LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w04 9/1 lup. 8-13
  • Bakyayibwa Awatali Nsonga

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Bakyayibwa Awatali Nsonga
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Ensibuko y’Obukyayi
  • “Bwe Banaabavumanga”
  • Okugumiikiriza nga Tuyisibwa Bubi
  • Nyweza Okukkiriza Kwo Kati
  • Okweyisa mu Ngeri Esanyusa Katonda
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
  • Yobu Yagulumiza Erinnya lya Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Oyinza Otya Okufuuka Mukwano gwa Katonda?
    Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
  • Yobu—Omusajja Eyagumiikiriza era Eyakuuma Obugolokofu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
w04 9/1 lup. 8-13

Bakyayibwa Awatali Nsonga

“Bankyayira bwereere.”​—YOKAANA 15:25.

1, 2. (a) Lwaki abamu beewuunya Abakristaayo bwe boogerwako obubi, naye lwaki ffe tekisaanidde kutwewuunyisa? (b) Makulu ki ag’ekigambo “obukyayi” ge tugenda okwekenneenya mu kitundu kino? (Laba obugambo obwa wansi.)

ABAJULIRWA BA YAKUWA bafuba okutambuliza obulamu bwabwe ku misingi egisangibwa mu Kigambo kya Katonda. Olw’ensonga eyo, boogerwako bulungi mu nsi nnyingi. Kyokka, emirundi egimu boogeddwako eby’obulimba. Ng’ekyokulabirako, omukungu omu owa gavumenti abeera mu kibuga St. Petersburg, eky’omu Russia yagamba: “Baatugambanga nti Abajulirwa ba Yakuwa kadiinidiini akakolera ebintu mu nkukutu era nti abakalimu batta abaana era nabo bennyini betta.” Kyokka, oluvannyuma lw’okukolerako awamu n’Abajulirwa ba Yakuwa nga bategeka olukuŋŋaana lwabwe olw’ensi yonna, omukungu oyo y’omu yagamba: “Kati ndaba abantu aba bulijjo, abasanyufu. . . . Ba mirembe, bakkakkamu, era baagalana nnyo.” Ate era yagattako: “Mazima ddala sitegeera nsonga lwaki abantu baboogerako eby’obulimba ng’ebyo.”​—1 Peetero 3:16.

2 Abaweereza ba Katonda tekibasanyusa bwe babawaayiriza nti bakozi ba bubi, kyokka ekyo tekibeewuunyisa. Yesu yalabula abagoberezi be: “Ensi bw’ebakyawanga mumanyi nga yasooka kukyawa nze nga tennaba kukyawa mmwe. . . . Naye [kiri kityo] ekigambo kituukirire ekyawandiikibwa mu mateeka gaabwe nti Bankyayira bwereere.”a (Yokaana 15:18-20, 25; Zabbuli 35:19; 69:4) Emabegako yali agambye abayigirizwa be nti: “Oba nga bayise nannyini nju Beeruzebuli, tebalisinzaawo abo abali mu nju ye?” (Matayo 10:25) Abakristaayo bakimanyi nti okugumiikiriza okuvumibwa ng’okwo kye kimu mu bizingirwa mu ‘muti’ gwe bakkiriza okwetikka bwe baafuuka abagoberezi ba Kristo.​—Matayo 16:24.

3. Abasinza ab’amazima bayigganyiziddwa kuva ddi?

3 Okuyigganyizibwa kw’abasinza ab’amazima kwatandika dda nnyo, okuviira ddala mu kiseera kya ‘Abeeri omutuukirivu.’ (Matayo 23:34, 35) Era, abantu ba Katonda abalala bangi abayigganyiziddwa. Yesu yagamba nti abagoberezi be bandibadde ‘bakyayibwa abantu bonna’ nga babalanga erinnya lye. (Matayo 10:22) Ate era, omutume Pawulo yawandiika nti abaweereza ba Katonda bonna​—nga mw’otwalidde buli omu ku ffe​—balina okusuubira okuyigganyizibwa. (2 Timoseewo 3:12) Nsonga ki eviirako okuyigganyizibwa okwo?

