Mutendereze Yakuwa olw’Ebikolwa Bye eby’Ekitalo!
“Emmeeme yange etendereza Yakuwa . . . kubanga Ow’Amaanyi ankoledde eby’ekitalo.”—LUKKA 1:46-49, NW.
1. Yakuwa tumutendereza lwa bikolwa ki eby’ekitalo?
YAKUWA agwanidde okutenderezebwa olw’ebikolwa bye eby’ekitalo. Nnabbi Musa bwe yattottolola okununulibwa kw’Abaisiraeri okuva mu Misiri, yagamba: “Amaaso gammwe gaalabanga omulimu gwonna omukulu [“ogw’ekitalo,” NW] ogwa Mukama gwe yakola.” (Ekyamateeka 11:1-7) Mu ngeri y’emu, malayika Gabulyeri bwe yalangirira okuzaalibwa kwa Yesu eri omuwala embeerera Malyamu, Malyamu yagamba: “Emmeeme yange etendereza Yakuwa . . . kubanga Ow’Amaanyi ankoledde eby’ekitalo.” (Lukka 1:46-49, NW) Ng’Abajulirwa ba Yakuwa, tutendereza Katonda olw’ebikolwa bye eby’ekitalo ng’okununula Abaisiraeri okuva e Misiri era n’okuzaalibwa kw’Omwana we omwagalwa okw’ekyamagero.
2. (a) ‘Ekigendererwa kya Katonda eky’olubeerera’ kirina makulu ki eri abantu abawulize? (b) Kiki ekyatuuka ku Yokaana ng’ali ku kizinga ky’e Patumo?
2 Bingi ku bikolwa bya Yakuwa eby’ekitalo bikwataganyiziddwa ‘n’ekigendererwa kye eky’olubeerera’ eky’okuwa abantu abawulize emikisa ng’ayitira mu Masiya n’obufuzi bw’Obwakabaka bwe. (Abaefeso 3:8-13) Ekigendererwa ekyo kyali kigenda kyeyoleka mu kiseera omutume Yokaana eyali akaddiye we yalabira ebiri mu ggulu okuyitira mu kwolesebwa. Yawulira eddoboozi ng’ery’akagombe nga lyogera: “Linnya okutuuka wano, nange nnaakulaga ebigwanira okubeerawo oluvannyuma lw’ebyo.” (Okubikkulirwa 4:1) Ng’awaŋŋangusiddwa gavumenti y’Abaruumi ku kizinga ky’e Patumo, “olw’ekigambo kya Katonda era n’olw’okutegeeza [ebikwata ku] Yesu,” Yokaana yafuna “okubikkulirwa kwa Yesu Kristo.” Omutume bye yalaba ne bye yawulira byabikkula kinene nnyo ku bikwata ku kigendererwa kya Katonda eky’olubeerera. Bwe kityo, ne kiwa okutegeera okw’eby’omwoyo era n’okukubiriza okutuukirawo eri Abakristaayo bonna ab’amazima.—Okubikkulirwa 1:1, 9, 10.
3. Baani abakiikirirwa abakadde 24 mu kwolesebwa Yokaana kwe yafuna?
3 Mu kwolesebwa okwo, Yokaana yalaba abakadde 24, nga batuuziddwa ku nnamulondo era nga batikkiddwa engule nga bakabaka. Ne bavvunnama mu maaso ga Katonda ne bagamba: “Osaanidde ggwe, Mukama waffe, Katonda waffe, okuweebwanga ekitiibwa n’ettendo n’obuyinza: kubanga ggwe wabitonda byonna, era byabaawo lwa kusiima kwo, era byatondebwa.” (Okubikkulirwa 4:11) Abakadde abo bakiikirira Abakristaayo bonna abaafukibwako amafuta abazuukiziddwa nga bali mu bifo byabwe eby’ekitiibwa Katonda bye yabasuubiza. Batendereza Yakuwa olw’ebikolwa bye eby’ekitalo ebikwata ku kutonda. Naffe tuwuniikirira ‘olw’obuyinza obutaggwaawo n’Obwakatonda’ bwa Yakuwa. (Abaruumi 1:20) Era gye tukoma okuyiga ebikwata ku Yakuwa, gye tukoma n’okufuna ensonga ez’okumutendereza olw’ebikolwa bye eby’ekitalo.
