LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w06 9/1 lup. 22-26
  • Engeri y’Okutuukiriramu Oyo “Awulira Okusaba”

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Engeri y’Okutuukiriramu Oyo “Awulira Okusaba”
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Ebyetaagisa Okusobola Okutuukirira Katonda
  • Wansi w’Endagaano y’Amateeka
  • Wansi w’Enteekateeka y’Ekikristaayo
  • Kusaba Ki Okukkirizibwa?
  • Tuukirira Katonda ng’Oyitira mu Kusaba
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
  • Engeri gy’Oyinza Okusembereramu Katonda
    Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo
  • Enkizo ey’Okusaba Gitwale nga Nkulu Nnyo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
  • ‘Bye Mwagala Mubitegeezenga Katonda’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
w06 9/1 lup. 22-26

Engeri y’Okutuukiriramu Oyo “Awulira Okusaba”

“Ai ggwe awulira okusaba, bonna abalina omubiri balijja gy’oli.”​—ZABBULI 65:2.

1. Kiki ekyawula abantu ku bitonde ebirala, era ekyo kibawa mukisa ki?

MU NKUMI n’enkumi z’ebitonde byonna ebiramu ebiri ku nsi, abantu bokka be basobola okusinza Omutonzi. Abantu bokka be balina obwetaavu obw’eby’omwoyo era be bawulira nga baagala okubukolako. Ekyo kituwa omukisa ogw’enjawulo ogw’okubeera n’enkolagana ey’oku lusegere ne Kitaffe ow’omu ggulu.

2. Ekibi kyakola ki enkolagana omuntu gye yalina n’Omutonzi we?

2 Katonda yatonda omuntu ng’alina obusobozi bw’okumutuukirira mu kusaba. Adamu ne Kaawa baatondebwa nga tebalina kibi. N’olw’ekyo, baali basobola okutuukirira Katonda awatali kutya kwonna ng’omwana bw’atuukirira kitaawe. Kyokka, bwe baayonoona, enkizo eyo ey’ekitalo baagifiirwa. Adamu ne Kaawa baajeemera Katonda era ne bafiirwa enkolagana ey’oku lusegere gye baalina naye. (Olubereberye 3:8-13, 17-24) Kati ekyo kitegeeza nti bazzukulu ba Adamu abatatuukiridde tebakyasobola kwogera ne Katonda? Nedda, Yakuwa akyabakkiriza okumutuukirira singa batuukiriza ebintu ebimu by’abeetaagisa. Ebintu ebyo bye biruwa?

Ebyetaagisa Okusobola Okutuukirira Katonda

3. Abantu abatatuukiridde bayinza batya okutuukirira Katonda, era kyakulabirako ki ekiraga kino?

3 Ekyaliwo ekikwata ku baana ba Adamu ababiri kituyamba okutegeera Katonda kye yeetaaza abantu abatatuukiridde abaagala okumutuukirira. Bombi Kayini ne Abeeri baagezaako okutuukirira Katonda nga bawaayo ssaddaaka. Ekiweebwayo kya Abeeri kyasiimibwa naye ekya Kayini tekyasiimibwa. (Olubereberye 4:3-5) Lwaki kyali bwe kityo? Abaebbulaniya 11:4 lugamba: “Olw’okukkiriza [Abeeri] yawa Katonda ssaddaaka esinga obulungi okukira eya Kayini, eyamutegeezesa okuba n’obutuukirivu.” Kya lwatu, kyetaagisa okubeera n’okukkiriza okusobola okutuukirira Katonda. Ekintu ekirala ekyetaagisa kirabikira mu bigambo Yakuwa bye yagamba Kayini nti: “Bw’onookolanga obulungi, tokkirizibwenga?” Katonda yandikkirizza ssaddaaka ya Kayini singa yakyuka n’akola obulungi. Kyokka, Kayini yagaana okubuulirira kwa Katonda n’atta Abeeri era n’afuuka mmomboze. (Olubereberye 4:7-12) N’olw’ekyo, okuviira ddala ku ntandikwa, kyali kikulu nnyo okuba n’okukkiriza era n’okweyisa obulungi okusobola okutuukirira Katonda.

