Emiganyulo Egiri mu Kuzzaawo Emirembe
ED YALI anaatera okufa, naye eky’ennaku mukwano gwe Bill yali yamukyawa dda. Emyaka ng’abiri emabega, Ed alina ekintu kye yakola ekyaviirako Bill okufiirwa omulimu gwe, era ekyo kyayonoona enkolagana yaabwe. Mu kiseera ekyo ng’anaatera okufa, yagezaako okwetondera munne, afe nga batabaganye. Kyokka Bill yagaana okumuwuliriza.
Oluvannyuma lw’emyaka nga 30, nga Bill naye ali kumpi okufa, yannyonnyola ensonga lwaki yagaana okusonyiwa Ed. “Ed teyandikoze mukwano gwe nfiira bulago kintu ng’ekyo. Wadde nga waali wayiseewo emyaka abiri, nnali siyinza kumusonyiwa. . . . Nnyinza okuba nga nnali mukyamu, naye bwe ntyo bwe nnali mpulira.”a
Tekitegeeza nti buli lwe wabaawo obutategeeragana embeera eyonooneka okutuuka ku ssa eryo, naye ebiseera ebisinga kiyinza okuviirako abantu okuwulira obubi. Lowooza ku muntu ali mu mbeera efaananako Ed gye yalimu. Bw’akitegeera nti kye yakola kyaleetera munne ebizibu, omuntu we ow’omunda ayinza okumulumiriza obulamu bwe bwonna. Ate era, anyolwa nnyo bw’alowooza ku ngeri gye baafiirwamu enkolagana yaabwe.
Ate omuntu alina endowooza ng’eya Bill ayinza okuwulira nti alina ensonga entuufu okunyiiga n’okusiba ekiruyi. Awulira nti oyo eyali mukwano gwe yagenderera okumulumya. Bulijjo, abantu bwe bafuna obutategeeregana, buli omu awulira nti munne y’ali mu nsobi. Ku nkomerero, ababadde ab’omukwano batandika okuwalaggana.
Empalana eno yeeyongera mu maaso, era bwe basisinkana awali abantu abalala, buli omu agezaako okwewala munne, ate bwe basisinkanya amaaso, gaba g’oleeka obukyayi. Lwe baba boogedde, bakozesa ebigambo ebisongovu.
Kyokka, wadde nga baba tebategeeragana, bombi bayinza okuba nga bakikkiriza nti balina ekizibu eky’amaanyi, era nga bawulira bubi nnyo olw’okufiirwa enkolagana yaabwe. Buli omu ayinza okuba ng’awulira obulumi obw’amaanyi mu mutima, era bombi bayinza okuba nga bakimanyi nti wateekwa okubaawo ekikolebwa okusobola okugonjoola ensonga eyo. Naye ani ku bombi anaasooka okutuukirira munne okusobola okuzzaawo emirembe? Buli omu ku bo si mwetegefu kukikola.
Emyaka enkumi bbiri emabega, abatume ba Yesu Kristo baateranga okukaayana. (Makko 10:35-41; Lukka 9:46; 22:24) Lumu nga bamaze okukaayana, Yesu yababuuza: “Mubadde muwakana ki mu kkubo?” Bonna baakwatibwa ensonyi, ne wataba n’omu amwanukula. (Makko 9:33, 34) Kyokka, enjigiriza za Yesu zaabayamba okumalawo obutategeeragana bwe baalina wakati mu bo. Ne leero, okubuulirira kwe n’okw’abamu ku batume be, kukyayamba abantu bangi okumalawo obutategeeragana, n’okuzzaawo enkolagana yaabwe n’abalala. Katulabe engeri kino gye kiyinza okukolebwamu.
Fuba Okuzzaawo Emirembe
“Gundi oyo yantama. Ssaagala na kuddamu kumulaba.” Ebigambo ng’ebyo bw’oba wali obyogeddeko, olina okubaako ky’okolawo ng’Ebyawandiikibwa bino wammanga bwe bigenda okulaga.
Yesu yayigiriza nti: “Bw’obanga oleese ssaddaaka yo ku kyoto, bw’oyima eyo n’omala ojjukira nga muganda wo akuliko ekigambo, leka awo ssaddaaka yo mu maaso g’ekyoto, oddeyo, osooke omale okutabagana ne muganda wo, olyoke okomewo oweeyo ssaddaaka yo.” (Matayo 5:23, 24) Ate era yagamba: “Muganda wo bw’akukola obubi, genda, omubuulirire ggwe naye mwekka: bw’akuwulira, ng’ofunye muganda wo.” (Matayo 18:15) Bwe waba nga waliwo omuntu gwe wanyiiza oba eyakunyiiza, ebigambo bya Yesu biraga nti ensonga eyo olina okugyogerako naye amangu ddala nga bwe kisoboka. Kino osaanidde okukikola ‘mu ngeri ey’obuwoombeefu.’ (Abaggalatiya 6:1) Ekigendererwa kyo tekyandibadde kuggya kivume ku linnya lyo ng’ogezaako okwewolereza, oba okuwaliriza omuntu oyo okukwetondera, wabula, kyandibadde kya kuzzaawo mirembe. Okubuulirira kwa Baibuli kuno ddala kukola?
