LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w13 5/15 lup. 14-18
  • Empuliziganya ennungi esobola okunyweza obufumbo

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Empuliziganya ennungi esobola okunyweza obufumbo
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Subheadings
  • Similar Material
  • OKUTEGEERA
  • OKWAGALA
  • OKUWAŊŊANA EKITIIBWA
  • OBWETOOWAZE
  • Okufuna Essanyu mu Bufumbo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2016
  • Obufumbo—Kirabo Okuva eri Katonda
    Engeri gy’Oyinza Okusigala mu Kwagala kwa Katonda
  • Ebisumuluzo Ebibiri eby’Obufumbo Obuwangaazi
    Ekyama eky’Okufuna Essanyu mu Maka
  • Funa Essanyu mu Bufumbo Bwo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
w13 5/15 lup. 14-18

Empuliziganya Ennungi Esobola Okunyweza Obufumbo

“Ekigambo ekyogerwa nga bwe kisaanye kiri ng’amapeera aga zaabu mu bisero ebya ffeeza.”​—NGE. 25:11.

WANDIZZEEMU OTYA?

  • Okutegeera kuyamba kutya omwami n’omukyala okulongoosa mu ngeri buli omu gy’ayogeramu ne munne?

  • Lwaki omwami n’omukyala basaanidde okuwaŋŋana ekitiibwa?

  • Obwetoowaze buyamba butya abafumbo?

1. Okuba n’empuliziganya ennungi kiyambye kitya abafumbo?

OW’OLUGANDA omu abeera mu Canada yagamba nti: “Njagala nnyo okubeera ne mukyala wange okusinga okubeera n’omuntu omulala yenna. Bwe mba ne mukyala wange mba musanyufu nnyo era bwe mba n’ekizibu ne nkimubuulirako, mpulira nga mpewuseeko.” Ate ow’oluganda omulala abeera mu Australia yagamba nti: “Mu myaka 11 gye tumaze mu bufumbo, tewali lunaku na lumu lwali luyiseewo nga soogeddeko na mukyala wange. Empuliziganya ennungi etuyambye okwongera okwesigaŋŋana n’okunyweza obufumbo bwaffe.” Mwannyinaffe omu abeera mu Costa Rica yagamba nti: “Empuliziganya ennungi etuyambye okuba n’essanyu mu bufumbo bwaffe. Ate era etuyambye okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa, okwewala ebikemo, okuba obumu, n’okwongera okwagalana.”

2. Bintu ki ebiyinza okulemesa abafumbo okuba n’empuliziganya ennungi?

2 Ggwe ne mukyala wo oba ne mwami wo mulina empuliziganya ennungi? Kya lwatu nti oluusi empuliziganya wakati wammwe eyinza okujjamu obuzibuzibu. Mwembi temutuukiridde era mulina engeri za njawulo. (Bar. 3:23) Mwakulira mu mbeera za njawulo era n’obuwangwa bwammwe buyinza okuba nga bwa njawulo. Bwe kityo, engeri gye mwogeramu eyinza obutaba y’emu. John M. Gottman ne Nan Silver, abanoonyereza ku nsonga z’obufumbo, baagamba nti: “Abafumbo balina okufuba ennyo bwe baba ab’okuba n’empuliziganya ennungi era bwe baba baagala obufumbo bwabwe buwangaale.”

3. Kiki ekiyambye abafumbo abamu okunyweza obufumbo bwabwe?

3 Omwami n’omukyala kibeetaagisa okufuba ennyo okusobola okunyweza obufumbo bwabwe, naye ekyo bwe bakikola, kibaleetera essanyu lingi. (Mub. 9:9) Lowooza ku Isaaka ne Lebbeeka. (Lub. 24:67) Baamala emyaka mingi nga bafumbo, naye tewali Bayibuli w’ekiragira nti okwagala buli omu kwe yalina eri munne kwakendeera. Waliwo n’abafumbo bangi leero abasobodde okukuuma obufumbo bwabwe nga bunywevu. Kiki kibayambye? Buli omu afuba okubuulira munne ekyo ekimuli ku mutima. Ate era buli omu afuba okwoleka engeri ennungi, gamba ng’okutegeera, okwagala, okuwa abalala ekitiibwa, n’obwetoowaze. Kati ka tulabe engeri okwoleka engeri ezo gye kiyinza okuyamba abafumbo okuba n’empuliziganya ennungi.