4. Kiki kye tulina okutegeera ku bikwata ku kutuukirira Katonda?

4 Kikulu nnyo okumanya nti tetutuukiridde bwe tuba twagala okutuukirira Katonda. Abantu bonna bakola ebibi, ate ng’ekibi kitulemesa okutuukirira Katonda. Nnabbi Yeremiya yawandiika bw’ati ku bikwata ku Isiraeri: “Tusobezza era tujeemye . . . Weebisseeko ekire, okusaba kwaffe kuleme okugguka okutuukayo.” (Okukungubaga 3:42, 44) Wadde kiri kityo, mu byafaayo byonna Katonda alaze nti mwetegefu okukkiriza okusaba kw’abo abamutuukirira mu kukkiriza, nga balina omutima omulungi era nga bakwata ebiragiro bye. (Zabbuli 119:145) Abamu ku bantu abo be baani era kiki kye tusobola okuyigira ku kusaba kwabwe?

5, 6. Kiki kye tuyinza okuyigira ku ngeri Ibulayimu gye yatuukiriramu Katonda?

5 Omu ku bantu abo yali Ibulayimu. Katonda yakkiriza okusaba kwe, era Katonda yamuyita “mukwano gwange.” (Isaaya 41:8) Kiki kye tuyigira ku ngeri Ibulayimu gye yatuukiriramu Katonda mu kusaba? Omusajja ono omwesigwa yasaba Yakuwa ku bikwata ku musika, ng’agamba nti: “Onoompa ki, kubanga ntambula nga sirina mwana?” (Olubereberye 15:2, 3; 17:18) Ku mulundi omulala, yayagala okumanya abandiwonyeewo nga Katonda azikiriza ababi mu Sodomu ne Ggomola. (Olubereberye 18:23-33) Era Ibulayimu yasaba ku lw’abalala. (Olubereberye 20:7, 17) Ate nga bwe kyali eri Abeeri, ebiseera ebimu Ibulayimu kyali kimwetaagisa okuwaayo ssaddaaka eri Yakuwa okusobola okumutuukirira.​—Olubereberye 22:9-14.

6 Ku mirundi egyo gyonna, Ibulayimu yali tatya kwogera ne Yakuwa. Wadde kyali kityo, engeri gye yatuukiriramu Katonda yalaga nti yali assa ekitiibwa mu Mutonzi we. Weetegereze ebigambo bye ebiraga obwetoowaze ebiri mu Olubereberye 18:27. Yagamba nti: “Laba nno, ngezezza nze okwogera ne Mukama newakubadde nga ndi nfuufu n’evvu.” Nga kirungi nnyo okukoppa endowooza ng’eyo!

7. Nsonga ki abasajja ab’okukkiriza ze baategeeza Yakuwa mu kusaba?

7 Abantu abaalina okukkiriza baasaba ku nsonga ez’enjawulo, era Yakuwa yawulira okusaba kwabwe. Yakobo yasaba mu ngeri ya kweyama. Oluvannyuma lw’okusaba Katonda amuyambe, yeeyama bw’ati: “Era ku byonna by’onompanga siiremenga okukuwa ggwe ekitundu eky’ekkumi.” (Olubereberye 28:20-22) Oluvannyuma, bwe yali ali kumpi okusisinkana muganda we, Yakobo yeegayirira Yakuwa amukuume, ng’agamba nti: “Mponya mu mukono gwa muganda wange, mu mukono gwa Esawu: kubanga mmutya.” (Olubereberye 32:9-12) Yobu yatuukirira Yakuwa ku lwa b’omu maka ge era n’awaayo ssaddaaka ku lwabwe. Banne ba Yobu bwe baayonoona mu ebyo bye baayogera, Yobu yabasabira era “Mukama n’akkiriza Yobu.” (Yobu 1:5; 42:7-9) Ebyawandiikibwa ebyo bituyamba okumanya ensonga ze tulina okuteeka mu kusaba kwaffe eri Yakuwa. Ate era, tulaba nti Yakuwa mwetegefu okukkiriza okusaba kw’abo abamutuukirira mu ngeri entuufu.

