Okwaŋŋanga Ekizibu ‘ky’Eriggwa mu Mubiri’
“Ekisa kyange kikumala.”—2 ABAKKOLINSO 12:9.
1, 2. (a) Lwaki tekyanditwewunyisizza bwe tufuna okugezesebwa oba ebizibu? (b) Lwaki tuyinza okuba abagumu wadde nga twolekaganye n’ebigezo?
“BONNA abaagala okwemalira ku Katonda mu bulamu bwabwe mu Kristo Yesu bajja kuyigganyizibwa.” (2 Timoseewo 3:12, NW) Lwaki kiri bwe kityo? Setaani agamba nti abantu baweereza Katonda nga beenoonyeza ebyabwe ku bwabwe. N’olwekyo ayagala nnyo okulaga nti kye yayogera kituufu. Lumu Yesu yalabula abatume be abeesigwa: “Setaani [asabye] okubawewa mmwe ng’eŋŋaano.” (Lukka 22:31) Yesu yali akimanyi bulungi nti Katonda aleka Setaani okutugezesa ng’ayitira mu bizibu. Kya lwatu, ekyo tekitegeeza nti buli kizibu kye twolekagana nakyo mu bulamu nti butereevu kiva eri Setaani oba balubaale be. (Omubuulizi 9:11) Naye Setaani mwetegefu okukozesa engeri yonna okumenya obugolokofu bwaffe.
2 Baibuli etugamba nti okugezesebwa kwe tufuna tekwanditwewunyisizza. Ekizibu kyonna ekiyinza okututuukako si kintu ekitali kya bulijjo oba ekitasuubirwa. (1 Peetero 4:12) Mu butuufu, ‘ebibonoobono ng’ebyo bituuka ku baganda baffe bonna abali mu nsi.’ (1 Peetero 5:9) Leero, Setaani anyigiriza nnyo buli muweereza wa Katonda. Omulyolyomi asanyuka bw’alaba nga tubonaabona olw’ebizibu ebingi ebibaawo. Okusobola okutuukiriza ekyo, yeeyambisa enteekateeka ye ey’ebintu okutuleetera ebizibu ebirala oba okwongera amaanyi mu ebyo bye tulina. (2 Abakkolinso 12:7) Wadde kiri kityo, okulumba kwa Setaani tekwandimenye bugolokofu bwaffe. Okuva Yakuwa ‘bw’atuteerawo obuddukiro’ tusobole okuziyiza okukemebwa, ajja kutukolera kye kimu bwe tunaayolekagana n’ebizibu ebiringa amaggwa mu mibiri gyaffe.—1 Abakkolinso 10:13.
Engeri y’Okwaŋŋangamu Ekizibu ky’Eriggwa
3. Yakuwa yaddamu ki, Pawulo bwe yamusaba okumuggyamu eriggwa mu mubiri?
3 Omutume Pawulo yeegayirira Katonda okuggya eriggwa mu mubiri gwe. “Olw’ekigambo ekyo nneegayirira Mukama waffe emirundi esatu, kinveeko.” Yakuwa yaddamu atya Pawulo? “Ekisa kyange kikumala: kubanga amaanyi gange gatuukiririra mu bunafu.” (2 Abakkolinso 12:8, 9) Ka twekenneenye ebigambo ebyo bye yaddamu tulabe engeri gye biyinza okutuyamba okwaŋŋanga ekizibu kyonna ekiringa eriggwa kye tuyinza okuba nakyo.
4. Pawulo yaganyulwa atya mu kisa kya Yakuwa?
4 Weetegereze nti Katonda yakubiriza Pawulo okusiima ekisa ekyamulagibwa okuyitira mu Kristo. Mazima ddala, Pawulo yali aweereddwa emikisa mu ngeri nnyingi. Yakuwa yamuwa enkizo ey’okubeera omuyigirizwa wa Yesu wadde nga yayigganya nnyo abagoberezi ba Yesu . (Ebikolwa 7:58; 8:3; 9:1-4) Oluvannyuma lw’ekyo, Yakuwa yawa Pawulo enkizo nnyingi ez’obuweereza. Eky’okuyiga mu ekyo kye kino: Wadde nga tuli mu mbeera embi, tuba n’ebintu ebirala bingi bye tuyinza okusiima. Tetukkirizanga okugezesebwa kwe tufuna okutwerabiza obulungi bwa Yakuwa.—Zabbuli 31:19.
