Baasobola Okwaŋŋanga Ekizibu ky’Eriggwa mu Mibiri Gyabwe
“Kyennava mpeebwa eriggwa mu mubiri, omubaka wa Setaani okunkubanga.”—2 ABAKKOLINSO 12:7.
1. Bizibu ki abantu bye boolekaganye nabyo leero?
OLINA ekizibu ky’oyolekagana nakyo kati? Bwe kiba bwe kityo, toli wekka. Mu ‘biro bino eby’okulaba ennaku,’ Abakristaayo abeesigwa boolekaganye n’okuziyizibwa okw’amaanyi, ebizibu mu maka, obulwadde, ebizibu bya ssente, okutawaanyizibwa mu birowoozo, okufiirwa abaagalwa baabwe, n’ebizibu ebirala. (2 Timoseewo 3:1-5) Mu nsi ezimu, obulamu bw’abantu bangi buli mu kabi olw’ebbula ly’emmere n’entalo.
2, 3. Ndowooza ki embi eyinza okuva mu bizibu bye twolekagana nabyo, era ekyo kiyinza kitya okuba eky’akabi?
2 Ebizibu ng’ebyo biyinza okuleetera omuntu okuterebuka, nnaddala singa afuna ebizibu bingi mu kiseera kye kimu. Weetegereze Engero 24:10, (NW) kye lugamba: ‘Oterebuse olw’ennaku, olwo nno amaanyi go gajja kuba matono.’ Yee, okuterebuka olw’ebizibu bye tulina kiyinza okutumalamu amaanyi n’okukendeeza obumalirivu bwe tulina okugumiikiriza okutuuka ku nkomerero. Mu ngeri ki?
3 Okuterebuka kuyinza okutuleetera okugwa olubege. Ng’ekyokulabirako, kyangu okutandika okukuliriza ebizibu byaffe ne tutandika n’okwesaasira. Abamu bayinza n’okugamba Katonda, “Lwaki oleka ebintu bino okuntuukako?” Singa endowooza ng’eyo embi esimba amakanda mu mutima gw’omuntu, eyinza okumumalako essanyu n’okumuleetera obuteekakasa. Omuweereza wa Katonda ayinza okuggwaamu amaanyi n’alekera awo ‘okulwanirira okukkiriza.’—1 Timoseewo 6:12.
4, 5. Emirundi egimu Setaani atuleetera atya ebizibu, kyokka tulina bukakafu ki?
4 Mu butuufu, Yakuwa Katonda si y’atuleetera okugezesebwa. (Yakobo 1:13) Olumu tugezesebwa olw’okuba tugezaako okubeera abeesigwa gy’ali. Mazima ddala, bonna abaweereza Yakuwa baba bajja kulumbibwa omulabe we, Setaani Omulyolyomi. Mu kiseera ekitono ky’asigazzaayo, ‘katonda ow’emirembe gino’ agezaako okulemesa buli muntu yenna ayagala okuweereza Yakuwa. (2 Abakkolinso 4:4) Setaani aleetera baganda baffe mu nsi yonna okubonaabona kungi nnyo nga bwe kisoboka. (1 Peetero 5:9) Kyo kituufu nti, Setaani si y’atuleetera ebizibu byonna obutereevu. Naye ayinza okukozesa ebizibu bye twolekaganye nabyo, okwongera okutunafuya.
5 Tuyinza okuwangula Setaani ka kibeere nti eby’okulwanyisa bye bya ntiisa kwenkana wa! Tuyinza tutya okuba abakakafu ku ekyo? Kubanga Yakuwa Katonda ali ku ludda lwaffe. Ayambye abaweereza be okutegeera obukodyo bwa Setaani. (2 Abakkolinso 2:11) Mu butuufu, Ekigambo kya Katonda kitutegeeza ku kugezesebwa kungi okutuuka ku Bakristaayo ab’amazima. Ku bikwata ku Pawulo, Baibuli yakozesa ebigambo ‘eriggwa mu mubiri.’ Lwaki? Ka twekenneenye engeri Ekigambo kya Katonda gye kinnyonnyolamu ebigambo ebyo. Olwo nno tujja kukitegeera nti si ffe ffekka abeetaaga obuyambi okusobola okuvvuunuka okugezesebwa.
