LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w01 9/1 lup. 17-21
  • Tolekulira Kukola Ebirungi

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Tolekulira Kukola Ebirungi
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • Okulumbibwa Obutereevu
  • Okweraliikirira Okwa Buli Lunaku
  • Okugezesebwa Kwe Twereetako Ffekka
  • Okuba n’Obwesige mu Bintu Ebitalabika
  • Engeri Gye Tuyinza Okufunamu Essanyu Wadde nga Tulina Ebizibu
  • Yakuwa Yamuyita ‘Mukwano Gwe’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2016
  • Katonda Agezesa Okukkiriza kwa Ibulayimu
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • Olindirira “Ekibuga Ekirina Emisingi Gyennyini”?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)
  • Okukkiriza kwa Ibulayimu Kugezesebwa
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
w01 9/1 lup. 17-21

Tolekulira Kukola Ebirungi

“Tuleme okuddiriranga [“okulekulira,” “NW”] mu kukola obulungi: kubanga ebiro bwe birituuka, tulikungula, nga tetuzirise.”​—ABAGGALATIYA 6:9.

1, 2. (a) Lwaki obugumiikiriza bwetaagibwa okusobola okuweereza Katonda? (b) Ibulayimu yalaga atya obugumiikiriza, era kiki ekyamuyamba okugumiikiriza?

NG’ABAJULIRWA BA YAKUWA, tusanyuka okukola Katonda by’ayagala. Era tuddamu endasi bwe tufuuka abayigirizwa. (Matayo 11:29) Wadde kiri kityo, okuweereza Yakuwa ne Kristo tekiba kyangu buli kiseera. Ekyo omutume Pawulo yakitangaaza bwe yakubiriza Bakristaayo banne: “Mwetaaga okugumiikiriza, bwe mulimala okukola Katonda by’ayagala mulyoke muweebwe ekyasuubizibwa.” (Abaebbulaniya 10:36) Obugumiikiriza bwetaagisa kubanga okuweereza Katonda kiyinza okubaamu obuzibu.

2 Obulamu bwa Ibulayimu bukakasa ensonga eno. Emirundi mingi yayolekagana n’okusalawo okuzibu awamu n’embeera enzibu. Okusooka yalagirwa okuva mu bulamu obulungi mu Uli. Mu bbanga ttono, yayolekagana n’enjala eyagwa mu kitundu, abalabe ku muliraano, yakyayibwa abamu ku b’ekika kye, yalwana olutalo olw’amaanyi, era kaabula kata afiirwe mukyala we. Kyokka, okugezesebwa okusingawo kwali kukyali mu maaso. Naye Ibulayimu teyalekulira kukola kirungi. Kino kyewuunyisa naddala bw’okimanya nti teyalina Kigambo kya Katonda mu bulambirira, nga bwe kiri leero. Wadde kyali kityo, yali amanyi ebikwata ku bunnabbi obwasooka, Katonda mwe yagambira: “Obulabe n’abuteekanga wakati wo n’omukazi, era ne wakati w’ezzadde lyo n’ezzadde ly’omukazi.” (Olubereberye 3:15) Olw’okuba Ezzadde lyandiyitidde mu Ibulayimu, awatali kubuusabuusa yandikyayiddwa Setaani. Okutegeera ensonga eno, kyayamba Ibulayimu okugumira okugezesebwa nga musanyufu.

3. (a) Lwaki abantu ba Yakuwa leero bandisuubidde okubonaabona? (b) Abaggalatiya 6:9 lutuzzaamu lutya amaanyi?