Langirira Ebikolwa bya Yakuwa Ebimutenderezesa!
4, 5. Waayo ebyokulabirako ku ngeri Dawudi gye yatenderezaamu Yakuwa.
4 Omuwandiisi wa Zabbuli Dawudi yatendereza Katonda olw’ebikolwa Bye eby’ekitalo. Ng’ekyokulabirako, Dawudi yayimba: “Muyimbe okutendereza Mukama, atuula mu Sayuuni: mubuulire ebikolwa bye mu bantu. Onsaasire, ai Mukama; laba okubonaabona kwange kwe bankola abankyaye, ggwe annyimusa ku miryango egy’olumbe; ndyoke njolesenga ettendo lyo lyonna [“nnangirirenga ebikolwa byo ebikutenderezesa,” NW]: mu miryango egy’omuwala wa Sayuuni n [n] aasanyukiranga obulokozi bwo.” (Zabbuli 9:11, 13, 14) Oluvannyuma lw’okuwa mutabani we Sulemaani pulaani ya yeekaalu, Dawudi yatendereza Katonda ng’agamba: “Obukulu bubwo [ai Yakuwa], n’amaanyi n’ekitiibwa n’okuwangula n’okugulumizibwa: . . . obwakabaka bubwo, ai Mukama, era ogulumizibwa okuba omutwe gwa byonna. . . . Kale nno, Katonda waffe, tukwebaza ne tutendereza erinnya lyo ery’ekitiibwa.”—1 Ebyomumirembe 29:10-13.
5 Ebyawandiikibwa bitukubiriza entakera okutendereza Yakuwa, nga Dawudi bwe yakola. Ekitabo kya Zabbuli kirimu ebigambo bingi eby’okutendereza Katonda era kigambibwa nti kimu kya kubiri eky’ennyimba ezo zaayimbibwa Dawudi. Buli kiseera yatenderezanga era ne yeebaza Yakuwa. (Zabbuli 69:30) Ate era, okuva edda n’edda ennyimba ezo ezaaluŋŋamizibwa zikozeseddwa okutendereza Yakuwa.
6. Zabbuli ezaaluŋŋamizibwa za muganyulo mu ngeri ki gye tuli?
6 Nga Zabbuli za mugaso nnyo eri abasinza ba Yakuwa! Bwe tuba twagala okutendereza Yakuwa olw’ebikolwa bye eby’ekitalo by’atukoledde, ebirowoozo byaffe tuyinza okubissa ku bigambo ebirungi ebiri mu Zabbuli. Ng’ekyokulabirako, bwe tuzuukuka ku makya, tuyinza okwogera ebigambo ebifaananako bwe biti: “Kirungi okwebazanga Mukama, n’okuyimba okutenderezanga erinnya lyo, ggwe ali waggulu ennyo: okwolesanga ekisa kyo enkya, n’obwesigwa bwo buli kiro. . . . Kubanga ggwe, Mukama, onsanyusizza n’omulimu gwo: n[n]aajagulizanga emirimu gy’emikono gyo.” (Zabbuli 92:1-4) Bwe tuvvuunuka ekizibu mu kukulaakulana kwaffe okw’eby’omwoyo, tuyinza okwoleka essanyu n’okusiima mu kusaba ng’omuwandiisi wa Zabbuli bwe yayimba: “Mujje tuyimbire Mukama: tumuyimbire n’eddoboozi ery’essanyu ejjinja ery’obulokozi bwaffe. Tujje mu maaso ge n’okwebaza, tumuyimbire n’eddoboozi ery’essanyu ne zabbuli.”—Zabbuli 95:1, 2.
7. (a) Kiki kye twandyetegereza ku nnyimba nnyingi eziyimbibwa Abakristaayo? (b) Ensonga emu lwaki twandizze nga bukyali mu nkuŋŋaana era n’okubeerawo okutuukira ddala ku nkomerero y’eruwa?