Wansi w’Endagaano y’Amateeka

8. Wansi w’Amateeka ensonga zaategezebwanga zitya Yakuwa mu kusaba ku lw’abantu abalala?

8 Yakuwa bwe yamala okununula eggwanga lya Isiraeri okuva mu Misiri, yabawa Amateeka. Amateeka gaalambika bulungi engeri y’okutuukiriramu Katonda okuyitira mu bakabona. Abaleevi abamu baalondebwa okuweereza nga bakabona ku lw’abantu. Bwe waabalukawo ensonga enkulu ezikwata ku ggwanga lyonna, oyo eyakiikiriranga abantu​—oluusi kabaka oba nnabbi​—yasabanga Katonda ku nsonga eyo. (1 Samwiri 8:21, 22; 14:36-41; Yeremiya 42:1-3) Ng’ekyokulabirako, mu kuwaayo yeekaalu, Kabaka Sulemaani yatuukirira Yakuwa mu kusaba. Ne Yakuwa yalaga nti akkirizza okusaba kwa Sulemaani ng’ajjuza yeekaalu ekitiibwa kye era n’agamba nti: “Amatu gange ganaawuliranga okusaba okunaasabibwanga mu kifo kino.”​—2 Ebyomumirembe 6:12–7:3, 15.

9. Kiki ekyali kyetaagisa okusobola okutuukirira Yakuwa mu yeekaalu?

9 Mu mateeka Yakuwa ge yawa Isiraeri, mwalimu ekyali kyetaagisa okukolebwa okusobola okumutuukirira mu yeekaalu. Kyali ki? Buli ku makya n’akawungeezi, ng’oggyeko okuwaayo ssaddaaka y’ebisolo, kabona omukulu yali yeetaagisibwa okwokya obubaane mu maaso ga Yakuwa. Oluvannyuma, bakabona abalala nabo baayokyanga obubaane okuggyako ku Lunaku olw’Okutangirirako Ebibi. Yakuwa yali tayinza kusiima buweereza bwa bakabona singa baakikolanga mu ngeri etamuweesa kitiibwa.​—Okuva 30:7, 8; 2 Ebyomumirembe 13:11.

10, 11. Bukakafu ki bwe tulina obulaga nti Yakuwa yakkiriza okusaba kw’abantu kinnoomu?

10 Mu Isiraeri ey’edda, Katonda yali asobola okutuukirirwa okuyitira mu abo bokka abaali balondeddwa okukiikirira abantu? Nedda. Ebyawandiikibwa biraga nti Yakuwa yasiimanga okusaba kw’abantu kinnoomu. Mu kusaba kwa Sulemaani nga yeekaalu eweebwayo, yeegayirira Yakuwa ng’agamba nti: “Kyonna kyonna omuntu yenna ky’anaasabanga era kyonna ky’aneegayiriranga oba abantu bo bonna Isiraeri, . . . n’ayanjuluza engalo ze eri ennyumba eno: kale owuliranga ggwe ng’oyima mu ggulu.” (2 Ebyomumirembe 6:29, 30) Ebiri mu kitabo kya Lukka bitutegeeza nti Zaakaliya kitaawe wa Yokaana Omubatiza bwe yali ayoteza obubaane mu yeekaalu, ekibiina ky’abantu ekinene abataali bakabona baali ‘basabira ebweru.’ Awatali kubuusabuusa yali efuuse mpisa abantu okukuŋŋaaniranga ebweru wa yeekaalu ng’eno bakabona bwe booteza Yakuwa obubaane ku kyoto ekya zaabu.​—Lukka 1:8-10.

11 Bwe kityo, Yakuwa bwe yatuukirirwa mu ngeri esaanira, yasiimanga okusaba kw’abo abaakiikiriranga eggwanga lyonna n’okw’abantu kinnoomu. Leero tetukyali wansi w’Endagaano y’Amateeka. Wadde kiri kityo, tulina ebintu ebikulu bye tuyinza okuyigira ku ngeri Abaisiraeri ab’edda gye baatuukirirangamu Katonda mu kusaba.

Wansi w’Enteekateeka y’Ekikristaayo

12. Nteekateeka ki Abakristaayo mwe bayitira okutuukirira Yakuwa?

12 Kati tuli wansi w’enteekateeka y’Ekikristaayo. Tewakyali yeekaalu omuli bakabona abakiikirira abantu ba Katonda bonna oba gye tuyinza okugenda nga twagala okusaba. Wadde kiri kityo, Yakuwa akoze enteekateeka etusobozesa okumutuukirira. Y’eruwa eyo? Kristo bwe yafukibwako amafuta mu 29 C.E. era n’alondebwa nga Kabona Omukulu, yeekaalu ey’eby’omwoyo yatandikibwawo.a Yeekaalu eno ey’eby’omwoyo y’enteekateeka empya etusobozesa okutuukirira Yakuwa mu kusinza nga tusinziira ku ssaddaaka ya Yesu Kristo.​—Abaebbulaniya 9:11, 12.