3 Leero, abantu ba Yakuwa nabo bandisuubidde okubonaabona. (1 Peetero 1:6, 7) Okubikkulirwa 12:17, lutulabula nti Setaani ‘alwanyisa’ ensigalira y’abaafukibwako amafuta. Olw’enkolagana yaabwe ey’oku lusegere n’abaafukibwako amafuta, ‘ab’endiga endala’ nabo balumbibwa Setaani. (Yokaana 10:16) Ng’oggyeko okuyigganyizibwa Abakristaayo kwe bayinza okwolekagana nakwo mu buweereza bwabwe obw’omu lujjudde, era bayinza okugezesebwa mu bulamu bwabwe. Pawulo atukubiriza: “Tuleme okuddiriranga [“okulekulira,” NW] mu kukola obulungi: kubanga ebiro bwe birituuka, tulikungula, nga tetuzirise.” (Abaggalatiya 6:9) Yee, wadde Setaani amaliridde okusaanyaawo okukkiriza kwaffe, tuteekwa okumuziyiza nga tuli banywevu mu kukkiriza. (1 Peetero 5:8, 9) Kiki ekiyinza okuvaamu bwe tusigala nga tuli beesigwa? Yakobo 1:2, 3, zigamba: “Mulowoozenga byonna okuba essanyu, baganda bange, bwe munaagwanga mu kukemebwa [“okugezesebwa,” NW] okutali kumu; nga mutegeera ng’okugezesebwa kw’okukkiriza kwammwe kuleeta okugumiikiriza.”

Okulumbibwa Obutereevu

4. Setaani alumbye atya obutereevu ng’agezaako okumenya obugolokofu bw’abantu ba Katonda?

4 Mazima ddala, obulamu bwa Ibulayimu bwoleka “okugezesebwa okutali kumu” Omukristaayo kwayinza okwolekagana nakwo leero. Ng’ekyokulabirako, yalina okulwanyisa abalumbaganyi okuva e Sinali. (Olubereberye 14:11-16) Tekyewuunyisa nti Setaani yeeyongera okulumba obutereevu ng’aleetawo okuyigganyizibwa. Okuva ku nkomerero ya Ssematalo ow’Okubiri, ensi eziwerako ziweze omulimu gw’Ekikristaayo ogw’okuyigiriza ogw’Abajulirwa ba Yakuwa. Ekitabo 2001 Yearbook of Jehovah’s Witnesses kiwa lipoota ekwata ku bikolwa eby’ettemu Abakristaayo mu Angola bye baalina okugumira. Nga beesiga Yakuwa, baganda baffe mu nsi ng’ezo tebalekulidde! Tebeenyigidde mu bikolwa eby’ettemu oba obujeemu nga bayigganyizibwa, wabula mu ngeri ey’amagezi beeyongedde okunyiikirira omulimu gw’okubuulira.​—Matayo 24:14.

5. Abavubuka Abakristaayo bayinza batya okuyigganyizibwa ku ssomero?

5 Naye, okuyigganyizibwa bulijjo tekubaamu bikolwa bya bukambwe byokka. Mu nkomerero, Ibulayimu yafuna abaana babiri, Isimaeri ne Isaaka. Olubereberye 21:8-12, zitutegeeza nti lumu Isimaeri yali ‘aduulira’ Isaaka. Mu bbaluwa gye yawandiikira Abaggalatiya, Pawulo alaga nti kino kyali kisingawo ku kuzannya obuzannyi ng’abaana abato, kubanga agamba nti Isimaeri yayigganya Isaaka! (Abaggalatiya 4:29) Bwe kityo, okusekererwa b’osoma nabo n’okuvumibwa abo abaziyiza biyinza okuyitibwa okuyigganyizibwa. Omukristaayo omuto ayitibwa Ryan ajjukira engeri gye yabonyaabonyezebwamu bayizi banne. Agamba: “Eddakiika 15 ze nnamala mu bbaasi nga ŋŋenda ku ssomero oba nga nkomawo nga nvumibwa, zaalinga essaawa ennyingi. Banjokyanga obuuma bwe bamaze okuteeka ku muliro gw’akakoleeza sigala.” Lwaki baamuyisa bubi bwe batyo? “Okutendekebwa kwe nnafuna mu ntegeka ya Katonda kwanfuula wa njawulo okuva ku baana abalala mu ssomero.” Kyokka, ng’ayambibwako bazadde be, Ryan yasobola okugumiikiriza. Abato, muweddemu amaanyi olw’okusekererwa bannammwe? Temulekulira! Ng’ogumiikiriza n’obwesigwa, ojja kulaba amazima agali mu bigambo bya Yesu: “Mulina omukisa bwe banaabavumanga, bwe banaabayigganyanga, bwe banaabawaayiranga buli kigambo kibi, okubavunaanya nze.”​—Matayo 5:11.