Ensibuko y’Obukyayi

4. Baibuli eyoleka etya ensibuko y’obukyayi?

4 Ekigambo kya Katonda kyoleka bulungi nti okuviira ddala ku ntandikwa, wabaddewo omuntu atalabika aviirako abasinza ab’amazima okukyayibwa. Lowooza ku musajja omutuukirivu Abeeri eyattibwa mu bukambwe obuyitirivu. Baibuli agamba nti muganda we kalibutemu, Kayini, ‘yali wa mubi,’ Setaani Omulyolyomi. (1 Yokaana 3:12) Kayini yayoleka endowooza ya Setaani, era bw’atyo Omulyolyomi n’amukozesa okutuukiriza ebigendererwa bye ebibi. Baibuli era etutegeeza ku bulumbaganyi obw’obukambwe Setaani bwe yakola ku Yobu ne Yesu Kristo. (Yobu 1:12; 2:6, 7; Yokaana 8:37, 44; 13:27) Ekitabo ky’Okubikkulirwa kyoleka bulungi ensibuko y’okuyigganyizibwa kw’abaweereza ba Yesu nga kigamba nti: ‘Omulyolyomi agenda kusuula abamu mu mmwe mu kkomera, mukemebwe.’ (Okubikkulirwa 2:10) Yee, Setaani y’aviirako abantu ba Katonda okukyayibwa.

5. Nsonga ki eviirako Setaani okukyawa abasinza ab’amazima?

5 Nsonga ki eviirako Setaani okukyawa abasinza ab’amazima? Ng’ayoleka amalala amangi n’omwoyo gw’okwelowoozaako, Setaani asoomooza “Kabaka ow’emirembe,” Yakuwa Katonda. (1 Timoseewo 1:17; 3:6) Agamba nti Katonda akugira ekisukkiridde ebitonde bye by’afuga, era nti tewali n’omu aweereza Yakuwa ng’alina ekigendererwa ekirungi, wabula nti abantu bamuweereza olw’okwenoonyeza ebyabwe ku bwabwe. Ate era Setaani agamba nti singa akkirizibwa okugezesa abantu, bonna asobola okubawugula ne balekera awo okuweereza Katonda. (Olubereberye 3:1-6; Yobu 1:6-12; 2:1-7) Mu kugamba nti Yakuwa anyigiriza, mulimba, era alemereddwa okutuukiriza ebigendererwa bye, Setaani abayagala kuvuganya Katonda mu kufuga obutonde bwonna. N’olwekyo, ekimuleetera okusunguwalira abaweereza ba Katonda kwe kuba nti ayagala nnyo okusinzibwa.​—Matayo 4:8, 9.

6. (a) Ffe kinnoomu tuzingirwamu tutya mu nsonga ekwata ku bufuzi bwa Yakuwa? (b) Okutegeera ensonga eno, kituyamba kitya okusigala nga tuli beesigwa? (Laba akasanduuko ku lupapula 12.)

6 Olaba engeri ensonga eno gy’ekukwatako kinnoomu? Ng’omuweereza wa Yakuwa, okimanyi nti kyetaagisa okufuba okw’amaanyi okukola Katonda by’ayagala, naye ng’emiganyulo egivaamu mingi nnyo. Naye, kiba kitya singa embeera z’obulamu bwo zikukaluubiriza nnyo ne kiba nti tekikwanguyira kweyongera kugondera mateeka ga Yakuwa n’emisingi gye? Ate era, kiba kitya singa kikulabikira ng’atalina muganyulo gw’ofuna mu kuweereza Yakuwa? Wandigambye nti si kikulu okweyongera okuweereza Yakuwa? Oba okwagala kw’olina eri Yakuwa n’okusiima engeri ze ez’ekitalo byandikukubirizza okweyongera okutambulira mu makubo ge? (Ekyamateeka 10:12, 13) Ng’aleka Setaani okututuusaako ebizibu ebimu, Yakuwa awadde buli omu ku ffe omukisa okulaga nti Setaani bye yayogera bya bulimba.​—Engero 27:11.

