LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w05 7/1/05 lup. 17-22
  • Abavubuka, Mutendereze Yakuwa!

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Abavubuka, Mutendereze Yakuwa!
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Lwaki Tusaanidde Okutendereza Yakuwa?
  • Engeri Abavubuka Abamu Gye Baatenderezaamu Yakuwa
  • Oyinza Otya Okutendereza Yakuwa?
  • Wanditadise Ddi Okutendereza Yakuwa?
  • “Mutendereze Erinnya lya Yakuwa”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
  • Mutendereze Yakuwa olw’Ebikolwa Bye eby’Ekitalo!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Mutendereze Yakuwa Buli Lunaku
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2009
  • Tendereza Yakuwa Katonda Waffe!
    Muyimbire Yakuwa n’Essanyu
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
w05 7/1/05 lup. 17-22

Abavubuka, Mutendereze Yakuwa!

“Mutendereze Mukama mmwe abali mu nsi, . . . abavubuka n’abawala.”​—ZABBULI 148:7, 12.

1, 2. (a) Bintu ki abavubuka bangi bye bamanyi nti tebakkirizibwa kubikola? (b) Lwaki abavubuka tebasaanidde kuwulira bubi abazadde bwe babateerawo amateeka?

ABAVUBUKA bamanyi bulungi ebintu bye batakkirizibwa kukola ku myaka gyabwe. Bangi bayinza n’okukubuulira ddi lwe balikkirizibwa okwesaza oluguudo, okwebakira ku ssaawa ze baagala, n’okuvuga emmotoka. Ebiseera ebimu, omuvubuka ayinza okwesanga nti buli lw’asaba okubaako ky’akola, bamuddamu nti, “Lindako okutuusa ng’okuze.”

2 Abavubuka mukimanyi bulungi nti bazadde bammwe balaba nti kya magezi okubateerawo amateeka ge balowooza nti gajja kubakuuma. Ate era mukimanyi bulungi nti Yakuwa asanyuka bwe mugondera bazadde bammwe. (Abakkolosaayi 3:20) Muwulira nti baba babanyooma bwe babateerawo amateeka ng’ago? Oba muwulira nti tewali kirungi kye mukkirizibwa kukola okutuusa nga mukuze? Bwe kiba bwe kityo, ekyo si kituufu! Waliwo omulimu ogukolebwa leero ogusinga n’ebyo byonna bye mwesunga okukola nga mukuze. Abavubuka, mukkirizibwa kwenyigira mu mulimu ogwo? Yee, era Katonda Ali Waggulu Ennyo y’abakubiriza okugukola!

3. Mulimu ki Yakuwa gw’akubiriza abavubuka okwenyigiramu, era bibuuzo ki bye tujja okwetegereza?

3 Mulimu ki gwe twogerako wano? Weetegereze ebigambo ebiri mu kyawandiikibwa ekikulu mu kitundu kino: “Mutendereze Mukama mmwe abali mu nsi, . . . abavubuka n’abawala.” (Zabbuli 148:7, 12) Okusinziira ku kyawandiikibwa ekyo, olina enkizo ey’amaanyi okutendereza Yakuwa. Omuvubuka, oyagala okukola omulimu ogwo? Bangi bagukola. Naawe okusobola okutegeera ensonga lwaki wandikoze omulimu guno, ka twekenneenye ensonga ssatu. Esooka, lwaki osaanidde okutendereza Yakuwa? Ey’okubiri, osobola otya okumutendereza obulungi? Ey’okusatu, wanditandise ddi okutendereza Yakuwa?

Lwaki Tusaanidde Okutendereza Yakuwa?

4, 5. (a) Zabbuli 148 eyogera ku bayimbi ba ngeri ki? (b) Mu ngeri ki ebitonde ebitasobola kwogera oba okulowooza gye bisobola okutendereza Yakuwa?

