LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w06 2/1 lup. 13-17
  • Koppa Obugumiikiriza bwa Yakuwa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Koppa Obugumiikiriza bwa Yakuwa
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Obugumiikiriza bwa Yakuwa
  • Obugumiikiriza bwa Bannabbi
  • ‘Obugumiikiriza bwa Yobu’
  • ‘Olunaku lwa Mukama Waffe Lujja Kujja’
  • Yigira ku Bugumiikiriza Bwa Yakuwa ne Yesu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Weeyongere Okugumiikiriza
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
  • Tusaanidde Okwoleka Obugumiikiriza mu Buweereza Bwaffe
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
  • Okugumiikiriza—Nga Tulina Essuubi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2018
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
w06 2/1 lup. 13-17

Koppa Obugumiikiriza bwa Yakuwa

“Mukama waffe talwisa kye yasuubiza . . . naye agumiikiriza.”​—2 PEETERO 3:9.

1. Kirabo ki eky’omuwendo Yakuwa ky’asuubizza abantu?

YAKUWA atusuubizza ekirabo omuntu yenna ky’atayinza kutuwa. Ekirabo ekyo kya muwendo nnyo ne kiba nti teri ayinza kukigula na ssente. Ekirabo ky’atutegekedde bwe obulamu obutaggwaawo, era ng’abasinga obungi tujja kubufunira ku nsi. (Yokaana 3:16) Ng’obulamu obwo bujja kuba bulungi nnyo! Ebintu byonna ebivaako okubonaabona, ng’obutabanguko, ettemu, obwavu, obumenyi bw’amateeka, obulwadde n’okufa, bijja kuba biweddewo. Ate era bantu bajja kuba mu mirembe era nga bali bumu wansi w’obufuzi bw’Obwakabaka bwa Katonda. Nga twesunga nnyo Olusuku lwa Katonda olwo!​—Isaaya 9:6, 7; Okubikkulirwa 21:4, 5.

2. Lwaki Yakuwa akyaleseewo enteekateeka ya Setaani eno embi?

2 Olw’okuba Yakuwa ayagala obutuukirivu n’obwenkanya, naye yeesunga nnyo ekiseera lw’alifuula ensi yonna Olusuku lwe. (Zabbuli 33:5) Tekimusanyusa kulaba ng’ensi erimu abantu abatafaayo ku misingi gye egy’obutuukirivu, abatayagala bufuzi bwe, era nga bayigganya n’abantu be. Kyokka, waliwo ensonga eziwerako lwaki akyaleseewo enteekateeka ya Setaani eno embi. Kino kizingiramu ensonga eyaleetebwawo ekwata ku bufuzi bwe obw’obutonde bwonna. Mu kugonjoola ensonga eyo, Yakuwa ayolese obugumiikiriza​—engeri abantu abasinga obungi leero gye batalina.

3. (a) Ebigambo by’Oluyonaani n’Olwebbulaniya ebivvuunulwa “obugumiikiriza” birina makulu ki mu Baibuli? (b) Bibuuzo ki bye tugenda okwekenneenya?

3 Ekigambo ky’Oluyonaani ekivvuunulwa mu Baibuli y’Oluganda nga “obugumiikiriza,” bw’okivvuunula obutereevu kitegeeza “omwoyo omuwanvu.” Mu Lwebbulaniya n’Oluyonaani, ebigambo ebivvuunulwa “obugumiikiriza” birina amakulu ag’okwefuga n’okulwawo okusunguwala. Naye, tuganyulwa tutya mu bugumiikiriza bwa Yakuwa? Kiki kye tuyigira ku bugumiikiriza bwe n’obw’abaweereza be abeesigwa? Tumanya tutya nti obugumiikiriza bwa Yakuwa buliko we bukoma? Ka twekenneenye ebibuuzo bino.