“Bwe Banaabavumanga”

7. Akamu ku bukodyo Omulyolyomi bw’akozesa ng’agezaako okutuggya ku Yakuwa ke kaluwa?

7 Kati ka twekenneenye mu ngeri esingawo akamu ku bukoddyo Setaani bw’akozesa ng’afuba okutuukiriza ekyo kye yagamba, kwe kugamba, akakodyo k’okulimba. Yesu yayita Setaani “kitaawe w’obulimba.” (Yokaana 8:44) Erinnya Omulyolyomi eritegeeza “Omuwaayiriza,” lyoleka nti y’awomye omutwe mu kwogera eby’obulimba ku Katonda, ku Kigambo kye, ne ku linnya lye ettukuvu. Omulyolyomi awaayiriza, era ayogera ebigambo ebirabisa Katonda ng’omulimba, ng’asoomooza obufuzi bwa Yakuwa era nga bino bye bimu by’akozesa okusiiga abaweereza ba Katonda abeesigwa enziro. Ng’assa ekivume ku Bajulirwa bano, asobola okuleeta okugezesa okw’amaanyi okuyinza okubeera okuzibu ennyo okugumira.

8. Setaani yakozesa atya ebigambo okulumya Yobu, era kino Yobu kyamuyisa kitya?

8 Lowooza ku ekyo ekyatuuka ku Yobu erinnya lye eritegeeza “Ekintu Eky’Okukyayibwa.” Ng’oggyeko okusaanyawo ebintu bye, abaana be era n’okumulwaza, Setaani yalabisa Yobu ng’omuntu omwonoonyi eyali abonerezebwa Katonda. Wadde nga Yobu yali assibwamu ekitiibwa, ab’eŋŋanda ze ne mikwano gye egy’oku lusegere baamuyisaamu amaaso. (Yobu 19:13-19; 29:1, 2, 7-11) Ate era, nga Setaani akozesa mikwano gya Yobu abaalabika ng’abamuzzaamu amaanyi, ‘yakozesa ebigambo ebirumya,’ okusooka ng’ayogera mu ngeri eyali eraga nti Yobu yali ateekwa okuba ng’alina ekibi eky’amaanyi kye yakola, ate oluvannyuma n’amulumiriza butereevu nti yali mwonoonyi. (Yobu 4:6-9; 19:2; 22:5-10) Bino nga biteekwa okuba nga byamalamu nnyo Yobu amaanyi!

9. Setaani yalabisa atya Yesu ng’omwonoonyi?

9 Omwana wa Katonda eyasingayo okuwagira obufuzi bwa Yakuwa, y’akyasinze okukyayibwa Setaani. Yesu bwe yajja ku nsi, Setaani yagezaako okumusiiga enziro ng’amulabisa ng’omwonoonyi nga bwe yakola Yobu. (Isaaya 53:2-4; Yokaana 9:24) Abantu baamuyita omutamiivu, omuluvu era nti ‘yaliko omwoyo omubi.’ (Matayo 11:18, 19; Yokaana 7:20; 8:48; 10:20) Baamuwaayiriza nti muvvoozi. (Matayo 9:2, 3; 26:63-66; Yokaana 10:33-36) Ekyo kyanakuwaza nnyo Yesu kubanga yali amanyi nti kyali kireeta ekivume ku Kitaawe. (Lukka 22:41-44) Ku nkomerero, yakomererwa ng’omukozi w’ebibi omukolimire. (Matayo 27:38-44) Okusobola okukuuma obugolokofu, Yesu yagumira ‘okuwakanyizibwa ababi.’​—Abaebbulaniya 12:2, 3.

