Okunywerera ku Ekyo Kye Tuli ng’Abakristaayo
“Mmwe muli bajulirwa bange, bw’ayogera Mukama.”—ISAAYA 43:10.
1. Bantu ba ngeri ki Yakuwa b’asembeza gy’ali?
BW’OBA oli mu Kizimbe ky’Obwakabaka, weetegereze abo abakwetoolodde. Baani b’olaba mu kifo kino eky’okusinzizaamu? Oyinza okulaba abavubuka abeesimbu abassaayo omwoyo nga bayigirizibwa Ebyawandiikibwa. (Zabbuli 148:12, 13) Era, oyinza okulaba emitwe gy’amaka abafuba okusanyusa Katonda wadde nga bali mu nsi etwala obulamu bwa maka ng’ekintu ekitali kikulu. Oboolyawo oyinza okulaba bannamukadde abafuba okuweereza Yakuwa wadde nga banafuye mu mubiri olw’obukadde. (Engero 16:31) Bonna baagala nnyo Yakuwa. Era Yakuwa yakiraba nti kyali kisaanira okussaawo enkolagana ennungi nabo. Ekyo Omwana wa Katonda yakyogerako bwe yagamba nti: “Tewali ayinza kujja gyendi Kitange eyantuma [bw’atamusembeza].”—Yokaana 6:37, 44, 65.
2, 3. Lwaki si kyangu okunywerera ku kye tuli ng’Abakristaayo?
2 Tetuli basanyufu nnyo okubeera abamu ku abo Yakuwa b’asiima era b’awa emikisa gye? Kyokka, si kyangu kusigala nga tunyweredde ku kye tuli ng’Abakristaayo mu ‘biro bino eby’okulaba ennaku.’ (2 Timoseewo 3:1) Kino bwe kiri naddala eri abavubuka abakulidde mu maka Amakristaayo. Omuvubuka omu yagamba: “Wadde nga nnagendanga mu nkuŋŋaana ez’Ekikristaayo, nnali sirina biruubirirwa bya bya mwoyo era mu butuufu nnali saagala kuweereza Yakuwa.”
3 Wadde ng’abamu baagala okuweereza Yakuwa mu bwesimbu, bayinza okutwalirizibwa ebintu ebiri mu nsi, okukemebwa okukola ekibi, oba ne bawugulibwa olw’okupikirizibwa. Okupikirizibwa bwe kuba okw’amaanyi ennyo, mpolampola kuyinza okutuviirako obutanywerera ku ekyo kye tuli ng’Abakristaayo. Ng’ekyokulabirako, bangi mu nsi leero batwala emitindo gya Baibuli egy’eby’empisa ng’egyava edda ku mulembe. (1 Peetero 4:4) Abamu balowooza nti si kikulu okusinza Katonda mu ngeri gy’ayagala tumusinzemu. (Yokaana 4:24) Mu bbaluwa ye eri Abaefeso, Pawulo agamba nti ensi erina “omwoyo” oba endowooza ebunye mu bantu. (Abaefeso 2:2) Omwoyo ogwo guleetera abantu okwoleka endowooza y’abo abatamanyi Yakuwa.
4. Yesu yaggumiza atya obwetaavu bw’okunywerera ku ekyo kye tuli ng’Abakristaayo?
4 Kyokka, ng’abaweereza ba Yakuwa, abato n’abakulu, tukimanyi nti kya kabi nnyo obutanywerera ku kye tuli ng’Abakristaayo. Okunywerera ku kye tuli ng’Abakristaayo kyesigamye ku kugoberera emitindo gya Yakuwa era n’okukola ekyo ky’atusuubiramu. Ekyo tusobola okukikola olw’okuba twatondebwa mu kifaananyi kye. (Olubereberye 1:26; Mikka 6:8) Ekyo kye tuli ng’Abakristaayo, Baibuli ekigeraageranya n’ekyambalo ky’oyambala buli omu n’asobola okukiraba. Ku bikwata ku biseera byaffe, Yesu yalabula bw’ati: “Laba, njija ng’omubbi. Aweereddwa omukisa atunula, n’akuuma ebyambalo bye, aleme okugenda obwereere, era baleme okulaba ensonyi ze.”a (Okubikkulirwa 16:15) Tetwagala kweyambula ngeri zaffe ez’Ekikristaayo n’emitindo gyaffe egy’eby’empisa ne tuleka ensi ya Setaani okututwaliriza. Ekyo ne kimala kibaawo, tufiirwa “ebyambalo” byaffe. Era ekyo kituleetera ennaku n’okuswala.