Ernest akola nga maneja mu ofiisi emu ennene.b Okumala emyaka mingi, omulimu gwe gubadde gumwetaagisa okukola ku nsonga z’abantu aba buli kika, era n’okulaba nti akolagana bulungi n’abalala. Akizudde nti kyangu nnyo okufuna obutategeeragana n’abalala. Agamba: “Ebiseera ebimu nfuna obutategeeragana n’abalala. Naye kino bwe kibaawo, ntuula n’omuntu oyo ne tugonjoola ensonga. Mbatuukirira nga nnina ekigendererwa eky’okuzzaawo emirembe. Engeri eno ngisanze nga nnungi.”
Alicia alina emikwano mingi okuva mu mawanga ag’enjawulo, era agamba bw’ati: “Oluusi nnyinza okubaako kye njogedde ate oluvannyuma ne ndowooza nti kiyinza okubaako gwe kiyisizza obubi. Ŋŋenda gy’ali ne mmwetondera. Oluusi nneetonda ne we kiteetagisiza, naye bwe nkikola mpulira emirembe. Ekyo kinsobozesa okumanya nti tewali muntu anyiigidde.”
Okuvvuunuka Emisanvu
Kyokka buli lwe kiba kyetaagisa okumalawo obutategeeragana, watera okubaawo emisanvu egyekyikawo. Wali ogambyeko nti: “Lwaki nze nnina okusooka okubaako kye nkolawo okuzzaawo emirembe? Y’ali mu nsobi.” Oba wali ogenzeeko eri omuntu ng’oyagala okumalawo obutategeeragana n’akugamba nti: “Ssirina kye nnyinza kwogera naawe”? Abantu abamu boogera bwe batyo lwa kuba bawulira nti baayisibwa bubi nnyo. Engero 18:19 lugamba: ‘Okuddamu okutabagana n’ow’oluganda anyiize, kizibu okusinga okuwaguza mu kisenge ekigumu ekyetoolodde ekibuga eky’amaanyi: era ennyombo z’ab’oluganda, ziba nzibu okutawulula nga bw’olaba okukutula oba okumenya ebisiba ekigo ekigumu.’ N’olwekyo, olina okulowooza ku ngeri omuntu oyo gy’awuliramu. Bw’agaana okukuwuliriza, gezaako omulundi omulala. Olwo “ekibuga eky’amaanyi” kiyinza okuggibwako “ebisiba” bwe kityo enkolagana n’eddawo.
Ekizibu ekirala ekiyinza okulemesa emirembe okuddawo gayinza okuba amalala. Abantu abamu bawulira nti kifeebya okwetonda. Obutayagala kufeebezebwa ku bwakyo si kibi, naye ddala omuntu bw’agaana okumalawo obutategeeragana kimuweesa kitiibwa oba kimufeebya bufeebya? Kyandiba nti amalala ge gamuleetera okuwulira bwatyo?
Omuwandiisi wa Baibuli Yakobo alaga nti waliwo akakwate wakati w’obukuubagano n’amalala. Oluvannyuma lw’okwogera ku ‘ntalo n’okulwana’ ebiyinza okubaawo mu Bakristaayo abamu, ayongera n’agamba: “Katonda alwana n’ab’amalala, naye abawombeefu abawa ekisa.” (Yakobo 4:1-3, 6) Amalala gayinza gatya okulemesa omuntu okutabagana n’abalala?
Amalala galeetera abantu okulowooza nti, ba waggulu nnyo ku balala. Abantu ab’amalala bawulira nti balina obuyinza okusalira bannaabwe omusango. Mu ngeri ki? Bwe wajjawo obutategeeragana, muli bawulira nti oyo gwe basoowaganye naye tayinza kukyusaamu. Amalala galeetera abantu abamu okulowooza nti abo bwe batalinnya mu kimu tebagwaana kwetonderwa. N’olwekyo, abo abalina amalala tebatera kwagala kugonjoola nsonga.
Ng’emisanvu bwe giremesa ebidduka okuyitawo, n’amalala bwe gatyo bwe galemesa omuntu okuzzaawo emirembe. N’olwekyo, bwe weesanga ng’olemesezza omuntu omulala okutabagana naawe, kyandiba nti olina amalala. Osobola otya okuvvuunuka amalala? Ng’obeera mwetoowaze.