10. Mu ngeri ki abaafukibwako amafuta abakyasigaddewo gye bakyayiddwa ennyo Setaani?

10 Mu kiseera kino, abagoberezi ba Kristo abaafukibwako amafuta abakyasigaddewo nabo bakyayiddwa nnyo Omulyolyomi. Setaani ayogerwako ng’oyo ‘alumiriza baganda ba Kristo, emisana n’ekiro mu maaso ga Katonda waffe.’ (Okubikkulirwa 12:9, 10) Okuva Setaani lwe yagobwa mu ggulu n’asuulibwa ku nsi, ayongeredde ddala okusiiga baganda ba Kristo enziro. (1 Abakkolinso 4:13) Mu nsi ezimu, bayitibwa akadiinidiini ok’omutawaana ng’Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka bwe baayitibwanga. (Ebikolwa 24:5, 14; 28:22) Nga bwe kyayogeddwa ku ntandikwa, boogeddwako eby’obulimba okuyitira mu ppokopoko. Kyokka, “olw’ekitiibwa n’olwokunyoomebwa, olw’okuvumibwa n’olw’okusiimibwa,” baganda ba Kristo abaafukibwako amafuta nga bawagirwako bannaabwe ‘ab’endiga endala,’ bafubye ‘okukwata ebiragiro bya Katonda, era bakola omulimu gw’okuwa obujulirwa ku Yesu.’​—2 Abakkolinso 6:8; Yokaana 10:16; Okubikkulirwa 12:17.

11, 12. (a) Biki ebiyinza okuba nga bye biviirako Abakristaayo okuvumibwa? (b) Mu ngeri ki ezimu Omukristaayo mw’ayinza okubonyaabonyezebwa awatali nsonga olw’okukkiriza kwe?

11 Kya lwatu, si buli mulundi abaweereza ba Katonda lwe bayigganyizibwa nti baba ‘bayigganyizibwa lwa butuukirivu.’ (Matayo 5:10) Ebizibu ebimu bijjawo olw’obutali butuukirivu bwaffe. ‘Ne bwe tugumiikiriza nga tukubiddwa empi olw’okwonoona, tetuganyulwa.’ Kyokka, Omukristaayo, “bw’agumiikiriza okulumwa olw’okujjukira Katonda, ng’abonyaabonyezebwa awatali nsonga,” ekyo kisiimibwa mu maaso ga Yakuwa. (1 Peetero 2:19, 20) Mu mbeera ki kino we kiyinza okubeererawo?

12 Abamu bayisiddwa bubi olw’okugaana okwenyigira mu mikolo egikwata ku bafu egikontana n’Ebyawandiikibwa. (Ekyamateeka 14:1) Abavubuka Abajulirwa bapaatikiddwako amanya olw’okunywerera ku mitindo gya Yakuwa egy’empisa. (1 Peetero 4:4) Abazadde abamu Abakristaayo balumiriziddwa mu bukyamu nti “balagaggyavu” oba nti ba “ttima” olw’okuba bagaanyi abaana baabwe okutekebwamu omusaayi. (Ebikolwa 15:29) Abakristaayo babooleddwa ab’eŋŋanda zaabwe oba baliraanwa baabwe olw’okuba baafuuka abaweereza ba Yakuwa. (Matayo 10:34-37) Bonna abayisiddwa mu ngeri eyo bafaananako bannabbi ne Yesu kennyini abaabonyaabonyezebwa awatali nsonga.​—Matayo 5:11, 12; Yakobo 5:10; 1 Peetero 2:21.