5, 6. Lwaki kikulu nnyo okuba abanywevu mu by’omwoyo?
5 Okumanya obulungi ekyo kye tuli ng’Abakristaayo, kirina eky’amaanyi kye kikola ku ngeri gye tweyisaamu mu bulamu. Mu ngeri ki? Singa omuweereza wa Yakuwa aba teyeekakasa ku ekyo ky’ali, ayinza okuwugulibwa, era n’ebiruubirirwa bye biyinza obutaba birungi. Enfunda n’enfunda Baibuli etulabula ku nsonga eyo. Omuyigirizwa Yakobo yatulabula bw’ati: “Abuusabuusa afaanana ng’ejjengo ery’ennyanja eritwalibwa empewo ne lisuukundibwa. Kubanga omuntu oyo talowoozanga ng’aliweebwa ekintu kyonna eri Mukama waffe; omuntu ow’emyoyo ebiri atanywera mu makubo ge gonna.”—Yakobo 1:6-8; Abaefeso 4:14; Abaebbulaniya 13:9.
6 Tusobola tutya okunywerera ku kye tuli ng’Abakristaayo? Kiki ekiyinza okutuyamba okweyongera okusiima enkizo gye tulina ey’okubeera abasinza b’Oyo Ali Waggulu Ennyo? Osabibwa okwetegereza ebiddirira.
Nywerera ku Ekyo ky’Oli ng’Omukristaayo
7. Lwaki kya muganyulo okusaba Yakuwa okutukebera?
7 Buli kiseera nnyweza enkolagana gy’olina ne Yakuwa. Ekintu ekisinga okuba eky’omuwendo Omukristaayo ky’alina y’enkolagana ye ne Katonda. (Zabbuli 25:14; Engero 3:32) Bwe tutandika okubuusabuusa kye tuli ng’Abakristaayo, tusaanidde okwekenneenya enkolagana eno okulaba oba ng’ekyali nnywevu. Nga kituukirawo, omuwandiisi wa zabbuli yasaba: “Onkebere, ai Mukama, onkeme. Ongezese emmeeme yange n’omutima gwange.” (Zabbuli 26:2) Lwaki okukeberwa ng’okwo kukulu nnyo? Kukulu olw’okuba ffe ku bwaffe tetusobola kumanyira ddala biruubirirwa byaffe n’endowooza yaffe. Yakuwa yekka y’ayinza okutegeerera ddala obulungi kye tuli—ebiruubirirwa byaffe, endowooza yaffe, n’enneewulira yaffe.—Yeremiya 17:9, 10.
8. (a) Tuganyulwa tutya Yakuwa bw’atugezesa? (b) Oyambiddwa otya okweyongera okukulaakulana ng’Omukristaayo?
8 Bwe tusaba Yakuwa atukebere, tuba twagala atugezese. Ayinza okuleka embeera ezimu okubaawo eziyinza okwoleka ebiruubirirwa byaffe n’embeera y’omutima gwaffe. (Abaebbulaniya 4:12, 13; Yakobo 1:22-25) Tusaanidde okusanyukira okugezesebwa ng’okwo kubanga kutuwa akakisa okulaga obanga tuli beesigwa eri Yakuwa. Okugezesebwa ng’okwo kuyinza okulaga oba nga tuli abantu ‘abataweebuuka mu kigambo kyonna.’ (Yakobo 1:2-4) Era, bwe tuba nga tugezesebwa, tusobola okukula mu by’omwoyo.—Abaefeso 4:22-24.