Okweraliikirira Okwa Buli Lunaku

6. Bintu ki ebiyinza okwonoona enkolagana mu Bakristaayo leero?

6 Okugezesebwa okusinga obungi kwe tufuna leero kukwata ku bintu ebya bulijjo ebitweraliikiriza. Ibulayimu kennyini yalina okwolekagana n’enkaayana ezajjawo wakati w’abasumba be n’aba Lutti omwana wa muganda we. (Olubereberye 13:5-7) Mu ngeri y’emu leero, obutakkaanya n’obuggya obutaliimu biyinza okwonoona enkolagana yaffe n’abalala era ne bitabangula emirembe gy’ekibiina. “Awaba obuggya n’okuyomba, we waba okutabuka na buli kikolwa ekibi.” (Yakobo 3:16) Nga kikulu nnyo ffe obutalekulira wabula okukulembeza emirembe mu kifo ky’amalala nga Ibulayimu bwe yakola era ne tufaayo ne ku nsonga z’abalala.​—1 Abakkolinso 13:5; Yakobo 3:17.

7. (a) Wandikoze ki singa Mukristaayo munno akulumya? (b) Ibulayimu yassaawo atya ekyokulabirako ekirungi mu kubeera n’enkolagana ennungi n’abalala?

7 Kiyinza okuba ekizibu okutabagana n’abalala bwe tuwulira nga tuyisiddwa bubi bakkiriza bannaffe. Engero 12:18 lugamba: “Wabaawo ayogera ng’ayanguyiriza ng’okufumita okw’ekitala.” Okwogera nga tomaze kulowooza, wadde nga tolina kiruubirirwa kibi kiyinza okuleeta obulumi obw’amaanyi. Obulumi busingawo singa tuwulira nti batwogeddeko eby’obulimba oba nga batukozeeko olugambo. (Zabbuli 6:6, 7) Naye Omukristaayo teyandirekulidde olw’okulumizibwa ng’okwo! Bw’oba ng’olumiziddwa, fuba okutereeza ensonga ng’oyogera n’ekisa n’oyo akunyiizizza. (Matayo 5:23, 24; Abaefeso 4:26) Beera mwetegefu okusonyiwa omuntu oyo. (Abakkolosaayi 3:13) Bwe tutasiba kiruyi, tusobola okutereeza enneewulira zaffe ez’omunda n’enkolagana ne muganda waffe. Ibulayimu teyasiba kiruyi olw’ekyo Lutti kye yakola. Ibulayimu yatuuka n’okulwanirira Lutti n’amaka ge!​—Olubereberye 14:12-16.

Okugezesebwa Kwe Twereetako Ffekka

8. (a) Abakristaayo bayinza batya ‘okwefumita n’ennaku ennyingi’? (b) Lwaki Ibulayimu yali asobola okuba n’endowooza etagudde lubege ku by’obugagga?

8 Kyo kituufu nti okugezesebwa okumu omuntu y’akwereetako. Ng’ekyokulabirako, Yesu yalagira abagoberezi be: “Temweterekeranga bintu ku nsi, kwe byonoonekera n’ennyenje n’obutalagge, n’ababbi kwe basimira ne babba.” (Matayo 6:19) Kyokka, ab’oluganda abamu “beefumitira ddala n’ennaku ennyingi” nga bakulembeza eby’obugagga mu kifo ky’ebintu ebikwata ku Bwakabaka. (1 Timoseewo 6:9, 10) Ibulayimu yali mwetegefu okwefiiriza ebintu asobole okusanyusa Katonda. “Olw’okukkiriza n’abeeranga omugenyi mu nsi eyasuubizibwa, ng’etali yiye, ng’asula mu weema wamu ne Isaaka ne Yakobo, basika banne ab’okusuubizibwa okwo: kubanga yalindirira ekibuga kiri ekirina emisingi, Katonda kye yakuba kye yazimba.” (Abaebbulaniya 11:9, 10) Okukkiriza Ibulayimu kwe yalina mu ‘kibuga,’ oba gavumenti ya Katonda ey’omu biseera eby’omu maaso, kwamuyamba obuteesiga bya bugagga. Tekyandibadde kya magezi naffe okukola kye kimu?