7 Tutera okuyimba ennyimba ezitendereza Yakuwa mu nkuŋŋaana ez’ekibiina era n’ennene. Eky’okwetegerezebwa kiri nti ennyimba ezisinga ku ezo zeesigamiziddwa ku kitabo kya Zabbuli. Nga tuli basanyufu nnyo okubeera n’ennyimba ez’enjawulo ezibuguumiriza ezituukirawo ez’okutendereza Yakuwa! Okuyimbira Katonda ennyimba ezitendereza era n’okwenyigira mu kusaba nga tuli wamu ne basinza bannaffe, nsonga nkulu eyandituleetedde okujja nga bukyali mu nkuŋŋaana zaffe era n’okubeerawo okutuukira ddala ku nkomerero yaazo.
“Mumutendereze Ya Mmwe Abantu”
8. Makulu ki agali mu kigambo “Aleruuya”?
8 Okutendereza Yakuwa kyeyoleka mu kigambo “Aleruuya,” ekiva mu kigambo ky’Olwebbulaniya ekitegeeza nti “mumutendereze Ya, mmwe abantu.” Ng’ekyokulabirako, mu Zabbuli 135:1-3 (NW), tusangamu ebigambo bino: “Mumutendereze Ya, mmwe abantu! Mutendereze erinnya lya Yakuwa, mumutendereze, mmwe abaweereza ba Yakuwa, mmwe abayimirira mu nnyumba ya Yakuwa, mu mpya z’ennyumba ya Katonda waffe. Mumutendereze Ya, kubanga Yakuwa mulungi. Muyimbire erinnya lye, kubanga ddungi.”
9. Biki ebitukubiriza okutendereza Yakuwa?
9 Bwe tufumiitiriza ku bikolwa bya Katonda eby’ekitalo eby’obutonde, era ne ku bikolwa bye eby’ekitalo by’atukoledde, okusiima okuviira ddala mu mitima kutukubiriza okumutendereza. Bwe tulowooza ku byamagero Yakuwa bye yakolera abantu be mu biseera eby’emabega, emitima gyaffe gitukubiriza okumutendereza. Era bwe tufumiitiriza ku bisuubizo eby’ebintu eby’ekitalo Yakuwa by’anaakola, tunoonya engeri ez’enjawulo okumutendereza n’okumusiima.
10, 11. Okubeerawo kwaffe kutuleetera kutya okutendereza Katonda?
10 Okubeerawo kwaffe nsonga nnungi nnyo eyandituleetedde okutendereza Yakuwa. Dawudi yayimba: “N[n]aakwebazanga; [Yakuwa] kubanga okukolebwa kwange kwa ntiisa, kwa kitalo: emirimu gyo gya kitalo; n’ekyo emmeeme yange ekimanyidde ddala.” (Zabbuli 139:14) Yee, ‘twakolebwa mu ngeri ey’ekitalo’ era tulina ebirabo eby’omuwendo ng’obusobozi bw’okulaba, obw’okuwulira, era n’obw’okulowooza. N’olwekyo, tetwandyeyisizza mu ngeri eraga nti tutendereza Omutonzi waffe? Pawulo yayoleka endowooza y’emu bwe yawandiika: “Kale oba nga mulya, oba nga munywa, oba nga mukola ekigambo kyonna kyonna, mukolenga byonna olw’ekitiibwa kya Katonda.”—1 Abakkolinso 10:31.
11 Bwe tuba nga ddala twagala Yakuwa, tujja kukola buli kintu kyonna olw’ekitiibwa kye. Yesu yagamba nti etteeka erisooka liri: “Yagalanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna, n’amaanyi go gonna.” (Makko 12:30; Ekyamateeka 6:5) Mazima ddala, tulina okwagala Yakuwa era tumutendereze ng’Omutonzi waffe era ng’oyo Atuwa “buli kirabo ekirungi, na buli kitone [e]kituukirivu.” (Yakobo 1:17; Isaaya 51:13; Ebikolwa 17:28) Tusaanira okukola ekyo kubanga obusobozi bwaffe obw’okulowooza, obw’eby’omwoyo, era n’amaanyi gaffe ag’obuntu, byonna biva eri Yakuwa. Ng’Omutonzi waffe, tugwanidde okumwagala n’okumutendereza.