5, 6. (a) Yakuwa yayamba atya Pawulo okutegeera nti amaanyi ga Katonda ‘gatuukirira mu bunafu’? (b) Ekyokulabirako kya Pawulo kyalaga kitya nti Setaani mulimba?
5 Ekisa kya Yakuwa kitumala mu ngeri endala. Amaanyi ga Katonda gatuyamba ne tuyita mu bigezo bye tusanga. (Abaefeso 3:20) Yakuwa yayamba Pawulo okutegeera nti amaanyi ge ‘gatuukirira mu bunafu.’ Mu ngeri ki? Yawa Pawulo amaanyi gonna ge yali yeetaaga okusobola okwaŋŋanga okugezesebwa kwe yalimu. Ekyava mu ekyo, obugumiikiriza bwa Pawulo n’obwesige obw’amaanyi bwe yalina mu Yakuwa byalaga bonna nti amaanyi ga Katonda ge gaayamba omusajja ono omunafu era omwonoonyi okuwangula. Kati lowooza ekyo kye kyakola ku Mulyolyomi agamba nti abantu baweereza Katonda bwe baba mu bulamu obulungi, obutaliimu buzibu. Obugolokofu bwa Pawulo bwaswaza omulimba oyo!
6 Pawulo, eyali Omufalisaayo omunyiikivu, era eyali munne wa Setaani mu kulwanyisa Katonda ng’ayigganya Abakristaayo, awatali kubuusabuusa yaliko mu bulamu obulungi ennyo olw’okuba yakolagananga n’abagagga. Kyokka, kati Pawulo yali aweereza Yakuwa ne Kristo ‘ng’omuto mu batume.’ (1 Abakkolinso 15:9) Bwe kityo, yakkiriza obulagirizi bw’Abakristaayo ab’oku kakiiko akafuzi ak’omu kyasa ekyasooka era yali mwesigwa wadde nga yalina eriggwa mu mubiri. Setaani ateekwa okuba nga yanyiiga nnyo olw’okuba Pawulo teyaddirira wadde nga yali agezesebwa. Pawulo yanywerera ku ssuubi lye yalina ery’okufugira awamu ne Kristo mu Bwakabaka obw’omu ggulu. (2 Timoseewo 2:12; 4:18) Tewali liggwa lyonna, ka libe lya bulumi kwenkana wa eryali lisobola okukendeeza obunyiikivu bwa Pawulo. Mu ngeri y’emu, ka naffe tweyongere okuba abanyiikivu! Yakuwa bw’atuyamba okwaŋŋanga okugezesebwa, aba atuwa enkizo ey’okulaga nti Setaani mulimba.—Engero 27:11.
Yakuwa by’Atuwa Bikulu Nnyo
7, 8. (a) Yakuwa akozesa ki okuwa abaweereza be amaanyi? (b) Lwaki kikulu nnyo okusoma n’okuyiga Baibuli buli lunaku bwe tuba ab’okwaŋŋanga eriggwa mu mubiri gwaffe?
7 Leero, Yakuwa awa Abakristaayo ab’amazima amaanyi okuyitira mu mwoyo omutukuvu, Ekigambo kye n’oluganda lwaffe olw’Ekikristaayo. Okufaananako Pawulo, tuyinza okutikka Yakuwa emigugu gyaffe okuyitira mu kusaba. (Zabbuli 55:22) Wadde nga Katonda ayinza obutaggyawo kugezesebwa, ayinza okutuwa amagezi okukwaŋŋanga, wadde n’okwo okuzibu okugumira. Yakuwa era ayinza okutuwa ‘amaanyi agasinga ku ga bulijjo’ okutuyamba okugumiikiriza.—2 Abakkolinso 4:7.
8 Tufuna tutya obuyambi ng’obwo? Tuteekwa okunyiikirira okusoma Ekigambo kya Katonda kubanga mulimu ebiyinza okutubudaabuda. (Zabbuli 94:19) Mu Baibuli tusoma ku baweereza ba Katonda abaamwegayirira abawe obuyambi. Engeri Yakuwa gye yabayambamu, emirundi mingi ng’akozesa ebigambo ebibudaabuda, nnungi okufumiitirizaako. Okusoma Ekigambo kya Katonda kujja kutunyweza, ‘amaanyi agasinga ku ga bulijjo galyoke gavenga eri Katonda so si eri ffe.’ Nga bwe twetaaga okulya emmere buli lunaku okufuna amaanyi, era tuteekwa okusoma Ekigambo kya Katonda obutayosa. Ekyo tukikola? Bwe tukola bwe tutyo, tujja kulaba nti okufuna ‘amaanyi agasinga ku ga bulijjo’ kituyamba okugumiikiriza eriggwa lyonna ery’akabonero lye tuyinza okuba nga twolekaganye nalyo kati.
