Yigira ku Bugumiikiriza Bwa Yakuwa ne Yesu
“Obugumiikiriza bwa Mukama waffe mubutwale ng’obulokozi.”—2 PEET. 3:15.
1. Kiki abaweereza ba Yakuwa abamu abeesigwa kye beebuuza?
MWANNYINAFFE omu amaze emyaka mingi ng’aweereza Yakuwa n’obwesigwa era ayise mu bizibu ebingi lumu yeebuuza, “Enkomerero eneetuuka nkyali mulamu?” Waliwo n’ab’oluganda abalala abamaze emyaka mingi nga baweereza Yakuwa abeebuuza ekibuuzo kye kimu. Twesunga nnyo ekiseera Yakuwa lw’anaafuula ebintu byonna ebiggya era n’aggyawo ebizibu ebiriwo leero. (Kub. 21:5) Wadde nga waliwo ebintu bingi ebiraga nti enteekateeka ya Sitaani eneetera okuzikirizibwa, kiyinza obutatwanguyira kwoleka bugumiikiriza nga tulindirira ekiseera ekyo.
2. Bibuuzo ki ebikwata ku bugumiikiriza bye tugenda okwekenneenya?
2 Bayibuli eraga nti tulina okuba abagumiikiriza. Okufaananako abaweereza ba Katonda abaaliwo mu biseera by’edda, naffe tujja kufuna ebyo Katonda bye yasuubiza singa tuba n’okukkiriza okw’amaanyi era ne tuba bagumiikiriza nga bwe tumulindirira okutuukiriza ebisuubizo bye. (Soma Abebbulaniya 6:11, 12.) Yakuwa ayolese obugumiikiriza. Yandibadde yaleeta dda enkomerero n’akomya obubi, naye alinze ekiseera ekituufu alyoke agireete. (Bar. 9:20-24) Lwaki Yakuwa ayolese obugumiikiriza? Yesu ataddewo atya ekyokulabirako ekirungi mu kwoleka obugumiikiriza? Mikisa ki gye tujja okufuna singa twoleka obugumiikiriza nga Yakuwa? Eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo bisobola okutuyamba okuba abagumiikiriza n’okuba n’okukkiriza okw’amaanyi, wadde nga tuyinza okulaba nga Yakuwa aluddewo okuleeta enkomerero.
LWAKI YAKUWA AYOLESE OBUGUMIIKIRIZA?
3, 4. (a) Lwaki Yakuwa ayolese obugumiikiriza? (b) Adamu ne Kaawa bwe bajeema, kiki Yakuwa kye yakola?
3 Waliwo ensonga lwaki Yakuwa ayolese obugumiikiriza. Kyo kituufu nti alina obuyinza obw’enkomeredde ku butonde bwonna. Naye obujeemu obwaliwo mu lusuku Adeni bwaleetawo ebibuuzo ebikulu ebyali byetaaga okuddibwamu. Yakuwa abadde mugumiikiriza olw’okuba akimanyi nti kyandibadde kyetaagisa ekiseera ekiwerako okusobola okuddamu ebibuuzo ebyo mu ngeri etuukiridde. Olw’okuba ategeera bulungi ebitonde bye byonna, eby’omu ggulu n’eby’oku nsi, buli kimu ky’aba asazeewo okukola kiba kiganyula byo.—Beb. 4:13.
4 Yakuwa yali ayagala ensi ejjule bazzukulu ba Adamu ne Kaawa. Sitaani bwe yaleetera Adamu ne Kaawa okujeema, Katonda teyava ku kigendererwa kye ekyo. Teyayanguyiriza kusalawo era teyayabulira lulyo lw’omuntu. Mu kifo ky’ekyo, yasalawo okubaako ky’akolawo okulaba nti ekigendererwa kye eri ensi n’abantu kituukirira. (Is. 55:11) Okusobola okutuukiriza ekigendererwa kye n’okulaga nti y’agwanidde okufuga obutonde bwonna, Yakuwa ayolese obugumiikiriza obw’ekitalo. Atuuse n’okumala enkumi n’enkumi z’emyaka ng’ayoleka obugumiikiriza okusobola okutuukiriza ekigendererwa kye mu ngeri esingayo obulungi.