9. Lwaki kyetaagisa ffe kennyini okukakasa nti Baibuli by’eyigiriza ge mazima? Nnyonnyola.
9 Ggwe kennyini kakasa amazima g’omu Baibuli. Singa tetwesigama ku kumanya okutuufu okw’Ebyawandiikibwa, tuyinza okulemererwa okunywerera ku kye tuli ng’Abakristaayo. (Abafiripi 1:9, 10) Buli Mukristaayo—omuto n’omukulu—alina okukakasa ku lulwe nti by’akkiririzaamu ge mazima agasangibwa mu Baibuli. Pawulo yakubiriza bakkiriza banne nti: ‘Mwekenneenyenga byonna munywererenga ku kirungi.’ (1 Abasessaloniika 5:21) Abavubuka Abakristaayo abava mu maka agatya Katonda, bateekeddwa okukimanya nti okukkiriza kwa bazadde baabwe si kwe kubafuula Abakristaayo ab’amazima. Dawudi yakubiriza mutabani we Sulemaani nti: ‘Tegeera Katonda wa kitaawo, omuweerezenga n’omutima ogutuukiridde.’ (1 Ebyomumirembe 28:9) Kyandibadde tekimala, Sulemaani okulaba obulabi engeri kitaawe gye yali azimbamu okukkiriza kwe. Ye kennyini yalina okumanya Yakuwa, era mu butuufu yamumanya. Yasaba bw’ati Katonda: “Mpa nno amagezi n’okumanya, nfulumenga nnyingirenga mu maaso g’abantu bano.”—2 Ebyomumirembe 1:10.
10. Lwaki si kikyamu okubuuza ebibuuzo mu bwesimbu?
10 Okukkiriza okw’amaanyi kwesigama ku kumanya. “Okukkiriza kuva mu kuwulira,” bw’atyo Pawulo bwe yagamba. (Abaruumi 10:17) Yali ategeeza ki? Yali ategeeza nti, bwe twesomesa Ekigambo kya Katonda, tunyweza okukkiriza kwaffe, n’obwesige bwe tulina mu Yakuwa, mu bisuubizo bye era ne mu kibiina kye. Okubuuza mu bwesimbu ebibuuzo ebikwata ku Baibuli, kitusobozesa okufuna eby’okuddamu ebimatiza. Ate era, mu Abaruumi 12:2, Pawulo atubuulirira bw’ati: “Mukemenga bwe biri Katonda by’ayagala, ebirungi ebisanyusa ebituufu.” Ekyo tusobola tutya okukikola? Nga tufuna ‘okumanya okutuufu okukwata ku mazima.’ (Tito 1:1) Omwoyo gwa Yakuwa gusobola okutuyamba okutegeera obulungi ebintu ebizibu. (1 Abakkolinso 2:11, 12) Tusaanidde okusaba obuyambi bwa Katonda bwe wabaawo ekintu ekituzibuwalira okutegeera. (Zabbuli 119:10, 11, 27) Yakuwa ayagala tutegeere Ekigambo kye, tukikkirize, era tukigoberere. Asanyukira ebibuuzo bye tubuuza mu bwesimbu.
Beera Mumalirivu Okusanyusa Katonda
11. (a) Kiki ffenna kye twagala ekiyinza okutubeerera ekyambika? (b) Tusobola tutya okufuna obuvumu okwaŋŋanga okupikirizibwa?
