Koppa Okukkiriza Kwabwe
Yagumiikiriza Wadde nga Waaliwo Ebizibu
SAMWIRI yanakuwala nnyo olw’ebyo ebyaliwo mu Siiro. Kirabika ekibuga kyonna kyali mu maziga. Olowooza amaka ameka omwali Abakyala n’abaana abaali bakaaba olw’okukimanya nti bakitaabwe, abaami baabwe, batabani baabwe ne baganda baabwe baali si ba kukomawo waka? Kye tumanyi kiri nti eggwanga lya Isiraeri lyali lifiiriddwa abajaasi nga 30,000 mu lutalo olw’amaanyi olwaliwo wakati waabwe n’Abafirisuuti kyokka nga baali baakamala okufiirwa abajaasi 4,000 mu lutalo olulala.—1 Samwiri 4:1, 2, 10.
Ekyo kye kimu ku bizibu ebingi bye baayolekagana nabyo. Kabona omukulu ayitibwa Eri yalina abaana babiri ababi ennyo, Kofuni ne Finekaasi, abaggya essanduuko y’endagaano e Siiro. Essanduuko eno ey’Endagaano eyateekebwanga mu awatukuvu mu weema ey’okusisinkanirangamu yali ekiikirira okubeerawo kwa Katonda. Kyokka abantu baatwala Essanduuko y’Endagaano mu lutalo nga balowooza nti ejja kubawa obukuumi era ebasobozese okuwangula. Naye Abafirisuuti baawamba Essanduuko y’Endagaano, ne batta Kofuni ne Finekaasi.—1 Samwiri 4:3-11.
Okumala ebyasa n’ebyasa, abantu bassanga ekitiibwa mu weema ey’okusisinkanirangamu eyali e Siiro olw’okuba yalimu Essanduuko y’Endagaano. Naye kati yali ewambiddwa. Eri eyali ow’emyaka 98, bwe yawulira ebyali biguddewo, yava ku ntebe ye n’agwa kya bugazi n’afa. Mukaamwana we, eyali afuuse nnamwandu ku lunaku olwo, yafa ng’azaala. Ng’omukazi oyo tannafa, yagamba nti: ‘Ekitiibwa kivudde mu Isiraeri ne kigenda mu buwaŋŋanguse.’ Mu butuufu, embeera eyali mu Siiro yali ekyukidde ddala.—1 Samwiri 4:12-22.
Samwiri yandisobodde atya okwaŋŋanga ebizibu bino eby’amaanyi ebyali biguddewo? Okukkiriza kwe kwandimusobozesezza okukola omulimu ogutaali mwangu ogw’okuyamba abantu abaali batakyasiimibwa Yakuwa era nga tebakyalina bukuumi bwe? Leero, naffe tuyinza okwolekagana n’ebizibu ebigezesa okukkiriza kwaffe oba embeera eyinza okutumalamu amaanyi, n’olwekyo ka tulabe kye tuyinza okuyigira ku Samwiri.
‘Yakola eby’Obutuukirivu’
Ng’ebyo bimaze okubaawo, Bayibuli eva ku ky’okwogera ebikwata ku Samwiri ne yeeyongera okututegeeza ebyo ebyatuuka ku Ssanduuko y’Endagaano, ng’etulaga engeri Abafirisuuti gye baabonabonamu olw’okugiwamba era ne kibawaliriza okugikomyawo. Bayibuli eddamu okwogera ku Samwiri nga wayise emyaka 20. (1 Samwiri 7:2) Kiki kye yali akola mu myaka egyo gyonna? Bayibuli etuwa eky’okuddamu.
Ng’Essanduuko y’Endagaano tennawambibwa, Bayibuli egamba nti, “Ekigambo kya Samwiri ne [kyeyongera okujjira] Isiraeri yenna.” (1 Samwiri 4:1) Bayibuli etutegeeza nti oluvannyuma lw’emyaka 20, Samwiri yakola enteekateeka okukyalira ebibuga bisatu mu Isiraeri era ng’abyetooloola buli mwaka, ng’asala emisango era ng’addamu ebibuuzo by’abantu. Oluvannyuma yaddangayo mu kibuga ekiyitibwa Laama gye yabeeranga. (1 Samwiri 7:15-17) Kyeyoleka kaati nti Samwiri yalina eby’okukola bingi mu kiseera ekyo eky’emyaka 20.