Obugumiikiriza bwa Yakuwa

4. Omutume Peetero yawandiika ki ku bugumiikiriza bwa Yakuwa?

4 Ng’ayogera ku bugumiikiriza bwa Yakuwa, omutume Pawulo yawandiika nti: “Naye kino temukyerabiranga, abaagalwa, nga eri Mukama waffe olunaku olumu luli ng’emyaka lukumi, n’emyaka olukumi giri ng’olunaku olumu. Mukama waffe talwisa kye yasuubiza, ng’abalala bwe balowooza okulwa; naye agumiikiriza gye muli, nga tayagala muntu yenna kubula, naye bonna batuuke okwenenya.” (2 Peetero 3:8, 9) Weetegereze ensonga bbiri eziri mu kyawandiikibwa kino eziyinza okutuyamba okutegeera obugumiikiriza bwa Yakuwa.

5. Olw’okuba Yakuwa atunuulira ebiseera mu ngeri ya njawulo, kikwata kitya ku ebyo by’akola?

5 Ensonga esooka eri nti, Yakuwa tatunuulira biseera nga ffe bwe tubitunuulira. Olw’okuba abeerawo emirembe gyonna, emyaka olukumi ye agiraba ng’olunaku olumu. Wadde kiri kityo, kino tekitegeeza nti alwawo okubaako ky’akolawo okusobola okugonjoola ebizibu by’abantu. Yakuwa alina amagezi mangi. N’olw’ensonga eyo, amanyi ekiseera ekituufu mwanaagonjoolera ebizibu by’abantu era alinda ekiseera ekyo kituuke abeeko ky’akolawo. Kyokka, tetwandikitutte nti Yakuwa tafaayo bw’alaba abaweereza be nga babonaabona. Ye Katonda ‘ow’ekisa’ era alina okwagala. (Lukka 1:78; 1 Yokaana 4:8) N’olwekyo asobola okuggirawo ddala ebyo byonna ebivaako okubonaabona.​—Zabbuli 37:10.

6. Ndowooza ki gye tusaanidde okwewala, era lwaki?

6 Amazima gali nti, si kyangu kulindirira kintu kumala bbanga ddene. (Engero 13:12) Bwe kityo, abantu bwe balwawo okutuukiriza ebisuubizo byabwe, abo be baba baasuubiza bakitwala nti baabasuubiza mpewo. Nga tekiba kya magezi n’akamu okulowooza nti Katonda tasobola kutuukiriza bye yasuubiza! Bwe tulowooza nti Katonda aludde okutuukiriza ebisuubizo bye ng’ate agumiikirizza bugumiikiriza, ekiseera bwe kigenda kiyitawo tuyinza okutandika okubuusabuusa ebisuubizo ebyo ne kituviirako okuddirira mu by’omwoyo. N’ekisingira ddala obubi, tuyinza okutwalirizibwa endowooza z’abasekerezi abatalina kukkiriza. Peetero yatulabula nti abasekerezi abo bandibadde batukudaalira nga bagamba nti: “Okusuubiza kw’okujja kwe kuli luuyi wa? Kubanga, bajjajjaffe kasookedde beebaka, byonna bibeera bwe bityo nga bwe byabanga okuva ku kutondebwa.”​—2 Peetero 3:4.

7. Kakwate ki akaliwo wakati w’obugumiikiriza bwa Yakuwa n’okuba nti ayagala abantu bonna beenenye?

7 Ensonga ey’okubiri eri mu bigambo bya Peetero eri nti, Yakuwa agumiikiriza kubanga ayagala abantu bonna beenenye. Abo bonna abagaana okuleka amakubo gaabwe amabi, ajja kubazikiriza. Kyokka, Katonda tasanyukira kufa kwa babi. Ayagala beenenya, baleke amakubo gaabwe amabi, era beeyongere okuba abalamu. (Ezeekyeri 33:11) N’olw’ensonga eyo, aleseewo ekiseera abantu be basobole okubuulira amawulire amalungi mu nsi yonna, kisobozese abantu okufuna essuubi ery’obulamu obutaggwaawo.

