aga plastiki awamu ne Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! Awo ne basuula amaccupa mu mugga. Baakola batyo okumala emyaka ena n’ekitundu okutuusa bwe baddamu okukkiriza abantu aba bulijjo okuyita ku mugga. Wonna omugga gye gwakulukutiranga, abantu beebaza nnyo Abajulirwa olw’ebitabo ebyo. Omukyala omu eyali omuyizi wa Baibuli yabawambaatira ng’akaaba era n’agamba: “Nnalowooza nti siriddamu kubalaba. Kyokka, bwe nnatandika okufuna magazini mu maccupa, nnamanya nti mwali temunneerabidde!” Abalala abaaberanga ku mbalama z’omugga baagamba nti baasomanga magazini ezo enfunda n’enfunda. Mu bifo bingi abantu we baaberanga waaliwo ‘posita’​—ekifo awaakuŋŋaaniranga ebintu ebyajjiranga ku mazzi. Mu bifo ebyo, abantu abaali baagala okuyiga we baanoonyezanga ‘amabaluwa’ agaayitiranga ku mugga.

16. Bwe tubeera abeetegefu okukozesebwa, kiggulawo kitya ekkubo ery’okufuula abayigirizwa?

16 Omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi gukulemberwa era ne guwagirwa Yakuwa Katonda ne bamalayika be ab’amaanyi. (Okubikkulirwa 14:6) Bwe tubeera abeetegefu okukozesebwa, wajjawo emikisa egitasuubirwa egy’okufuula abayigirizwa. Mu Nairobi, Kenya, abakyala babiri Abakristaayo abaali mu buweereza bw’ennimiro, baali bamaze okubuulira ennyumba ezaali zibaweereddwa. Omukyala omu omuto yabatuukirira n’abagamba: “Mbadde nsaba okusisinkana abantu nga mwe.” Yeegayirira Abajulirwa okujja mu maka ge amangu ago bakubaganye ebirowoozo ku Baibuli, era baatandika okumuyigiriza Baibuli olunaku olwo lwennyini. Lwaki omukazi oyo yatuukirira Abakristaayo abo ababiri mu bwangu bwe butyo? Wiiki bbiri emabega, yali afiiriddwa omwana we. N’olwekyo, bwe yalaba omwana eyalina ka tulakiti “Ssuubi Ki olw’Abaagalwa Baffe Abaafa?” yakaagala nnyo era n’asaba omwana akamuwe. Omwana yagaana naye n’asonga ku Mujulirwa eyali amuwadde tulakiti. Mangu ddala omukazi yakulaakulana mu by’omwoyo era n’asobola okwaŋŋanga obulumi obw’okufiirwa omwana we.

Okwagala kwa Katonda Kuteekwa Okuwangula

17-19. Kwagala ki Yakuwa kw’alaze abantu okuyitira mu kinunulo?

17 Okweyongera kw’ekigambo kya Katonda mu nsi yonna kukwataganyizibwa nnyo n’ekinunulo kya ssaddaaka ya Kristo Yesu. Okufaananako ekinunulo, omulimu gw’okubuulira kikolwa ekyoleka okwagala kwa Yakuwa eri abantu buli wamu. Omutume Yokaana yaluŋŋamizibwa okuwandiika: “Katonda bwe yayagala ensi bw’ati, n’okuwaayo n’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka, buli muntu yenna amukkiriza aleme okubula, naye abeere n’obulamu obutaggwaawo.”​—Yokaana 3:16.

18 Lowooza ku kwagala Yakuwa kwe yalaga mu kuteekawo ekinunulo. Okumala ekiseera kiwanvu nnyo, Katonda yalina enkolagana ey’oku lusegere, n’omwana we omwagalwa, eyazaalibwa omu yekka, “olubereberye lw’okutonda kwa Katonda.” (Okubikkulirwa 3:14) Yesu ayagala nnyo Kitaawe, era Yakuwa yayagala nnyo Omwana we “ng’ensi tennatondebwa.” (Yokaana 14:31; 17:24) Yakuwa yakkiriza Omwana we omwagalwa okufa abantu basobole okufuna obulamu obutaggwaawo. Ng’eyo yali ngeri ya kitalo ey’okulagamu abantu okwagala!