Ensonga Lwaki Okugezesebwa Kulinga Amaggwa
6. Pawulo yali ategeeza ki bwe yayogera ku ‘liggwa mu mubiri,’ era eriggwa eryo liyinza okuba lyali ki?
6 Oluvannyuma lw’okugezesebwa ennyo, Pawulo yaluŋŋamizibwa okuwandiika: “Kyennava mpeebwa eriggwa mu mubiri, omubaka wa Setaani okunkubanga, nnemenga okugulumizibwa ennyo.” (2 Abakkolinso 12:7) Eriggwa lino mu mubiri gwa Pawulo lyali ki? Kyo kituufu nti eriggwa eriri mu mubiri lireeta obulumi bwa maanyi. N’olwekyo, ebigambo ebikozeseddwa wano bitegeeza ekintu ekyaleetera Pawulo obulumi—ka kibeere mu mubiri, mu nneewulira ey’omunda oba byombi. Kyandiba nti Pawulo yalina obulumi mu liiso oba obunafu obulala mu mubiri. Oba eriggwa eryo liyinza okuba lyali lizingiramu abantu abaagamba nti Pawulo teyalina bisaanyizo bya kubeera mutume era bwe kityo ne babuusabuusa omuganyulo ogwali mu mulimu gwe ogw’okubuulira n’okuyigiriza. (2 Abakkolinso 10:10-12; 11:5, 6, 13) Ka libe nga lyali ki, eriggwa eryo lyasigala mu mubiri gwa Pawulo era nga teriyinza kuggibwamu.
7, 8. (a) Ebigambo ‘okukuba’ birina makulu ki? (b) Lwaki kikulu nnyo ffe okwaŋŋanga ebizibu bye tulina ebiringa amaggwa?
7 Weetegereze nti eriggwa lyakubanga Pawulo. Ekigambo ky’Oluyonaani Pawulo kye yakozesa wano ekivvuunuddwa okukuba, kiggibwa mu kigambo ekitegeeza ‘ennyingo z’engalo.’ Ekigambo ekyo kikozesebwa mu Matayo 26:67 ne mu 1 Abakkolinso 4:11. Mu nnyiriri ezo, kirina amakulu g’okukubibwa ebikonde. Olw’obukyayi obw’amaanyi Setaani bw’alina eri Yakuwa n’abaweereza Be, tuyinza okuba abakakafu nti Omulyolyomi yali musanyufu nti ‘eriggwa’ lyakubanga Pawulo. Ne mu kiseera kyaffe, Setaani aba musanyufu bwe tutawaanyizibwa eriggwa mu mubiri.
8 N’olwekyo, okufaananako Pawulo, twetaaga okumanya engeri y’okwaŋŋangamu ebizibu ng’ebyo ebiringa amaggwa. Obulamu bwaffe bwesigamye ku kukola ekyo! Kijjukire nti Yakuwa ayagala tubeera balamu emirembe gyonna mu nsi empya, omutalibeera bizibu biringa maggwa. Okutuyamba okufuna ekirabo kino eky’ekitalo, Katonda atuwadde ebyokulabirako bingi mu Kigambo kye Baibuli, ng’alaga nti abaweereza be abeesigwa basobodde okwaŋŋanga ebizibu ebiringa amaggwa mu mibiri gyabwe. Baali bantu ba bulijjo, abatatuukiridde nga ffe. Bwe twetegereza abamu abali mu ‘lufu lw’abajulirwa,’ kiyinza okutuyamba ‘okudduka n’obugumiikiriza embiro eziri mu maaso gaffe.’ (Abaebbulaniya 12:1) Bwe tufumiitiriza ku bye baagumiikiriza, kiyinza okutugumya nti naffe tuyinza okwaŋŋanga ebizibu ebiringa amaggwa Setaani by’ayinza okutuleetera.