4 Ensonga esingira ddala obukulu lwaki tusaanidde okutendereza Yakuwa eri nti, ye Mutonzi w’ebintu byonna. Zabbuli 148 etuyamba okutegeera ensonga eyo. Ng’ekyokulabirako: Singa osanga abayimbi nga bayimba oluyimba olulungi ennyo, muli owulira otya? Watya singa okimanyi nti ebigambo ebiri mu luyimba olwo bituufu, bya makulu, birungi era nga bizzaamu amaanyi? Wandiwulidde ng’oyagala okuyiga ebigambo by’oluyimba olwo era n’obeyungako? Abasinga obungi ekyo kye twandikoze. Zabbuli 148 eyogera ku bayimbi abasingira ewala abo aboogeddwako waggulu. Zabbuli eyo eyogera ku bitonde ebitenderereza awamu Yakuwa. Kyokka bw’osoma zabbuli eyo, ojja kulabamu ekintu ekitali kya bulijjo. Kye kiruwa ekyo?

5 Ebimu ku ebyo ebitendereza Yakuwa ebyogerwako mu Zabbuli 148, tebisobola kwogera wadde okulowooza. Ng’ekyokulabirako, tusoma nti enjuba, omwezi, emmunyeenye, omuzira, empewo n’ensozi, bitendereza Yakuwa. Ebitonde bino ebitasobola kwogera wadde okulowooza bisobola bitya okutendereza Yakuwa? (Ennyiriri 3, 8, 9) Bimutendereza mu ngeri y’emu ng’emiti, eby’omu nnyanja, n’ensolo bwe bikola. (Ennyiriri 7, 9, 10) Wali weetegerezza enjuba ng’egolooba, omwezi nga gutambula ku ggulu erijjudde emmunyeenye, oba okunyumirwa okulaba ensolo ezizannya n’okuwuniikirira ng’olabye ekifo ekirabika obulungi? Bw’oba wali obirabyeko, kitegeeza nti wali ‘owuliddeko’ ebitonde nga bitendereza. Byonna Yakuwa bye yatonda bitujjukiza nti ye Mutonzi asingiridde, era nti mu butonde bwonna tewali amusinga maanyi, magezi, oba okwagala.​—Abaruumi 1:20; Okubikkulirwa 4:11.

6, 7. (a) Bitonde ki ebirina amagezi ebyogerwako mu Zabbuli 148, ebitendereza Yakuwa? (b) Kiki ekiyinza okutuleetera okutendereza Yakuwa? Waayo ekyokulabirako.

6 Zabbuli 148 era eraga nti n’ebitonde eby’amagezi bitendereza Yakuwa. Olunyiriri 2, lugamba nti ‘ggye,’ lya Yakuwa ery’omu ggulu litendereza Katonda. Mu lunyiriri 11, abakungu gamba nga bakabaka, abalamuzi nabo bakubirizibwa okutendereza Yakuwa. Bwe kiba nti bamalayika ab’ekitiibwa ennyo batendereza Yakuwa, kati olwo ffe abantu obuntu lwaki tetumutendereza? Mu lunyiriri 12 ne 13, nammwe abavubuka mukubirizibwa okutendereza Yakuwa. Mwandyagadde okukikola?

7 Lowooza ku kyokulabirako kino. Singa olina mukwano gwo alina ekitone​—mu mizannyo, mu kuyimba oba ng’ayiiya, wandibuulidde ab’omu maka go oba mikwano gyo emirala ebimukwatako? Awatali kubuusabuusa kye wandikoze. Naffe ekyo kye tusaanidde okukola bwe tuyiga ebikwata ku Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, Zabbuli 19:1, 2 walaga nti eggulu erijjudde emmunyeenye, ‘litendereza’ Omutonzi. Bwe tulowooza ku bintu ebyewuunyisa Yakuwa by’akoze, tetuyinza butabuulirako balala.

8, 9. Lwaki Yakuwa ayagala tumutendereze?