Olw’okuba batabani ba Eri beenyigiranga mu bikolwa eby’obugwenyufu n’obulyi bw’enguzi, kyanafuya okukkiriza kw’abantu. Kirabika ekyo kyaleetera abantu bangi okutandika okusinza ebifaananyi. Kyokka, oluvannyuma lw’emyaka abiri ng’akola n’obunyiikivu, Samwiri yagamba abantu nti: “Oba nga mukomawo eri Mukama n’omutima gwammwe gwonna, kale muggyewo bakatonda abagenyi ne Baasutaloosi bave mu mmwe, muteekereteekere Mukama emitima gyammwe, mumuweereze yekka; naye alibalokola mu mukono gw’Abafirisuuti.”—1 Samwiri 7:3.
‘Omukono gw’Abafirisuuti’ gwanyigiriza nnyo abantu. Olw’okuba eggye lya Isiraeri lyali liwanguddwa, kyaleetera Abafirisuuti okunyigiriza abantu ba Katonda awatali kuziyizibwa kwonna. Naye Samwiri yakakasa abantu ng’abagamba nti okuggyako nga bakomyewo eri Yakuwa embeera eyo teyandikyuse. Baali beetegefu okukikola? Samwiri yasanyuka nnyo bwe baggyawo ebifaananyi byabwe ne “baweereza Mukama yekka.” Samwiri yategeka olukuŋŋaana e Mizupa, ekibuga ekiri mu nsi ey’ensozi mu mambuka ga Yerusaalemi. Abantu baakuŋŋaana, ne baasiiba era ne beenenya olw’okusinza ebifaananyi.—1 Samwiri 7:4-6.
Kyokka, Abafirisuuti bwe baakimanya nti Abaisiraeri bakuŋŋaanye ne baagala okukozesa akakisa ako okubalumba. Baaweereza eggye lyabwe e Mizupa basobole okusaanyaawo abasinza ba Yakuwa. Abaisiraeri baafuna amawulire agakwata ku kabi akaali kanaatera okubatuukako. Batya nnyo, era ne basaba Samwiri abasabire. Yabasabira era n’awaayo n’ekiweebwayo. Nga bali ku mukolo ogwo omutukuvu, eggye ly’Abafirisuuti lyajja e Mizupa. Oluvannyuma Yakuwa yaddamu okusaba kwa Samwiri. N’ekyavaamu, Yakuwa yayoleka obusungu bwe. “[N’aleeta] okubwatuka okunene ku lunaku olwo ku Bafirisuuti.”—1 Samwiri 7:7-10.
Kati olwo, tugambe nti Abafirisuuti abo baali ng’abaana abato abeekweka emabega wa bamaama baabwe nga bawulidde okubwatuka kwa laddu? Nedda, bano baali bajaasi abatatya era abamalirivu okulwana. N’olwekyo, okubwatuka kuno, kuteekwa okuba nga kwali kwa njawulo nnyo ku kubwatuka okwa bulijjo. Lyali ddoboozi buloboozi ‘ery’okubwatuka okunene’? Okubwatuka okwo kwava mu bire oba mu nsozi? Ka kibe ki ekyaliwo, kwatabulatabula Abafirisuuti abo ne batya nnyo. Olw’okutabulwatabulwa okwo, abaali bazze okutta be battibwa. Abasajja Abaisiraeri baava e Mizupa, ne bagenda nga batta Abafirisuuti, ne babawondera, okutuukira ddala ebukiikaddyo w’ebugwanjuba wa Yerusaalemi.—1 Samwiri 7:11.
Olutalo luno lwaleetawo enkyukakyuka y’amaanyi eri abantu ba Katonda. Abafirisuuti baawangulwanga ekiseera kyonna Samwiri kye yamala ng’alamula Isiraeri. Ebibuga byonna Abafirisuuti bye baali baggye ku Isiraeri byazzibwayo mu mikono gy’abantu ba Katonda.—1 Samwiri 7:13, 14.
Nga wayiseewo ebyasa bingi, omutume Pawulo yayogera ku Samwiri ng’omu ku balamuzi abeesigwa ne bannabbi ‘abaakola eby’obutuukirivu.’ (Abebbulaniya 11:32, 33) Mu butuufu Samwiri yayamba abantu okukola ebirungi era ebisiimibwa mu maaso ga Katonda. Ekyamusobozesa okuyamba abantu kwe kuba nti yalindirira Yakuwa n’obugumiikiriza, ng’akola omulimu gwe n’obwesigwa wadde nga waaliwo ebimalamu amaanyi. Ate era yalina omwoyo ogusiima. Nga bamaze okuwangula e Mizupa, Samwiri yasimba ejjinja ery’ekijjukizo okujjukirirako engeri Yakuwa gye yali ayambyemu abantu be.—1 Samwiri 7:12.