Okugumiikiriza nga Tuyisibwa Bubi

13. Kiki ekisobola okutuyamba okusigala nga tuli banywevu mu by’omwoyo bwe tuba nga tuyisibwa bubi?

13 Bwe tuba nga tuyisibwa bubi olw’okukkiriza kwaffe, tuyinza okuggwaamu amaanyi nga bwe kyali eri nnabbi Yeremiya era ne tuwulira nti tetukyasobola kweyongera kuweereza Katonda. (Yeremiya 20:7-9) Kiki ekiyinza okutuyamba okusigala nga tuli banywevu mu by’omwoyo? Tulina okutunuulira ensonga nga Yakuwa bw’agitunuulira. Abo abasigala nga beesigwa bwe baba nga bagezesebwa, abatwala ng’abawanguzi. (Abaruumi 8:37) Fumiitiriza ku abo abanyweredde ku kuwagira obufuzi bwa Yakuwa mu buli mbeera yonna Omulyolyomi gy’akozesezza okubabonyaabonya​—abasajja n’abakazi nga Abeeri, Yobu, Malyamu maama wa Yesu, n’abalala abeesigwa bangi ab’edda n’ab’omu kiseera kino. (Abaebbulaniya 11:35-37; 12:1) Fumiitiriza ku ngeri gye baanywerera mu kkubo eggolokofu. Olufu lw’abeesigwa abo lutukubiriza okubeegattako mu kufuna empeera eterekeddwa abo abawangula ensi olw’obwesigwa bwabwe.​—1 Yokaana 5:4.

14. Okusaba kusobola kutya okutuzzaamu amaanyi ne tusigala nga tuli beesigwa?

14 ‘Bwe tuba mu buyinike obungi,’ tusobola okutuukirira Yakuwa mu kusaba, era ajja kutubudaabuda n’okutuzzaamu amaanyi. (Zabbuli 50:15; 94:19) Ajja kutuwa amagezi ge twetaaga okusobola okwaŋŋanga ebigezo era n’okutuyamba okufumiitiriza ku nsonga enkulu ezingiramu obufuzi bwe era nga y’eviirako abaweereza be okukyayibwa awatali nsonga. (Yakobo 1:5) Ate era Yakuwa asobola okutuwa ‘emirembe gye egisinga okutegeera kwonna.’ (Abafiripi 4:6, 7) Emirembe gino Katonda gy’atuwa gisobola okutuyamba okusigala nga tuli bakkakkamu era nga tuli banywevu gguluggulu bwe tuba tunyigirizibwa nnyo, bwe tutyo ne tutaba na kubuusabuusa oba okutya. Okuyitira mu mwoyo gwe omutukuvu, Yakuwa asobola okutuyamba okuyita mu kyonna ky’aba alese okututuukako.​—1 Abakkolinso 10:13.

15. Kiki ekiyinza okutuyamba obutasunguwala bwe tuba nga tubonyaabonyezebwa?

15 Kiki ekiyinza okutuyamba obutasunguwalira abo abatukyawa awatali nsonga? Tusaanidde okukijjukira nti Setaani ne badayimooni be balabe baffe abakulu. (Abaefeso 6:12) Wadde ng’abantu abamu batuyigganya mu bugenderevu, abasinga obungi ku abo abayigganya abantu ba Katonda bakikola mu butamanya oba oluusi bakozesebwa balala. (Danyeri 6:4-16; 1 Timoseewo 1:12, 13) Yakuwa ayagala ‘abantu bonna okulokolebwa n’okutegeerera ddala amazima.’ (1 Timoseewo 2:4) Mu butuufu, abamu ku abo abaali batuyigganya baafuka baganda baffe Abakristaayo oluvannyuma lw’okukitegeera nti tetulina mutawaana gwonna. (1 Peetero 2:12) Okwongereza ku ekyo, tusobola okuyigira ku kyokulabirako kya Yusufu mutabani wa Yakobo. Wadde nga Yusufu yali abonyeebonye nnyo olw’ebyo baganda be bye baamukola, teyasiba kiruyi ku mutima. Lwaki? Lwa kuba yakitegeera nti Yakuwa yakozesa embeera eyo, okutuukiriza ebigendererwa Bye. (Olubereberye 45:4-8) Mu ngeri y’emu, Yakuwa ayinza okukukozesa okubonaabona kwe tuyitamu okugulumiza erinnya lye.​—1 Peetero 4:16.