OKUTEGEERA

4, 5. Lwaki omwami n’omukyala buli omu asaanidde okutegeera obulungi munne? Waayo ekyokulabirako.

4 Engero 16:20 (NW) wagamba nti: “Omuntu omutegeevu anaalabanga ebirungi.” Ekigambo kya Katonda kituyamba okufuna amagezi n’okutegeera bye twetaaga okusobola okuba n’essanyu mu bufumbo bwaffe. (Soma Engero 24:3.) Ng’ekyokulabirako, Olubereberye 2:18 walaga nti Katonda yatonda omukazi okuba omubeezi asaanira omusajja. Ekyo kiraga nti abasajja balina engeri za njawulo ku z’abakazi era nti buli omu yeetaaga munne. Eyo ye nsonga lwaki engeri abakazi gye boogeramu ya njawulo ku y’abasajja. Abakazi abasinga obungi baagala nnyo okwogera ku nneewulira zaabwe, ku bantu abalala, ne ku nkolagana yaabwe n’abalala. Ate era baagala nnyo abalala okwogera nabo obulungi kubanga ekyo kibaleetera okuwulira nti baagalibwa. Kyokka, bo abasajja tebaagala nnyo kwogera ku nneewulira zaabwe, naye baagala okwogera ku bintu ebigenda mu maaso mu nsi, ku bizibu n’engeri y’okubigonjoolamu. Ate era abasajja baagala nnyo okuweebwa ekitiibwa.

5 Mwannyinaffe omu abeera mu Bungereza yagamba nti: “Bwe mba nnina ekizibu kye mbuulira omwami wange, ayagala nnyo ampe amagezi ku ngeri y’okukigonjoola nga tasoose kumpuliriza na kutegeera bwe mba mpulira. Ekyo kimmalamu nnyo amaanyi.” Omwami omu yagamba nti: “Bwe twali twakafumbiriganwa, nnayanguwanga nnyo okuwa mukyala wange amagezi ku ngeri y’okugonjoolamu ebizibu nga sisoose na kumuwuliriza. Kyokka nnakizuula nti mukyala wange kye yali asinga okwagala kwe kumuwuliriza obulungi.” (Nge. 18:13; Yak. 1:19) Omwami omutegeevu afaayo ku nneewulira za mukyala we era amuyisa mu ngeri emuleetera okuwulira nti amwagala. Ate era afuba okukiraga nti endowooza ya mukyala we n’enneewulira ze abitwala nga bikulu nnyo. (1 Peet. 3:7) Kyokka n’omukyala naye asaanidde okufuba okutegeera endowooza y’omwami we. Omwami n’omukyala bwe bafuba okukolera ku bulagirizi obuli mu Byawandiikibwa, kiyamba obufumbo bwabwe okubaamu essanyu. Ate era kibayamba okuba obumu n’okusalawo mu ngeri ey’amagezi.

6, 7. (a) Omusingi oguli mu Omubuulizi 3:7 guyinza gutya okuyamba abafumbo okuba abategeevu? (b) Omukyala ayinza atya okulaga nti mutegeevu, era kiki omwami ky’asaanidde okufuba okukola?

6 Omwami n’omukyala abategeevu bakimanyi nti waliwo “ekiseera eky’okusirikiramu, n’ekiseera eky’okwogereramu.” (Mub. 3:1, 7) Mwannyinaffe omu amaze emyaka ekkumi mu bufumbo agamba nti: “Bwe mba n’ensonga gye njagala okwogerako n’omwami wange, kati mmanyi ekiseera ekituufu eky’okugireeteramu. Bwe nkiraba nti alina eby’okukola bingi, nninda ekiseera ekituufu ne ndyoka njogera naye. Ekyo kituyambye okuba n’empuliziganya ennungi.” Abakyala abategeevu boogera mu ngeri ey’ekisa kubanga bakimanyi nti ekigambo “ekyogerwa nga bwe kisaanye” kisobola okusikiriza abaami baabwe okubawuliriza.​—Soma Engero 25:11.