9. Abakadde bayinza batya okuyamba abo abalina ebizibu?
9 Abakadde Abakristaayo abatya Katonda bayinza ‘okuba ng’ekifo eky’okwekwekamu eri empewo n’ekiddukiro eri embuyaga,’ kwe kugamba bayinza okutukuuma okuva ku nnaku n’ebizibu. Abakadde abaagala okutuukana n’ebigambo ebyo, mu bwetoowaze basaba Yakuwa okubawa ‘olulimi olw’abayigiriziddwa’ bamanye engeri y’okubudaabudamu ababonaabona. Ebigambo by’abakadde biyinza okuba ng’enkuba etuweweeza era etukkakkanya mu biseera ebizibu. Nga ‘bagumya abalina ennaku,’ abakadde baba bawagira baganda baabwe abaweddemu amaanyi olw’eriggwa lye balina mu mubiri.—Isaaya 32:2; 50:4; 1 Abasessaloniika 5:14.
10, 11. Abaweereza ba Katonda bayinza batya okuzzaamu amaanyi abo abagezesebwa ennyo?
10 Abaweereza ba Yakuwa bonna bali kitundu ky’amaka Amakristaayo agali obumu. Yee, ‘tuli bitundu bya bannaffe ffeka na ffeka,’ era “kitugwanira okwagalana.” (Abaruumi 12:5; 1 Yokaana 4:11) Tuyinza tutya okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwo? Okusinziira ku 1 Peetero 3:8, tukikola nga ‘tulumirirwa, twagala era nga tusaasira’ bonna bwe tuli obumu mu kukkiriza. Eri abo abaŋŋanga eriggwa mu mubiri, ka babe bato oba bakulu, ffenna tuyinza okubafaako mu ngeri ey’enjawulo. Tutya?
11 Twandibadde tufaayo ku nneewulira y’abo ababonaabona. Singa tetubafaako oba singa tetubalumirirwa, mu butali bugenderevu tuyinza okwongera ku kubonaabona kwabwe. Olw’okumanya okugezesebwa kwe baba nakwo, twandyegenderezza bye twogera, engeri gye twogeramu n’engeri gye tweyisaamu. Bwe tubazimba era ne tubazzaamu amaanyi, tuyinza okukendeeza ku bulumi obw’amaanyi bwe baba nabwo. Bwe kityo, tuyinza okubanyweza.—Abakkolosaayi 4:11.
Engeri Abamu Gye Basobodde Okwaŋŋanga Ebizibu
12-14. (a) Omukristaayo omu yakola ki okusobola okwaŋŋanga kookolo gwe yalina? (b) Ab’oluganda ab’omwoyo bayamba batya mwannyinaffe?
12 Nga tusemberera enkomerero y’ennaku ez’oluvannyuma, ‘ennaku’ yeeyongera buli lunaku. (Matayo 24:8) Bwe kityo, kirabika ebigezo bijja kutuuka ku buli omu ku nsi, naddala abaweereza ba Yakuwa abeesigwa, abafuba okukola by’ayagala. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku Mukristaayo ali mu buweereza obw’ekiseera kyonna. Yakeberwa era ne kizuulibwa nti yalina kookolo era nga yeetaaga okulongoosebwa. Ye ne bbaawe bwe baategeera nti yalina obulwadde buno, baasaba Yakuwa mu bwesimbu. Yagamba nti, oluvannyuma lw’okusaba bakkakkana mu ngeri eyeewuunyisa. Wadde kyali kityo, yagumiikiriza embeera enzibu naddala eyasibuka ku ddagala lye yali akozesa.
13 Okusobola okukola ku bulwadde bwe, mwannyinaffe ono yafuba okumanya ebintu bingi nga bwe kisoboka ku kookolo. Yeebuuza ku basawo be. Mu Omunaala gw’Omukuumi ne Awake!, n’ebitabo eby’Ekikristaayo, yasangamu ebyokulabirako by’abantu kinnoomu abaasobola okwaŋŋanga obulwadde obwo. Era yasoma ebyawandiikibwa ebiraga engeri Yakuwa gy’awaniriramu abantu abali mu bizibu awamu n’ebintu ebirala ebizzaamu amaanyi.