Amaggwa Agaaleetera Mefibosesi Ennaku
9, 10. (a) Mefibosesi yafuna atya eriggwa mu mubiri? (b) Kabaka Dawudi yalaga atya Mefibosesi ekisa, era tuyinza tutya okumukoppa?
9 Lowooza ku Mefibosesi, eyali mutabani wa Yonasaani mukwano gwa Dawudi. Mefibosesi bwe yali aweza emyaka etaano egy’obukulu, kyategeezebwa nti taata we, Yonasaani, ne jjajjaawe, Kabaka Sawulo baali battiddwa. Eyali alabirira omwana ono yatya nnyo. ‘Yamusitula n’adduka, naye n’agwa omwana oyo n’alemala.’ (2 Samwiri 4:4) Obulema obwo buteekwa okuba nga bwalinga eriggwa bwe yagenda akula.
10 Nga wayiseewo emyaka, Kabaka Dawudi, yalaga Mefibosesi ekisa, olw’okuba Dawudi yali ayagala nnyo Yonasaani. Ebintu byonna ebyali ebya Sawulo yabiwa Mefibosesi era n’akwasa Ziba, eyali omuddu wa Sawulo, obuvunaanyizibwa obw’okulabirira ebintu ebyo. Era Dawudi yategeeza Mefibosesi: “[Ggwe] onoolyanga emmere ku mmeeza yange ennaku zonna.” (2 Samwiri 9:6-10) Awatali kubuusabuusa, ekisa Dawudi kye yalaga kyabudaabuda Mefibosesi era ne kikendeeza ku bulumi bwe yalina olw’okubeera omulema. Nga kyakuyiga kirungi nnyo! Naffe twandiraze ekisa abo abalina amaggwa mu mibiri.
11. Biki Ziba bye yayogera ku Mefibosesi, naye tumanya tutya nti byali bya bulimba? (Laba obugambo obutono obuli wansi.)
11 Oluvannyuma, Mefibosesi yayolekagana n’eriggwa eddala mu mubiri gwe. Omuweereza we Ziba, yamwogerako eby’obulimba eri Kabaka Dawudi, eyali adduka mu Yerusaalemi olw’okwewaggula kwa Abusaalomu, mutabani we. Ziba yagamba nti Mefibosesi yasigala mu Yerusaalemi asobole okutwala obwakabaka.a Dawudi yakkiriza eby’obulimba Ziba bye yayogera era ebintu bya Mefibosesi byonna n’abiwa omulimba oyo!—2 Samwiri 16:1-4.
12. Mefibosesi yeeyisa atya mu mbeera gye yalimu, era yatuteerawo atya ekyokulabirako ekirungi?
12 Kyokka, Mefibosesi bwe yasisinkana Dawudi, yamutegeereza ddala ekyali kibaddewo. Bwe yali ateekateeka okwegatta ku Dawudi, Ziba yamusalira amagezi n’amugamba nti ajja kugenda mu kifo kye. Dawudi yatereeza ensobi eyo? Mu ngeri emu. Ebintu yabigabanyamu n’abiwa abasajja abo ababiri. Kino nakyo kyali kisobola okufuuka eriggwa mu mubiri gwa Mefibosesi. Naye ddala kyamuyisa bubi nnyo? Yeemulugunya olw’ekyo Dawudi kye yakola ng’agamba nti tekyali kya bwenkanya? Nedda, yakkiriza kabaka kye yali asazeewo. Ensonga yagitunuulira mu ngeri ennungi, n’asanyuka nti kabaka wa Isiraeri omutuufu yali akomyewo mirembe. Mazima ddala, Mefibosesi yassaawo ekyokulabirako ekirungi ng’agumira obulema, obulimba n’okuyisibwa obubi.—2 Samwiri 19:24-30.