9, 10. (a) Okwagala ettuttumu kiyinza kitya okuleeta okugezesebwa? (b) Ow’oluganda ayinza atya ‘okwetoowaza’?

9 Lowooza ku nsonga endala. Baibuli ewa obulagirizi buno: “Omuntu bwe yeerowoozanga okuba ekintu, nga si kintu, nga yeerimbalimba.” (Abaggalatiya 6:3) Ate era, tukubirizibwa obutakola “kintu kyonna olw’okuyomba newakubadde olw’ekitiibwa ekitaliimu, wabula mu buwombeefu.” (Abafiripi 2:3) Abamu beereetako okugezesebwa bwe balemererwa okugoberera okubuulirira okwo. Nga baluubirira ettuttumu mu kifo ‘ky’omulimu omulungi,’ baggwaamu amaanyi era ne beemulugunya bwe batafuna nkizo mu kibiina.​—1 Timoseewo 3:1.

10 Ibulayimu yassaawo ekyokulabirako ekirungi mu ‘buteerowoozaako okusinga bwe kigwanidde.’ (Abaruumi 12:3) Bwe yasisinkana Merukizeddeeki, Ibulayimu teyeetwala kuba wa waggulu olw’enkolagana ennungi gye yalina ne Katonda. Okwawukana ku ekyo, yakkiriza nti Merukizeddeeki wa waggulu olw’okuba yali kabona era n’amuwa ekitundu eky’ekkumi. (Abaebbulaniya 7:4-7) Mu ngeri y’emu leero, Abakristaayo bandibadde beetegefu ‘okwetoowaza’ mu kifo ky’okunoonya ettuttumu. (Lukka 9:48) Bwe kikulabikira nti abo abatwala obukulembeze mu kibiina bagaanyi okukuwa enkizo, weekebere mu bwesimbu olabe enkyukakyuka z’oyinza okukola mu bulamu bwo ne mu ngeri gy’okola ku nsonga zo. Mu kifo ky’okunyiiga olw’enkizo z’otalina, weeyambise mu bujjuvu enkizo gy’olina​—enkizo ey’okuyamba abalala okumanya Yakuwa. Yee, “mwewombeekenga wansi w’omukono ogw’amaanyi ogwa Katonda, alyoke abagulumize ng’obudde butuuse.”​—1 1 Peetero 5:6.

Okuba n’Obwesige mu Bintu Ebitalabika

11, 12. (a) Lwaki abamu mu kibiina bayinza okwerabira obukulu bw’ebiseera bye tulimu? (b) Ibulayimu yassaawo atya ekyokulabirako ekirungi mu kukkiririza mu bisuubizo bya Katonda?

11 Okugezesebwa okulala kuyinza okujjawo olw’okuba enkomerero eyinza okulabika ng’eruddewo okutuuka. Okusinziira ku 2 Peetero 3:12, Abakristaayo ‘basuubira era beegomba olunaku lwa Katonda okutuuka.’ Kyokka, bangi balinze ‘olunaku’ luno okumala emyaka mingi, n’abalala okumala amakumi g’emyaka. N’ekivaamu, abamu bayinza okuggwaamu amaanyi era ne beerabira obukulu bw’ebiseera bye tulimu.