5. Kiki abantu kye bajja okufuna olw’okuba Yakuwa ayolese obugumiikiriza?
5 Ensonga endala lwaki Yakuwa ayolese obugumiikiriza eri nti ayagala okuwa abantu bangi nga bwe kisoboka akakisa okufuna obulamu obutaggwaawo. Mu kiseera kino, ateekateeka okuwonyaawo “ekibiina ekinene.” (Kub. 7:9, 14; 14:6) Okuyitira mu mulimu gwaffe ogw’okubuulira, Yakuwa ayamba abantu okuyiga ebikwata ku Bwakabaka bwe awamu n’emitindo gye egy’obutuukirivu. Obubaka bw’Obwakabaka ge mawulire agasingayo okuba amalungi abantu ge beetaaga. (Mat. 24:14) Buli muntu Yakuwa gw’ayamba okuyiga amazima yeegatta ku kibiina kye omuli abantu abaagala okukola ekituufu. (Yok. 6:44-47) Katonda waffe ow’okwagala ayamba abantu ng’abo okufuna enkolagana ennungi naye. Era abadde alonda abantu abamu okufuuka abafuzi mu gavumenti ye ey’omu ggulu. Bwe banaaba bafuga mu ggulu, abantu abo bajja kuyamba abantu abawulize abanaabeera ku nsi okufuuka abantu abatuukiridde n’okufuna obulamu obutaggwaawo. Ekiseera kyonna Yakuwa ky’amaze ng’agumiikiriza, abaddeko ebintu by’akola okulaba nti ekigendererwa kye kituukirira. Ebintu ebyo byonna abikola ku lwa bulungi bwaffe.
6. (a) Yakuwa yayoleka atya obugumiikiriza mu kiseera kya Nuuwa? (b) Yakuwa ayolese atya obugumiikiriza mu kiseera kyaffe?
6 Yakuwa ayolese obugumiikiriza wadde ng’asoomoozeddwa nnyo. Lowooza ku ekyo kye yasalawo okukola nga tannaleeta Mataba. Yakuwa “[y]anakuwala mu mutima gwe” olw’okuba ensi yali ejjudde ebikolwa eby’obugwenyufu n’ettemu. (Lub. 6:2-8) Kya lwatu nti yali tasobola kukkiriza bikolwa ng’ebyo kweyongera mu maaso, bw’atyo yasalawo okuleeta Amataba okuzikiriza abantu ababi. “Katonda bwe yali ng’alindirira n’obugumiikiriza mu kiseera kya Nuuwa,” yakola enteekateeka okuwonyaawo Nuuwa n’ab’omu maka ge. (1 Peet. 3:20) Mu kiseera ekituufu, Yakuwa yabuulira Nuuwa ekyo kye yali asazeewo okukola era n’amuwa omulimu gw’okuzimba eryato. (Lub. 6:14-22) Okugatta ku ekyo, Nuuwa yabuulira abantu nti Katonda yali agenda kuzikiriza ababi. Bayibuli egamba nti Nuuwa yali ‘mubuulizi wa butuukirivu.’ (2 Peet. 2:5) Yesu yagamba nti ekiseera kyaffe kyandifaananyeeko ekiseera kya Nuuwa. Yakuwa yasalawo dda ddi lw’anaazikiriza enteekateeka eno ey’ebintu, naye tewali muntu yenna amanyi ‘lunaku’ lwennyini ekyo we kinaabeererawo. (Mat. 24:36) Leero, Katonda atuwadde omulimu ogw’okulabula abantu n’okubabuulira ekyo kye balina okukola okusobola okuwonawo.
7. Ddala Yakuwa aluddewo nnyo okutuukiriza ebisuubizo bye? Nnyonnyola.
7 Kya lwatu nti Yakuwa okuba nti agumiikiriza tekitegeeza nti ali awo alindirira bulindirizi nga talina ky’akola. Ate era tekitegeeza nti tatufaako. Kyokka, kyangu okulowooza nti Katonda tatufaako naddala bwe tuba tugenda tukaddiwa oba bwe tuba tubonaabona. Tuyinza okuggwamu amaanyi era tuyinza n’okulowooza nti Katonda aluddewo nnyo okutuukiriza ebisuubizo bye. (Beb. 10:36) Naye tusaanidde okukijjukira nti Katonda alina ensonga lwaki ayoleka obugumiikiriza era nti ekiseera ky’amala ng’agumiikiriza akikozesa okukola ebintu ebiganyula abaweereza be abeesigwa. (2 Peet. 2:3; 3:9) Kati ka tulabe engeri Yesu gye yakoppamu Yakuwa mu kwoleka obugumiikiriza.