Yoleka Obwetoowaze
Baibuli etukubiriza okubeera abeetoowaze. “Obugagga n’ekitiibwa n’obulamu ye mpeera ey’okwetoowaazanga n’okutyanga Mukama.” (Engero 22:4) Mu Zabbuli 138:6, tusoma ku ngeri Katonda gy’atwalamu abantu abawombeefu n’ab’amalala: ‘Mukama newakubadde nga mukulu, alowooza abeetoowaza: naye ab’amalala abamanya ng’ayima wala.’
Abantu bangi balowooza nti kifeebya okubeera omwetoowaze. Kirabika eno y’endowooza abafuzi b’ensi nabo gye balina. Wadde ng’abantu be bafuga babagondera, bannabyabufuzi bakisanga nga kizibu okukkiriza ensobi zaabwe. Si kya bulijjo okuwulira omufuzi ng’agamba nti, “Munsonyiwe.” Gye buvuddeko awo, omusajja omu eyaliko omukungu mu gavumenti bwe yeetonda olw’okulemererwa okubaako ky’akolawo bwe waali waguddewo akatyabaga ak’amaanyi, ebigambo bye gwe gwali omutwe omukulu mu mpapula z’amawulire.
Weetegereze engeri enkuluze emu gy’ennyonnyolamu ekigambo obwetoowaze: “Kwe kubeera omuwombeefu oba obuteetwalira waggulu . . . bwe butaba na malala.” N’olwekyo, okubeera omwetoowaze tekitegeeza kufeebezebwa ng’abalala bwe bayinza okulowooza. Omuntu bw’akkiriza ensobi ze era n’asaba okusonyiyibwa, kiba tekimufeebya wabula kimuweesa ekitiibwa. Baibuli egamba: “Okuzikiriza nga tekunnabaawo omutima gw’omuntu gwegulumiza, era okwetoowaza kukulembera ekitiibwa.”—Engero 18:12.
Bwe yali ayogera ku bannabyabufuzi abateetonda, omwekenneenya omu yagamba: “Eky’ennaku, balowooza nti okukkiriza ensobi zaabwe kiba kyoleka bunafu. Kyokka, omuntu ateetonda y’aba omunafu era nga teyeekakasa. Omuntu eyeekakasa era omuvumu y’asobola okukkiriza ensobi ye era ne yeetonda.” Kino kikwata ne ku abo abatali bannabyabufuzi. Singa ofuba okweggyamu amalala era n’okulaakulanya obuwombeefu, ojja kusobola okuzzaawo emirembe buli lwe wanaaba wazzeewo obutategeeragana. Weetegereze ekyaliwo amaka agamu bwe gaakolera ku magezi ago.
Julie ne mwannyina William baafuna obutategeeragana obw’amaanyi. William n’anyigira nnyo Julie ne bba Joseph, era n’asalawo obutaddamu kukolagana nabo. Yatuuka n’okubaddiza ebirabo byonna bye baali baamuwa. Emyezi bwe gyagenda giyitawo, enkolagana ab’oluganda abo gye baalina yaggwerawo ddala.
Kyokka, Joseph yasalawo okukolera ku kubuulirirwa okuli mu Matayo 5:23, 24. Yagezaako okutuukirira mukoddomi we mu ngeri ey’obukakkamu okwo nga kw’otadde n’okumuwandiikira amabaluwa ng’amwetondera olw’ensobi ze baali bamukoze. Yakubiriza ne mukazi we okusonyiwa mwannyina. Oluvannyuma lw’ekiseera, William bwe yalaba nti Julie ne Joseph baagala okuzzaawo enkolagana, kyamuleetera okukkakkana. William ne mukazi we baasisinkana Julie ne Joseph; buli omu yeetondera munne, ne baagwaŋŋana mu bifuba, enkolagana yaabwe n’eddawo.
Bw’oba oyagala okumalawo obutategeeragana, goberera okubuulirira kwa Baibuli, ozzeewo emirembe. Yakuwa ajja kukuyamba. Mu ngeri eno, Katonda kye yagamba Abaisiraeri kijja kutuukirira: “Singa wawulira amateeka gange! Kale emirembe gyo gyandibadde ng’omugga, n’obutuukirivu bwo ng’amayengo g’ennyanja.”—Isaaya 48:18.
[Obugambo obuli wansi]
a Byesigamiziddwa ku kitabo The Murrow Boys—Pioneers on the Front Lines of Broadcast Journalism, ekyawandiikibwa Stanley Cloud ne Lynne Olson.
b Amannya agamu gakyusiddwa.
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 7]
Bulijjo okwetonda kuzzaawo emirembe