19 Yokaana 3:17 lugamba: “Kubanga Katonda teyatuma Mwana we mu nsi, okusalira ensi omusango; naye ensi erokokere ku ye.” Bwe kityo, Yakuwa yatuma Omwana we okukola omulimu ogw’okwagala era ogw’obulokozi, si ogw’okusala omusango. Kino kikwatagana n’ebigambo bya Peetero: “[Yakuwa] tayagala muntu yenna kubula, naye bonna batuuke okwenenya.”​—2 Peetero 3:9.

20. Mu ngeri ki obulokozi gye bukwatagana n’okubuulira amawulire amalungi?

20 Oluvannyuma lw’okuteekawo ekisinziirwako mu mateeka okufuna obulokozi mu kwefiiriza okungi, Yakuwa ayagala abantu bangi nga bwe kisoboka okukyeyambisa. Omutume Pawulo yawandiika: “Buli alikaabirira erinnya lya Mukama alirokoka. Kale balikaabirira batya gwe batannakkiriza? [E]ra balikkiriza batya gwe batannawulirako? [E]ra baliwulira batya awatali abuulira?”​—Abaruumi 10:13, 14.

21. Twanditutte tutya omukisa gw’okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira?

21 Nga nkizo ya maanyi nnyo okwenyigira mu mulimu guno ogw’okubuulira n’okuyigiriza mu nsi yonna! Si mulimu mwangu, naye nga Yakuwa asanyuka nnyo bw’alaba abantu be nga banywerera ku mazima era nga babuulira abalala amawulire amalungi! N’olwekyo, k’obeere mu mbeera ki, leka omwoyo gwa Katonda n’okwagala okuli mu mutima gwo bikukubirize okwenyigira mu mulimu guno. Era jjukira nti bye tulaba nga bituukirizibwa okwetooloola ensi yonna biwa obujulizi nti Yakuwa Katonda mangu ddala ajja kutuukiriza ekisuubizo kye okuleeta ‘eggulu eriggya n’ensi empya omulituula obutuukirivu.’​—2 Peetero 3:13.

Ojjukira?

• Lwaki obwewagguzi bwali tebusobola kusirisa ababuulizi b’amawulire amalungi?

• Ekigambo kya Katonda kiwangudde kitya mu kiseera kyaffe?

• Mu ngeri ki omwoyo gwa Katonda gye gukola leero?

• Ekinunulo kikwataganyizibwa kitya n’okubuulira amawulire amalungi?

[Gulaafu/Ekifaananyi ekiri ku lupapula 26]

(Bw’oba oyagala okulaba bwe bifaananira ddala, genda mu magazini)

Okweyongera kw’omuwendo gw’abalangirizi b’Obwakabaka mu kyasa 20

Omuwendo gw’Ababuulizi (mu bukadde)

6.0

5.5

5.0

4.5

4.0

3.5

3.0

2.5

2.0

1.5

1.0

0.5

1900 1910 1920 1930 1940 1950 1960 1970 1980 1990 2000

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 25]

JEROME

TYNDALE

GUTENBERG

HUS

[Ensibuko y’ekifaananyi]

Gutenberg ne Hus: From the book The Story of Liberty, 1878

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 25]

Abayizi ba Baibuli nga balangirira amawulire amalungi mu myaka gya 1920

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 26, 27]

Okwetooloola ensi yonna abantu balina kye bakolawo nga bawulidde amawulire amalungi

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 28]

Okufaananako ekinunulo kya ssaddaaka ya Yesu Kristo, omulimu gw’okubuulira gwoleka okwagala kwa Katonda

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share