8 Ensonga endala lwaki tusaanidde okutendereza Yakuwa eri nti ayagala tumutendereze. Lwaki? Lwa kuba tasobola kubaawo nga tetumutendereza? Nedda. Ffe abantu ebiseera ebimu twagala nnyo okutenderezebwa, naye Yakuwa si bwali. (Isaaya 55:8) Yeemalirira era amanyi nti engeri ze nnungi. (Isaaya 45:5) Kyokka, ayagala tumutendereze era asanyuka bwe tukikola. Lwaki? Lwa nsonga bbiri. Esooka, akimanyi nti twetaaga okumutendereza. Yatutonda n’obwetaavu obw’eby’omwoyo, kwe kugamba, okwagala okumusinza. (Matayo 5:3) N’olwekyo, ng’omuzadde bw’asanyuka ng’omwana we alya emmere ey’omugaso, ne Yakuwa bw’atyo bw’asanyuka bwe tufaayo ku mbeera yaffe ey’eby’omwoyo.​—Yokaana 4:34.

9 Ensonga ey’okubiri eri nti: Yakuwa akimanyi nti abalala beetaaga okuwulira nga tumutendereza. Omutume Pawulo yawandiikira bw’ati omuvubuka Timoseewo: “Weekumenga wekka n’okuyigiriza kwo. Nyiikiriranga mu ebyo; kubanga bw’okola bw’otyo, olyerokola wekka era n’abo abakuwulira.” (1 Timoseewo 4:16) Yee, bw’oyigiriza abalala ebikwata ku Yakuwa Katonda, n’omutendereza, nabo basobola okumumanya. Okumanya kwe bafuna kujja kubayamba okufuna obulamu obutaggwaawo!​—Yokaana 17:3.

10. Lwaki tuwulira nti tukubirizibwa okutendereza Katonda?

10 Waliwo ensonga endala lwaki Yakuwa ayagala tumutendereze. Jjukira ekyokulabirako kya mukwano gwo gwe twayogeddeko. Singa owulira ng’omuntu amufeebya, ng’amwogerako eby’obulimba oba ng’ayonoona erinnya lye, tekyandikuleetedde okumwogerako obulungi? Waliwo eby’obulimba bingi eby’ogeddwa ku Yakuwa. (Yokaana 8:44; Okubikkulirwa 12:9) Abo abamwagala bawulira nga bakubirizibwa okubuulira abalala amazima agamukwatako. Naawe wandyagadde okwoleka okwagala n’okusiima kwo eri Yakuwa okirage nti gw’olonze okuba Omufuzi wo mu kifo ky’omulabe we lukulwe, Setaani? Bino byonna osobola okubikola ng’otendereza Yakuwa. Osobola otya kumutendereza?

Engeri Abavubuka Abamu Gye Baatenderezaamu Yakuwa

11. Byakulabirako ki ebiri mu Baibuli ebiraga nti abavubuka basobola bulungi nnyo okutendereza Yakuwa?

11 Baibuli eraga nti abavubuka basobola bulungi nnyo okutendereza Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, waliwo omuwala Omuisiraeri eyawambibwa Abasuuli. Yabuulira n’obuvumu muka mukama we nti nnabbi wa Yakuwa, Erisa yali asobola okuwonya mukama we. Ebyo omuwala ono bye yayogera byaviirako mukama we okuwonyezebwa mu ngeri ey’ekyamagero era byawa obujulirwa obw’amaanyi. (2 Bassekabaka 5:1-17) Yesu naye yabuulira n’obuvumu ng’akyali muto. Mu byonna Yesu bye yakola ng’akyali muto, Yakuwa yasalawo okuwandiisa ekyo kyokka ekyaliwo ng’aweza emyaka 12 bwe yagenda mu yeekaalu e Yerusaalemi. Ng’ali eyo yabuuza abayigiriza b’eddiini ebibuuzo era ne basigala nga bawuniikiridde olw’engeri gye yali amanyimu ebikwata ku Yakuwa.​—Lukka 2:46-49.

12, 13. (a) Ng’anaatera okuttibwa, kiki Yesu kye yakola mu yeekaalu era kino kyakwata kitya ku bantu? (b) Yesu yawulira atya abaana bwe baamutendereza?