12 Era, lowooza ku kyokulabirako kya Ibulayimu. Obulamu bwe bwonna yabwesigamya ku bisuubizo bya Katonda, wadde nga byonna tebyali byakutuukirizibwa mu kiseera kye. Kyo kituufu nti yalaba mutabani we Isaaka ng’akula. Kyokka, wandiyiseewo ebyasa by’emyaka ezzadde lya Ibulayimu okusobola okugeraageranyizibwa ku ‘mmunyeenye z’omu ggulu’ oba ‘omusenyu gw’oku nnyanja.’ (Olubereberye 22:17) Kyokka, Ibulayimu teyanyiiga wadde okuggwaamu amaanyi. Bwe kityo, omutume Pawulo yayogera bw’ati ku Ibulayimu n’abantu abalala abaalina okukkiriza: “Abo bonna baafiira mu kukkiriza, nga tebaweereddwa ebyasuubizibwa, naye nga babirengerera wala, era nga babiramusa, era nga baatula nga bagenyi era abatambuze ku nsi.”​—Abaebbulaniya 11:13.

13. (a) Mu ngeri ki leero Abakristaayo gye bali ‘abatuuze ab’akaseera obuseera’? (b) Lwaki Yakuwa ajja kuzikiriza embeera z’ebintu bino?

13 Bwe kiba nti Ibulayimu yakkiririza mu bisuubizo ebyali eby’okutuukirizibwa mu kiseera ‘eky’ewala,’ ffe abaliwo mu kiseera kino ng’okutuukirizibwa kw’ebintu ebyo kuli kumpi nnyo tetwandibikkiririzzaamu n’okusingawo? Okufaananako Ibulayimu, tuteekwa okwetwala nga ‘abatuuze ab’akaseera obuseera’ mu nteekateeka ya Setaani, ne twewala empisa ez’obw’obugwenyufu. Mu butonde twandyagadde ‘enkomerero y’ebintu byonna’ okujja kati mu kifo ky’okuwulira obuwulizi nti eri kumpi okutuuka. (1 Peetero 4:7) Oboolyawo tulina obulwadde obw’amaanyi, oba obuzibu bw’eby’ensimbi. Kyokka, tuteekwa okujjukira nti Yakuwa aleeta enkomerero si kutununula bununuzi mu mbeera enzibu eziriwo kyokka, wabula n’okutukuza erinnya lye. (Ezeekyeri 36:23; Matayo 6:9, 10) Enkomerero ejja kujja, naye si mu kiseera ffe kye twagala, wabula mu kiseera ekituukana n’ebigendererwa bya Yakuwa.

14. Obugumiikiriza bwa Katonda buganyula butya Abakristaayo leero?

14 Era jjukira nti “Mukama waffe talwisa kye yasuubiza, ng’abalala bwe balowooza okulwa; naye agumiikiriza gye muli, nga tayagala muntu yenna kubula, naye bonna batuuke okwenenya.” (2 Peetero 3:9) Weetegereze nti Katonda ‘agumiikiriza gye muli’​—mmwe abali mu kibiina Ekikristaayo. Kya lwatu abamu ku ffe twetaaga ebiseera ebisingawo okukola enkyukakyuka ‘tusangibwe mu mirembe, nga tetulina bbala newakubadde omusango mu maaso ge.’ (2 Peetero 3:14) N’olwekyo, tetwandisiimye nnyo Katonda olw’okutulaga obugumiikiriza ng’obwo?

Engeri Gye Tuyinza Okufunamu Essanyu Wadde nga Tulina Ebizibu

15. Yesu yasobola atya okukuuma essanyu lye ng’agezesebwa, era okumukoppa kiganyula kitya Abakristaayo leero?

15 Obulamu bwa Ibulayimu buyigiriza Abakristaayo ebintu bingi leero. Teyalaga kukkiriza kwokka, naye era yalaga obugumiikiriza, obukujjukujju, obuvumu, n’okwagala okw’okwerekereza. Yakulembeza okusinza Yakuwa mu bulamu bwe. Kyokka, tuteekwa okujjukira nti ekyokulabirako ekisingayo obulungi kye tulina okukoppa kye kya Yesu Kristo. Naye yayolekagana n’okugezesebwa okutali kumu. Kyokka mu kugezesebwa okwo kwonna yakuuma essanyu lye. Lwaki? Kubanga ebirowoozo bye yabiteeka ku bintu eby’omu maaso. (Abaebbulaniya 12:2, 3) Bwe kityo Pawulo yasaba: “Era Katonda w’okugumiikiriza n’okusanyusa abawe mmwe okulowoozanga obumu mwekka na mwekka mu ngeri ya Kristo Yesu.” (Abaruumi 15:5) Bwe tuba n’endowooza entuufu, tuyinza okufuna essanyu wadde nga Setaani atuleetera ebizibu.