13. Ku bikwata ku kusaba, kufaanagana ki okuliwo wakati wa yeekaalu eyali mu Yerusaalemi ne yeekaalu ey’eby’omwoyo?

13 Ebintu bingi ebyali mu yeekaalu ey’omu Yerusaalemi byali bisonga ku nteekateeka eza yeekaalu ey’eby’omwoyo, nga mw’otwalidde n’ebyo ebikwata ku kusaba. (Abaebbulaniya 9:1-10) Ng’ekyokulabirako, kiki ekyali kikiikirirwa ekiweebwayo eky’obubaane ekyaweebwangayo buli ku makya n’akawungeezi ku kyoto eky’obubaane mu Awatukuvu mu yeekaalu? Okusinziira ku kitabo kya Okubikkulira, “obubaane kwe kusaba kwa batukuvu.” (Okubikkulirwa 5:8; 8:3, 4) Dawudi yaluŋŋamizibwa okuwandiika nti: ‘Okusaba kwange kuteekebwe mu maaso go ng’obubaane.’ (Zabbuli 141:2) Bwe kityo, mu nteekateeka y’Ekikristaayo obubaane bukiikirira okusaba n’okutendereza Yakuwa.​—1 Abasessaloniika 3:10.

14, 15. Kiki ekiyinza okwogerwa ku ngeri ebibiina bino gye bituukiriramu Yakuwa (a) Abakristaayo abaafukibwako? (b) ‘ab’endiga endala’?

14 Ani ayinza okutuukirira Katonda mu yeekaalu ey’eby’omwoyo? Mu yeekaalu ey’edda, bakabona n’Abaleevi baalina enkizo okuweereza mu luggya olw’omunda, naye bakabona bokka be baali bayinza okuyingira Awatukuvu. Abakristaayo abaafukibwako amafuta abalina essuubi ery’okugenda mu ggulu bali mu mbeera ey’eby’omwoyo ey’enjawulo ekiikirirwa oluggya olw’omunda n’Awatukuvu, era ebasobozesa okusaba n’okutendereza Katonda.

15 Kiri kitya eri abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi, ‘ab’endiga endala’? (Yokaana 10:16) Nnabbi Isaaya yagamba nti abantu okuva mu mawanga mangi bajja kujja okusinza Yakuwa “mu nnaku ez’oluvannyuma.” (Isaaya 2:2, 3) Era yagamba nti, “bannaggwanga” bajja kubeegattako okusinza Yakuwa. Ng’alaga nti mwetegefu okukkiriza okusaba kwabwe, Katonda yagamba: ‘Ndibasanyusa mu nnyumba yange ey’okusabirangamu.’ (Isaaya 56:6, 7) Okubikkulira 7:9-15 zituwa kalonda omulala, nga zoogera ku “kibiina ekinene” okuva mu “mawanga gonna” abakuŋŋaana okusinza n’okusaba Katonda “emisana n’ekiro” nga bayimiridde mu luggya olw’ebweru olwa yeekaalu ey’eby’omwoyo. Nga kizzaamu nnyo amaanyi okumanya nti abaweereza ba Katonda bonna leero basobola okumutuukirira nga bakakafu nti ajja kuwulira okusaba kwabwe!

Kusaba Ki Okukkirizibwa?

16. Kiki kye tuyigira ku kusaba kw’Abakristaayo abaasooka?

16 Abakristaayo abaasooka baanyiikiriranga okusaba. Biki bye baasabanga? Abakadde Abakristaayo baasabanga obulagirizi okusobola okulonda abasajja ab’okuweebwa obuvunaanyizibwa mu kibiina. (Ebikolwa 1:24, 25; 6:5, 6) Epafula yasabanga ku lwa bakkiriza banne. (Abakkolosaayi 4:12) Abo abaali mu kibiina eky’omu Yerusaalemi baasabira Peetero bwe yali mu kkomera. (Ebikolwa 12:5) Abakristaayo abaasooka baasaba Katonda okubawa obuvumu nga baziyizibwa. Baagamba: “Mukama, laba okukanga kwabwe, owe abaddu bo bagume nnyo okwogera ekigambo kyo.” (Ebikolwa 4:23-30) Omuyigirizwa Yakobo yakubiriza Abakristaayo okusaba Katonda okubawa amagezi nga bagezesebwa. (Yakobo 1:5) Oyogera ku bintu ng’ebyo ng’osaba Yakuwa?