8. Obugumiikiriza bwa Katonda bweyolekera butya mu ngeri gye yakolaganangamu n’eggwanga lya Isiraeri?

8 Obugumiikiriza bwa Katonda era bweyolekera mu ngeri gye yakolaganangamu n’eggwanga lya Isiraeri. Wadde baamujeemeranga, yamala emyaka mingi ng’abagumiikiriza. Ng’ayitira mu bannabbi be, yabagamba enfunda n’enfunda nti: “Mukyuke muve mu makubo gammwe amabi mukwatenga ebiragiro byange n’amateeka gange ng’amateeka gonna bwe gali ge nnalagira bajjajjammwe era ge nnabaweereza mu mukono gw’abaddu bange bannabbi.” Biki ebyavaamu? Eky’ennaku kiri nti, abantu ‘tebaawuliriza.’​—2 Bassekabaka 17:13, 14.

9. Kiki ekiraga nti Yesu yali mugumiikiriza nga Kitaawe?

9 Mu nkomerero, Yakuwa yatuma Omwana we n’akola kyonna ky’asobola okuyamba Abayudaaya okudda eri Katonda. Okufaananako Kitaawe, ne Yesu yali mugumiikiriza ng’ayamba abantu abo. Ng’amanyidde ddala nti agenda kuttibwa, n’ennaku ennyingi yagamba nti: “Yerusaalemi, Yerusaalemi, atta bannabbi, akasuukirira amayinja abantu abatumibwa gy’ali! Emirundi emeka gye nnayagalira ddala okukuŋŋaanya abaana bo, ng’enkoko bw’ekuŋŋaanya obwana bwayo munda w’ebiwaawaatiro byayo, ne mutayagala!” (Matayo 23:37) Mu kwogera ebigambo ebyo Yesu teyali ng’omulamuzi atalina kisa eyeetegese okubonereza omumenyi w’amateeka. Okufaananako Kitaawe ow’omu ggulu, Yesu yali ayagala abantu abo beenenye baleme kuzikirizibwa. Eky’essanyu, abamu baawuliriza okulabula kwe yabawa ne bawonawo nga Yerusaalemi kizikirizibwa mu 70 C.E.​—Lukka 21:20-22.

10. Tuganyulwa tutya mu bugumiikiriza bwa Katonda?

10 Tekitwewuunyisa nnyo bwe tulowooza ku ngeri Katonda gy’ayolekamu obugumiikiriza? Wadde ng’abantu bayitiridde obujeemu, Yakuwa atuwadde omukisa okumanya ebimukwatako tusobole okufuna essuubi ery’okulokolebwa, era akoze kye kimu n’eri abantu abalala bangi. Peetero yawandiikira Bakristaayo banne nti: “Mulowoozenga ng’okugumiikiriza kwa Mukama waffe bwe bulokozi.” (2 Peetero 3:15) Tekitusanyusa okumanya nti obugumiikiriza bwa Yakuwa bwe butuguliddewo ekkubo ery’okufuna obulokozi? N’olwekyo, ka tusabenga Yakuwa yeeyongere okutugumiikiriza nga naffe bwe tweyongera okumuweereza?​—Matayo 6:12.

11. Bwe tutegeera ensonga lwaki Yakuwa agumiikirizza kituleetera kukola ki?

11 Bwe tutegeera ensonga lwaki Yakuwa agumiikirizza, tetujja kulowooza nti aludde okutuukiriza ebisuubizo bye, wabula tujja kuba bagumiikiriza okutuusa ekiseera ky’okulokolebwa lwe kirituuka. (Okukungubaga 3:26) Nga bwe tweyongera okusaba Obwakabaka bwe bujje, tuli bakakafu nti amanyi ekiseera ekituufu mw’anaddiramu okusaba kwaffe. Ate era bwe tunaategeera ensonga eyo, kijja kutuleetera okumukoppa tugumiikirize obunafu bwa baganda baffe, era tube bagumiikiriza n’eri abo be tubuulira. Naffe tetwagala muntu yenna kuzikirizibwa wabula twagala beenenye nabo basobole okufuna essuubi ery’obulamu obutaggwaawo.​—1 Timoseewo 2:3, 4.