12 Ng’akuze, Yesu yaleetera abaana okutendereza Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, ng’ebulayo ennaku ntono attibwe, Yesu yagenda mu yeekaalu e Yerusaalemi. Baibuli etugamba nti yakolerayo “eby’amagero” bingi. Yagoba abo abaali bafudde ekifo ekyo ekitukuvu empuku y’abanyazi. Ate era yawonya abazibe b’amaaso n’abalema. Bonna abaaliwo naddala abakulembeze b’amaddiini bandibadde batendereza Yakuwa n’Omwana we, Masiya. Eky’ennaku bangi tebakikola. Baali bakimanyi nti Katonda ye yatuma Yesu, naye baali batya abakulembeze b’eddiini. Kyokka, waliwo abamu abaamutendereza. Abantu abo obamanyi? Baibuli egamba: “Bakabona abakulu n’abawandiisi bwe balaba eby’amagero [Yesu] bye yakola, n’abaana abaayogerera waggulu mu yeekaalu nga bagamba nti Ozaana eri omwana wa Dawudi; ne banyiiga ne [bagamba Yesu] nti Owulira bano bwe bagamba?”​—Matayo 21:15, 16; Yokaana 12:42.

13 Bakabona abo baali basuubira nti Yesu yali ajja kusirisa abaana abaali bamutendereza. Naye ekyo yakikola? N’akatono! Yesu yabuuza bw’ati bakabona abo: “Temusomangako nti Mu kamwa k’abaana abato n’abawere otuukiriza ettendo?” Kya lwatu, Yesu ne Kitaawe baasiima ekyo abaana abo kye baakola. Ekyo abaana kye baakola abantu abakulu bonna abaaliwo kye bandibadde bakola. Wadde baali bato, kye baali bakola baali bakitegeera. Baali balabye omusajja ono ng’akola eby’amagero, ayogera n’obuvumu era ng’ayoleka okukkiriza, ng’ayagala Katonda n’abantu. Nga bwe yagamba, ddala ye yali “Mutabani wa Dawudi,” Masiya eyasuubizibwa. Olw’okukkiriza kwabwe, abaana bano baafuna n’enkizo ey’okutuukiriza obunnabbi.​—Zabbuli 8:2.

14. Biki abavubuka bye balina ebibasobozesa okutendereza Katonda?

14 Ebyokulabirako ng’ebyo bituyigiriza ki? Bituyigiriza nti abaana basobola bulungi nnyo okutendereza Yakuwa. Balina obusobozi obw’okutegeera obulungi amazima era ne booleka okukkiriza kwabwe mu bwesimbu era baba banyiikivu. Ate era balina ekirabo ekyogerwako mu Engero 20:29: “Abalenzi ekitiibwa kyabwe maanyi gaabwe.” Yee, abavubuka mulina amaanyi agasobola okukozesebwa mu kutendereza Yakuwa. Amaanyi ago munaagakozesa mutya?

Oyinza Otya Okutendereza Yakuwa?

15. Kiki ekyanditukubirizza okuwereza Yakuwa?

15 Okutendereza Yakuwa kuviira ddala mu mutima. Tosobola kutendereza bulungi Yakuwa singa okikola lwa kuba abalala be bakugambye. Jjukira, ekiragiro ekisingayo obukulu kiri nti: “Yagalanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna n’obulamu bwo bwonna n’amagezi go gonna.” (Matayo 22:37) Osobodde okutegeera Yakuwa nga weesomesa Ekigambo kye? Bw’osoma Ekigambo kya Yakuwa kikuleetera okumwagala. Okwagala okwo osobola okukwoleka ng’omutendereza. Singa otendereza Yakuwa ng’olina ekiruubirirwa ekirungi, ojja kusobola okumutendereza n’ebbugumu.

16, 17. Empisa z’omuntu ziyinza zitya okumuyamba okutendereza Yakuwa? Waayo ekyokulabirako.