Nekkemiya Yasobola Okwaŋŋanga Okugezesebwa Okwamutuukako
13, 14. Maggwa ki Nekkemiya ge yalina okugumiikiriza bwe yakomawo okuzimba buggwe wa Yerusaalemi?
13 Lowooza ku maggwa ag’akabonero Nekkemiya ge yagumiikiriza bwe yakomawo mu Yerusaalemi ekitaalina buggwe mu kyasa eky’okutaano B.C.E. Yasanga ng’ekibuga tekirina bukuumi bwonna, era ng’Abayudaaya abaali bakomyewo tebalina ntegeka nnungi, nga baweddemu amaanyi, era nga si balongoofu mu maaso ga Yakuwa. Wadde nga Kabaka Alutagizerugizi yali amuwadde olukusa okuddamu okuzimba buggwe wa Yerusaalemi, Nekkemiya yakizuula nti bagavana b’omu bitundu eby’omuliraano baali tebaagala azimbe buggwe oyo. ‘Baanakuwala kubanga omusajja yali azze okuyamba abaana ba Isiraeri.’—Nekkemiya 2:10.
14 Abaziyiza abo abagwira baakola kyonna kye basobola okuyimiriza omulimu gwa Nekkemiya. Okutiisibwatiisibwa, n’eby’obulimba bye baayogera—nga mw’otwalidde n’abakessi be baasindika okubamalamu amaanyi—biteekwa okuba nga byalinga amaggwa mu mubiri gwe. Yatya olw’enkwe z’abalabe abo? Nedda, wabula yateeka obwesige bwe mu Katonda, n’ataggwaamu maanyi. Bwe kityo, buggwe wa Yerusaalemi bwe yamalirizibwa, kyalaga nti Yakuwa yali awagira Nekkemiya.—Nekkemiya 4:1-12; 6:1-19.
15. Bizibu ki ebyali mu Bayudaaya ebyatawaanya ennyo Nekkemiya?
15 Nga gavana, Nekkemiya era yalina okwolekagana n’ebizibu bingi ebyali mu bantu ba Katonda. Ebizibu ebyo byali ng’amaggwa agaamutawaanyanga ennyo kubanga birina kye byakola ku nkolagana y’abantu ne Yakuwa. Abagagga bwe baawolanga ssente, baasabanga empooza nnene, era baganda baabwe abaavu bawaayo ettaka lyabwe awamu n’okutunda abaana baabwe mu buddu okusobola okusasula amabanja awamu n’omusolo gw’Abaperusi. (Nekkemiya 5:1-10) Abayudaaya bangi baali tebakwata Ssabbiiti era nga tebawagira Baleevi mu yeekaalu. Era abamu baali bawasiza ‘abakazi Abasudodi, Abaamoni n’Abamowaabu.’ Ekyo nga kiteekwa okuba nga kyanakuwaza nnyo Nekkemiya! Naye tewali na limu ku maggwa gano eryamuleetera okulekulira. Enfunda n’enfunda yakolanga kyonna kyasobola okuvvuunuka ebizibu ebyaliwo era n’anyiikira okugoberera amateeka ga Katonda ag’obutuukirivu. Okufaananako Nekkemiya, tetulina kukkiriza nneeyisa y’abalala embi okutulemesa okuweereza Yakuwa.—Nekkemiya 13:10-13, 23-27.
Abeesigwa Abalala Bangi Baasobola Okwaŋŋanga Ekizibu ky’Amaggwa mu Mubiri
16-18. Ebizibu mu maka byanakuwaza bitya Isaaka ne Lebbeeka, Kaana, Dawudi, ne Koseya?
