LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w05 3/1/05 lup. 12-17
  • Abakristaayo—Mwenyumirize mu Ekyo Kye Muli!

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Abakristaayo—Mwenyumirize mu Ekyo Kye Muli!
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Okutegeera Kye Tuli
  • Obuzibu Bwe Twolekaganye Nabwo
  • Abakristaayo Nabo Basoomoozebwa
  • Baali Bamanyi Bulungi Kye Bali
  • Weenyumiririze mu Ekyo ky’Oli
  • Okunywerera ku Ekyo Kye Tuli ng’Abakristaayo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • 9 Ekyo ky’Oli
    Zuukuka!—2018
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
w05 3/1/05 lup. 12-17

Abakristaayo​—Mwenyumirize mu Ekyo Kye Muli!

‘Eyeenyumiriza, yeenyumiririzenga mu Yakuwa.’​—1 ABAKKOLINSO 1:31.

1. Mwoyo ki abantu gwe booleka ku bikwata ku ddiini?

“OBUTEEFIIRAYO.” Gye buvuddeko awo, omwekenneenya omu ow’eby’eddiini, yakozesa ekigambo ekyo okulaga engeri bangi gye batwalamu enzikiriza zaabwe leero. Yagamba: “Ekintu ekyewuunyisa ekiri mu madiini leero gwe mwoyo ‘ogw’obutefiirayo.’” Ng’ayongera okunnyonnyola ensonga eno, yagamba nti obuteefiirayo “kwe kusuulayo ogwa nnaggamba ku bikwata ku ddiini.” Ate era yakyetegereza nti, Abantu bangi bagamba nti “bakkiririza mu Katonda . . . ; naye tebalina kye bakolawo okulaga nti bamukkiririzaamu.”

2. (a) Lwaki tekyewuunyisa nti abantu tebeefiirayo ku bikwata ku ddiini? (b) Lwaki omwoyo gw’obuteefiirayo gwa kabi eri Abakristaayo ab’amazima?

2 Abayizi ba Baibuli tekibeewuunyisa nti abantu booleka omwoyo ogwo ogw’obutefiirayo. (Lukka 18:8) Omwoyo ng’ogwo gusuubirwa okubaawo mu madiini. Okumala ekiseera kiwanvu amadiini ag’obulimba gawabizza abantu era tegatuukirizza ebyo bye bagasuubiramu. (Okubikkulirwa 17:15, 16) Kyokka, omwoyo ogwo ogw’obuteefiirayo ogubunye mu bantu, gwa kabi nnyo eri Abakristaayo ab’amazima. Gwa kabi olw’okuba gutuleetera okunafuwa mu kukkiriza kwaffe ne tulekera awo okuba abanyiikivu mu buweereza bwaffe eri Katonda. Yesu yalabula ku mwoyo ng’ogwo bwe yagamba Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka ab’omu Lawodikiya nti: “Tonnyogoga so tobuguma: waakiri obe ng’onnyogoga oba obuguma.”​—Okubikkulirwa 3:15-18.

Okutegeera Kye Tuli

3. Bintu ki ebireetera Abakristaayo okwenyumiriza mu ekyo kye bali?

3 Okusobola okulwanyisa omwoyo ogw’obutefiirayo, Abakristaayo beetaaga okutegeera obulungi kye bali, era bateekwa okukyenyumiririzaamu. Ng’abaweereza ba Yakuwa era abagoberezi ba Kristo, Baibuli etutegeeza ekyo kye tuli. Tuli “bajulirwa” ba Yakuwa, ‘abakolera awamu ne Katonda’ nga tufuba okubuulira abantu ‘amawulire amalungi.’ (Isaaya 43:10; 1 Abakkolinso 3:9; Matayo 24:14) Tuli abantu ‘abaagalana ffekka na ffeka.’ (Yokaana 13:34) Abakristaayo ab’amazima bantu ‘abayigiriziddwa ne basobola okukozesa amagezi gaabwe okwawula ekirungi n’ekibi.’ (Abaebbulaniya 5:14) Tuli ‘ttabaaza ez’omu nsi muno.’ (Abafiripi 2:15) Tufuba ‘okubeera n’empisa ennungi mu b’amawanga.’​—1 Peetero 2:12; 2 Peetero 3:11, 14.

