Ekigambo kya Yakuwa Kiramu
Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Samwiri Ekisooka
OMWAKA gwa 1117 B.C.E. Waakayitawo emyaka nga bisatu kasookedde Yoswa awamba Ensi Ensuubize. Abakadde ba Isiraeri batuukirira nnabbi wa Yakuwa nga balina ekintu kye basaba. Nnabbi ategeeza Yakuwa ensonga yaabwe era Yakuwa akkiriza okusaba kwabwe. Awo ekiseera ky’Abalamuzi kikoma era bakabaka batandika okufuga. Ekitabo kya Samwiri Ekisooka kitubuulira ku nkyukakyuka eyo eyaliwo mu byafaayo by’eggwanga lya Isiraeri.
Ekitabo kya Samwiri Ekisooka kyawandiikibwa Samwiri, Nasani ne Gaadi era kyogera ku ebyo ebyaliwo mu myaka 102—okuva mu 1180 okutuuka mu 1078 B.C.E. (1 Ebyomumirembe 29:29) Ekitabo kino kyogera ku bakulembeze ba Isiraeri bana. Babiri ku bo baakola ng’abalamuzi ate abalala baakola nga bakabaka. Ababiri baagondera Yakuwa ate abalala baamujeemera. Ate era ekitabo kino kyogera ku bakazi babiri abaateekawo ekyokulabirako ekirungi, era n’omulwanyi omuvumu naye nga mwetoowaze. Ebyokulabirako ebyo bitulaga endowooza n’ebikolwa bye tusaanidde okukoppa n’ebyo bye twandyewaze. Ebiri mu kitabo kya Samwiri Ekisooka bituyamba okweyisa mu ngeri ennungi n’okuba n’endowooza entuufu.—Abaebbulaniya 4:12.
SAMWIRI ADDA MU BIGERE BYA ERI NG’OMULAMUZI
Kiseera kya Mbaga ey’Okunoga Ebibala Ebibereberye, era Kaana ow’e Laama musanyufu nnyo.a Yakuwa azzeemu okusaba kwe era amuwadde omwana ow’obulenzi. Ng’atuukiriza obweyamo bwe, Kaana awaayo Samwiri okuweereza mu ‘nnyumba ya Yakuwa.’ Ng’ali eyo, omulenzi oyo ‘aweereza Mukama mu maaso ga Eri kabona.’ (1 Samwiri 1:24; 2:11) Nga Samwiri akyali muto, Yakuwa ayogera naye era amubuulira omusango gw’asalidde ennyumba ya Eri. Samwiri bw’agenda akula, abantu bonna mu Isiraeri bakitegeera nti nnabbi wa Yakuwa.
Oluvannyuma lw’ekiseera, Abafirisuuti balumba Abaisiraeri. Bawamba Essanduuko y’Endagaano era ne batta batabani ba Eri babiri. Ebyo Eri bwe bimugwa mu matu, afa ‘ng’alamulidde Isiraeri emyaka ana.’ (1 Samwiri 4:18) Abafirisuuti bafuna ebizibu bingi olw’okuwamba Essanduuko y’Endagaano era bagiddiza Abaisiraeri. Kati Samwiri akola ng’omulamuzi wa Isiraeri, era wabaawo emirembe mu nsi.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
2:10—Lwaki Kaana yasaba Yakuwa ‘okuwa kabaka we amaanyi’ ng’ate mu Isiraeri temwalimu kabaka? Eky’okuba nti Abaisiraeri baali ba kufuna kabaka kyali kyalagulwako dda mu Mateeka ga Musa. (Ekyamateeka 17:14-18) Ng’anaatera okufa, Yakobo yagamba: “Effumu lya kabaka teriivenga ku Yuda.” (Olubereberye 49:10) Ate era ng’ayogera ku Ssaala—jjajja w’Abaisiraeri, Yakuwa yagamba bw’ati: “Bakabaka b’abantu baliva mu ye.” (Olubereberye 17:16) N’olwekyo, Kaana yali ayogera ku kabaka ow’omu biseera eby’omu maaso.
