Mutendereze Yakuwa Buli Lunaku
1. Kiki abaweereza ba Katonda kye bamaliridde okukola, era lwaki?
1 Kabaka Dawudi yali mumalirivu okutendereza Yakuwa “buli lunaku,” era n’emirembe gyonna. (Zab. 145:2, 7, 21) Naffe tulina ensonga ennungi etuleetera okutendereza Yakuwa buli lunaku.—Zab. 37:10; 145:14, 18; 2 Peet. 3:13.
2. Amaka gayinza gatya okutendereza Yakuwa buli lunaku?
2 Nga Tuli Waka: Tulina ebitabo ebituyamba okukubaganya ebirowoozo ku by’omwoyo nga twekenneenya ekyawandiikibwa ekya buli lunaku, nga tuli mu Kusinza kw’Amaka, era nga twetegekera enkuŋŋaana z’ekibiina. Amaka mangi galina empisa ey’okuliirako awamu waakiri omulundi gumu buli lunaku. Kino kibasobozesa okuba n’ekiseera ekimala okunyumya era n’okutendereza Yakuwa. Ebyo abazadde bye banyumyako biyinza okubayamba okukuza abaana baabwe ‘mu kukangavvula kwa Yakuwa era n’okubateekamu endowooza ye.’—Bef. 6:4; Ma. 6:5-7.
3. Kakisa ki ke tuba nako nga tuli wamu n’ab’oluganda?
3 Nga Tuli n’Ab’oluganda: Bwe tuba mu buweereza bw’ennimiro oba mu nkuŋŋaana z’ekibiina, tufuna akakisa okutendereza Yakuwa nga tuli wamu ne basinza bannaffe. (Nge. 15:30; Baf. 4:8; Beb. 13:15) Okuva bwe kiri nti ffenna twagala Yakuwa, kyangu okwogera mu ngeri eraga nti tumusiima olw’obulungi bwe nga tunyumyako n’abalala.—Zab. 106:1.
4. Mbeera ki ez’enjawulo mw’oyinza okutenderereza Yakuwa?
4 Nga Twogera n’Abo Abatali Bakkiriza: Wadde ng’embeera ziyinza obutatusobozesa kwenyigira mu buweereza bw’ennimiro buli lunaku, okwogerako ne bakozi bannaffe, bayizi bannaffe, n’abantu abalala ebikwata ku Yakuwa n’ebigendererwa bye, kisobola okuleetera abantu abeesimbu okufuna essuubi. (Zab. 27:14; 1 Peet. 3:15) Bwe yali mu nnyonyi, mwannyinaffe omu yawa musaabaze munne obujulirwa. Omusaabaze ono yabudaabudibwa era n’azzibwamu amaanyi ebyo bye yawulira era n’awa mwannyinaffe endagiriro n’ennamba y’essimu kibasobozese okweyongera okuwuliziganya. Ng’ebizibu bigenda byeyongerayongera mu nsi, abantu ba Yakuwa bagenda mu maaso n’okulangirira ‘amawulire amalungi ag’ebintu ebirungi’ eri abo abaagala amazima. Kino kibasobozesa okufuna essuubi era n’okutendereza Yakuwa.—Is. 52:7; Bar. 15:11.
5. Lwaki twagala nnyo okutendereza Yakuwa, era kino kiyinza kuvaamu ki?
5 Nga kiteekwa okuba nga kisanyusa nnyo Yakuwa okuwulira ng’abaweereza be bamutendereza buli lunaku! Okufaananako ebitonde bya Yakuwa ebirala ebitwetoolodde, naffe tusobola okumutendereza buli lunaku nga tuli mu maka gaffe, mu kibiina, era nga twogera n’abalala abatannaba kutwegattako mu kutendereza Yakuwa.—Zab. 19:1-4.