17. Yakuwa akkiriza kusaba kw’ani?

17 Katonda takkiriza buli kusaba kwonna. Kati olwo tusobola tutya okukakasa nti okusaba kwaffe kujja kukkirizibwa? Abantu abeesigwa Katonda be yawuliriza mu biseera eby’edda, baamutuukirira mu bwesimbu era nga balina omutima omulungi. Era baalaga okukkiriza okwaliko ebikolwa. Tuyinza okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kuwuliriza abo abamusaba mu ngeri y’emu leero.

18. Abakristaayo beetaaga kukola ki okusaba kwabwe okusobola okuwulirwa?

18 Waliwo ekintu ekirala ekyetaagisa. Kino omutume Pawulo yakinnyonnyola ng’agamba nti: “Ku bw’oyo . . . tulina okusembera kwaffe eri Kitaffe mu [m]woyo omu.” Ani Pawulo gwe yali ayogerako bwe yagamba nti, “ku bw’oyo”? Yali ayogera ku Yesu Kristo. (Abaefeso 2:13, 18) Yee, okuyitira mu Yesu tusobola okutuukirira Kitaffe awatali kutya.​—Yokaana 14:6; 15:16; 16:23, 24.

19. (a) Mu ngeri ki ebiweebwayo eby’obubaane mu Isiraeri gye byali eby’omuzizo eri Yakuwa? (b) Tuyinza tutya okukakasa nti okusaba kwaffe kuba ng’obubaane obuwunya obulungi eri Yakuwa?

19 Nga bwe tumaze okulaba, ekiweebwayo eky’obubaane bakabona Abaisiraeri kye baawangayo kikiikirira okusaba okukkirizibwa okw’abaweereza ba Katonda abeesigwa. Kyokka, ebiseera ebimu, ebiweebwayo eby’obubaane Abaisiraeri bye baawangayo byalinga bya muzizo eri Yakuwa. Bwe kityo bwe kyali Abaisiraeri bwe baayoterezanga obubaane mu yeekaalu ate nga mu kiseera kye kimu bavunnamira ebifaananyi. (Ezeekyeri 8:10, 11) Mu ngeri y’emu leero, n’okusaba kw’abo abeegamba okuweereza Yakuwa naye nga mu kiseera kye kimu beenyigira mu bikolwa ebimenya amateeka ge, kuba ng’evvumbe erimuwunyira obubi. (Engero 15:8) N’olwekyo, ka tweyongere okweyisa mu ngeri ennungi okusaba kwaffe kusobole okubeera ng’obubaane obuwunya obulungi eri Katonda. Yakuwa asanyukira okusaba kw’abo abatambulira mu makubo ge ag’obutuukirivu. (Yokaana 9:31) Kyokka, wakyaliwo ebibuuzo ebirina okuddibwamu. Twandisabye tutya? Lwaki tulina okusaba? Katonda addamu atya okusaba kwaffe? Ebibuuzo ebyo bijja kuddibwamu mu kitundu ekiddako.

[Obugambo obuli wansi]

a Laba The Watchtower, Maayi 15, 2001, olupapula 27.

Oyinza Okunnyonnyola?

• Abantu abatuukiridde bayinza batya okutuukirira Katonda mu ngeri esiimibwa?

• Mu kusaba kwaffe, tuyinza tutya okukoppa abantu abaalina okukkiriza?

• Kiki kye tuyigira ku kusaba kw’Abakristaayo abaasooka?

• Ddi okusaba kwaffe lwe kubeera ng’obubaane obuwunya obulungi eri Katonda?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]

Lwaki Katonda yakkiriza ekiweebwayo kya Abeeri kyokka n’agaana ekya Kayini?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 24]

“Ndi nfuufu bufuufu n’evvu”

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 25]

“Siiremenga kukuwa ggwe ekitundu eky’ekkumi”

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 26]

Okusaba kwo kulinga obubaane obuwunya obulungi obuweebwayo eri Yakuwa?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share