3:3—Ddala Samwiri yasulanga mu Awasinga Obutukuvu? Nedda, si gye yasulanga. Samwiri yali Muleevi ow’omu kika ky’Abakokasi abataali bakabona. (1 Ebyomumirembe 6:33-38) N’olw’ensonga eyo, yali takkirizibwa ‘n’akamu kuyingira kulaba watukuvu.’ (Okubala 4:17-20) Ekifo kyokka Samwiri mwe yali akkirizibwa okutuuka lwe luggya lwa weema. Era kirabika eyo gye yasulanga. Kyandiba nga ne Eri yasulanga mu luggya olwo. Ebigambo “omwali essanduuko ya Mukama” biteekwa okuba nga byogera ku kifo awali oluggya.
7:7-9, 17—Lwaki Samwiri yawaayo ekiweebwayo ekyokebwa nga bali e Mizupa era n’azimba ekyoto mu Laama ng’ate ebiweebwayo byalinga bya kuweebwayo mu kifo Yakuwa kye yalonda? (Ekyamateeka 12:4-7, 13, 14; Yoswa 22:19) Oluvannyuma lw’Essanduuko y’Endagaano okuggibwa mu weema e Siiro, Yakuwa yali takyaliyo. N’olwekyo ng’oyo akiikirira Katonda, Samwiri yawaayo ekiweebwayo nga bali e Mizupa era n’azimba ekyoto mu Laama. Kirabika ebikolwa bino Yakuwa yabisiima.
Bye Tuyigamu:
1:11, 12, 21-23; 2:19. Kaana yateerawo abakazi abatya Katonda ekyokulabirako ekirungi eky’okuba omunyiikivu mu kusaba, okuba omwetoowaze, okusiima ekisa kya Yakuwa, era n’okuba maama ayagala abaana be.
1:8. Nga Erukaana yateekawo ekyokulabirako ekirungi eky’okugumya abalala! (Yobu 16:5) Okusooka yabuuza Kaana nti: ‘Kiki ekikweraliikiriza?’ Kino kyaleetera Kaana okumubuulira byonna ebimuli ku mutima. Oluvannyuma Erukaana yamukakasa nti amwagala ng’amugamba: “Nze sisinga baana kkumi gy’oli obulungi?”
2:26; 3:5-8, 15, 19. Bwe tukola n’obunyiikivu omulimu Katonda gw’atuwadde, ne tukkiriza okutendekebwa mu by’omwoyo, era ne tuwa abalala ekitiibwa, tujja ‘kuganja’ mu maaso ga Katonda n’abantu.
4:3, 4, 10. N’ekintu ekitukuvu ennyo ng’Essanduuko y’Endagaano, tekyasobola kuwa bantu bukuumi. N’olwekyo tulina ‘okwewala ebifaananyi.’—1 Yokaana 5:21.
KABAKA WA ISIRAERI EYASOOKA—YAKOLA BULUNGI OBA YALEMERERWA?
Samwiri aba mwesigwa eri Yakuwa obulamu bwe bwonna, naye batabani be baba bajeemu. Abakadde ba Isiraeri bwe basaba okufugibwa kabaka, Yakuwa abakkiriza. Samwiri agoberera obulagirizi bwa Yakuwa n’alonda Sawulo Omubenjamini alabika obulungi, okuba kabaka wa Isiraeri. Sawulo anyweza obwakabaka bwe ng’awangula Abaamoni.
Mutabani wa Sawulo ayitibwa Yonasaani era omulwanyi nnamige, awangula ekibinja ky’Abafirisuuti. Abafirisuuti balumba Isiraeri nga balina eggye ery’amaanyi. Sawulo atya nnyo era yeetulinkiriza n’awaayo ekiweebwayo. Yonasaani agenda n’oyo amukwatira engabo n’alumba ekibinja ky’Abafirisuuti ekirala. Kyokka, olw’okuba Sawulo ayanguyiriza okukola ekirayiro, eggye lye linafuwa era balemererwa okutuuka ku buwanguzi. Sawulo yeeyongera ‘okulwana n’abalabe be enjuyi zonna.’ (1 Samwiri 14:47) Kyokka, bw’amala okuwangula Abamaleki, Sawulo ajeemera Yakuwa ng’awonyawo ebintu ‘ebyalina okuzikirizibwa.’ (Eby’Abaleevi 27:28, 29) Ku nkomerero Yakuwa akyawa Sawulo.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
9:9—Ebigambo ‘oyo ayitibwa nnabbi kaakano baamuyitanga mulabi’ birina makulu ki? Ebigambo bino biraga nti bannabbi bwe beeyongera okumanyika mu kiseera kya Samwiri n’ekya bakabaka, ekigambo “nnabbi” kye kyadda mu kifo ky’ekigambo “omulabi.” Samwiri atwalibwa okuba nnabbi asooka.—Ebikolwa 3:24.