16 Baibuli erimu ebyokulabirako ebirala bingi eby’abantu abaasobola okwaŋŋanga embeera ezaalinga amaggwa. Ensibuko emu ey’amaggwa ng’ago yali ebizibu mu maka. Abakyala ba Esawu ababiri ‘baanakuwaza nnyo Isaaka ne Lebbeeka,’ bazadde be. Lebbeeka yatuuka n’okugamba nti yeekyaye olw’abakazi abo ababiri. (Olubereberye 26:34, 35; 27:46) Era, lowooza ku Kaana n’engeri muggya we, Penina, ‘gye yamusunguwaza’ olw’okuba ye Kaana yali mugumba. Oboolyawo Kaana yalumizibwanga mu mutima ng’ali mu maka gaabwe. Penina era yamusunguwazanga mu lujjudde—mu maaso g’ab’eŋŋanda n’ab’emikwano—ng’amaka gali ku mbaga e Siiro. Kino kyalinga okwongera okufumita eriggwa mu mubiri gwa Kaana.—1 Samwiri 1:4-7.
17 Ate lowooza ku ekyo Dawudi kye yagumiikiriza olw’obuggya bwa ssezaala we, Kabaka Sawulo. Okusobola okuwonyawo obulamu bwe, Dawudi yabeeranga mu mpuku mu ddungu e Engedi, gye yalina okuyita mu bifo eby’akabi omwali enjazi. Obutali bwenkanya buteekwa okuba nga bwamuyisa bubi nnyo kubanga yali talina kikyamu kye yali akoze Sawulo. Wadde kyali kityo, Dawudi yamala emyaka mingi nga yeekwese—olw’okuba Sawulo yalina obuggya.—1 Samwiri 24:14, 15; Engero 27:4.
18 Lowooza ne ku bizibu ebyali mu maka ga Nnabbi Koseya. Mukyala we yatandika okwenda. Obwenzi bwa mukyala we buteekwa okuba bwalinga amaggwa mu mutima gwe. Era ng’ateekwa okuba nga yeeyongera okunakuwala olw’okuba mukyala we yazaala abaana babiri mu bwenzi!—Koseya 1:2-9.
19. Nnabbi Mikaaya yayigganyizibwa atya?
19 Eriggwa eddala mu mubiri kwe kuyigganyizibwa. Lowooza ku kyatuuka ku nnabbi Mikaaya. Mikaaya ateekwa okuba nga yalumwanga nnyo olw’okuba kabaka Akabu omubi yeesiganga era n’awuliriza bannabbi ab’obulimba. Mikaaya bwe yagamba Akabu nti bannabbi abo boogera ‘olw’omwoyo ogw’obulimba,’ omukulembeze w’abalimba abo yakola ki? ‘Yakuba Mikaaya oluyi’! N’ekisingawo obubi, y’engeri Akabu gye yeeyisaamu bwe yalabulwa nti kaweefube gwe yaliko ow’okweddiza Lamosugireyaadi yali aggya kuggwa butaka. Akabu yalagira Mikaaya asuulibwe mu kkomera era aweebwe emmere ntono. (1 Bassekabaka 22:6, 9, 15-17, 23-28) Era jjukira Yeremiya n’engeri gye yayisibwamu abaali bamuyigganya.—Yeremiya 20:1-9.
20. Magwa ki Nawomi ge yagumiikiriza, era yasasulwa atya?
20 Okufiirwa omwagalwa nayo mbeera enakuwaza eyinza okuba ng’eriggwa mu mubiri. Nawomi yalumwa nnyo olw’okufiirwa omwami we ne batabani be ababiri. Wadde yali akyalina ennaku eyo, yaddayo mu Besirekemu. Yategeeza mikwano gye obutamuyita Nawomi, wabula Mala, erinnya eryayoleka ennaku gye yayitamu. Kyokka, mu nkomerero, Yakuwa yamusasula olw’obugumiikiriza obwo ng’amuwa omuzzukulu eyali mu lunyiriri olwandiyiseemu Masiya.—Luusi 1:3-5, 19-21; 4:13-17; Matayo 1:1, 5.
21, 22. Yobu yafuna bizibu ki, era yeeyisa atya?