11 Fuba okusanyusa Katonda, so si bantu. Mu mbeera eza bulijjo, ffenna twagala okubaako ekibinja ky’abantu mwe tubalirwa. Buli omu yeetaaga emikwano, era bwe tuba nga twagalibwa kituleetera essanyu. Mu kiseera kya kabuvubuka—era n’ekiseera ekirala mu bula- mu—okupikirizibwa kusobola okuba okw’amaanyi ennyo, ne kutuleetera okwagala okukoppa oba okusanyusa abalala. Naye, tekiri nti buli kiseera ab’emikwano n’abo bwe twenkanya emyaka baba batwagaliza birungi. Oluusi baba baagala tubeegatteko mu kukola ebintu ebikyamu. (Engero 1:11-19) Omukristaayo bwe yekkiriranya n’akola ebintu ebikyamu, emirundi mingi aba agezaako okukweka ky’ali. (Zabbuli 26:4) “Temugobereranga nneeyisa ya nsi ebeetoolodde,” bw’atyo omutume Pawulo bwe yalabula. (Abaruumi 12:2, The Jerusalem Bible) Yakuwa atuwa amaanyi ge twetaaga okusobola okwaŋŋanga okupikirizibwa kwonna kwe tufuna.—Abaebbulaniya 13:6.
12. Musingi ki na kyakulabirako ki ebituyamba okunywera bwe tuba nga tupikirizibwa?
12 Bwe tuba nga tuli mu kabi ak’obutanywerera ku kye tuli ng’Abakristaayo olw’okupikirizibwa, tusaanidde okukijjukira nti okubeera abeesigwa eri Katonda kikulu nnyo okusinga okugoberera endowooza y’abantu abasinga obungi. Ebigambo bino ebiri mu Okuva 23:2 bituteerawo omusingi gwe tusaanidde okugoberera: “Togobereranga bangi okukola obubi.” Abaisiraeri abasinga obungi bwe baabuusabuusa obusobozi bwa Yakuwa obw’okutuukiriza ebisuubizo Bye, Kalebu teyakkiriza kutwalirizibwa ndowooza y’abasinga obungi. Yali mukakafu nti ebisuubizo bya Yakuwa byesigika, era yaweebwa empeera olw’ekyo. (Okubala 13:30; Yoswa 14:6-11) Naawe oli mwetegefu obutatwalirizibwa ndowooza y’abasinga obungi okusobola okunyweza enkolagana gy’olina ne Katonda?
13. Lwaki kya magezi okwemanyisa nti tuli Bakristaayo?
13 Weemanyise nti oli Mukristaayo. Enjogera egamba nti engeri esingayo obulungi ey’okwerwanako kwe kubaako ne ky’okolawo, etuukirawo nnyo nga tulwanirira ekyo kye tuli ng’Abakristaayo. Bwe baali baziyizibwa okukola Yakuwa ky’ayagala mu biseera bya Ezera, Abaisiraeri abeesigwa baagamba: “Tuli baddu ba Katonda w’eggulu n’ensi.” (Ezera 5:11) Bwe tuziyizibwa abantu abatukyawa, tuyinza okuggwaamu amaanyi olw’okutya. Singa bulijjo tugezaako okusanyusa buli omu kiyinza okutunafuya mu by’omwoyo. N’olwekyo, tokkiriza kutiisibwatiisibwa. Bulijjo kirungi okumanyisa abalala nti oli omu ku Bajulirwa ba Yakuwa. Mu ngeri ey’ekitiibwa kyokka ng’oli mumalirivu, osobola okunnyonnyola abalala emitindo kw’otambulira, enzikiriza zo, n’ennyimirira yo ng’Omukristaayo. Leka abalala bamanye nti oli mumalirivu okunywerera ku mitindo gya Yakuwa egy’eby’empisa. Kyoleke bulungi nti, tosobola kwekkiriranya mitindo gyo egy’Ekikristaayo. Kirage nti weenyumiririza mu mitindo gy’empisa kw’otambulira. (Zabbuli 64:10) Okubeera Omukristaayo omunywevu, kya bukuumi, era kireetera n’abalala okwagala okumanya ebisingawo ku Yakuwa n’abantu be.