14:24-32, 44, 45—Yakuwa yanyiigira Yonasaani olw’okumenya ekirayiro kya Sawulo bwe yalya omubisi gw’enjuki? Ekikolwa kino kirabika tekyaleetera Katonda kunyiigira Yonasaani. Okusooka, Yonasaani yali tategedde kirayiro kya kitaawe. Ate era, ekirayiro ekyo Sawulo kye yakola nga tasoose kulowooza oba olw’okukozesa obubi obuyinza bwe, kyaviirako abantu okufuna ebizibu. Kati olwo Katonda yandikkiriza atya ekirayiro eky’engeri eyo? Wadde nga Yonasaani yali mwetegefu okukkiriza ekibonerezo ekyandimuweereddwa, teyattibwa.
15:6—Lwaki Sawulo yakwatirwa Abakeeni ekisa? Abakeeni baali batabani ba ssezaala wa Musa. Baayamba Abaisiraeri nga bavudde ku Lusozi Sinaayi. (Okubala 10:29-32) Ate era, Abakeeni baabeera wamu ne batabani ba Yuda okumala ekiseera nga bali mu Kanani. (Ekyabalamuzi 1:16) Wadde ng’oluvannyuma baabeera wamu n’Abamaleki n’abantu abalala, Abakeeni baasigala bakolagana bulungi n’Abaisiraeri. Eyo ye nsonga lwaki Sawulo teyabazikiriza.
Bye Tuyigamu:
9:21; 10:22, 27. Obwetoowaze Sawulo bwe yalina nga yaakafuuka kabaka bwamuyamba obutayisa bubi ‘basajja’ abaamunyooma ng’afuuse kabaka. Ng’obwetoowaze buyamba omuntu okweyisa mu ngeri ey’amagezi!
12:20, 21. Ebintu “ebitaliimu” gamba nga okussa obwesige mu bantu, amagye oba okusinza ebifaananyi, tobiganya kukuggya ku kuweereza Yakuwa.
12:24. Ekimu ku bintu ebinaatuyamba okutya Yakuwa n’okumuweereza n’omutima gwaffe gwonna kwe ‘kulowooza ku bintu ebirungi’ bye yakolera abantu be ab’edda n’ebyo by’akolera ab’omu kiseera kino.
13:10-14; 15:22-25, 30. Weewale okwetulinkiriza—ka kibe nga kyeyolekera mu bikolwa eby’obujeemu oba mu malala.—Engero 11:2.
OMUSUMBA OMUTO ALONDEBWA OKUBA KABAKA
Samwiri afuka amafuta ku Dawudi ow’omu kika kya Yuda okuba kabaka mu biseera eby’omu maaso. Nga wayise akaseera katono, Dawudi atta Omufirisuuti ayitibwa Goliyaasi, ng’akozesa ejjinja limu lyokka. Dawudi afuuka mukwano gwa Yonasaani nfiira bulago. Sawulo alonda Dawudi okuba omuduumizi w’eggye. Olw’okuba Dawudi awangula entalo nnyingi, abakazi ba Isiraeri bayimba: ‘Sawulo asse nkumi ze naye Dawudi asse obukumi bwe.’ (1 Samwiri 18:7) Olw’obuggya Sawulo agezaako okutta Dawudi. Oluvannyuma lwa Sawulo okugezaako okutta Dawudi emirundi ng’esatu, Dawudi addukira mu ddungu.
Ng’ali eyo, emirundi ebiri Dawudi afuna akakisa okutta Sawulo naye tamutta. Ate era asisinkana Abbigayiri, era oluvannyuma amuwasa. Abafirisuuti bwe balumba Abaisiraeri, Sawulo yeebuuza ku Yakuwa. Kyokka, Yakuwa takyakolagana naye. Mu kiseera kino Samwiri yali yafa. Ng’asobeddwa, Sawulo yeebuuza ku mulubaale era amugamba nti Abafirisuuti bajja kumuttira mu lutalo. Bwe bagenda mu lutalo, Sawulo afunirayo ebisago eby’amaanyi era batabani be bafiirayo. Ekitabo kya Samwiri Ekisooka kikomekkereza nga kiraga nti Sawulo yafa ng’alemereddwa okukola Katonda by’ayagala. Kyokka, Dawudi akyekwese.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
16:14—Omwoyo omubi ogwanakuwaza Sawulo, gwe guluwa? Omwoyo omubi ogwanakuwaza Sawulo, by’ebirowoozo ebibi ebyamuli ku mutima—endowooza ey’okukola ekibi gye yalina. Yakuwa bwe yamuggyako omwoyo gwe omutukuvu, Sawulo yali takyalina bukuumi bwagwo, era mu kiseera ekyo yatandika okukubirizibwa omwoyo omubi. Okuva bwe kiri nti Katonda yakkiriza omwoyo ogwo omubi okudda mu kifo ky’omwoyo ggwe omutukuvu, omwoyo ogwo omubi gwogerwako nga ‘omwoyo omubi ogwava eri Yakuwa.’