Obuntu obutonotono bukola kinene nnyo mu kunyweza obufumbo

7 Omwami Omukristaayo asaanidde okuwuliriza mukyala we n’okumubuulira ekyo ekimuli ku mutima. Omukadde omu amaze emyaka 27 mu bufumbo yagamba nti: “Nfuba nnyo okulaba nti mbuulira mukyala wange ekyo ekindi ku mutima.” Ow’oluganda omulala amaze emyaka 24 mu bufumbo yagamba nti: “Ebiseera ebimu nsirikira ekizibu kye mba nakyo nga ndowooza nti bwe nnaakisirikira, kijja kutuuka ekiseera kiveewo. Naye nkizudde nti okubuulirako mukyala wange ekiba kindi ku mutima tekimmalaamu kitiibwa. Bwe mpulira nga kinkaluubiridde okwogera ne mukyala wange, nsaba Yakuwa annyambe okufuna ebigambo ebituufu eby’okukozesa era annyambe okubyogera obulungi. Ekyo kinnyamba okufuna obuvumu okwogera naye.” Kikulu nnyo omwami n’omukyala okufuna ekiseera ekituufu okwogera ku nsonga yonna eba ezzeewo. Ekyo bayinza okukikola nga bali bokka nga basoma ekyawandiikibwa eky’olunaku oba nga basomera wamu Bayibuli.

8. Kiki ekiyinza okuyamba abafumbo okulongoosa mu ngeri buli omu gy’ayogeramu ne munne?

8 Abafumbo beetaaga okusaba ennyo Yakuwa n’okuba abamalirivu okulongoosa mu ngeri buli omu gy’ayogeramu ne munne. Kyo kituufu nti si kyangu muntu kukyusa ngeri gye yakula ayogeramu, naye omwami n’omukyala bwe baba nga baagala Yakuwa, nga bamusaba abawe omwoyo gwe omutukuvu, era ng’obufumbo bwabwe babutwala nga butukuvu, buli omu ajja kufuba okulongoosa mu ngeri gy’ayogeramu ne munne. Omukyala omu amaze emyaka 26 mu bufumbo yagamba nti: “Nze n’omwami wange obufumbo bwaffe tubutwala ng’ekintu ekikulu ennyo, era tetukirowoozanganako nti ekiseera kirituuka ne twawukana. Ekyo kitukubiriza okufuba okugonjoola buli kizibu kyonna kye tufuna.” Omwami n’omukyala buli omu bw’aba omwesigwa eri munne era ne beemalira ku Katonda, basanyusa Yakuwa era abawa emikisa gye.​—Zab. 127:1.

OKWAGALA

9, 10. Abafumbo bayinza batya okunyweza okwagala buli omu kw’alina eri munne?

9 Okwagala kintu kikulu nnyo mu bufumbo. Bayibuli egamba nti okwagala kwe “kunywereza ddala obumu.” (Bak. 3:14) Omwami n’omukyala buli omu bw’anywerera ku munne mu biseera ebirungi ne mu biseera ebizibu, okwagala kwabwe kweyongera okunywera era buli omu aba ayagala nnyo okubeera ne munne. Omwami n’omukyala okusobola okunyweza obufumbo bwabwe tekibeetaagisa kukola bintu binene nnyo, nga bwe kitera okulagibwa mu firimu. Obuntu obutonotono, gamba ng’okugwa munno mu kifuba, okumwebaza, okumuyiiyizaayo akalabo, okumuteerako akamwenyumwenyu, oba okumubuuza by’ayiseemu mu lunaku bukola kinene nnyo mu kunyweza obufumbo. Omwami n’omukyala abamaze emyaka 19 mu bufumbo bagamba nti bwe baba tebali wamu, beekubira essimu oba beeweereza obubaka ku ssimu buli omu asobole okumanya munne bw’ali.

10 Okwagala era kukubiriza omwami n’omukyala buli omu okwongera okumanya ebikwata ku munne. (Baf. 2:4) Ekyo kibaleetera okwongera okwagalana wadde nga tebatuukiridde. Ekiseera bwe kigenda kiyitawo, enkolagana wakati w’omwami ne mukyala we esaanidde okwongera okunywera. N’olwekyo, bw’oba ng’oli mufumbo, weebuuze: ‘Mukyala wange oba omwami wange mmumanyi bulungi? Ntegeera bulungi enneewulira ze n’endowooza gy’alina ku bintu ebitali bimu? Ntera okulowooza ku munnange, oboolyawo ne ndowooza ne ku bintu ebyansikiriza okumwagala?’

OKUWAŊŊANA EKITIIBWA

11. Lwaki kikulu omwami n’omukyala okuwaŋŋana ekitiibwa? Waayo ekyokulabirako.

11 Obufumbo ne bwe buba nga bulimu essanyu, ebiseera ebimu omwami n’omukyala bayinza okufuna obutategeeragana. Ibulayimu ne Saala nabo oluusi baafunanga obutategeeragana. (Lub. 21:9-11) Naye ekyo tekyaleetera bufumbo bwabwe kusattulukuka. Lwaki? Kubanga buli omu yali awa munne ekitiibwa. Ng’ekyokulabirako, Ibulayimu yayogeranga ne Saala mu ngeri eraga nti yali amuwa ekitiibwa. (Lub. 12:11, 13) Saala naye yagonderanga Ibulayimu era yamutwalanga nga “mukama” we. (Lub. 18:12) Omwami oba omukyala bw’aba nga tawa munne kitiibwa, kiyinza okweyolekera mu ngeri gy’ayogeramu naye n’eddoboozi ly’akozesa ng’ayogera naye. (Nge. 12:18) Singa omwami n’omukyala buli omu aba tawa munne kitiibwa, obufumbo bwabwe buba mu kabi.​—Soma Yakobo 3:7-10, 17, 18.

12. Lwaki abo ababa baakafumbiriganwa balina okufuba ennyo buli omu okwogera ne munne mu ngeri eraga nti amuwa ekitiibwa?

12 Abo ababa baakafumbiriganwa balina okufuba ennyo buli omu okwogera ne munne mu ngeri eraga nti amuwa ekitiibwa. Ekyo kijja kubayamba buli omu okweyabiza munne. Omwami omu yagamba nti: ‘Omusajja n’omukazi bwe baba baakafumbiriganwa, buli omu aba tategeera bulungi nneeyisa ya munne, nneewulira ze, awamu n’ebyetaago bye. Ekyo oluusi kiyinza okubamalako essanyu. Kyokka basobola okusigala nga balina enkolagana ennungi singa buli omu afuba okutegeera obulungi munne era n’asaagasaagangako naye. Ate era bombi kibeetaagisa okuba abeetoowaze, okuba abagumiikiriza, n’okwesiga Yakuwa.’ Ng’ago magezi malungi nnyo!

OBWETOOWAZE

13. Lwaki abafumbo beetaaga okuba abeetoowaze?

13 Abafumbo bwe baba abeetoowaze kibayamba okuba n’empuliziganya ennungi. (1 Peet. 3:8) Ow’oluganda omu amaze emyaka 11 mu bufumbo yagamba nti: ‘Okuba abeetoowaze kiyamba abafumbo okugonjoola ebizibu byabwe mu bwangu, kubanga omuntu omwetoowaze kimwanguyira okugamba munne nti, “Nsonyiwa.”’ Omukadde omu amaze emyaka 20 mu bufumbo yagamba nti: “Ebiseera ebimu okugamba munno nti, ‘Nsonyiwa’ kiba kikulu nnyo n’okusinga okumugamba nti, ‘Nkwagala nnyo.’” Yagattako nti: “Ekimu ku bintu ebiyinza okuyamba omwami n’omukyala okuba abeetoowaze kwe kusaba. Nze ne mukyala wange bwe tusabirako awamu, kituyamba okukijjukira nti tetutuukiridde era nti twetaaga Yakuwa okutulaga ekisa kye. Ekyo kituyamba okutunuulira ebintu mu ngeri entuufu.”

Mufube okuba n’empuliziganya ennungi mu bufumbo bwammwe

14. Lwaki abafumbo basaanidde okwewala amalala?

14 Ku luuyi olulala, singa omwami n’omukyala baba n’amalala, ekyo kisobola okubalemesa okuba n’empuliziganya ennungi n’okugonjoola ebizibu bye bafuna. Omuntu ow’amalala bw’akola ensobi, mu kifo ky’okwetonda, agezaako okwekwasa obusongasonga oba okunenya munne. Omuntu ng’oyo bw’ayisibwa obubi, mu kifo ky’okunoonya emirembe, asalawo okwesasuza oyo aba amunyiizizza, oboolyawo ng’ayogera bubi naye oba ng’amusiriikirira. (Mub. 7:9) Tewali kubuusabuusa nti amalala goonoona obufumbo. Tusaanidde okukijjukira nti “Katonda aziyiza ab’amalala, naye abawombeefu abalaga ekisa eky’ensusso.”​—Yak. 4:6.

15. Okukolera ku magezi agali mu Abeefeso 4:26, 27, kiyinza kitya okuyamba omwami n’omukyala okugonjoola obutategeeragana bwe baba bafunye?

15 Omwami n’omukyala bwe bafuna obutategeeragana, tebasaanidde kukkiriza malala kubalemesa kubugonjoola mu bwangu. Pawulo yagamba Bakristaayo banne nti: “Enjuba eremenga okugwa nga mukyali basunguwavu, era temuwanga Mulyolyomi mwagaanya.” (Bef. 4:26, 27) Singa omwami n’omukyala tebakolera ku magezi ago, basobola okwereetera ennaku ey’amaanyi. Mwannyinaffe omu yagamba nti ye n’omwami we bwe bafuna obutategeeragana ne batakolera ku magezi agali mu Abeefeso 4:26, 27, otulo tumubula! Nga kiba kya magezi nnyo okufuba okugonjoola obutakkaanya amangu ddala nga bwe kisoboka! Omwami n’omukyala oluusi kiyinza okubeetaagisa buli omu okuwa munne ekiseera okukkakkana. Ate era basaanidde n’okusaba Yakuwa abayambe okuba abeetoowaze. Ekyo kijja kubayamba okulowooza ku ngeri y’okugonjoolamu obutategeeragana obuba buzzeewo mu kifo kya buli omu okwerowoozaako yekka, ekintu ekiyinza okwongera okwonoona embeera.​—Soma Abakkolosaayi 3:12, 13.

16. Obwetoowaze buyinza butya okuyamba omwami n’omukyala buli omu okulaba engeri za munne ennungi awamu n’obusobozi bwe?

16 Omwami n’omukyala bwe baba abeetoowaze, kibayamba buli omu okulaba engeri za munne ennungi awamu n’obusobozi bwe. Ng’ekyokulabirako, omukyala ayinza okuba ng’alina obusobozi obw’enjawulo era ng’abukozesa okuganyula amaka. Omwami bw’aba omwetoowaze, takitwala nti alina okusinga mukyala we mu buli kintu, wabula amukubiriza okwongera okukozesa obusobozi bwe obwo. Bw’akola bw’atyo, aba akiraga nti ayagala nnyo mukyala we era nti amutwala nga wa muwendo. (Nge. 31:10, 28; Bef. 5:28, 29) N’omukyala bw’aba omwetoowaze, teyeewaanira ku mwami we olw’okuba alina ebintu by’amusinga okukola obulungi era tamuyisaamu maaso. Olw’okuba bombi bali “omubiri gumu,” singa omu aba wa malala, asobola okulumya munne era naye ne yeerumya.​—Mat. 19:4, 5.

17. Kiki ekiyinza okuyamba obufumbo okubaamu essanyu n’okuweesa Katonda ekitiibwa?

17 Tewali kubuusabuusa nti oyagala obufumbo bwo bube ng’obwa Ibulayimu ne Sara, oba ng’obwa Isaaka ne Lebbeeka. Oyagala obufumbo bwo bubeemu essanyu, buwangaale, era buweese Yakuwa ekitiibwa? Bwe kiba kityo, fuba okutwala obufumbo nga Katonda bw’abutwala. Soma Ekigambo kye osobole okufuna amagezi n’okutegeera. Fuba okulowooza ku ngeri ennungi munno z’alina kikuyambe okwongera okumwagala. (Lu. 8:6) Ate era fuba okuba omwetoowaze n’okuwa munno ekitiibwa. Bw’onookola bw’otyo, obufumbo bwo bujja kukuleetera essanyu era bujja kusanyusa ne Kitaawo ow’omu ggulu. (Nge. 27:11) Mu butuufu, ojja kuwulira ng’ow’oluganda omu amaze emyaka 27 mu bufumbo eyagamba nti: “Mpulira nga sisobola kubeerawo awatali mukyala wange. Buli lukya, obufumbo bwaffe bweyongera okunywera. Ekyo kiri kityo olw’okuba ffembi twagala nnyo Yakuwa era tulina empuliziganya ennungi.”

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share