LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w04 11/1 lup. 3-4
  • Okunoonya Omukulembeze Omulungi

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okunoonya Omukulembeze Omulungi
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
  • Subheadings
  • Similar Material
  • “Tulina Kubeera n’Abafuzi Abaliwo Wadde nga Si Balungi,” oba Waliwo Ekirala Ekiyinza Okukolebwa?
  • Ani Asaanidde Okufuga Abantu Leero?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
  • Ani gw’Onoolonda Okubeera Omukulembeze Wo?—Bayibuli Ekyogerako Ki?
    Ensonga Endala
  • Goberera Kristo, Omukulembeze Omulungi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Obukulembeze bwa Kristo bwa Ddala gy’Oli?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
w04 11/1 lup. 3-4

Okunoonya Omukulembeze Omulungi

“Lekulira, mu linnya lya Katonda, ŋŋambye lekulira, era tukukooye!”​—Bw’atyo Oliver Cromwell, bwe yagamba. Ebigambo ebyo byajulizibwa Leopold Amery, eyali omubaka wa Paalimenti y’e Bungereza.

Ssematalo ow’Okubiri yali yaakamala emyezi 8, era ebintu byali byonooneddwa nnyo ng’era kirabika nti Bungereza n’amawanga bwe baali ab’omukago baali bagenda kuwangulwa. Okusinziira ku ndowooza ya Leopold Amery n’abalala abaali mu gavumenti, kyali kyetaagisa okukyusa obukulembeze. N’olwekyo, nga Maayi 7, 1940, bwe baali mu Lukiiko lwa Paalimenti, Mwami Amery, yajuliza ebigambo ebyo waggulu eri Katikkiro Neville Chamberlain. Oluvannyuma lw’ennaku ssatu, Katikkiro Chamberlain yalekulira, era Winston Churchill n’amuddira mu bigere.

ABANTU baagala nnyo okuba n’omukulembeze, naye tekiri nti buli muntu asobola okubeera omukulembeze omulungi. Wadde ne mu maka, taata ateekwa okuba ng’asobola okukulembera obulungi ab’omu maka ge, mukyala we n’abaana be bwe baba ab’okubeera abasanyufu. Kati nno, teebereza omufuzi w’eggwanga oba ow’ensi yonna by’aba asuubirwa okutuukiriza! N’olwekyo, tekyewuunyisa nti kizibu nnyo okufuna abakulembeze abalungi.

Bwe kityo, okumala enkumi n’enkumi z’emyaka, bakabaka bazze batuuzibwa ku ntebe ez’obufuzi, wabaddewo enkyukakyuka ssinziggu mu by’obufuzi, okumaamulako abakulembeze, okuteeka omuntu mu kifo ky’obukulembeze, okukuba obululu, n’okutemula abantu olw’ensonga z’eby’obufuzi. Bakabaka, bakatikkiro, abalangira, bapulezidenti, ba ssaabawandiisi, ne bannakyemalira babaddeko mu buyinza okumala akaseera ate oluvannyuma ne bamaamulwa ku bufuzi. Enkyukakyuka ezitasuubirwa ziviiriddeko n’abafuzi ab’amaanyi okuggibwa mu buyinza. (Laba akasanduuko “Bava Mangu mu Buyinza,” ku lupapula 5.) Wadde kibadde kityo, kibadde kizibu nnyo okufuna abafuzi abalungi.

“Tulina Kubeera n’Abafuzi Abaliwo Wadde nga Si Balungi,” oba Waliwo Ekirala Ekiyinza Okukolebwa?

N’olwekyo, tekyewuunyisa nti abantu bangi tebakyalina ssuubi lya kufuna bukulembeze bulungi. Mu nsi ezimu, kyeyoleka nti abantu si bamativu oba nti tebalina ssuubi mu kiseera eky’okukuba obululu. Geoff Hill, munnamawulire mu Afirika, yagamba: “Abantu tebeefiirayo oba bagaana okukuba akalulu singa bawulira nti tewali asobola kukyusa mbeera gye balimu. . . . Mu Afirika, abantu bwe batakuba kalulu, kiba tekitegeeza nti bamativu. Emirundi mingi baba bakyoleka nti tewaliiwo afaayo ku kubonaabona kwabwe.” Ku nsonga eyo y’emu, omukuŋŋaanya w’olupapula lw’amawulire mu Amerika yayogera bw’ati ku kukuba obululu okwali kubindabinda: “Nnandyagadde omukulembeze omulungi okwesimbawo.” Era yagattako nti: “Omuntu ng’oyo taliiyo. Era omuntu ng’oyo talibeerayo. Tulina kubeera n’abo be tulina wadde nga si balungi.”

Mazima ddala, abantu balina kubeera na mukulembeze yenna abaawo wadde nga si mulungi? Olw’okuba abakulembeze balemereddwa okukola ku byetaago by’abantu, ekyo kiraga nti tetuyinza kufuna bukulembeze bulungi? Nedda. Obukulembeze obusingirayo ddala obulungi weebuli. Ekitundu ekiddako kijja kwogera ku mukulembeze w’abantu asingayo obulungi era n’engeri obukulembeze bwe gye busobola okuganyula obukadde n’obukadde bw’abantu aba buli kika nga naawe mw’oli.

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 3]

Waggulu ku kkono: Neville Chamberlain

Waggulu ku ddyo: Leopold Amery

Wansi: Winston Churchill

[Ensibuko y’ebifaananyi]

Chamberlain: Photo by Jimmy Sime/Central Press/Getty Images; Amery: Photo by Kurt Hutton/Picture Post/Getty Images; Churchill: The Trustees of the Imperial War Museum (MH 26392)

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share