17:55—Okusinziira ku 1 Samwiri 16:17-23, lwaki Sawulo yabuuza nti Dawudi mwana w’ani? Mu kubuuza bw’atyo Sawulo yali tagenderera kumanya linnya lya kitaawe wa Dawudi. Kyandiba nga yali ayagala kumanya musajja wa ngeri ki eyazaala omulenzi oyo akoze ekintu eky’obuzira eky’okutta omusajja omuwagguufu.
Bye Tuyigamu:
16:6, 7. Mu kifo ky’okutunuulira endabika y’abantu ey’oku ngulu, tulina okubatunuulira nga Katonda bw’abatunuulira.
17:47-50. Tusobola okuba abavumu nga twolekaganye n’okuziyizibwa oba okuyigganyizibwa okuva eri abalabe baffe abayinza okufaananako Goliyaasi, kubanga “olutalo lwa Mukama.”
18:1, 3; 20:41, 42. Tusobola okufuna emikwano egya nnamaddala mu abo abaagala Yakuwa.
21:12, 13. Yakuwa atusuubira okukozesa amagezi nga twolekaganye n’embeera enzibu. Atuwadde Ekigambo kye ekyaluŋŋamizibwa okutuyamba okufuna amaanyi, obuvumu n’amagezi. (Engero 1:4) Ate era tulina obuyambi bw’abakadde Abakristaayo.
24:6; 26:11. Nga Dawudi yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi eky’okuwa ekitiibwa abo Yakuwa be yalonda!
25:23-33. Abbigayiri yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi mu kweyisa n’amagezi.
28:8-19. Nga gigezaako okubuzaabuza abantu oba okubalumya, emyoyo emibi gisobola okwefuula abo abaafa. Tuteekwa okwewala engeri zonna ez’obusamize.—Ekyamateeka 18:10-12.
30:23, 24. Ekyo ekyasalibwawo, ekituukana n’ebigambo ebiri mu Okubala 31:27 kiraga nti Yakuwa asiima obuweereza bwa buli omu mu kibiina. N’olwekyo, buli kye tukola, ka ‘tukikolenga n’omutima gwaffe gwonna ku bwa Yakuwa so si ku bw’abantu.’—Abakkolosaayi 3:23.
Kiki ‘Ekisinga Ssaddaaka’?
Ebyo ebyatuuka ku Eri, Samwiri, Sawulo ne Dawudi tubiyigirako ki? Tuyigamu nti: “Okugonda kusinga ssaddaaka obulungi, n’okuwulira kusinga amasavu g’endiga ennume. Kubanga okujeema kuliŋŋanga ekibi eky’obufumu, n’obukakanyavu buliŋŋanga okusinza ebifaananyi ne baterafi.”—1 Samwiri 15:22, 23.
Nga tulina enkizo ya maanyi okubuulira amawulire ag’Obwakabaka mu nsi yonna n’okufuula abantu abayigirizwa! Nga tuwa Yakuwa ‘ssaddaaka ez’emimwa gyaffe’ tuteekwa okufuba okugondera ebiragiro bye yawandiisa mu Kigambo kye n’ekibiina kye eky’oku nsi.—Koseya 14:2; Abaebbulaniya 13:15.
[Obugambo obuli wansi]
a Okusobola okumanya ebifo ebyogerwako mu kitabo kya Samwiri Ekisooka, laba akatabo ‘Laba Ensi Ennungi,’ empapula 18-19 akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]
Kabaka wa Isiraeri eyasooka, yava mu kuba omwetoowaze n’afuuka ow’amalala era eyeetulinkiriza
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 32]
Twandibadde bakakafu ku ki singa twolekagana n’okuyigganyizibwa okuva eri abalabe abayinza okufaananako Goliyaasi?