12. Owulira otya ku bikolwa bya Yakuwa eby’ekitalo era n’ebigambo ebiri mu Zabbuli 40:5?
12 Ebikolwa bya Yakuwa eby’ekitalo bituwa ensonga nnyingi nnyo okumwagala n’okumutendereza! “Bingi nnyo by’okoze ai Yakuwa Katonda wange, era n’ebikolwa byo eby’ekitalo n’ebirowoozo gye tuli,” bwatyo Dawudi bwe yayimba. “Tewali ayinza okwenkanyizika naawe. Singa mbadde njagala okubibuulira n’okubyogerako, bifuuse bingi okusinga bye nnyinza okujjukira.” (Zabbuli 40:5, NW) Dawudi yali tayinza kuttottola bikolwa bya Yakuwa byonna eby’ekitalo, era naffe tetusobola. Naye ka tutendereze Katonda bulijjo singa tutegeezebwa ku bikolwa bye eby’ekitalo.
Ebikolwa Ebikwataganyizibwa n’Ekigendererwa kya Katonda eky’Olubeerera
13. Essuubi lyaffe likwataganyizibwa litya n’ebikolwa bya Katonda eby’ekitalo?
13 Essuubi lyaffe ery’ebiseera eby’omu maaso likwataganyizibwa n’ebikolwa bya Katonda eby’ekitalo eby’ekigendererwa kye eky’olubeerera. Oluvannyuma lw’obujeemu mu Adeni, Yakuwa yawa obunnabbi obwasooka obulimu essuubi. Ng’awa omusota ekibonerezo, Katonda yagamba: “Obulabe [nnaabuteekanga] wakati wo n’omukazi, era ne wakati w’ezzadde lyo n’ezzadde ly’omukazi: (ezzadde ly’omukazi) lirikubetenta omutwe, naawe oliribetenta ekisinziiro.” (Olubereberye 3:15) Abantu abeesigwa beeyongera okuba n’essuubi mu Zzadde, oluvannyuma lwa Yakuwa okukola ekikolwa eky’ekitalo ng’awonya Nuuwa n’ab’omu maka ge mu Mataba agaasaanyawo ensi embi. (2 Peetero 2:5) Obunnabbi obulimu ebisuubizo eri abasajja nga Ibulayimu ne Dawudi bwalaga ebintu ebirala Yakuwa bye yali ow’okutuukiriza ng’ayitira mu Zzadde.—Olubereberye 22:15-18; 2 Samwiri 7:12.
14. Kyakulabirako ki eky’enkukunala eby’ebikolwa bya Yakuwa eby’ekitalo ku lw’abantu be?
14 Eky’enkukunala ekiraga nti Yakuwa y’akola ebikolwa eby’ekitalo ku lw’abantu, kyeyoleka bwe yawaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka, Ezzadde eryasuubizibwa, Yesu Kristo, nga ssaddaaka y’ekinunulo. (Yokaana 3:16; Ebikolwa 2:29-36) Ekinunulo kyawa ekisinziirwako okudda eri Katonda. (Matayo 20:28; Abaruumi 5:11) Yakuwa yakuŋŋaanya wamu abantu abaasooka okutabaganyizibwa naye mu kibiina Ekikristaayo, ekyateekebwawo ku Pentekooti 33 C.E. N’obuyambi bw’omwoyo omutukuvu, baabuulira amawulire amalungi okumpi n’ewala nga balaga engeri okufa kwa Yesu, era n’okuzuukira kwe, bwe kuggulirawo ekkubo abantu abawulize okufuna emikisa egy’olubeerera wansi w’obufuzi bw’Obwakabaka bwa Katonda obw’omu ggulu.