Obugumiikiriza bwa Bannabbi

12, 13. Nga kituukana n’ebigambo ebiri mu Yakobo 5:10, nnabbi Isaaya yayoleka atya obugumiikiriza?

12 Bwe tulowooza ku bugumiikiriza bwa Yakuwa, kituleetera okwagala engeri eyo era kitusikiriza okugikulaakulanya. Wadde si kyangu abantu abatuukiridde okuba abagumiikiriza, kisoboka okulaakulanya engeri eyo kubanga n’abaweereza ba Katonda baakikola. Omuyigirizwa Yakobo yagamba: “Mutwale ekyokulabirako, ab’oluganda, eky’okubonyaabonyezebwa n’okugumiikiriza, bannabbi abaayogeranga mu linnya lya Mukama.” (Yakobo 5:10) Nga kituzzaamu amaanyi okukimanya nti waliwo n’abalala abayise mu bizibu ebiringa ebyaffe!

13 Ng’ekyokulabirako, nnabbi Isaaya yali yeetaaga okuba omugumiikiriza okusobola okutuukiriza omulimu gwe. Ekyo kyeyolekera mu ebyo Yakuwa bye yayogera bwe yamugamba nti: “Genda obuulire abantu bano nti Okuwulira muwulire naye temutegeera; n’okulaba mulabe naye, naye temwetegereza. Savuwaza omutima gw’abantu bano, era ggala amatu gaabwe, era ziba amaaso gaabwe; baleme okulaba n’amaaso gaabwe, n’okuwulira n’amatu gaabwe, n’okutegeera n’omutima gwabwe, n’okukyuka, okuwonyezebwa.” (Isaaya 6:9, 10) Wadde ng’abantu baali tebawuliriza, Isaaya yayoleka obugumiikiriza n’amala emyaka egissuka mu 46 ng’alabula abantu nga Yakuwa bwe yali amulagidde. Naffe bwe tubeera abagumiikiriza, kijja kutuyamba okweyongera okukola omulimu gwaffe wadde ng’abantu bangi tebaagala bubaka bwaffe.

14, 15. Kiki ekyayamba Yeremiya okugumiikiriza ebizibu ebyamutuukako?

14 Kyo kituufu nti, bannabbi bwe baalinga batuukiriza obuweereza bwabwe, baayolekagananga n’ebizibu bingi. Baasanganga abantu abataagala bubaka bwabwe era baayigganyizibwanga. Ng’ekyokulabirako, Yeremiya yasibibwa mu nvuba, yateekebwa mu “kkomera” era yasuulibwa ne mu bunnya omuli ebitosi. (Yeremiya 20:2; 37:15; 38:6) Eky’ennaku kiri nti, abantu abaamuyigganya beebo bennyini be yali ayagala okuyamba. Wadde kyali kityo, Yeremiya teyabanyigira era teyeesasuza wabula yabagumiikiriza okumala emyaka mingi.