16 Nga tonnalowooza ku kya kwogera, sooka ofeeyo ku nneeyisa yo. Singa omuwala Omuisiraeri eyali atwaliddwa mu buwambe teyali muwulize era nga si mwesigwa, olowooza mukama we Omusuuli yandiwulirizza ebigambo bye ebikwata ku nnabbi wa Yakuwa? Kirabika teyandimuwulirizza. Mu ngeri y’emu, abantu bajja kukuwuliriza singa balaba ng’oli wa mpisa nnungi era ng’owa abalala ekitiibwa. (Abaruumi 2:21) Lowooza ku kyokulabirako kino.

17 Omuwala ow’emyaka 11 ow’omu Portugal yakakibwa okwenyigira mu mikolo egyali ku ssomero, egyali gisobola okwonoona omuntu we ow’omunda. N’obuwoombeefu yannyonnyola omusomesa we ensonga lwaki yali tasobola kwenyigira mu mikolo egyo, naye omusomesa yamujerega bujerezi. Nga wayise ekiseera, omusomesa oyo yagezaako okuvumirira eddiini y’omuwala ono enfunda n’enfunda, ng’agezaako okumuswaza. Kyokka, omuwala yasigala mukkakkamu. Nga wayiseewo emyaka, mwannyinaffe oyo omuto yatandika okuweereza nga payoniya owa bulijjo. Ng’ali ku lukuŋŋaana olumu olunene, alina omuntu gwe yeetegereza mu abo abaali bagenda okubatizibwa. Ye yali omusomesa we oli! Oluvannyuma lw’okugwaŋŋana mu bifuba, omukyala oyo yagamba mwannyinaffe omuto nti empisa ze zaamukwatako nnyo. Omujulirwa bwe yamukyalira, omusomesa ono yamubuulira engeri omuyizi we gye yeeyisangamu. N’ekyavaamu, omukyala oyo yatandika okusoma Baibuli, era n’akkiriza amazima. Yee okusinziira ku kyokulabirako kino, engeri gye weeyisaamu esobola okukuyamba okutendereza Yakuwa!

18. Kiki omuvubuka ky’asobola okukola singa awulira nti atya okutandika emboozi ey’esigamiziddwa ku Baibuli oba okwogera ku Yakuwa Katonda?

18 Okisanze nti ebiseera ebimu ozibuwalirwa okuwa obujulirwa ku ssomero? N’abavubuka abalala balina ekizibu ekyo. Kyokka waliwo by’osobola okukola ebiyinza okuleetera abalala okukubuuza ebibuuzo ebikwata ku nzikiriza yo. Ng’ekyokulabirako, bwe kiba tekimenya mateeka, lwaki bw’oba ogenda ku ssomero totwala bitabo ebyesigamiddwa ku Baibuli n’obisoma mu biseera eby’okuwummuliramu oba mu ebiseera ebirala we kiba kikkirizibwa? Bayizi banno bayinza okwagala obabuulire by’osoma. Bw’obabuulira ebikunyumidde mu ebyo by’obadde osoma ojja kwesanga ng’emboozi etandise okukwajja mu ngeri gy’obadde tosuubira. Jjukira okubuuza bayizi banno ebikwata ku bye bakkiriza. Bawulirize bulungi, era obabuulire ebyo by’oyize mu Baibuli. Ng’ebyokulabirako ebiri ku lupapula 29 bwe biraga, abavubuka bangi batendereza Katonda nga bali ku ssomero. Kino kibaviiramu nnyo essanyu era kibayamba okumanya Yakuwa.

19. Kiki ekiyinza okuyamba abavubuka okulongoosa mu ngeri gye babuuliramu nnyumba ku nnyumba?

19 Okubuulira nnyumba ku nnyumba, ngeri nnungi nnyo ey’okutenderezaamu Yakuwa. Bw’oba tonnatandika kubuulira nnyumba ku nnyumba, lwaki tokifuula kiruubirirwa kyo? Singa oba watandika dda, waliwo ebiruubirirwa ebirala by’osobola okweteerawo? Ng’ekyokulabirako, mu kifo ky’okukozesa ennyanjula emu ku buli nnyumba, saba bazadde bo n’abalala abalina obumanyirivu bakubuulireyo ennyanjula endala z’osobola okukozesa. Yiga engeri y’okukozesaamu Baibuli, okuddayo eri abo abalaze okwagala, oba okutandika okusomesa abalala Baibuli. (1 Timoseewo 4:15) Gy’onookoma okutendereza Yakuwa mu ngeri ezo, gy’onookoma okulongoosa mu ngeri gy’oyigirizaamu era onyumirwe obuweereza.