14. Okusekererwa oba okuziyizibwa byandikumazeemu amaanyi? Nnyonnyola.
14 Yee, abamu bayinza okukusekerera oba okukuziyiza. (Yuda 18) Abalala bwe batawuliriza bw’ogezaako okubannyonnyola emitindo kw’otambulira, toggwaamu maanyi. (Ezeekyeri 3:7, 8) K’obe ng’oli mumalirivu kwenkana wa, tosobola kumatiza bantu bataagala kukkiriza. Jjukira Falaawo. Ebibonyoobonyo byonna ebyamutuukako nga mw’otwalidde n’okufiirwa omwana we omuggulanda tebyamuleetera kukkiriza nti Musa yali atumiddwa Yakuwa. N’olwekyo, tokkiriza kutya bantu kukumalamu maanyi. Okussa obwesige mu Katonda kijja kukuyamba okuvvuunuka okutya.—Engero 3:5, 6; 29:25.
Yigira ku bye Mabega, Kolerera eby’Omu Maaso
15, 16. (a) Obusika bwaffe obw’eby’omwoyo bwe buli wa? (b) Tusobola tutya okuganyulwa mu kufumiitiriza ku busika bwaffe obw’eby’omwoyo nga tukozesa Ekigambo kya Katonda?
15 Obusika bwo obw’eby’omwoyo butwale nga bwa muwendo. Abakristaayo baganyulwa mu kufumiitiriza ku busika bwabwe obw’eby’omwoyo nga bakozesa Baibuli. Obusika buno buzingiramu, amazima g’omu Kigambo kya Yakuwa, essuubi ly’okufuna obulamu obutaggwaawo, n’enkizo ey’okukiikirira Katonda ng’abalangirizi b’amawulire amalungi. Olaba obuvunaanyizibwa bw’olina mu Bajulirwa be abaweereddwa omulimu gw’okubuulira oguwonyaawo obulamu? Kijjukire nti, Yakuwa kennyini ye yagamba nti: “Mmwe muli bajulirwa bange.”—Isaaya 43:10.
16 Oyinza okwebuuza ebibuuzo nga bino: ‘Obusika obw’eby’omwoyo mbutwala nga bwa muwendo kwenkana wa? Mbutwala nti bukulu nnyo ne kiba nti nkulembeza ebyo Katonda by’ayagala mu bulamu bwange? Nsiima nnyo obusika obwo ne kiba nti nneewala ekintu kyonna ekiyinza okunviirako okubufiirwa?’ Obusika bwaffe obw’eby’omwoyo butuleetera okuwulira nti tulina obukuumi bwa maanyi mu by’omwoyo mu kibiina kya Yakuwa. (Zabbuli 91:1, 2) Okwekenneenya ebintu ebizze bibaawo mu byafaayo by’ekibiina kya Yakuwa eky’omu kiseera kino, kituyamba okutegeera nti tewali muntu oba kintu kyonna ekiyinza okusaanyawo abantu ba Yakuwa ku nsi.—Isaaya 54:17; Yeremiya 1:19.
17. Ng’oggyeko obusika obw’eby’omwoyo, kiki ekirala ekyetaagisa?
17 Kya lwatu, tetusobola kwesigama ku busika bwaffe obw’eby’omwoyo bwokka. Buli omu kuffe ateekwa okukulaakulanya enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda. Oluvannyuma lwa Pawulo okufuba ennyo okuzimba okukkiriza kw’Abakristaayo ab’omu Firipi, yawandiika: “Kale, abaagalwa bange, nga bwe mwawuliranga ennaku zonna, si nga nze lwe mbeerawo lwokka, naye kaakano okusinga ennyo nga ssiriiyo, [mukolererenga] obulokozi bwammwe bennyini n’okutya n’okukankana.” (Abafiripi 2:12) Tetusobola kwesigama ku muntu yenna okusobola okufuna obulokozi.
