Eby’Abaleevi
27 Yakuwa era n’ayogera ne Musa n’amugamba nti: 2 “Yogera n’Abayisirayiri obagambe nti, ‘Omuntu bw’akolanga obweyamo obw’enjawulo+ okuwaayo eri Yakuwa ssente ezibalirirwamu omu ku bantu be, 3 ssente ezinaabalirirwanga mu musajja ali wakati w’emyaka 20 ne 60, zinaabanga sekeri* 50 eza ffeeza, okusinziira ku sekeri ey’omu kifo ekitukuvu.* 4 Naye bw’anaabanga omukazi, ssente ezinaamubalirirwangamu zinaabanga sekeri 30. 5 Bw’anaabanga omulenzi ali wakati w’emyaka 5 ne 20, ssente ezinaamubalirirwangamu zinaabanga sekeri 20, naye bw’anaabanga omuwala, zinaabanga sekeri 10. 6 Bw’anaabanga omwana ow’obulenzi ali wakati w’omwezi ogumu n’emyaka etaano, ssente ezinaamubalirirwangamu zinaabanga sekeri ttaano eza ffeeza ate bw’anaabanga ow’obuwala zinaabanga sekeri ssatu eza ffeeza.
7 “‘Bw’anaabanga omusajja ow’emyaka 60 n’okweyongerayo, ssente ezinaamubalirirwangamu zinaabanga sekeri 15, naye bw’anaabanga omukazi, zinaabanga sekeri 10. 8 Naye oyo eyeeyama bw’anaabanga ayavuwadde nnyo nga tasobola kusasula ssente ezaabalirirwa,+ omuntu oyo gwe yeeyama okuwaayo anaayimirizibwanga mu maaso ga kabona era kabona anaabaliriranga omuwendo ng’asinziira ku ekyo oyo eyeeyama ky’asobola okuwaayo.+
9 “‘Obweyamo bwe bunaabanga obw’okuwaayo ensolo esaanira okuweebwayo eri Yakuwa, ensolo yonna omuntu gy’anaawangayo eri Yakuwa eneefuukanga kintu kitukuvu. 10 Taleetangamu ndala, oba ennungi okugiwanyisaamu embi, n’embi okugiwanyisaamu ennungi. Naye bw’anaagiwanyisangamu ensolo endala, ensolo eyo ne gy’awanyisizzaamu zinaafuukanga ntukuvu. 11 Bw’eneebanga ensolo etali nnongoofu+ etakkirizibwa kuweebwayo nga ssaddaaka eri Yakuwa, anaagiyimirizanga mu maaso ga kabona. 12 Kabona anaabaliriranga omuwendo ogugigyaamu ng’asinziira ku bulungi bwayo oba obubi bwayo. Eneebanga ya muwendo ogwo kabona gw’agibaliriddemu. 13 Naye bw’anaayagalanga okuginunula, anaawangayo omuwendo ogugibaliriddwamu n’agattako kimu kya kutaano eky’omuwendo ogwo.+
14 “‘Omuntu bw’anaawangayo* ennyumba ye ng’ekintu ekitukuvu eri Yakuwa, kabona anaabaliriranga omuwendo ogugigyaamu ng’asinziira ku bulungi bwayo oba obubi bwayo. Eneebanga ya muwendo ogwo kabona gw’agibaliriddemu.+ 15 Kyokka oyo agiwaddeyo bw’anaayagalanga okuginunula, anaasasulanga ssente ezaagibalirirwamu n’agattako kimu kya kutaano ekya ssente ezo; era eneefuukanga yiye.