4. Kiki ddala ekyawulawo omusinza ow’amazima?

4 Abasinza ba Yakuwa ab’amazima era bamanyi ekyo kye batali. “Si ba nsi,” ng’Omukulembeze waabwe Yesu Kristo bw’ataali wansi. (Yokaana 17:16) Baawufu ku “mawanga,” agali ‘mu kizikiza era ageeyawulidde ddala ku bulamu bwa Katonda.’ (Abaefeso 4:17, 18) N’olwekyo, abagoberezi ba Yesu ‘beesamba omwoyo gw’obutatya Katonda n’okwegomba okw’omu nsi basobole okubeera abalamu mu mirembe egya kaakano mu kwegendereza n’obutuukirivu n’okutya Katonda.’​—Tito 2:12.

5. Bintu ki ebituleetera okwenyumiriza?

5 Okumanya obulungi kye tuli, era n’enkolagana gye tulina n’Omufuzi w’Obutonde Bwonna bituleetera ‘okwenyumiririza mu Yakuwa.’ (1 Abakkolinso 1:31) Twenyumiririza mu ki? Ng’Abakristaayo ab’amazima, twenyumiriza mu kuba nti Yakuwa ye Katonda waffe. Tugoberera okubuulirira kuno: “Eyeenyumiriza yeenyumirizenga olwa kino, ng’ategeera era ng’amanyi nze nga ndi Mukama akola eby’ekisa n’eby’ensonga n’eby’obutuukirivu mu nsi.” (Yeremiya 9:24) ‘Twenyumiririza’ mu nkizo ey’okumanya Katonda n’okuba nti atukozesa okuyamba abalala.

Obuzibu Bwe Twolekaganye Nabwo

6. Lwaki abamu bakisanga nga kizibu okunywerera ku ekyo kye bali ng’Abakristaayo?

6 Kyo kituufu nti si kyangu okusigala nga tuli bakakafu ku ekyo kye tuli ng’Abakristaayo. Omuvubuka omu eyakuzibwa mu maka Amakristaayo ajjukira nti waliwo ekiseera we yaddirira mu by’omwoyo. Yagamba: “Ebiseera ebimu nnali simanyi nsonga lwaki nnali omu ku Bajulirwa ba Yakuwa. Nnayigirizibwa amazima g’omu Baibuli okuviira ddala mu buwere. Ebiseera ebimu nnalowoozanga nti eno nayo y’emu ku ddiini emmanyifu.” Abamu bayinza okuba nga balese eby’amasanyu, emikutu gy’eby’empuliziganya, n’obulamu obw’obutatya Katonda okubalemesa okunywerera ku ekyo kye bali ng’Abakristaayo. (Abaefeso 2:2, 3) Ebiseera ebimu Abakristaayo abamu bayinza okubuusabuusa ekyo kye bali, bayinza okuddamu okwekebera okulaba obanga emitindo gye batambulirako n’ebiruubirirwa bye balina bituufu.

7. Abaweereza ba Katonda bandyekebedde mu ngeri ki?

7 Kikyamu okwekebera buli luvannyuma lwa kiseera? Nedda. Oyinza okukijjukira nti omutume Pawulo yakubiriza Abakristaayo okwekeberanga. Yagamba: “Mwekebere mwekka oba nga muli mu kukkiriza; mwekeme mmweka.” (2 Abakkolinso 13:5) Wano omutume yali akubiriza Abakristaayo okwekebera balabe oba nga waliwo we banafuye mu by’omwoyo nga bakikola basobole okulongoosaamu. Mu kwekebera oba ng’ali mu kukkiriza, Omukristaayo ateekwa okukakasa nti ebigambo bye n’ebikolwa bye butuukagana n’enzikiriza ye. Tetwagala n’omulundi ogumu ‘kufiirwa kukkiriza kwaffe.’​—1 Timoseewo 1:19.

Abakristaayo Nabo Basoomoozebwa

8, 9. (a) Musa yakiraga atya nti yali teyeekakasa? (b) Yakuwa yamuddamu atya? (c) Okwatibwako otya ekyo Yakuwa ky’atusuubiza?