YESU ATADDEWO ATYA EKYOKULABIRAKO EKIRUNGI MU KWOLEKA OBUGUMIIKIRIZA?
8. Yesu yayoleka atya obugumiikiriza?
8 Bulijjo Yesu abadde akola Katonda by’ayagala era ekyo akikoze okumala emyaka butabalika. Sitaani bwe yajeema, Yakuwa yasalawo okukola enteekateeka okusindika Omwana we ku nsi nga Masiya. Yesu yayoleka obugumiikiriza ng’alindirira okumala enkumi n’enkumi z’emyaka okutuusa ekiseera ekyo lwe kyandituuse. (Soma Abaggalatiya 4:4.) Yesu yali tatudde butuuzi ng’alindirira ekiseera ekyo okutuuka, wabula yalina ebintu bingi bye yali akola Kitaawe bye yali amulagidde okukola. Bwe yajja ku nsi, Yesu yali akimanyi nti Sitaani yali agenda kuleetera abantu okumutta, nga bwe kyali kiraguddwa. (Lub. 3:15; Mat. 16:21) Yayoleka obugumiikiriza bwe yakkiriza okukola Katonda by’ayagala, wadde ng’ekyo kyandimuleetedde okuyita mu bulumi obw’amaanyi. Wadde nga yali Mwana wa Katonda, Yesu yayoleka obwetoowaze era yali mwesigwa eri Katonda. Tusaanidde okumukoppa.—Beb. 5:8, 9.
9, 10. (a) Kiki Yesu ky’abadde akola nga bw’alindirira Yakuwa okubaako ky’akolawo? (b) Tuyinza tutya okukoppa Yesu?
9 Oluvannyuma lw’okuzuukira, Yesu yaweebwa obuyinza mu ggulu ne ku nsi. (Mat. 28:18) Obuyinza obwo abukozesa okutuukiriza ekigendererwa kya Yakuwa, era ekyo akikola okusinziira ku kiseera Yakuwa ky’aba ataddewo. Yayoleka obugumiikiriza ng’alindirira ku mukono gwa Katonda ogwa ddyo okutuusa Katonda lwe yateeka abalabe be wansi w’ebigere bye mu 1914. (Zab. 110:1, 2; Beb. 10:12, 13) Mu kiseera ekitali kya wala, Yakuwa ajja kukozesa Yesu okuzikiriza enteekateeka ya Sitaani. Nga bw’alindirira ekiseera ekyo, Yesu ayamba abantu okufuna enkolagana ennungi ne Katonda era abatwala eri “amazzi ag’obulamu.”—Kub. 7:17.
10 Tuyinza tutya okukoppa Yesu bwe kituuka ku kulindirira Yakuwa okubaako ky’akolawo? Wadde nga Yesu yali ayagala nnyo okukola Katonda by’ayagala, yabanga mwetegefu okulindirira ekiseera kya Katonda ekituufu. Nga bwe tulindirira enteekateeka ya Sitaani okuzikirizibwa, ffenna twetaaga okuba abagumiikiriza. Tulina okulindirira Katonda era tetusaanidde kulekulira bwe wabaawo ekintu ekitumazeemu amaanyi. Kiki ekinaatuyamba okwoleka obugumiikiriza?
TUYINZA TUTYA OKWOLEKA OBUGUMIIKIRIZA NGA KATONDA?
11. (a) Kakwate ki akali wakati w’okukkiriza n’obugumiikiriza? (b) Nsonga ki eyandituleetedde okuba n’okukkiriza okw’amaanyi?
11 Yesu bwe yali tannajja ku nsi, bannabbi n’abaweereza ba Yakuwa abalala abeesigwa baakiraga nti n’abantu abatatuukiridde basobola okwoleka obugumiikiriza. Okukkiriza kwe baalina kwabayamba okuba abagumiikiriza. (Soma Yakobo 5:10, 11.) Singa baali tebakkiririza mu bintu Yakuwa bye yabanga abagambye, kwe kugamba, singa baabanga tebalina kukkiriza, tebandisobodde kumulindirira kutuukiriza bisuubizo bye. Wadde ng’emirundi mingi baayolekagananga n’embeera enzibu ennyo, baayolekanga okukkiriza nga bakimanyi nti Katonda yali ajja kutuukiriza ebisuubizo bye. (Beb. 11:13, 35-40) Leero tulina ensonga ey’amaanyi eyandituleetedde okuba n’okukkiriza okw’amaanyi. Yesu yafuuka “Omutuukiriza w’okukkiriza kwaffe.” (Beb. 12:2) Waliwo obunnabbi bungi obwatuukirira ku Yesu, era Yesu atuyambye okutegeera obulungi ekigendererwa kya Katonda.