16 “‘Omuntu bw’anaawangayo eri Yakuwa erimu ku ttaka lye, omuwendo gwalyo gunaagerekebwanga okusinziira ku bungi bw’ensigo ezimala okulisiga: komeri* y’ensigo za ssayiri eneebalirirwangamu sekeri 50 eza ffeeza. 17 Bw’anaawangayo ettaka lye mu mwaka gwa Jjubiri+ oba nga gwakaggwaako, omuwendo omugereke teguukendeezebwengako. 18 Naye bw’anaawangayo ettaka lye oluvannyuma lwa Jjubiri, kabona anaabaliriranga omuwendo oguligyaamu ng’asinziira ku myaka eginaabanga gisigaddeyo okutuuka ku mwaka gwa Jjubiri oguddako; omuwendo omugereke gunaakendeezebwangako.+ 19 Naye oyo awaddeyo ettaka bw’anaayagalanga okulinunula, anaawangayo ssente ezaalibalirirwamu n’agattako kimu kya kutaano ekya ssente ezo, era anaalinunulanga. 20 Naye bw’anaabanga talinunudde ne wabaawo omuntu omulala aligula, anaabanga takyayinza kulinunula. 21 Mu mwaka gwa Jjubiri ettaka linaaweebwangayo eri Yakuwa; linaabanga ttukuvu era linaabanga lya kabona.+
22 “‘Omuntu bw’anaawangayo eri Yakuwa ettaka lye yagula obuguzi eritali eryo lye yasikira,+ 23 kabona anaamubaliranga omuwendo oguligyaamu ng’asinziira ku myaka eginaabanga gisigaddeyo okutuuka ku mwaka gwa Jjubiri, era anaasasulanga omuwendo ogwo ku lunaku olwo.+ Kintu kitukuvu eri Yakuwa. 24 Mu mwaka gwa Jjubiri ettaka linaaddiranga oyo gwe yaligulako, eyali nnannyini lyo.+
25 “‘Emiwendo gyonna ginaabalirirwanga okusinziira ku sekeri ey’omu kifo ekitukuvu. Sekeri eneebanga yenkanankana gera* 20.
26 “‘Naye tewabangawo muntu eyeeyama okuwaayo* omwana gw’ensolo omubereberye, kubanga buli kibereberye kya Yakuwa.+ Byonna bya Yakuwa, k’ebe nte oba ndiga.+ 27 Omwana gw’ensolo omubereberye bwe gubanga ogw’ensolo etali nnongoofu n’agununula ng’asinziira ku muwendo ogunaabanga gubaliriddwa, anaasasulanga omuwendo ogwo n’agattako kimu kya kutaano eky’omuwendo ogwo.+ Naye bwe gutaanunulwenga, gunaatundibwanga ku muwendo ogunaabanga gubaliriddwa.
28 “‘Naye ku ebyo omuntu by’anaawangayo eri Yakuwa nga tataddeeko kakwakkulizo konna,* tewali na kimu ekinaatundibwanga oba ekinaanunulibwanga, k’abe nga yawaayo muntu, oba nsolo, oba ttaka. Ekintu kyonna ekiweeredwayo kinaabanga kitukuvu nnyo eri Yakuwa.+ 29 Ate era, omuntu yenna asaliddwa omusango ogw’okufa tanunulibwanga.+ Anattibwanga.+
30 “‘Buli kimu kya kkumi+ eky’ebyo ebikungulwa mu nsi, ka bibe ebirime eby’omu nnimiro oba ebibala eby’oku miti, kinaabanga kya Yakuwa. Kintu kitukuvu eri Yakuwa. 31 Omuntu bw’ayagalanga okununula ekimu eky’ekkumi eky’ebintu ebyo, anaasasulanga omuwendo ogukigyaamu n’agattako kimu kya kutaano eky’omuwendo ogwo. 32 Buli kimu kya kkumi eky’eggana oba eky’ekisibo onookiwanga Yakuwa. Omusumba bw’anaabanga abala ensolo ze,* buli nsolo ey’ekkumi anaagyawulangako n’eba ya Yakuwa. Buli nsolo ey’ekkumi eneebanga kintu kitukuvu. 33 Tagikeberanga kulaba obanga nnungi oba nga mbi, era tagiwaanyisangamu. Naye bw’anaabanga agiwanyisizzaamu n’endala, zombi zinaabanga kintu kitukuvu.+ Tezinunulibwanga.’”
34 Ebyo bye biragiro Yakuwa bye yawa Musa ku Lusozi Sinaayi+ okuwa Abayisirayiri.