15. Bya kitalo ki Yakuwa by’akoze mu kiseera kyaffe?
15 Mu kiseera kyaffe, mu ngeri ey’ekyewuunyo, Yakuwa akuŋŋaanyizza ensigalira y’Abakristaayo abaafukibwako amafuta. Empewo ez’okuzikiriza zikyakwatiddwa okusobozesa ensigalira ya 144,000 abanaafuga ne Kristo mu ggulu okuteekebwako akabonero. (Okubikkulirwa 7:1-4; 20:6) Katonda yakakasa nti Abakristaayo abaafukibwako amafuta basumululwa mu busibe obw’eby’omwoyo, okuva mu “Babulooni Ekinene,” obwakabaka obw’ensi yonna obw’eddiini ez’obulimba. (Okubikkulirwa 17:1-5) Okununulibwa okwo okwaliwo mu 1919 era n’obukuumi bwa Katonda bwe baafuna okuva ku olwo, bisobozesezza ensigalira y’abaafukibwako amafuta okukola ki? Bibasobozesezza okwakayakana mu kuwa obujulirwa obusembayo nga Yakuwa tannaba kuzikiriza mulembe gwa Setaani omubi mu ‘kibonyoobonyo ekinene’ ekisembera amangu.—Matayo 24:21; Danyeri 12:3; Okubikkulirwa 7:14.
16. Kiki ekivudde mu kubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka?
16 Abajulirwa ba Yakuwa abaafukibwako amafuta n’obunyiikivu bawomye omutwe mu mulimu gw’okubuulira amawulire g’Obwakabaka mu nsi yonna. N’ekivuddemu, omuwendo ogweyongera ‘ogw’endiga endala,’ bafuuka abasinza ba Yakuwa. (Yokaana 10:16) Tuli basanyufu nti omukisa gukyaliwo eri abawombeefu okutwegattako mu kutendereza Yakuwa. Abo ababaako kye bakolawo nga baaniriziddwa nti ‘mujje,’ bajja kuwonyezebwawo mu kibonyoobonyo ekinene, nga balina essuubi ery’okutendereza Yakuwa emirembe n’emirembe.—Okubikkulirwa 22:17.
Enkumi n’Enkumi Beekuluumulira eri Okusinza okw’Amazima
17. (a) Yakuwa akola atya ebikolwa eby’ekitalo ebikwata ku mulimu gwaffe ogw’okubuulira? (b) Zekkaliya 8:23 lutuukirizibwa lutya?
17 Kaakano, Yakuwa akola ebikolwa eby’ekitalo ebimutenderezesa ebikwata ku mawulire amalungi ge tubuulira. (Makko 13:10) Mu myaka egyakayita, Yakuwa ‘agguddewo oluggi olunene olw’emirimu emingi.’ (1 Abakkolinso 16:9) Kino kisobozesezza amawulire amalungi okubuulirwa mu bitundu abalabe b’amazima gye baali batulemesezza. Bangi abaali mu kizikiza eky’eby’omwoyo kati balina kye bakolawo nga baaniriziddwa okusinza Yakuwa. Batuukiriza ebigambo bino eby’obunnabbi: “Bw’ati bw’ayogera Mukama w’eggye nti Mu nnaku ziri abantu kkumi . . . okuva mu nnimi zonna ez’amawanga, balikwata ku lukugiro olw’omuntu Omuyudaaya nga boogera nti Tuligenda nammwe; kubanga tuwulidde nti Katonda ali nammwe.” (Zekkaliya 8:23) Abo ‘abantu ekkumi,’ be boogera nabo be Bayudaaya ab’omwoyo, ensigalira y’Abakristaayo abaafukibwako amafuta mu kiseera kyaffe. Okuva kkumi bwe kiyinza okukiikirira obujjuvu obw’ebyo ebiri ku nsi, “abantu kkumi” bakiikirira “ekibiina [e]kinene” ekigattibwa awamu ne “Isiraeri wa Katonda,” bonna ne bafuuka ‘ekisibo kimu.’ (Okubikkulirwa 7:9, 10; Abaggalatiya 6:16) Nga kya ssanyu okulaba abantu bangi nga benyigidde mu kuweereza okutukuvu ng’abasinza ba Yakuwa Katonda!
18, 19. Bukakafu ki obuliwo nti Yakuwa awa omukisa omulimu gw’okubuulira?