16, 17. Lwaki tetusaanidde kweraliikirira nnyo abatuwakanya bwe bafuba okuziyiza omulimu gw’okubuulira?

16 Tetusaanidde kweraliikirira nnyo abatuyigganya bwe balabika ng’abatuuse ku buwanguzi mu kuziyiza amawulire amalungi. Kaakano Yakuwa akankanya amawanga ng’ayitira mu mulimu gw’okubuulira mu nsi yonna, era n’ebyegombebwa mu mawanga byeyongera okujja gy’ali. (Kaggayi 2:7) Yesu Kristo Omusumba Omulungi yagamba: ‘Endiga zange ziwulira eddoboozi lyange, nange nzitegeera, era zingoberera; nange nziwa obulamu obutaggwaawo, so tewali alizisikula mu mukono gwange.’ (Yokaana 10:27-29) Bamalayika abatukuvu nabo beenyigidde mu mulimu guno omukulu ogw’amakungula ag’eby’omwoyo. (Matayo 13:39, 41; Okubikkulirwa 14:6, 7) N’olwekyo, abatuziyiza tewali kye bayinza kwogera oba okukola ekiyinza okulemesa okutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Katonda.​—Isaaya 54:17; Ebikolwa 5:38, 39.

17 Emirundi mingi, okufuba kw’abatuziyiza kugwa butaka. Mu kitundu ekimu mu Afirika, waaliwo eby’obulimba bingi ebyali byogerwa ku Bajulirwa ba Yakuwa nga mw’otwalidde n’okugamba nti baali basinza Setaani. Olw’ensonga eno, buli mulundi Abajulirwa lwe baakyalanga, omukyala ayitibwa Grace yeekwekanga emabega w’enju ye okutuusa nga bagenze. Olumu, paasita w’ekkanisa mwe yali asabira yakwata akamu ku butabo bwaffe n’agamba baaliwo bonna obutakasoma kubanga kandibaleetedde okuleka enzikiriza yaabwe. Kino kyaleetera Grace okwagala okumanya ebisingawo. Omulundi ogwaddako Abajulirwa lwe baakyala, mu kifo ky’okwekweka, yakkiriza okwogera nabo era n’afuna kopi ye ey’akatabo. Yatandika okuyiga Baibuli era n’abatizibwa mu 1996. Kati Grace awaayo ebiseera bye okunoonya abalala abayinza okuba nga baagambibwa eby’obulimba ebikwata ku Bajulirwa ba Yakuwa.

Nyweza Okukkiriza Kwo Kati

18. Lwaki kitwetaagisa okunyweza okukkiriza kwaffe ng’okugezesebwa okw’amaanyi tekunabalukawo, era tusobola tutya okukikola?

18 Okuva Setaani bw’asobola okutulumba ekiseera kyonna, kikulu nnyo okunyweza okukkiriza kwaffe kati. Tusobola tutya okukola kino? Alipoota okuva mu nsi emu Abajulirwa ba Yakuwa gye babadde bayigganyizibwa ennyo, egamba bw’eti: “Ekintu ekimu ekyeyolese obulungi kiri nti: Abo abalina enteekateeka ennungi ey’eby’omwoyo era abasiima ennyo amazima g’omu Baibuli basigala nga banywevu okugezesebwa bwe kujjawo. Kyokka abo aboosa enkuŋŋaana n’obuweereza bw’ennimiro mu ‘biseera eby’emirembe,’ era abekkiriranya mu busonga obutono, batera okugwa ‘okugezesebwa bwe kujjawo.’” (2 Timoseewo 4:2) Bw’olaba nga waliwo we weetaaga okulongoosamu, fuba okukikola awatali kulwa.​—Zabbuli 119:60.

