Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
Essanduuko y’Endagaano yalimu ebipande bibiri byokka, oba yalimu n’ebintu ebirala?
Mu 1026 B.C.E. we baaweerayo yeekaalu Sulemaani gye yali azimbye, ‘mu ssanduuko temwalimu kintu kirala kyonna wabula ebipande byombi Musa bye yateekamu ku Kolebu, Mukama bwe yalagaana endagaano n’abaana ba Isiraeri nga bavudde e Misiri.’ (2 Ebyomumirembe 5:10) Kyokka, okusooka mwalimu n’ebintu ebirala.
“Mu mwezi ogw’okusatu oluvannyuma abaana ba Isiraeri nga bamaze okuva mu nsi ey’e Misiri,” baatuuka mu ddungu ly’e Sinaayi. (Okuva 19:1, 2) Nga bali eyo, Musa yagenda ku Lusozi Sinaayi n’afuna ebipande bibiri eby’amayinja okwali Amateeka. Agamba bw’ati: “Ne nkyuka ne nva ku lusozi, ne nteeka ebipande mu ssanduuko, gye nnali nkoze; era biri omwo, nga Mukama bwe yandagira.” (Ekyamateeka 10:5) Essanduuko eyo Yakuwa gye yagamba Musa okukola ateekemu ebipande okwali Amateeka, teyali ya nkalakkalira. (Ekyamateeka 10:1) Essanduuko y’Endagaano ey’enkalakkalira yatandika okukozesebwa ku nkomerero ya 1513 B.C.E.
Oluvannyuma lw’Abaisiraeri okuggibwa e Misiri, waayita akaseera katono ne baatandika okwemulugunyiza Yakuwa olw’okuba tebaalina mmere. Bwe kityo, Yakuwa yabawa emmaanu. (Okuva 12:17, 18; 16:1-5) Mu kiseera ekyo, Musa yagamba Alooni nti: “Twala ekibya osse munda kkomero ejjudde m[ma]anu, okiteeke mu maaso ga Mukama, ensibo y’emirembe gyammwe.” Ebyawandiikibwa bigamba nti: “Nga Mukama bwe yalagira Musa, bw’atyo Alooni n’akiteeka mu maaso g’obujulirwa [Essanduuko y’Endagaano], okubeera ensibo.” (Okuva 16:33, 34) Wadde nga Alooni yateeka emmaanu mu kibya, teyagiteeka mu maaso g’obujulirwa okutuusa nga Musa amaze okukola Ssanduuko y’Endagaano n’ateekamu ebipande ebyaliko amateeka.
Nga bwe tulabye, Essanduuko y’Endagaano yakolebwa ku nkomerero ya 1513 B.C.E. Omuggo gwa Alooni gwateekebwamu luvannyuma nga Koola n’abalala bamaze okujeemera Yakuwa. Omutume Pawulo agamba nti, “essanduuko y’endagaano . . . yalimu ekibya kya zaabu omwali emmaanu, omuggo gwa Alooni ogwaloka, n’ebipande eby’endagaano.”—Abaebbulaniya 9:4.
Emmaanu ye mmere Katonda gye yawanga Abaisiraeri nga bali ku lugendo lwabwe olw’emyaka 40 mu ddungu. Bwe baatandika ‘okulya ku mmere y’ensi’ ensuubize, Yakuwa teyaddamu kubawa mmaanu. (Yoswa 5:11, 12) Nga wayiseewo ekiseera, omuggo gwa Alooni gwateekebwa mu Ssanduuko y’Endagaano—gukole ng’akabonero oba ekijjukizo eri abo bonna abandijeemedde Katonda. N’olwekyo omuggo ogwo gwasigala omwo ekiseera kyonna Abaisiraeri kye baamala mu ddungu. Bwe kityo, kiba kituufu okugamba nti, omuggo ogwo n’ekibya kya zaabu byaggibwa mu Ssanduuko y’Endagaano wakati w’ekiseera Abaisiraeri we baayingirira mu Nsi Ensuubize n’ekiseera nga yeekaalu ya Sulemaani eneetera okuweebwayo.