14 Ekitundu ekimu ekyali kyogera ku ngeri y’okwaŋŋangamu ebizibu kyanokolayo ebigambo bino eby’amagezi: ‘Eyeeyawula ku balala aba yeefaako yekka.’ (Engero 18:1) N’olwekyo, ekitundu ekyo kyawa amagezi gano: “Teweeyawula ku balala.”a Mwannyinaffe agamba: “Bangi baŋŋamba nti bansabira; abalala baankubira essimu. Abakadde babiri baankubiranga essimu okulaba bwendi. Baampeereza ebimuli bingi awamu ne kaadi. Abamu baanfumbiranga n’emmere. Era bangi baantwalanga nga bagenda okunzijjanjaba.”
15-17. (a) Omukristaayo omu yasobola atya okwaŋŋanga ebizibu ebyajjawo olw’akabenje ke yafuna? (b) Abali mu kibiina baawa buyambi bwa ngeri ki?
15 Mwannyinaffe abeera mu New Mexico, Amereka, eyali amaze ekiseera kiwanvu ng’aweereza Yakuwa yafuna akabenje. Ensingo ye n’ebibegabega byatuusibwako ebisago, era ekyo kyayongera amaanyi mu bulwadde bw’amagumba bwe yali ayolekaganye nabwo okumala emyaka 25. Agamba: “Kyanzibuwaliranga okukuuma omutwe gwange nga guli busimba oba okusitula ekintu kyonna ekisukka kilo bbiri. Kyokka okusaba Yakuwa kinnyambye nnyo okugumira embeera gyendimu. Era n’ebitundu bye tusomye mu Omunaala gw’Omukuumi binnyambye nnyo. Ekitundu ekimu kyayogera ku Mikka 6:8, nga kinnyonnyola nti okubeera omuwombeefu ng’otambula ne Katonda kizingiramu okumanya obusobozi bwo we bukoma. Kino kyannyamba okutegeera nti sandiweddemu maanyi wadde ng’ebiseera bye mala mu nnimiro si by’ebyo bye nandyagadde. Ekikulu kwe kumuweereza n’ebiruubirirwa ebirungi.”
16 Era agamba: “Abakadde baansiimanga olw’okufuba okubaawo mu nkuŋŋaana n’okugenda mu buweereza bw’ennimiro. Abato baambuuzanga nga bampambaatira. Bapayoniya baandaga nnyo obugumiikiriza era ne bakola enkyukakyuka mu nteekateeka zaabwe mu biseera bye nnabanga omulwadde ennyo. Embeera y’obudde bwe yabeeranga embi, baantwalanga nga bakola okudiŋŋana oba baansabanga okubaawo nga bayigiriza abayizi baabwe Baibuli. Okuva bwe nnali siyinza kusitula nsawo, ababuulizi abalala baateekanga ebitabo byange mu nsawo zaabwe bwe nnagendanga okubuulira.”
17 Weetegereze engeri abakadde mu kibiina ne bakkiriza banne gye baayambamu bannyinnaffe bano ababiri okwaŋŋanga obulwadde obwalinga amaggwa. Baawa obuyambi mu ngeri ey’omugaso era ey’ekisa nga balina ekigendererwa eky’okukola ku byetaago byabwe eby’omwoyo, eby’omubiri n’eby’enneewulira ez’omunda. Ekyo tekikukubiriza okuyamba ab’oluganda abalina ebizibu? Nammwe abato muyinza okuyamba abali mu bibiina byammwe aboolekaganye n’amaggwa mu mibiri gyabwe.—Engero 20:29.
18. Biki ebizzaamu amaanyi bye tuyinza okusanga mu Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! ebikwata ku bulamu bw’abantu?
18 Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! bufulumiddemu bingi ebikwata ku bulamu bw’Abajulirwa abasobodde okwaŋŋanga, era abakyaŋŋanga ebizibu mu bulamu. Ng’osoma ebitundu ebyo obutayosa, ojja kulaba nti baganda bo ne bannyoko bangi okwetooloola ensi bagumiikiriza ebizibu by’enfuna, okufiirwa abaagalwa baabwe, n’embeera embi ennyo mu ntalo. Abalala balina endwadde ez’amaanyi ennyo. Bangi tebayinza kukola wadde ebintu ebyangu ennyo. Obulwadde bwabwe bubagezesa nnyo, naddala nga bubalemesa okwenyigira mu mirimu gy’Ekikristaayo nga bwe bandyagadde. Nga basiima nnyo obuyambi n’obuwagizi baganda baabwe ne bannyinaabwe, abato n’abakulu bwe babawa!
Obugumiikiriza Buleeta Essanyu
19. Lwaki Pawulo yali asobola okusanyuka wadde nga yali agezesebwa era ng’alina obunafu?
19 Pawulo yasanyuka okulaba engeri Katonda gye yamuzzaamu amaanyi. Yagamba: “Kyennaavanga nneenyumiriza n’essanyu eringi olw’eby’obunafu bwange, amaanyi ga Kristo galyoke gasiisire ku nze. Kyenva nsanyukira eby’obunafu, okugirirwanga ekyejo, okwetaaganga, okuyigganyizibwanga, okutegananga, okulangibwanga Kristo: kubanga bwe mba omunafu, lwe mba ow’amaanyi.” (2 Abakkolinso 12:9, 10) Olw’ebyo ebyamutuukako, Pawulo yasobola okugamba: “Si kubanga njogera olw’okwetaaga: kubanga nnayiga, embeera gye mbaamu yonna, obutabaako kye nneetaaga. Mmanyi okwetoowaza, era mmanyi bwe kiba okuba n’ebintu ebingi: mu buli kigambo ne mu bigambo byonna nnayiga ekyama ekiri mu kukkuta ne mu kulumwa enjala, okuba n’ebingi era n’okuba mu bwetaavu. Nnyinzizza byonna mu oyo ampa amaanyi.”—Abafiripi 4:11-13.
20, 21. (a) Lwaki tuyinza okufuna essanyu bwe tufumiitiriza ku ‘bintu ebitalabika’? (b) ‘Bintu ki ebimu ebitalabika’ by’osuubira okulaba mu Lusuku lwa Katonda ku nsi?
20 N’olwekyo, nga tugumiikiriza eriggwa lyonna ery’akabonero mu mibiri gyaffe, tuyinza okufuna essanyu lingi nnyo mu kulaga buli omu nti amaanyi ga Yakuwa gatuukirira mu bunafu bwaffe. Pawulo yawandiika: “Kyetuva tulema okuddirira . . . naye omuntu waffe ow’omunda afuuka omuggya bulijjo bulijjo. Kubanga okubonaabona kwaffe okutazitowa, okw’ekiseera ekya kaakano, kwongerayongera nnyo okutukolera ekitiibwa ekizitowa eky’emirembe n’emirembe; ffe nga . . . [tutunuulira] ebitalabika: kubanga . . . ebitalabika bya mirembe na mirembe.”—2 Abakkolinso 4:16-18.
21 Abantu ba Yakuwa abasinga obungi leero basuubira okubeera mu Lusuku lwe ku nsi era n’okufuna emikisa gye yasuubiza. Emikisa ng’egyo tuyinza okugitwala ‘ng’egitalabika.’ Kyokka, ekiseera kiri kumpi ddala lwe tuliraba emikisa egyo n’amaaso gaffe, era tugyeyagaliremu emirembe gyonna. Ogumu ku mikisa egyo, bwe butaddamu kubeera na bizibu biringa maggwa! Omwana wa Katonda ajja ‘kumalawo ebikolwa bya Setaani’ era “azikirize oyo eyalina amaanyi ag’okufa.”—1 Yokaana 3:8; Abaebbulaniya 2:14.
22. Twandibadde na bumalirivu ki?
22 N’olwekyo, ka tubeere na liggwa ki mu mubiri gwaffe, tweyongere okulyaŋŋanga. Okufaananako Pawulo, tujja kukola ekyo olw’amaanyi Yakuwa g’atuwa. Bwe tulibeera mu Lusuku lwa Katonda ku nsi, tujja kumutenderezanga buli lunaku olw’ebikolwa bye eby’ekitalo ku lwaffe—Zabbuli 103:2.
[Obugambo obuli wansi]
a Laba ekitundu ekirina omutwe “Baibuli ky’Eyogera: Engeri y’Okwaŋŋangamu Ebizibu,” ekyali mu Awake! aka Maayi 8, 2000.
Wandizzeemu Otya?
• Lwaki Omulyolyomi agezaako okumenya obugolokofu bw’Abakristaayo ab’amazima era akikola mu ngeri ki?
• Amaanyi ga Yakuwa ‘gatuukirira gatya mu bunafu’?
• Abakadde n’abalala bayinza batya okuzzaamu amaanyi abalina ebizibu?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 13]
Emirundi esatu Pawulo yasaba Katonda aggyewo eriggwa mu mubiri gwe