16. Twandikoze ki bwe kirabika ng’ebizibu byaffe bitusukkiriddeko?

16 Ebizibu bwe birabika ng’ebikusukkiriddeko, jjukira nti Yakuwa akwagala nga bwe yayagala Ibulayimu. Ayagala otuuke ku buwanguzi. (Abafiripi 1:6) Weesige Yakuwa mu bujjuvu, ng’oli mukakafu nti ‘taabaganyenga kukemebwa okusinga bwe muyinza; naye awamu n’okukemebwa era anassangawo n’obuddukiro mulyoke muyinzenga okugumiikiriza.’ (1 Abakkolinso 10:13) Kulaakulanya empisa ey’okusoma Ekigambo kya Katonda buli lunaku. (Zabbuli 1:2) Nyiikirira okusaba, ng’osaba Yakuwa okukuyamba okugumiikiriza. (Abafiripi 4:6) ‘Awa omwoyo omutukuvu abo abamusaba.’ (Lukka 11:13) Weeyambise enteekateeka Yakuwa z’akoze okukuyamba mu by’omwoyo, gamba ng’ebitabo byaffe ebyesigamiziddwa ku Baibuli. Era noonya obuyambi bw’ab’oluganda. (1 Peetero 2:17) Beerawo mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo obutayosa, kubanga eyo ojja kuzzibwamu amaanyi osobole okugumiikiriza. (Abaebbulaniya 10:24, 25) Beera mukakafu nti obugumiikiriza bwo bukusobozesa okubeera n’ennyimirira ennungi mu maaso ga Katonda, era nti obwesigwa bwo busanyusa omutima gwe!​—Engero 27:11; Abaruumi 5:3-5.

17. Lwaki Abakristaayo tebandiweddemu maanyi?

17 Katonda yatwala Ibulayimu okuba ‘mukwano’ gwe. (Yakobo 2:23) Wadde kyali kityo, obulamu bwa Ibulayimu bwalimu okugezesebwa n’okubonaabona okutali kumu. N’olwekyo, Abakristaayo bandisuubidde kye kimu mu nnaku zino embi ‘ez’oluvannyuma.’ Mu butuufu, Baibuli etulabula nti “abantu ababi n’abeetulinkirira balyeyongera okuyitiriranga mu bubi, nga balimba era nga balimbibwa.” (2 Timoseewo 3:1, 13) Mu kifo ky’okuggwaamu amaanyi, kitegeere nti ebizibu bye twolekaganye nabyo bujulizi obulaga nti embeera embi eya Setaani eri kumpi okuzikirizibwa. Naye Yesu atujjukiza nti “agumiikiriza okutuuka ku nkomerero, ye alirokolebwa.” (Matayo 24:13) N’olwekyo, tolekulira kukola kirungi! Koppa Ibulayimu, obeere mu abo “olw’okukkiriza n’okugumiikiriza abasikira ebyasuubizibwa.”​—Abaebbulaniya 6:12.

Weetegerezza?

• Lwaki abantu ba Yakuwa leero bandisuubidde okugezesebwa n’okubonaabona?

• Setaani ayinza atya okulumba obutereevu?

• Obutakkaanya mu Bakristaayo buyinza kugonjoolebwa butya?

• Amalala n’okwerowoozaako biyinza bitya okuleetawo okugezesebwa?

• Mu ngeri ki Ibulayimu gye yassaawo ekyokulabirako ekirungi mu kulindirira okutuukirizibwa kw’ebisuubizo bya Katonda?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 18]

Abavubuka bangi Abakristaayo bayigganyizibwa, nga basekererwa bannaabwe

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 21]

Mu kiseera kya Ibulayimu okutuukirizibwa kw’ebisuubizo bya Katonda kwali ‘wala,’ kyokka yabikkiririzaamu

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza