Ebinaakuyamba Okuba n’Empuliziganya Ennungi ne Munno mu Bufumbo
KYALI kikutuuseeko oluvannyuma lw’okwogera ne munno mu bufumbo n’owulira nti ‘mu butuufu saandimugambye bwe ntyo’ oba nti ‘saamunnyonnyodde bulungi’? Okwogera obulungi n’abalala omuntu alina kukikulaakulanya bukulaakulanya. Kino abantu abamu kibanguyira naye ate abalala tekibanguyira. Wadde oyinza okuba omu ku abo abazibuwalirwa okunyumya obulungi n’abalala, osobola okuyiga okunnyonnyola obulungi ekuli ku mutima n’okwogera mu ngeri ematiza.
Ebiseera ebimu, engeri abantu gye bayisaamu bannaabwe mu bufumbo yeesigama nnyo ku mpisa y’omu kitundu kye babeeramu. Mu bitundu ebimu, kigambibwa nti ‘omusajja talina kwogera nnyo.’ Singa omusajja aba ayogerayogera, by’ayogera bo babitwala nti bya lusaago. Baibuli egamba nti: “Buli muntu abeerenga mwangu wa kuwulira, alwengawo okwogera.” (Yakobo 1:19) Okubuulirirwa kuno tekukwata ku basajja bokka, wabula kukwata ne ku bakazi. Okusinziira ku kyawandiikibwa ekyo, empuliziganya ennungi tekoma ku kwogera bwogezi na muntu. Kiki ekibaawo singa abantu babiri bamala ekiseera kiwanvu nga boogera, naye nga buli omu tawuliriza munne? Awatali kubuusabuusa, abantu abo tebayinza kuba na mpuliziganya nnungi. Bwe kityo, okusinziira ku kyawandiikibwa ekyo, ekintu ekikulu ekisobozesa abantu okuba n’empuliziganya ennungi kwe kuba nti buli omu awuliriza munne.
Okuwuliziganya Awatali Bigambo
Mu nsi ezimu, abakazi tebalina kuwa ndowooza zaabwe. Ate bo abasajja, eby’omu maka biba tebibakwatako. Mu nsi ng’ezo, omwami n’omukyala buli omu aba tasobola kumanya munne ky’ayagala. Kyokka, abakyala abamu bo baba basobola okumanya abaami baabwe bye beetaaga era ne babikolako mu bwangu. Mu ngeri eyo, baba bategedde bannaabwe kye baagala wadde nga tewabaddewo kwogeraganya. Wadde kiri kityo, empuliziganya ey’ekika ekyo eba yeekubidde ku luuyi lumu. Omukyala ayinza okumanya enneewulira ya mwami we era n’amanya ky’alowooza, naye omwami ye aba tasobola kumanya mukyala we ky’alowooza.
Kyo kituufu nti, okusinziira ku mpisa y’omu bitundu ebimu, abaami beetegereza bwetegereza bakyala baabwe ne bamanya ebyetaago byabwe era ne bagezaako okubikolako. Kyokka, ne mu bitundu ng’ebyo, abafumbo baganyulwa nnyo singa buli omu abuulira munne ky’ayagala.
Kikulu Nnyo Okwogeraganya
Omuntu bw’ayogera ekimuli ku mutima, omulala tasobola kumutegeera bubi. Ng’ekyokulabirako, okusinziira ku byafaayo by’Abaisiraeri, ab’ekika kya Lewubeeni, Gaadi, n’ekitundu ky’ekika kya Manase abaali babeera ebuvanjuba wa Yoludaani bwe baazimba “ekyoto ekinene” okumpi n’omugga Yoludaani, ebika ebirala byabategeera bubi. Nga balowooza nti baganda baabwe abali ebuvanjuba wa Yoludaani bakoze ekikolwa eky’obwewagguzi, ebika ebyali ebugwanjuba byateekateeka okulumba baganda baabwe abo be baalowooza okuba ‘bakyewaggula.’ Nga tebannabalumba, baasooka kubatumira babaka. Ng’ekyo kyali kya magezi nnyo! Baakizuula nti ekyoto ebika ebyali ebuvanjuba wa Yoludaani kye byali bizimbye tekyali kya kuweererezaako ssaddaaka ezaali zitakkirizibwa mu Mateeka. Baakitegeera nti baakizimba lwa kuba baali beeraliikirira nti mu maaso eyo bazukkulu b’ebika ebiri ebugwanjuba wa Yoludaani bandigambye abaana baabwe nti ‘tebaalina nkolagana na Katonda wa Isiraeri.’ Ekyoto ekyo baali bakikoze bube obujulirwa obulaga nti nabo baali baweereza ba Yakuwa. (Yoswa 22:10-29) N’olw’ensonga eyo, baakiyita Mujulirwa kubanga kyali kikola ng’obujulirwa obulaga nti nabo baali bakimanyi nti Yakuwa ye Katonda w’amazima.—Yoswa 22:34.
Olw’okuba ebika ebyali ebuvanjuba w’omugga Yoludaani byannyonnyola bulungi ensonga lwaki baazimba ekyoto, baganda baabwe ab’ebika ebyali ebugwanjuba tebaabalumba. Yee, okutegeeza abalala endowooza yaabwe kyabawonya ne batabalumba. Nga wayise ekiseera, Isiraeri bwe yajeemera bbaawe ow’akabonero, Yakuwa Katonda, bbaawe eyo yamukwatirwa ekisa n’agamba nti: ‘Ndimugamba ebigambo ebisanyusa.’ (Koseya 2:14) Nga Yakuwa yateerawo abafumbo ekyokulabirako ekirungi! Yee, fuba okunnyonnyola obulungi munno mu bufumbo asobole okutegeera obulungi enneewulira yo. Kino kikulu nnyo naddala ng’ensonga gye mwogerako nkulu nnyo. Munnamawulire omu ow’omu Amerika ayitibwa Pattie Mihalik, yagamba nti “Abamu bagamba nti ebigambo tebigulwa ssente, naye bisobola okuba eby’omuwendo. Era wadde abamu bayinza okukaluubirirwa okwogera ekibali ku mutima, bwe bakyogera ebivaamu bisobola okuba eby’omuwendo ennyo n’okusinga ssente ze baatereka mu banka.”
Okulongoosa mu Ngeri gye Twogeramu n’Abalala
Abafumbo abamu bagamba nti ‘Obufumbo bwaffe bwagaana okuviira ddala ku ntandikwa.’ Ate abalala bagamba nti ‘Obufumbo bwaffe tebusobola kutereera.’ Bayinza okuba n’endowooza nti abantu bwe bamala okufumbiriganwa tekiba kyangu kulongoosa mu ngeri gye boogeramu ne bannaabwe mu bufumbo. Naye, lowooza ku abo ababeera mu bitundu ng’abazadde be balondera abaana baabwe ow’okufumbiriganwa naye. Abafumbo bangi mu bitundu ebyo basobodde okuba n’empuliziganya ennungi mu bufumbo bwabwe.
Enteekateeka zaakolebwa Isaaka ne Lebbeeka okufumbiriganwa. Ibulayimu yatuma omuddu we okutindigga olugendo afunire Isaaka omukyala. Omuddu wa Ibulayimu ne Lebbeeka bwe baasisinkana Isaaka mu nnimiro, omuddu ‘yamubuulira byonna bye yakola.’ Baibuli yeeyongera n’egamba nti: “[Oluvannyuma lw’ekyo, NW] Isaaka n’amuleeta mu weema ya nnyina Saala, n’awasa Lebbeeka, n’aba mukazi we; n’amwagala.” Wadde nga Isaaka omukyala gwe yawasa baamumufunira bufunizi, abafumbo abo baaliwo emyaka nga 4,000 emabega baalina empuliziganya ennungi.—Olubereberye 24:62-67.
Weetegereze nti “oluvannyuma” lw’omuddu okumubuulira ebyo byonna ebyaliwo, Isaaka yawasa Lebbeeka. Omuddu oyo yali mwesigwa era ng’asinza Yakuwa, Katonda wa Isaaka. Bwe kityo, Isaaka yalina esonga ennungi okumwesiga. Okuva olwo, Isaaka ‘yayagala’ Lebbeeka, mukazi we.
Isaaka ne Lebbeeka baasobola okuba n’empuliziganya ennungi? Oluvannyuma lwa Esawu okuwasa bawala ba Keesi babiri, wabalukawo ebizibu eby’amaanyi mu maka. Lebbeeka ‘yagamba’ Isaaka nti: “Obulamu bwange bunkooyesezza olwa bawala ba Keesi. Yakobo [muto we] bw’aliwasa omukazi ku bawala ba Keesi . . . , obulamu bwange bulingasa butya?” (Olubereberye 26:34; 27:46) Kya lwatu, Lebbeeka yabuuliranga Isaaka ebyamuli ku mutima.
Isaaka yagamba Yakobo muganda wa Esawu obutawasa mukazi Mukanani. (Olubereberye 28:1, 2) Kino kiraga nti Lebbeeka yali annyonnyodde bulungi Isaaka enneewulira ye. Abafumbo abo baakubaganya ebirowoozo ku nsonga eyali evaako obuzibu mu maka era ne bagigonjoola. Bwe kityo baatuteerawo ekyokulabirako ekirungi. Ate singa abafumbo tebakkiriziganya ku nsonga emu? Kiki kye bayinza okukola?
Bwe Mufuna Obutakkaanya
Singa ofuna obutakkaanya ne munno mu bufumbo, tosirika busirisi. Bw’omusiriikirira, kibanga ekitegeeza nti toli musanyufu era nti naye toyagala abe musanyufu. Kyokka, munno mu bufumbo ayinza n’obutategeerera ddala ky’oyagala.
Gwe ne munno mu bufumbo kiyinza okubeetaagisa okwogera ku songa ebaviiriddeko obutakkaanya. Ensonga eyo bw’eba nkulu nnyo, kiyinza obutababeerera kyangu kuba bakkakkamu. Ng’ekyokulabirako, bazadde ba Isaaka, Ibulayimu ne Saala nabo baafuna ekizibu mu maka gaabwe. Olw’okuba Saala yali mugumba, yagoberera empisa eyaliwo mu kiseera ekyo, n’agamba Ibulayimu okwegatta ne Agali asobole okumuzaalira omusika. Agali yazaalira Ibulayimu omwana ow’obulenzi, n’amutuma Isimaeri. Kyokka, oluvannyuma Saala yafuna olubuto, naye n’azaalira Ibulayimu omwana ow’obulenzi n’amutuuma Isaaka. Nga Isaaka anaatera okuggibwa ku babeere, Saala yalaba Isimaeri ng’adduulira mutabani we. Saala bwe yalaba nga bajja kufuna obuzibu mu maaso eyo, yagamba Ibulayimu okugoba omuzaana we ne Isimaeri. Yee, Saala yabuulira Ibulayimu ekyamuli ku mutima. Kyokka ekyo Ibulayimu tekyamusanyusa.
Ensonga eyo baagigonjoola batya? Baibuli egamba nti: “Katonda n’agamba Ibulayimu nti Kireme okuba ekizibu mu maaso go olw’omulenzi n’olw’omuzaana wo; mu byonna Saala by’anaakubuuliranga owuliranga eddoboozi lye; kubanga mu Isaaka ezzadde lyo mwe linaayitirwanga.” Bwe kityo, Ibulayimu yakolanga Yakuwa bwe yamugamba.—Olubereberye 16:1-4; 21:1-14.
Oyinza okugamba nti ‘singa Katonda yali ayima mu ggulu n’atubuulira eky’okukola, kyandibadde kyangu okugonjoola ebizibu ebiba bibaluseewo mu maka!’ Kino kitutuusa ku kintu ekirala ekiyinza okutuyamba bwe wabaawo ekizibu mu maka. Ne mu kiseera kino, Yakuwa abuulira abafumbo eky’okukola. Kino akikola atya? Bwe basoma Ekigambo kye ne bakitwala nti ebirimu bulagirizi obuva eri Katonda.—1 Abasessaloniika 2:13.
Omukyala omu Omukristaayo yagamba nti: “Emirundi mingi, omukyala omufumbo bw’antuukirira okumuwa ku magezi ng’afunye ekizibu, mmubuuza oba nga ye n’omwami we babadde basomera wamu Baibuli. Abasinga obungi ku abo abalina obuzibu mu bufumbo bwabwe tebatera kusomera wamu Baibuli.” (Tito 2:3-5) Ekyo omukyala ono kye yayogerako kikulu nnyo. Soma Ekigambo kya Katonda obutayosa ne munno mu bufumbo. Bw’okola bw’otyo, oba ‘owulira’ okubuulirira kwa Katonda ku ngeri gy’osaanidde okweyisaamu buli lunaku. (Isaaya 30:21) Kyokka, tekyandibadde kirungi kukozesa Baibuli kukolokota munno mu bufumbo, nga buli kiseera omulaga ebyawandiikibwa by’alemeddwa okuteeka mu nkola. Mu kifo ky’ekyo, gezaako okulaba engeri mwembi gye musobola okussa mu nkola bye musoma.
Bwe muba n’ekizibu eky’amaanyi kye mwagala okugonjoola, lwaki temunoonyereza mu Watch Tower Publications Indexa mulabe ky’egamba ku nsonga eyo? Oboolyawo, muyinza okuba mulina bazadde bammwe abakaddiye be mulabirira era nga kino kye kivaako obutategeeragana. Mu kifo ky’okudda mu kukaayana ne munno ku ngeri y’okubalabiriramu, lwaki temukebera mu Index ne mufuna amagezi aganaabayamba? Okusooka, mukebere wansi w’omutwe omukulu ogugamba nti “Abazadde.” Mugende ku mitwe emitono egiri wansi w’omutwe omukulu, gamba nga “okulabirira abazadde abakaddiye,” era musome ebitabo by’Abajulirwa ba Yakuwa ebiba bijuliziddwa. Gwe ne munno mu bufumbo mujja kuganyulwa nnyo bwe munaasoma ebitabo ebyo ebyesigamiziddwa ku Baibuli, ebiyambye Abakristaayo bangi.
Bwe musomera awamu ebitabo ebyo, mujja kumanya engeri y’okugonjoolamu ekizibu kyammwe. Mujja kufuna Ebyawandiikibwa ebinaabayamba okufuna endowooza ya Katonda ku nsonga eba ebaleetedde obutakkaanya. Musomere wamu ebitabo ebyo. Yee, Katonda ajja kubawa amagezi ku ngeri y’okugonjoolamu ekizibu kye mulina!
Ssaawo Empuliziganya Ennungi
Wali ogezezzaako okuggulawo oluggi olumaze ekiseera nga teluggulwa? Pata eziba zaatalagga zita era oluggi olwo ne lweggula. Naye, kiba kitya singa oluggi lubadde lukozesebwa era nga pata babadde bazitonnyezaamu oyiro? Kiba kyangu okuggula oluggi olwo. Bwe kityo bwe kiri ne ku mpuliziganya. Singa mutera okunyumya ne munno mu bufumbo, kijja kubanguyira okwogera ku kizibu eky’amaanyi ekiba kizzeewo.
Fuba okutandika emboozi. Wadde kikwetaagisa okuba n’obuvumu, gezaako okukikola. N’ekinaavaamu, mujja kuba n’empuliziganya ennungi ne munno era buli omu ajja kuba ategeera bulungi munne.
[Obugambo obuli wansi]
a Kyakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 7]
Bwe mufuna obutategeeragana, mugezaako okunoonya obulagirizi bwa Katonda?