21 Lowooza ku ngeri Yobu gye yeesisiwalamu bwe baamutegeeza nti abaana be ekkumi baali bafudde awamu n’ebisibo n’abaweereza be yalina. Mu kiseera ekyo, obulamu bwe bwalabika ng’obukomye! Ng’akyanyiga ebiwundu ebyo, Setaani yamuleetera obulwadde. Yobu ayinza okuba yalowooza nti obulwadde obwo bwali bugenda kumutta. Bwamuluma nnyo n’ajulira n’okufa afune obuweerero.—Yobu 1:13-20; 2:7, 8.
22 Nga gy’obeera nti ebyo byali tebimala, mukyala we eyalina ennyiike ey’amaanyi yajja gy’ali n’amugamba: “Weegaane Katonda ofe!” Ng’eriggwa lino liteekwa okuba nga lyamuleetera obulumi bwa maanyi nnyo mu mubiri! Oluvannyuma, mikwano gya Yobu abasatu, mu kifo ky’okumubudaabuda, baamuvumirira, nga bamulumiriza nti yali akola ebibi mu kyama era ne bagamba nti bye byali bimuviiriddeko emitawaana gye yalina. Endowooza yaabwe enkyamu yayongera munda amaggwa mu mubiri gwe. Era jjukira nti Yobu yali tamanyi lwaki ebintu ebyo ebibi byali bimutuukako; era yali tamanyi obanga obulamu bwe bwandiwonyeewo. Kyokka, ‘mu bino byonna Yobu teyayonoona wadde okuvuma Katonda.’ (Yobu 1:22; 2:9, 10; 3:3; 14:13; 30:17) Wadde yafuna ebizibu bingi omulundi gumu, teyalekayo kubeera mugolokofu. Nga kizzaamu nnyo amaanyi!
23. Lwaki abeesigwa be twogeddeko baasobola okugumiikiriza amaggwa agatali gamu mu mubiri?
23 Ebyokulabirako bye tulabye si bye byokka ebiriyo. Baibuli erimu ebirala bingi. Abaweereza bano bonna abeesigwa baalina okwolekagana n’amaggwa ag’akabonero. Nga baayolekagana n’ebizibu bingi ebitali bimu! Kyokka, baalina ekintu kye baali bafaananya. Tewali n’omu ku bo eyalekera awo okuweereza Yakuwa. Wadde baagezesebwa nnyo, baawangula Setaani mu maanyi Yakuwa ge yabawa. Batya? Ekitundu ekiddako kijja kuddamu ekibuuzo kino era kitulage engeri gye tuyinza okwaŋŋangamu ekintu kyonna ekiringa eriggwa mu mibiri gyaffe.
[Obugambo obuli wansi]
a Olukwe ng’olwo lwali teruyinza kukolebwa Mefibosesi eyali omwetoowaze era omuntu asiima abalala bye bamukoledde. Awatali kubuusabuusa yali amanyi obwesigwa bwa Kitaawe, Yonasaani. Wadde yali mutabani wa Kabaka Sawulo, Yonasaani mu bwetoowaze yakkiriza nti Yakuwa yali alonze Dawudi okuba Kabaka wa Isiraeri. (1 Samwiri 20:12-17) Olw’okuba Yonasaani, kitaawe wa Mefibosesi, yali muntu atya Katonda era nga mwesigwa eri Dawudi, ateekwa okuba nga yayigiriza mutabani we obutayayaanira buyinza.
Wandizzeemu Otya?
• Lwaki ebizibu bye twolekagana nabyo biyinza okugeraageranyizibwa ku maggwa mu mubiri?
• Maggwa ki Mefibosesi ne Nekkemiya ge baagumiikiriza?
• Mu byokulabirako eby’omu Byawandiikibwa eby’abo abaagumiikiriza amaggwa agatali gamu mu mubiri, kiruwa ekisinze okukukwatako, era lwaki?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 9]
Mefibosesi yalina okwaŋŋanga obulema, obulimba n’okuyisibwa obubi
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 11]
Nekkemiya yagumiikiriza wadde yaziyizibwa