8 Abakristaayo abafuna okubuusabuusa ebiseera ebimu basaanidde okuwulira nti balemereddwa? Kya lwatu nedda! Mu butuufu, kiyinza okubazzaamu amaanyi okukimanya nti si be bokka abasoose okubeera n’enneewulira ng’eyo. Abaweereza ba Katonda abeesigwa ab’edda baafunako enneewulira ng’eyo. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku Musa eyalina okukkiriza okw’amaanyi n’obwesige obw’ekitalo. Bwe yaweebwa omulimu ogwalabika ng’omuzibu, yabuuza nti: “Nze ani?” (Okuva 3:11) Kirabika eky’okuddamu kye yalina mu birowoozo kyali nti, ‘sirina bwendi!’ oba nti ‘sisobola!’ Ebintu ebyali bikwata ku bulamu bwa Musa biyinza okuba nga bye byamuleetera okwewulira nti tasobola. Yali wa ggwanga eryali mu buddu. Abaisiraeri baamwesamba. Teyali mwogezi mulungi. (Okuva 1:13, 14; 2:11-14; 4:10) Yali mulunzi wa ndiga, omulimu Abamisiri gwe baali banyooma. (Olubereberye 46:34) Tekyewuunyisa nti yeewulira nga tasaanidde kununula bantu ba Katonda mu buddu!

9 Yakuwa yagumya Musa ng’amusuubiza ebintu ebikulu bibiri. Yamugamba: “Mazima ndibeera wamu naawe; era kano kalikubeerera akabonero, nga nze nkutumye: bw’olimala okuggya abantu abo mu Misiri, muliweerereza Katonda ku lusozi luno.” (Okuva 3:12) Katonda yagamba omuweereza we eyali yeetya nti yandibaddenga naye. Ate era, Yakuwa yakiraga nti mu buli ngeri yandinunudde abantu be. Okuva edda n’edda, Katonda abadde asuubiza okuyamba abaweereza be. Ng’ekyokulabirako, ng’ayitira mu Musa, Katonda yagamba bw’ati eggwanga lya Isiraeri bwe lyali linaatera okuyingira mu Nsi Ensuubize: “Beera n’amaanyi, guma omwoyo. . . . Kubanga Mukama Katonda wo ye wuuyo agenda naawe; taakulekenga so taakwabulirenga.” (Ekyamateeka 31:6) Yakuwa era yagumya Yoswa nti: “Tewalibeera muntu yenna aliyinza okuyimirira mu maaso go ennaku zonna ez’obulamu bwo. . . . Nnaabeeranga naawe, siikwabulirenga so siikulekenga.” (Yoswa 1:5) Ate era asuubiza Abakristaayo nti: ‘Siribaleka n’akatono so siribaabulira.’ (Abaebbulaniya 13:5) Okubeera n’obuyambi ng’obwo kyandituleetedde okwenyumiririza mu kubeera Abakristaayo!

10, 11. Kiki ekyayamba Asafu Omuleevi okutereeza endowooza ye n’addamu okusiima enkizo ey’okuweereza Yakuwa?

10 Oluvannyuma lw’emyaka nga 500 nga Musa amaze okufa, Asafu Omuleevi omwesigwa yawandiika mu bwesimbu ku kubuusabuusa kwe yalina mu kutambulira mu kkubo eggolokofu. Ng’afuba okuweereza Katonda wadde mu kugezesebwa ne kukemebwa, Asafu yakyetegereza nti abamu ku abo abaali banyooma Katonda, baali beeyongera okubeera ab’amaanyi n’okugaggawala. Asafu yakwatibwako atya? Yagamba: “Naye nze, ebigere byange byali kumpi n’okugwa; okutambula kwange kwabulako katono kuseerera. Kubanga ab’amalala bankwasa obuggya, bwe nnalaba ababi bwe balina omukisa.” Yatandika okubuusabuusa obanga kyali kya mugaso okubeera omusinza wa Yakuwa. Yagamba bw’ati: “Mazima nnongooserezza bwereere omutima gwange, ne nnaaba mu ngalo zange n’obutayonoona.” Ate era yalowooza bw’ati: “Nabonyaabonyezebwa okuzibya obudde.”​—Zabbuli 73:2, 3, 13, 14.

11 Asafu yakola atya bwe yafuna enneewulira zino? Yagamba nti tazirina? Nedda. Yazoogerako mu kusaba, nga bwe tulaba mu Zabbuli 73. Ekyaleetera Asafu okukola enkyukakyuka mu ndowooza ye kwe kugendako mu yeekaalu. Ng’ali eyo, yakitegeera nti okutya Katonda lye kkubo erisingayo obulungi. Ng’azzeemu okusiima ebintu eby’eby’omwoyo, yakitegeera nti Yakuwa akyawa obubi era nti ekiseera kyandituuse ababi ne babonerezebwa. (Zabbuli 73:17-19) Ng’afunye endowooza eyo ennuŋŋamu, Asafu yaddamu okusiima enkizo ey’okuweereza Yakuwa. Bw’ati bwe yagamba Katonda: “Ndi wamu naawe ennaku zonna. Onkutte omukono gwange ogwa ddyo. Ononnuŋŋamyanga n’amagezi go, era oluvannyuma olinzikiriza okuyingira mu kitiibwa.” (Zabbuli 73:23, 24) Asafu yaddamu nate okwenyumiririza mu Katonda we.​—Zabbuli 34:2.