Naawe oyagala ‘okukola eby’obutuukirivu’? Bwe kiba bwe kityo, weetaaga okuyigira ku bugumiikiriza bwa Samwiri, obuwombeefu bwe, n’omwoyo ogusiima gwe yalina. Ani ku ffe atayagala kubeera na ngeri ng’ezo? Kyali kirungi okuba nti Samwiri yayiga era n’ayoleka engeri ng’ezo ng’akyali muto, kubanga yayolekagana n’ebizibu eby’amaanyi ng’akuze.
“Batabani Bo Tebatambulira mu Makubo Go”
Samwiri addamu okwogerwako “ng’akaddiye.” Mu kiseera kino, Samwiri yalina abaana be babiri abakulu, Yoweeri ne Abiya era yabawa obuvunaanyizibwa obw’okumuyambako mu kulamula Isiraeri. Eky’ennaku, tebaakola ekyo kye yali abasuubiramu. Wadde nga Samwiri yali mwesigwa era mutuukirivu, bo batabani be baakozesa ebifo bye baalimu okwefunira amagoba mu bukuusa, baalyanga enguzi era baasalirizanga nga basala emisango.—1 Samwiri 8:1-3.
Lumu, abakadde ba Isiraeri baatuukirira nnabbi Samwiri eyali akaddiye ne beemulugunya nga bagamba nti: “Batabani bo tebatambulira mu makubo go.” (1 Samwiri 8:4, 5) Samwiri yali amanyi ebyo batabani be bye baali bakola? Bayibuli tetubuulira. Kyokka, obutafaananako Eri, Samwiri yali muzadde atanenyezebwa. Emabegako, Yakuwa yali anenyezza era ng’abonerezza Eri olw’okulemererwa okuwabula abaana be nga bakoze ensobi, n’olw’okubawa ekitiibwa okusinga Katonda. (1 Samwiri 2:27-29) Samwiri yali tanenyezebwa mu maaso ga Yakuwa olwa baana be.
Bayibuli tetubuulira nti Samwiri bwe yamanya ebikwata ku nneeyisa ya batabani be embi, yawulira obuswavu, yeeraliikirira, oba okuggwamu amaanyi. Kyokka, abazadde bangi basobola okutegeera obulungi engeri gye yeewuliramu. Mu nsi y’akakyo kano, abaana tebagondera bazadde baabwe era tebaagala kukangavvulwa. (2 Timoseewo 3:1-5) Abazadde aboolekagana n’obulumi ng’obwo bayinza okubudaabudibwa n’okubaako kye bayigira ku Samwiri. Teyakkiriza n’omulundi n’ogumu obutali bwesigwa bw’abaana be kumuggya mu kkubo lye ettuufu. Kijjukire nti, wadde ng’ebigambo n’okukangavvula biyinza obutatuuka mu mitima gy’abaana emikakanyavu, ekyokulabirako ky’omuzadde kye kisinga okuyigiriza abaana. Era bulijjo abazadde baba n’akakisa okusanyusa Kitaabwe, Yakuwa Katonda, nga Samwiri bwe yakola.
‘Tuteerewo Kabaka’
Batabani ba Samwiri tebaalowooza ku kabi akandivudde mu mululu gwabwe n’okwerowoozaako. Abakadde ba Isiraeri baagamba Samwiri nti: “Kale tukolere kabaka atulamulenga ng’amawanga gonna.” Bwe baasaba okubateerawo kabaka kyalaga nti bagaanye Samwiri? Awatali kubuusabuusa, okumala emyaka mingi Samwiri yali alamula abantu abo ng’akiikirira Yakuwa. Kati baali tebaagala nnabbi bunabbi nga Samwiri, wabula baali baagala kabaka okubeera omulamuzi waabwe. Amawanga agaali gabeetoolodde gaalina bakabaka, n’abaIsiraeri baali baagala kabaka! Samwiri yayisibwa atya? Tusoma nti: “Ekigambo ekyo ne kinyiiza Samwiri.”—1 Samwiri 8:5, 6.
Weetegereze engeri Yakuwa gye yayanukulamu Samwiri bwe yamutegeeza ensonga eyo okuyitira mu kusaba: “Wulira eddoboozi ly’abantu mu byonna bye bakugamba; kubanga tebakugaanyi ggwe, naye bagaanyi nze, nneme okuba kabaka waabwe.” Ebigambo ebyo nga biteekwa okuba nga byabudaabuda nnyo Samwiri, ku luuyi olulala ekyo abantu kye baakola kyalaga nti beesambye Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna! Yakuwa yagamba nnabbi we okulabula Abaisiraeri olw’ebyo ebyandibatuuseeko nga bafugibwa omuntu. Samwiri bwe yabagamba ebyo Yakuwa bye yali amugambye, abantu baakalambira nti: “Nedda; naye twagala kabaka atufuge.” Olw’okuba yali agondera Katonda we bulijjo, Samwiri yagenda n’afuka amafuta ku kabaka Yakuwa gwe yali alonze.—1 Samwiri 8:7-19.