15 Okuva bwe kiri nti okuyigganyizibwa n’okusekererwa tebyaleetera Yeremiya kulekera awo kubuulira, naffe tebisobola kutulemesa kubuulira. Kyo kituufu nti, oluusi tuyinza okuwulira nga tuweddemu amaanyi. Yeremiya naye yaggwaamu amaanyi n’atuuka n’okugamba nti: “Kubanga ekigambo kya Mukama b[a]akifuula ekivume gye ndi n’eky’okusekererwa okuzibya obudde. [Nnatuuka n’okugamba nti Sigenda kuddamu kumwogerako wadde okwogerera mu linnya lye.]” Yeremiya yalekera awo okubuulira? Yeeyongera n’agamba nti: “Mu mutima gwange [ekigambo kya Katonda ne kiba] ng’omuliro ogubuubuuka ogusibibwa mu magumba gange, era nga nkooye okuzibiikiriza so [nga] siyinza kubeerera awo.” (Yeremiya 20:8, 9) Weetegereze nti, Yeremiya bwe yateeka ebirowoozo bye ku ebyo ebyali byogerwa abasekerezi, ekyo kyamumalako essanyu lye. Naye ate bwe yalowooza ku bukulu bw’amawulire ge yali ababuulira, yaddamu okufuna essanyu. Yakuwa yeeraga okuba ‘ow’amaanyi era ow’entiisa,’ n’ayamba Yeremiya n’asobola okuddamu okubuulira ekigambo kye n’obuvumu.​—Yeremiya 20:11.

16. Kiki ekinaatuyamba okusigala nga tuli basanyufu nga tukola omulimu gwaffe ogw’okubuulira?

16 Nnabbi Yeremiya yafuna essanyu mu kukola omulimu gwe? Awatali kubuusabuusa yalifuna! Yagamba Yakuwa nti: “Ebigambo byo byalabika ne mbirya; n’ebigambo byo byali gye ndi ssanyu n’okusanyuka kw’omutima gwange: kubanga ntuumiddwa erinnya lyo, ai Mukama Katonda w’eggye.” (Yeremiya 15:16) Yeremiya yeenyumiriza olw’enkizo gye yalina ey’okukiikirira Katonda ow’amazima, era yafuna essanyu mu kubuulira ekigambo kye. Okufaananako Yeremiya, naffe tufuna essanyu bwe tubuulira ekigambo kya Katonda. Ate era tusanyukira wamu ne bamalayika abali mu ggulu abantu bwe bakkiriza amawulire g’Obwakabaka, ne beenenya era ne batandika okutambulira mu kkubo erituusa mu bulamu obutaggwaawo.​—Lukka 15:10.

‘Obugumiikiriza bwa Yobu’

17, 18. Yobu yayoleka atya obugumiikiriza era mikisa ki gye yafuna?

17 Ng’amaze okwogera ku bannabbi abaaliwo edda, omuyigirizwa Yakobo yawandiika bw’ati: “Mwawulira ku kugumiikiriza kwa Yobu era mwalaba Yakuwa kye yakola mu nkomerero, nti Yakuwa afaayo nnyo era musaasizi.” (Yakobo 5:11) Mu lunyiriri luno, ekigambo ky’Oluyonaani ekivvuunuddwa ‘okugumiikiriza,’ kya njawulo ku kigambo ky’Oluyonaani ekivvuunuddwa ‘okugumiikiriza’ Yakobo ky’akozesa mu lunyiriri olw’ekkumi. Ng’ayogera ku njawulo eriwo wakati w’ebigambo ebyo byombi, Omwekenneenya omu yagamba nti: “Ekigambo ky’Oluyonaani [ekikozesebwa mu lunyiriri olw’ekkumi] kirina amakulu ag’okugumiikiriza abantu bwe batuyisa obubi, ate ekyo [ekikozesebwa mu lunyiriri olw’ekkumi n’olumu] kirina amakulu ag’okugumira ebizibu.”

18 Yobu yayolekagana n’ebizibu bingi. Yafiirwa eby’obugagga bwe n’abaana be, era n’alwala n’obulwadde obw’amaanyi. Ate era, mikwano gye gy’amumalamu amaanyi nga gimugamba nti, Yakuwa yali amubonereza olw’ensobi ze yali akoze. Kyokka, Yobu teyasirika busirisi. Olw’ennaku ennyingi gye yalina, yatuuka n’okwogera ebigambo ebyali biraga nti yali asinga Katonda obutuukirivu. (Yobu 35:2) Wadde yayolekagana n’ebizibu ebyo byonna, Yobu yasigala akyalina okukkiriza okunywevu era teyamenya bugolokofu bwe. Teyeegaana Katonda nga Setaani bwe yali alowooza. (Yobu 1:11, 21) Mikisa ki gye yafuna olw’okugumiikiriza bwe? Yakuwa ‘yawa omukisa enkomerero ye okukira entandikwa ye.’ (Yobu 42:12) Yamuwonya obulwadde, n’amuwa eby’obugagga ebyakubisaamu emirundi ebiri ebyo bye yalina mu kusooka, era n’amuwangaaza n’asobola okulaba ku bazzukulu be. Ate era, Yobu yasobola okutegeera Yakuwa mu ngeri esingawo.