Baali Bamanyi Bulungi Kye Bali

12, 13. Waayo ebyokulabirako eby’abantu aboogerwako mu Baibuli abeenyumiririza mu kubeera abaweereza ba Katonda.

12 Engeri emu etuyamba okunywerera ku ekyo kye tuli ng’Abakristaayo, kwe kwekenneenya n’okukoppa okukkiriza kw’abaweereza abeesigwa, abeenyumiriza mu kubeera n’enkolagana ne Katonda wadde ne mu bizibu eby’amaanyi. Lowooza ku Yusufu mutabani wa Yakobo. Ng’akyali muto, yatundibwa mu buddu e Misiri, ensi eyali ebikumi n’ebikumi bya mayilo okuva mu maka ga kitaawe eyali atya Katonda. Ng’ali mu Misiri, Yusufu teyalina muntu yenna yandimubuuliridde bikwata ku Katonda, era yalina okwolekagana n’embeera ezaali zigezesa emitindo gye egy’empisa n’obwesige bwe yalina mu Katonda. Kyokka, yafuba okusigala ng’amanyiddwa ng’omuweereza wa Katonda era yanywerera ku ekyo kye yali amanyi nti kituufu. Yeenyumiririza nnyo mu kubeera omusinza wa Yakuwa wadde ne mu mbeera enzibu, era teyakwatibwa nsonyi kwoleka nneewulira ye.​—Olubereberye 39:7-10.

13 Oluvannyuma lw’emyaka nga 800, omuwala omuto Omuisiraeri eyawambibwa n’afuuka omuddu wa Naamani omukulu w’eggye lya Busuuli, teyeerabira nti yali musinza wa Yakuwa. Bwe yafuna akakisa, yawa obujulirwa ku Yakuwa bwe yagamba nti Erisa yali nnabbi wa Katonda ow’amazima. (2 Bassekabaka 5:1-19) Nga wayiseewo emyaka, Kabaka omuto Yosiya eyali akulidde mu mbeera embi, yakola enkyukakyuka mu kusinza, yaddaabiriza Yeekaalu ya Yakuwa, era n’akubiriza eggwanga okuddamu okusinza Yakuwa. Yali yeenyumiriza mu nzikiriza ye. (2 Ebyomumirembe, essuula 34, 35) Danyeri ne banne Abebbulaniya abasatu abaali mu Babulooni tebeerabira nti baali baweereza ba Yakuwa. Wadde baali bapikirizibwa era nga bagezesebwa, baasigala nga bagolokofu. Awatali kubuusabuusa, baali beenyumiririza mu kubeera abaweereza ba Yakuwa.​—Danyeri 1:8-20.

Weenyumiririze mu Ekyo ky’Oli

14, 15. Kiki ekizingirwa mu kwenyumiririza mu ekyo kye tuli ng’Abakristaayo?

14 Abaweereza ba Katonda bano baatuuka ku buwanguzi olw’okwenyumiririza mu nkolagana ennungi gye baalina ne Katonda. Kiri kitya gye tuli leero? Kiki ekizingirwa mu kwenyumiririza mu ekyo kye tuli ng’Abakristaayo?

15 Okusingira ddala, kino kizingiramu okwoleka okusiima olw’okubeera abantu ba Yakuwa abayitibwa erinnya lye, b’awa emikisa gye era b’asiima. Katonda amanyi bulungi abantu be. Omutume Pawulo eyaliwo ku mulembe ogwalimu okutabulwatabulwa mu by’eddiini, yawandiika bw’ati: “Mukama waffe amanyi ababe.” (2 Timoseewo 2:19; Okubala 16:5) Yakuwa yeenyumiriza mu ‘bantu be.’ Agamba bw’ati: ‘Akwata ku mmwe, akwata mu mmunye y’eriiso lyange.’ (Zekkaliya 2:8) Awatali kubuusabuusa, Yakuwa atwagala nnyo. Bwe kityo naffe, tusaanidde okumwagala ennyo. Pawulo yawandiika: “Omuntu bw’ayagala Katonda, oyo ategeerwa ye.”​—1 Abakkolinso 8:3.