Samwiri yagondera atya ekiragiro kya Katonda? Yakigondera mu ngeri eraga nti yali musunguwavu, era ng’amala gakola ekyo Yakuwa kye yali amugambye? Yakkiriza ebyo ebyali bibaddewo okumuleetera obukyayi n’obusungu mu mutima gwe? Abasajja bangi bandyeyisizza mu ngeri ng’eyo, naye Samwiri teyeeyisa bw’atyo. Yafuka amafuta ku Sawulo era n’akiraga nti omusajja oyo Yakuwa yennyini ye yali amulonze. Yanywegera Sawulo, akabonero akalaga nti yali amwaniriza era nti yali mwetegefu okumugondera. Ate era yagamba abantu nti: “Mulabye oyo Mukama gw’alonze, nga tewali amwenkana mu bantu bonna?”—1 Samwiri 10:1, 24.
Samwiri teyatunuulira nsobi, wabula ebirungi omusajja Yakuwa gwe yali alonze bye yalina. Ate bwe kyatuuka ku ye yennyini, essira yalissa ku bikolwa bye eby’obutuukirivu bye yali akoze okumala ebbanga mu kifo ky’okulissa ku kusiimibwa abantu abataali beesigwa. (1 Samwiri 12:1-4) Era yali mwesigwa ng’atuukiriza obuvunaanyizibwa bwe obw’okulabula abantu ba Katonda ku bizibu bye bandifunye nga bavudde ku Katonda n’okubakubiriza okusigala nga beesigwa eri Yakuwa. Okubuulirira kwe yabawa kwabatuuka ku mitima, era ne beegayirira Samwiri abasabire. Yabaddamu nti: “Kiddire eri nze okusobya ku Mukama nga ndekayo okubasabira: naye naabayigirizanga ekkubo eddungi eggolokofu.”—1 Samwiri 12:21-24.
Wali owuliddeko obubi ng’omuntu omulala alondeddwa mu kifo ekimu oba ng’afunye enkizo? Ekyokulabirako kya Samwiri kitujjukiza nti tetulina kuleka buggya oba busungu kusimba makanda mu mitima gyaffe. Katonda alina emirimu mingi emirungi era egireeta essanyu gy’awa buli muweereza we omwesigwa.
“Olituusa Wa Okunakuwalira Sawulo?”
Samwiri yali mutuufu okulaba ekirungi mu Sawulo kubanga yali musajja wa njawulo. Sawulo yali musajja muwanvu era ng’alabika bulungi, yali muvumu era nga munyiikivu ate nga mu kusooka yali mwetoowaze. (1 Samwiri 10:22, 23, 27) Okugatta ku ebyo, yalina ekirabo eky’omuwendo—eddembe ly’okwesalirawo, nga bwe busobozi obw’okulondawo engeri gye yanditambuzizzaamu obulamu bwe n’okwesalirawo mu bintu ebitali bimu. (Ekyamateeka 30:19) Yakozesa bulungi ekirabo ekyo?
Eky’ennaku, omuntu bw’afuna obuyinza, kiyinza okumuleetera okufuuka ow’amalala. Nga waakayita ekiseera kitono, Sawulo yafuuka wa malala. Yasalawo okujeemera ebiragiro Yakuwa bye yali amuwadde okuyitira mu Samwiri. Lumu, Sawulo yalemererwa okugumiikiriza n’awaayo ekiweebwayo ekyali kirina okuweebwayo Samwiri yekka. Samwiri yalina okumukangavvula era yagamba nti tewali muntu wa mu maka ga Sawulo yandisikidde bwakabaka. Mu kifo ky’okukkiriza okukangavvula okwali kumuweereddwa, Sawulo yeeyongera okukola ebintu ebikyamu.—1 Samwiri 13:8, 9, 13, 14.
