EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 2 ABAKKOLINSO 11-13
Pawulo Yalina “Eriggwa mu Mubiri”
Mu Bayibuli amaggwa gatera okukozesebwa mu ngeri ey’akabonero. Gayinza okutegeeza abantu abaleetera abalala ebizibu n’obulumi oba ebintu ebireeta ebizibu. (Kbl 33:55; Nge 22:5; Ezk 28:24) Pawulo bwe yayogera ku ‘liggwa lye yalina mu mubiri,’ ayinza okuba nga yali ategeeza abatume ab’obulimba oba abantu abalala abaali babuusabuusa nti yali mutume. Ebyawandiikibwa bino wammanga biraga kintu ki ekirala ekiyinza okuba nga kye kyali “eriggwa mu mubiri” gwa Pawulo?
“Liggwa” ki ly’olina mu mubiri?
Oyinza otya okulaga nti weesiga Yakuwa okukuyamba okugumiikiriza?