16, 17. Lwaki Abakristaayo, abato n’abakulu, basobola okwenyumiriza mu ekyo kye bali ku bikwata ku busika bwabwe obw’eby’omwoyo?

16 Abaana abakuziddwa ng’Abajulirwa ba Yakuwa basaanidde okwekebera okulaba oba nga beeyongera okunywerera ku ekyo kye bali ng’Abakristaayo nga basinziira ku nkolagana gye balina ne Katonda. Tebalina kwesigama ku kukkiriza kw’abazadde baabwe kyokka. Ng’ayogera ku buli muweereza wa Katonda, Pawulo yawandiika: “Eri mukama we yekka ayimirira oba agwa.” Ate era yayongerako nti: “Buli muntu mu ffe alibalirira omuwendo gwe yekka eri Katonda.” (Abaruumi 14:4, 12) Kya lwatu, okukkiriza eddiini y’abazadde bo naye nga gwe kennyini toli munyiikivu mu yo, tekikusobozesa kubeera na nkolagana ya ku lusegere ne Yakuwa.

17 Okuva edda n’edda, wabaddewo olukalala lw’Abajulirwa ba Yakuwa. Olukalala luno luviira ddala ku musajja omwesigwa Abeeri eyaliwo emyaka nga 6,000 emabega, okutuukira ddala ku ‘kibiina ekinene’ eky’Abajulirwa ab’omu kiseera kino, ate era ne lweyongerayo ku bibiina by’abasinza ba Yakuwa abajja okubeerawo emirembe gyonna. (Okubikkulirwa 7:9; Abaebbulaniya 11:4) Mu kiseera kino ffe basinza ba Yakuwa abali mu lukalala luno. Mazima ddala nga tulina obusika obw’eby’omwoyo obw’ekitalo ennyo!

18. Ekyo kye tuli ng’Abakristaayo kizingiramu ki?

18 Ate era, ekyo kye tuli kizingiramu empisa, engeri, n’emitindo ebitwawulawo ng’Abakristaayo. Lye ‘kkubo’ lyokka erisanyusa Katonda. (Ebikolwa 9:2; Abaefeso 4:22-24) Abakristaayo ‘bafuba okwekenneenya ebintu byonna,’ era ne ‘banywerera ku kirungi.’ (1 Abasessaloniika 5:21) Tumanyi bulungi enjawulo ey’amaanyi eriwo wakati w’Obukristaayo n’ensi eyeeyawudde ku Katonda. Yakuwa ayoleka bulungi enjawulo eriwo wakati w’okusinza okw’amazima n’okw’obulimba. Ng’ayitira mu nnabbi we Malaki, yagamba: “Mulidda ne mwawula omutuukirivu n’omubi, oyo aweereza Katonda n’oyo atamuweereza.”​—Malaki 3:18.

19. Kiki ekitayinza kutwaliriza Bakristaayo ab’amazima?

19 Okuva okwenyumiriza mu Yakuwa bwe kiri ekikulu ennyo mu nsi eno ebuzaabuziddwa, kiki ekinaatuyamba okusigala nga tumwenyumiririzaamu era n’okunywerera ku ekyo kye tuli ng’Abakristaayo? Eby’okuddamu bisangibwa mu kitundu ekiddako. Ng’ofumiitiriza ku bino, osobola okuba omukakafu nti: Abakristaayo ab’amazima tebayinza kutwalirizibwa mwoyo gwa “buteefiirayo.”

Ojjukira?

• Abakristaayo basobola batya ‘okwenyumiririza mu Yakuwa’?

• Abakristaayo basobola batya ‘okwenyumiririza mu Yakuwa’?

• Kiki ky’oyigidde ku kyokulabirako kya Musa ne Asafu?

• Baani aboogerwako mu Baibuli abeenyumiririza mu kuweereza Katonda?

• Kiki ekizingirwa mu kwenyumiririza mu kye tuli ng’Abakristaayo?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 14]

Waliwo ekiseera Musa bwe yali nga teyeekakasa

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 15]

Abaweereza ba Yakuwa bangi ab’edda beenyumiriza mu ekyo kye baali

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share