Wanditadise Ddi Okutendereza Yakuwa?

20. Lwaki abavubuka tebasaanidde kuwulira nti bakyali bato nnyo okutendereza Yakuwa?

20 Ku bibuuzo ebisatu bye twogeddeko mu kitundu kino, kino kye kisinga obwangu okuddamu. Weetegereze Baibuli ky’eddamu: “Ojjukiranga Omutonzi wo mu biseera by’obuvubuka bwo.” (Omubuulizi 12:1) Yee, kati kye kiseera okutandika okutendereza Yakuwa. Kyangu okugamba nti: “Nkyali muto nnyo okubuulira. Sirina bumanyirivu. Nnandirinzeko okutuusa nga nkuze.” Si gwe asoose okuwulira bw’otyo. Ng’ekyokulabirako, Yeremiya bwe yali omuto yagamba Yakuwa nti: “Woowe, Mukama Katonda! Laba, siyinza kwogera kubanga ndi mwana muto.” Yakuwa yamugumya nti yali tasaanidde kutya. (Yeremiya 1:6, 7) Mu ngeri y’emu, tewali nsonga lwaki twanditidde okutendereza Yakuwa. Tewali kizibu kiyinza kututuukako Yakuwa ky’atasobola kutuyamba kuvvuunuka.​—Zabbuli 118:6.

21, 22. Lwaki abavubuka abatendereza Yakuwa balinga omusulo, era lwaki kino kizzaamu amaanyi?

21 Mmwe abakyali abato tubakubiriza obutalonzalonza kutandika kutendereza Yakuwa! Kati nga mukyali bavubuka kye kiseera ekisingayo obulungi okukola omulimu ogusingayo obukulu ogukolebwa mu nsi leero. Bwe munaakola bwe mutyo mujja kuba mwegasse ku baweereza ba Yakuwa ab’oku nsi n’ab’omu ggulu abamutendereza. Yakuwa asanyuka bwe weegatta ku baweereza bano. Weetegereze omuwandiisi wa Zabbuli bwe yagamba Yakuwa: “Abantu bo beewaayo n’omwoyo ogutawalirizibwa ku lunaku olw’obuyinza bwo. Mu bulungi obw’obutukuvu, olina omusulo ogw’obuvubuka bwo, oguva mu lubuto olw’enkya.”​—Zabbuli 110:3.

22 Omusulo gumasamasa ng’enjuba egukubyemu, si bwe kiri? Guweweeza, gulabika bulungi, era tosobola kumanya bungi bwagwo. Bw’atyo Yakuwa bw’atwala abavubuka abamuweereza mu biseera bino ebizibu ennyo. Mazima ddala Yakuwa asanyuka nnyo bw’osalawo okumuweereza. (Engero 27:11) Kale abavubuka mukole kyonna ekisoboka okutendereza Yakuwa!

Wandizzeemu Otya?

• Lwaki tusaanidde okutendereza Yakuwa?

• Byakulabiriko ki ebiri mu Baibuli ebiraga nti abavubuka basobola bulungi okutendereza Yakuwa?

• Abavubuka bayinza batya okutendereza Yakuwa leero?

• Ddi abavubuka lwe balina okutandika okutendereza Yakuwa era lwaki?

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 18]

Singa mukwano gwo aba alina ekitone, wandibuulidde abalala ebimukwatako?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 21]

Bw’oba oyagala okulongoosa mu buweereza bwo, buuza Abajulirwa abalina obumanyirivu bakuyambe

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share