18. Tuganyulwa tutya bwe twenyigira mu nteekateeka z’ekibiina Ekikristaayo?
18 Fuba okwenyigira mu buweereza obw’Ekikristaayo. Kigambibwa nti “omulimu omuntu gw’akola gulina kinene nnyo kye gukola ku ekyo ky’ali.” Abakristaayo leero baweereddwa omulimu omukulu ogw’okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda. Pawulo yagamba: ‘Nga bwe ndi omutume eri ab’amawanga ngulumiza obuweereza bwange.’ (Abaruumi 11:13) Omulimu gwaffe ogw’okubuulira gutwawulawo ku nsi, era bwe tugwenyigiramu, gulaga kye tuli ng’Abakristaayo. Okufuba okwenyigira mu nteekateeka z’ekibiina Ekikristaayo, gamba nga, enkuŋŋaana, okuzimba ebifo by’okusinzizaamu, okuyamba abo abali mu bwetaavu, n’ebirala, kisobola okutuyamba okunywerera ku ekyo kye tuli ng’Abakristaayo.—Abaggalatiya 6:9, 10; Abaebbulaniya 10:23, 24.
Kya Muganyulo Okubeera Abakristaayo ab’Amazima
19, 20. (a) Miganyulo ki gy’ofunye mu kubeera Omukristaayo? (b) Ekyo kye tuli kisinziira ku ki?
19 Fumiitiriza ku miganyulo emingi gye tufuna olw’okuba tuli Bakristaayo ab’amazima. Tulina enkizo ey’okumanyibwa Yakuwa. Nnabbi Malaki yagamba: “Abo abatya Mukama ne boogera bokka na bokka, Mukama n’awuliriza, n’awulira, ekitabo eky’okujjukiza ne kibawandiikirwa mu maaso ge abo abaatya Mukama ne balowooza erinnya lye.” (Malaki 3:16) Yakuwa atutwala nga tuli mikwano gye. (Yakobo 2:23) Obulamu bwaffe bwa makulu era bulina ekigendererwa. Era tulina essuubi ery’okubaawo emirembe gyonna.—Zabbuli 37:9.
20 Jjukira nti ekyo ky’oli kisinziira ku ngeri Katonda gy’akutunuuliramu so si ku ekyo abantu kye bakulowoozaako. Abalala bayinza okukutunuulira okusinziira ku mitindo gy’abantu egitatuukiridde. Naye, olw’okuba Katonda atwagala, era nga atufaako kinnoomu, ekyo kituleetera okuwulira nti tuli ba mugaso—tuli bantu be. (Matayo 10:29-31) Naffe okwagala kwe tulina eri Katonda kutuleetera okwenyumiriza mu ekyo kye tuli, era kutuviirako okufuna obulagirizi mu bulamu. “Omuntu bw’ayagala Katonda, oyo ategeerwa ye.”—1 Abakkolinso 8:3.
[Obugambo obuli wansi]
a Ebigambo bino biyinza okukwataganyizibwa n’emirimu gy’omukungu wa yeekaalu mu Yerusaalemi. Ekiro, yayitaayitanga mu Yeekaalu okulaba oba ng’Abaleevi abakuumi batunula oba nga beebase. Omukuumi yenna eyasangibwanga nga yeebase, yakubibwanga omuggo, era nga n’ebyambalo bye biyinza okwokebwa, ne kimuviirako okuswala.
Ojjukira?
• Lwaki kikulu nnyo Abakristaayo okunywerera ku ekyo kye bali?
• Tusobola tutya okunywerera ku ekyo kye tuli ng’Abakristaayo?
• Bwe tuba nga twolekaganye n’okusalawo, ku ani gwe tusaanidde okusanyusa, biki ebinaatuyamba okusalawo mu ngeri ennungi?
• Okumanya ekyo kye tuli kikwata kitya ku biseera byaffe eby’omu maaso?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 21]
Okwenyigira mu buweereza obw’Ekikristaayo kituyamba okunywerera ku ekyo kye tuli ng’Abakristaayo