12. Kiki kye tuyinza okukola okusobola okunyweza okukkiriza kwaffe?
12 Kiki ekiyinza okutuyamba okunyweza okukkiriza kwaffe tusobole okuba abagumiikiriza? Ekimu ku bintu ebinaatuyamba kwe kugoberera obulagirizi Katonda bw’atuwa. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku nsonga lwaki osaanidde okukulembeza Obwakabaka mu bulamu bwo. Olina kye weetaaga okukola okusobola okukolera ku kiragiro ekiri mu Matayo 6:33? Oboolyawo kiyinza okuba nga kikwetaagisa okwongera ku biseera by’omala mu mulimu gw’okubuulira oba nga kikwetaagisa okubaako ebintu bye weerekereza mu bulamu. Lowooza ku mikisa Yakuwa gy’akuwadde ng’ofuba okukolera ku bulagirizi bwe. Ayinza okuba ng’akuyambye okufuna omuntu gw’oyigiriza Bayibuli oba ng’akuyambye okufuna “emirembe gya Katonda egisingira ewala ebirowoozo byonna.” (Soma Abafiripi 4:7.) Okulowooza ku mikisa ng’egyo, kijja kukuyamba okukiraba nti kirungi okuba omugumiikiriza.—Zab. 34:8.
13. Kyakulabirako ki ekiraga engeri okukkiriza gye kuyinza okutuyamba okwongera okuba abagumiikiriza?
13 Lowooza ku kyokulabirako kino. Omulimi asiga ensigo, n’akoola ebirime bye, era n’akungula ebibala. Buli lw’akungula ebibala ebingi, addamu amaanyi okusiga ensigo ku mulundi oguddako. Kya lwatu nti kiyinza okumwetaagisa okumala ekiseera kiwanvu ng’alindirira okukungula, naye ekyo tekiyinza kumulemesa kweyongera kusiga nsigo. Oboolyawo ayinza n’okusalawo okugaziya ku nnimiro asobola okusiga ensigo nnyingi okusinga ku ezo ze yasiga ku mulundi ogwayita. Aba mukakafu nti ajja kukungula ebibala. Mu ngeri y’emu, bwe tweyongera okuyiga ebyo Yakuwa by’atwetaagisa, ne tubikolerako, era ne tulaba emiganyulo egivaamu, tweyongera okumwesiga. Okukkiriza kwaffe kweyongera okunywera, era ekyo kituyamba okuba abagumiikiriza nga tulindirira emikisa Katonda gy’agenda okuleeta.—Soma Yakobo 5:7, 8.
14, 15. Ndowooza ki gye tusaanidde okuba nayo ku kubonaabona okuliwo mu nsi?
14 Ekintu ekirala ekinaatuyamba okuba abagumiikiriza kwe kutunuulira embeera yaffe awamu n’embeera eriwo mu nsi nga Yakuwa bw’abitunuulira. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ngeri Yakuwa gy’awuliramu bw’alaba abantu nga babonaabona. Amaze emyaka mingi ng’alaba abantu nga babonaabona era ekyo kimuyisa bubi nnyo. Wadde kiri kityo, ekyo takikkirizza kumulemesa kukola bintu birungi. Yasindika Omwana we eyazaalibwa omu yekka “okuggyawo ebikolwa by’Omulyolyomi” era aggyewo okubonaabona kwonna Sitaani kw’aleetedde abantu. (1 Yok. 3:8) Mu kiseera ekitali kya wala, Katonda ajja kuggyawo okubonaabona kwonna. N’olwekyo, tetusaanidde kukkiriza bintu ebibi ebiri mu nsi ya Sitaani kunafuya kukkiriza kwaffe oba kutuleetera kulowooza nti Yakuwa aluddewo okugizikiriza. Mu kifo ky’ekyo, tusaanidde okuba n’okukkiriza okw’amaanyi mu bisuubizo bya Katonda. Yakuwa yamala dda okusalawo ddi lw’anaggyawo ebintu ebibi, era ekiseera ekyo bwe kinaatuuka ajja kubiggyawo.—Is. 46:13; Nak. 1:9.