19. Kiki kye tuyigira ku bugumiikiriza bwa Yobu?

19 Kiki kye tuyigira ku bugumiikiriza bwa Yobu? Okufaananako Yobu, naffe tuyinza okufuna obulwadde obw’amaanyi oba ekizibu ekirala kyonna. Tuyinza obutamanya nsonga lwaki Yakuwa aleese ekizibu ekimu okututuukako. Kyokka, tuli bakakafu nti: Bwe tusigala nga tuli beesigwa, Yakuwa ajja kutuwa emikisa. Mazima ddala abo bonna abamunoonya talirema kubawa mpeera. (Abaebbulaniya 11:6) Yesu yagamba nti: “Agumiikiriza okutuuka ku nkomerero, ye alirokolebwa.”​—Matayo 10:22; 24:13.

‘Olunaku lwa Mukama Waffe Lujja Kujja’

20. Lwaki tuli bakakafu nti olunaku lwa Yakuwa lujja kujja?

20 Wadde Yakuwa mugumiikiriza, tagenda kulekawo bubi kubanga ayagala obutuukirivu. Obugumiikiriza bwe bulina we bukoma. Peetero yagamba nti: ‘Katonda teyasonyiwa nsi ey’edda.’ Nuuwa n’ab’omu maka ge baawonawo naye abantu abatatya Katonda bonna baazikirizibwa n’amataba. Ate era Yakuwa yazikiriza Sodomu ne Ggomola. Bino byonna byali ‘kyakulabirako eri abo abatatya Katonda’ era bitukakasa nti: ‘Olunaku lwa Mukama waffe lujja kujja.’​—2 Peetero 2:5, 6; 3:10.

21. Tuyinza tutya okulaga nti tuli bagumiikiriza, era kiki kye tujja okwekenneenya mu kitundu ekiddako?

21 N’olwekyo, ka tukoppe Yakuwa tube bagumiikiriza nga tubuulira abalala, basobole okwenenya n’okutuuka ku kulokolebwa. Okufaananako bannabbi, ka tweyongere okubuulira amawulire amalungi n’obugumiikiriza wadde ng’abantu abamu tebagaagala. Ate era bwe tunaaba abagumiikiriza nga Yobu ne tutamenya bugolokofu bwaffe nga twolekaganye n’ebizibu, Yakuwa ajja kutuwa emikisa. Bwe tulaba engeri Yakuwa gy’awaddemu omukisa omulimu gw’okubuulira ogukolebwa mu nsi yonna, kituleetera essanyu ne tweyongera okukola omulimu ogwo. Mu kitundu ekiddako tujja kulaba engeri Yakuwa gy’awaddemu omukisa omulimu guno.

Ojjukira?

• Lwaki Yakuwa agumiikirizza?

• Kiki kye tuyigira ku bugumiikiriza bwa bannabbi?

• Yobu yalaga atya obugumiikiriza, era mikisa ki gye yafuna?

• Tumanya tutya nti obugumiikiriza bwa Katonda bulina we bukoma?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]

Yesu yali mugumiikiriza nga Kitaawe

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 16]

Yakuwa yakolera ki Yeremiya olw’obugumiikiriza bwe?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 17]

Mikisa ki Yakuwa gye yawa Yobu olw’obugumiikiriza bwe?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share