19. Eky’abaweereza ba Katonda okukuuma obugolokofu wadde nga bakyayiddwa awatali nsonga, kituukirizza ki?

19 Okuba nti abasinza ab’amazima bakuumye obugolokofu wadde nga babonyeebonye nnyo olw’obukyayi bwa Setaani, bukakafu obulaga nti obufuzi bwa Yakuwa butuufu, busaanira, era nti bwa butuukirivu. Obwesigwa bwabwe buleetera Katonda okusanyuka. Wadde ng’abantu bayinza okubavuma, oyo asingiridde ekitiibwa mu ggulu ne mu nsi, ‘takwatibwa nsonyi kuyitibwa Katonda waabwe.’ Mazima ddala, ku bikwata ku beesigwa ng’abo, kiba kituufu okugamba nti ‘ensi teyabasaanira.’​—Abaebbulaniya 11:16, 38.

[Obugambo obuli wansi]

a Mu Byawandiikibwa, ekigambo “obukyayi” kirina amakulu agatali gamu. Mu bimu kitegeeza okuba n’okwagala okutono eri ekintu. (Ekyamateeka 21:15, 16) “Obukyayi” kiyinza okutegeeza okwetamwa ekintu, naye ng’omuntu talina kigendererwa kya kukikolako kabi, wabula ng’akyewala bwewazi olw’okuba takyagala. Kyokka, ekigambo “obukyayi” era kiyinza okutegeeza empalana ey’amaanyi, ng’era omuntu bw’agenda mu maaso n’empalana eyo, atera okwoleka ebikolwa eby’obukambwe. Gano ge makulu g’ekigambo ekigenda okwogerwako mu kitundu kino.

Osobola Okunnyonnyola?

• Kiki ekiviirako abasinza ab’amazima okukyayibwa awatali nsonga?

• Setaani yeeyambisa atya akakodyo ak’okuvuma ng’ayagala okusuula Yobu ne Yesu?

• Yakuwa atuwa atya amaanyi ne tusigala nga tuli banywevu bwe tuba nga twolekaganye n’obukyayi bwa Setaani?

[Akasanduuko/Ekifaananyi ekiri ku lupapula 12]

Baategeera Ensonga Yennyini

Omu ku Bajulirwa ba Yakuwa mu Ukraine omulimu gw’okubuulira Obwakabaka gye gwali guwereddwa okumala emyaka 50, yagamba bw’ati: “Okubonaabona Abajulirwa ba Yakuwa kwe baayitamu tekusaanidde kutwalibwa nti kwali kusibuka ku bantu buntu. . . . Abakungu abasinga obungi baali batuukiriza mulimu gwabwe. Gavumenti bwe yakyuka, abakungu baawagira eyo eyaddawo, kyokka twasigala tukyayigganyizibwa. Twakitegeera nti ensibuko yennyini ey’ebizibu byaffe yali yayogerwako mu Baibuli.

“Tetwetwala kuba ng’abantu ababonyaabonyezebwa awatali nsonga. Ekyatuyamba okugumiikiriza kwe kutegeera obulungi ensonga eyabalukawo mu lusuku Adeni, kwe kugamba, ensonga ekwata ku kuba nti Katonda y’agwanidde okufuga. . . . Twalaga oludda lwe tuliko ku nsonga ezingiramu abantu n’Omufuzi w’Obutonde Bwonna. Tweyongera okutegeera obulungi ensonga yennyini eyali ezingirwamu. Kino kyatuwa amaanyi era ne kitusobozesa okusigala nga tuli beesigwa ne mu mbeera ezaali enzibu ennyo.”

[Ekifaananyi]

Victor Popovych, yasibibwa mu 1970

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 9]

Ani yali emabega w’okubonyaabonyezebwa kwa Yesu?

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 11]

Yobu, Malyamu, n’abaweereza ba Katonda ab’omu kiseera kino nga Stanley Jones, bawagidde obufuzi bwa Yakuwa

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share