Okuyitira mu Samwiri, Yakuwa yagamba Sawulo okulwana n’Abamaleki. Mu biragiro Yakuwa bye yamuwa, mwalimu n’eky’okutta kabaka omubi ayitibwa Agagi. Kyokka, Sawulo yawonyawo Agagi, ezimu ku nsolo ezaali zisinga okulabika obulungi n’ebintu eby’omuwendo ate nga nabyo byali bya kuzikirizibwa. Samwiri bwe yajja okumuwabula, Sawulo yakiraga nti yali akyuse nnyo. Mu kifo ky’okuba omuwombeefu n’akkiriza ensobi ye, yagibuusa amaaso n’atandika okwewolereza, okwekwasa obusongasonga, okubikkirira ensobi ye era n’okugezaako okugizza ku bantu abalala. Sawulo bwe yagaana okukangavvulwa okwali kumuweebwa nga yeekwasa nti ezimu ku nsolo ezaali zireeteddwa ng’omunyago zaali za kuweebwayo eri Yakuwa, Samwiri yamugamba ebigambo bino ebimanyiddwa obulungi: “Laba, okugonda kusinga ssaddaaka obulungi.” Nga muvumu, Samwiri yakangavvula omusajja oyo era n’amutegeeza ekyo Yakuwa kye yali asazeewo: Obwakabaka bwandimuggiddwako ne buweebwa omulala—omusajja amusinga obulungi.—1 Samwiri 15:1-33.
Samwiri yanakuwala nnyo olw’okuba Sawulo yalemererwa okukola Katonda by’ayagala. Yakaabirira Yakuwa ekiro kyonna ku nsonga eyo. Yatuuka n’okukungubagira Sawulo. Samwiri yali alabye nga Sawulo alina obusobozi, n’engeri ennungi era nga kati essuubi lye yali amulinamu lyali liweddewo. Omusajja eyali omulungi kati yali akyuse—yali takyalina ngeri nnungi era nga takyaweereza Yakuwa. Samwiri yagaana okuddamu okusisinkana Sawulo. Kyokka nga wayiseewo ekiseera, Yakuwa yatereeza endowooza ya Samwiri ng’amugamba nti: “Olituusa wa okunakuwalira Sawulo nze nga mmaze okumugaana okuba kabaka wa Isiraeri? Jjuza ejjembe lyo amafuta ogende, n[n]aakutuma eri Yese Omubesirekemu: kubanga [nneefunidde] kabaka mu batabani be.”—1 Samwiri 15:34, 35; 16:1.
Omuntu bw’ataba mwesigwa tekiyinza kulemesa Yakuwa kutuukiriza kigendererwa kye. Singa omuntu alekera awo okuba omwesigwa, Yakuwa afunayo omuntu omulala anaatuukiriza ekigendererwa kye. N’olwekyo Samwiri eyali akaddiye yalekera awo okunakuwalira Sawulo. Nga Yakuwa amaze okumuwa obulagirizi, Samwiri yagenda mu maka ga Yese e Besirekemu, gye yasanga abavubuka abawerako abalabika obulungi. Kyokka, okuviira ddala ku mwana asooka, Yakuwa yajjukiza Samwiri nti: “Totunuulira maaso ge newakubadde embala ye bw’eri empanvu; . . . kubanga Mukama talaba ng’abantu bwe balaba; kubanga abantu batunuulira okufaanana okw’okungulu, naye Mukama atunuulira mutima.” (1 Samwiri 16:7) Oluvannyuma, Samwiri yatuuka ku mwana asembayo obuto ayitibwa Dawudi era ng’oyo Yakuwa gwe yali alonze!
Mu myaka gye egyasembayo, Samwiri yeeyongera okukiraba obulungi nti Yakuwa yali mutuufu okusalawo okuggyako Sawulo obwakabaka n’abuwa Dawudi. Sawulo yafuna obuggya obwamuleetera okwagala okutta Dawudi ate era yafuuka kyewaggula. Kyokka, ye Dawudi yayoleka engeri ennungi—obuvumu, obugolokofu, okukkiriza, n’obwesigwa. Samwiri bwe yagenda yeeyongera okukaddiwa, okukkiriza kwe kweyongera okuba okunywevu. Yalaba nti tewali kizibu Yakuwa ky’atayinza kugonjoola, oba okukifuula omukisa ng’ayagadde. Oluvannyuma Samwiri yafa, era yaleka ekyokulabirako ekirungi ekyayamba abantu okumala ebbanga kumpi lya kyasa kiramba. Abaisiraeri bonna bakungubagira omusajja oyo omwesigwa era ng’ekyo tekyewuunyisa! Ne leero, abaweereza ba Yakuwa basobola okwebuuza nti, ‘Nnaakoppa okukkiriza kwa Samwiri?’
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 27]
Samwiri yayamba atya abantu okwaŋŋanga ebizibu eby’amaanyi bye baali boolekaganye nabyo?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 28]
Kiki ekyayamba Samwiri obutaggwamu maanyi ng’abaana be bakutte ekkubo ekyamu?