18 Tuli basanyufu nnyo nti enkumi n’enkumi, mu butuufu, emitwalo n’emitwalo bakkirizza okusinza okw’amazima mu nsi nnyingi ezaali zifumbekeddemu okusinza okw’obulimba era nga kyalabika ng’abantu abaali tebayinza kukkiriza mawulire malungi. Kebera mu katabo Yearbook of Jehovah’s Witnesses, akaakafulumizibwa era weetegereze ensi ezirimu ababuulizi b’Obwakabaka abali wakati wa 100,000 ne 1,000,000. Buno bukakafu obw’enkukunala obulaga nti Yakuwa awa omukisa omulimu gw’okubuulira Obwakabaka.—Engero 10:22.
19 Ng’abantu ba Yakuwa, tutendereza era ne twebaza Kitaffe ow’omu ggulu olw’okutuwa ekigendererwa kyennyini eky’obulamu, omulimu oguganyula mu buweereza bwe, era n’ebiseera eby’omu maaso ebitangaavu. Tulindirira n’okwesunga okw’amaanyi okutuukirizibwa kw’ebisuubizo bya Katonda. Era, tuli bamalirivu ‘okwekuumira mu kwagala kwa Katonda nga tulindirira obulamu obutaggwaawo.’ (Yuda 20, 21) Nga tuli basanyufu nnyo okulaba nti kati ab’ekibiina ekinene abatendereza Katonda bawerera ddala 6,000,000! Nga balina emikisa gya Yakuwa, ensigalira y’abaafukibwa amafuta awamu ne bannaabwe ‘ab’endiga endala’ bategekeddwa mu bibiina ebiwera nga 91,000 mu nsi 235. Fenna tuliisibwa bulungi emmere ey’eby’omwoyo okuyitira mu kufuba ‘kw’omuddu omwesigwa era ow’amagezi.’ (Matayo 24:45) Entegeka ya Katonda ekulaakulana ewa obulagirizi omulimu gw’Obwakabaka okuyitira mu matabi 110 ag’Abajulirwa ba Yakuwa. Tuli basanyufu nti Yakuwa akubirizza emitima gy’abantu be ‘okumuwa ekitiibwa nga bakozesa ebintu byabwe eby’omuwendo.’ (Engero 3:9, 10) N’ekivuddemu, omulimu gwaffe ogw’okubuulira mu nsi yonna gweyongera. Era amakolero agakuba ebitabo, amaka ga Beseri n’ag’abaminsani, Ebizimbe by’Obwakabaka, n’Ebizimbe eby’Enkuŋŋaana Ennene bizimbibwa ng’obwetaavu bwe buba.
20. Twandikwatiddwako tutya nga tufumiitiriza ku bikolwa bya Yakuwa eby’ekitalo?
20 Tetusobola kwogera ku bikolwa byonna eby’ekitalo ebituleetera okutendereza Kitaffe ow’omu ggulu. Mazima ddala, omuntu yenna ow’omutima omulungi teyandyegasse ku bantu abatendereza Yakuwa? Kya lwatu nedda! Bwe kityo, ka bonna abaagala Katonda boogerere waggulu: “Mumutendereze Mukama: mumutendereze Mukama, mmwe abayima mu ggulu: mumutendereze mu bifo ebya waggulu. Mumutendereze, mmwe bamalayika be bonna: . . . abavubuka n’abawala; abakadde n’abato: batendereze erinnya lya Mukama; kubanga erinnya lye yekka lye ligulumizibwa: ekitiibwa kye kiri kungulu ku nsi ne ku ggulu.” (Zabbuli 148:1, 2, 12, 13) Yee, kaakano era n’emirembe gyonna, ka tutendereze Yakuwa olw’ebikolwa bye eby’ekitalo!
Wandizzeemu Otya?
• Ebimu ku bikolwa bya Yakuwa ebituleetera okumutendereza bye biruwa?
• Lwaki owulira ng’okubirizibwa okutendereza Yakuwa?
• Essubi lyaffe likwataganyizibwa litya n’ebikolwa bya Katonda eby’ekitalo?
• Yakuwa akola atya ebikolwa ebimutenderezesa mu mulimu gw’okubuulira Obwakabaka?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 8]
Wenyigira mu kuyimba ennyimba ez’okutendereza Yakuwa n’omutima gwo gwonna?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 11]
Tuli basanyufu nti omukisa gukyaliwo eri abawombeefu okutwegattako mu kutendereza Yakuwa