15 Mu kiseera kino ekizibu ennyo eky’enkomerero, tuyinza okufuna ebizibu eby’amaanyi ebiyinza okugezesa okukkiriza kwaffe. Mu kifo ky’okunyiigira Yakuwa nga tutuusiddwako ebikolwa eby’obukambwe oba ng’abaagalwa baffe babonaabona, tusaanidde okusigala nga twesiga Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna. Olw’okuba tetutuukiridde ekyo kiyinza obutatwanguyira. Naye kikulu okujjukira ekyo Yesu kye yakola, nga bwe kiragibwa mu Matayo 26:39.—Soma.
16. Nga bwe tulindirira enkomerero okutuuka, kiki kye tusaanidde okwewala?
16 Omuntu abuusabuusa nti enkomerero eneetera okutuuka ayinza okufuna endowooza enkyamu. Ayinza okulowooza nti alina okubaako enteekateeka ze yeekolera ne kiba nti singa Yakuwa tatuukiriza ebyo by’asuubizza, tasalwa nnyo. Mu ngeri endala, abanga agamba nti, ‘Nja kusooka kulinda ndabe nga Yakuwa atandise okutuukiriza ekyo kye yasuubiza ndyoke mbeeko kye nkolawo.’ Omuntu oyo ayinza okulemererwa okuba omugumiikiriza. Ayinza okusalawo okwekolera erinnya mu nsi eno oba okwenoonyeza eby’obugagga mu kifo ky’okukulembeza Obwakabaka. Ayinza n’okusalawo okugenda ku yunivasite ng’alowooza nti ekyo kijja kumuyamba okuba n’obulamu obulungi. Naye ddala omuntu oyo aba alaga nti alina okukkiriza? Kijjukire nti Pawulo yatukubiriza okukoppa abo abaayoleka ‘okukkiriza n’obugumiikiriza’ ne basobola okufuna emikisa Yakuwa gye yali abasuubizza. (Beb. 6:12) Yakuwa yamala dda okusalawo ddi lw’agenda okuzikiriza ensi eno embi, era tajja kulwa. (Kaab. 2:3) Nga bwe tulindirira ekiseera ekyo, tusaanidde okwewala okuweereza Yakuwa olw’okutuusa obutuusa omukolo. Mu kifo ky’ekyo, tulina okusigala nga tuli bulindaala era nga tuli banyiikivu mu mulimu gw’okubuulira. Ekyo kijja kutuyamba okufuna essanyu ne mu kiseera kino.—Luk. 21:36.
MIKISA KI GYE TUJJA OKUFUNA SINGA TWOLEKA OBUGUMIIKIRIZA?
17, 18. (a) Nga bwe tulindirira enkomerero, kakisa ki Yakuwa k’atuwadde? (b) Mikisa ki gye tujja okufuna singa twoleka obugumiikiriza?
17 Ka kibe nti tumaze ekiseera kitono nga tuweereza Yakuwa oba nga tumaze emyaka mingi, ffenna twagala okumuweereza emirembe n’emirembe. Obugumiikiriza bujja kutuyamba okusigala nga tuli beesigwa okutuuka ku nkomerero, ka kibe nti kitwetaagisa okulindirira okumala ebbanga ddene. Yakuwa atuwadde akakisa okukiraga nti tukkiriza ebyo by’asazeewo, era nti tuli beetegefu okusigala nga tuli beesigwa gy’ali ne bwe kiba nti tubonaabona olw’erinnya lye. (1 Peet. 4:13, 14) Katonda era atutendeka okuba abagumiikiriza, ekintu ekijja okutuyamba okulokolebwa.—1 Peet. 5:10.
18 Yesu yaweebwa obuyinza bwonna mu ggulu ne ku nsi era tewali kiyinza kumulemesa kukukuuma singa osigala ng’oli mwesigwa. (Yok. 10:28, 29) Tolina kutya bintu bijja kubaawo mu biseera eby’omu maaso, ka kube kufa. Abo abagumiikiriza okutuuka ku nkomerero bajja kulokolebwa. N’olwekyo, tetulina kukkiriza nsi ya Sitaani kutuleetera kulekera awo kwesiga Yakuwa. Mu kifo ky’ekyo, tulina okwongera okunyweza okukkiriza kwaffe n’okukozesa ebiseera byaffe mu ngeri ey’amagezi, mu kiseera kino nga Katonda akyayolese obugumiikiriza.—Mat. 24:13; soma 2 Peetero 3:17, 18.