Yeremiya
42 Awo abaduumizi b’eggye bonna, ne Yokanani+ mutabani wa Kaleya, ne Yezaniya mutabani wa Kosaaya, n’abantu bonna, abagagga n’abaavu, n’abato n’abakulu, ne bagenda 2 ne bagamba nnabbi Yeremiya nti: “Tukwegayiridde tukolere kye tukusaba, otusabire eri Yakuwa Katonda wo, osabire bano bonna abasigaddewo, kubanga ku bangi wasigaddewo batono,+ nga bw’olaba. 3 Yakuwa Katonda wo k’atubuulire ekkubo lye tugwanidde okutambuliramu ne kye tugwanidde okukola.”
4 Nnabbi Yeremiya n’abaddamu nti: “Mpulidde kye mugambye, era ŋŋenda kubasabira eri Yakuwa Katonda wammwe nga bwe munsabye; era Yakuwa kyonna ky’anaabaddamu nja kukibabuulira. Sijja kubakisa kigambo kyonna.”
5 Ne bagamba Yeremiya nti: “Yakuwa k’abe omujulirwa omwesigwa era ow’amazima, atubonereze bwe tutaakolere ddala nga Yakuwa Katonda wo bw’anaatulagira okuyitira mu ggwe. 6 Ka kibe nti ky’anaatugamba tukyagala oba tetukyagala, tujja kugondera eddoboozi lya Yakuwa Katonda waffe gye tukutuma, ebintu biryoke bitugendere bulungi olw’okugondera eddoboozi lya Yakuwa Katonda waffe.”
7 Bwe waayitawo ennaku kkumi ekigambo kya Yakuwa ne kijjira Yeremiya. 8 N’ayita Yokanani mutabani wa Kaleya n’abaduumizi b’eggye bonna abaali naye n’abantu bonna, abagagga n’abaavu, n’abato n’abakulu.+ 9 N’abagamba nti: “Bw’ati Yakuwa Katonda wa Isirayiri bw’agamba, gye mwantuma okutwala okusaba kwammwe mu maaso ge: 10 ‘Bwe munaasigala mu nsi eno, nja kubazimba era sijja kubamenya, nja kubasimba era sijja kubasiguukulula kubanga nja kunakuwala* olw’akabi ke mbatuusizzaako.+ 11 Temutekemuka olwa kabaka wa Babulooni gwe mutya.’+
“‘Temumutya,’ Yakuwa bw’agamba, ‘kubanga ndi nammwe; nja kubalokola era nja kubanunula mu mukono gwe. 12 Nja kubasaasira+ era naye ajja kubasaasira abakomyewo mu nsi yammwe.
13 “‘Naye bwe munaagamba nti, “Nedda, tetujja kusigala mu nsi eno!” era ne mutagondera ddoboozi lya Yakuwa Katonda wammwe 14 ne mugamba nti, “Nedda, ffe tujja kugenda mu nsi ya Misiri+ gye tutaasange lutalo, wadde okuwulira eŋŋombe evuga, wadde okulumwa enjala; eyo gye tujja okubeera,” 15 kale nno muwulire ekigambo kya Yakuwa mmwe aba Yuda abasigaddewo. Bw’ati Yakuwa ow’eggye Katonda wa Isirayiri bw’agamba: “Bwe muba nga ddala mumaliridde okugenda e Misiri era ne mugenda okubeera eyo,* 16 ekitala kye mutya kijja kubasangayo mu nsi ya Misiri, n’enjala gye mutya ejja kubagoberera e Misiri, era mujja kufiira eyo.+ 17 Abantu bonna abamaliridde okugenda e Misiri okubeera eyo bajja kufa ekitala, enjala, n’endwadde. Tewali n’omu ajja kuwonawo wadde okusimattuka akabi ke nnaabatuusaako.”’
18 “Kubanga bw’ati Yakuwa ow’eggye Katonda wa Isirayiri bw’agamba: ‘Ng’obusungu bwange n’ekiruyi kyange bwe byafukibwa ku bantu b’omu Yerusaalemi,+ ekiruyi kyange bwe kityo bwe kinaafukibwa ku mmwe bwe munaagenda e Misiri; mujja kufuuka ekikolimo, ekintu eky’entiisa, ekikolimirwa, era ekivume,+ era temuliddamu kulaba kifo kino.’
19 “Yakuwa abagambye mmwe aba Yuda abasigaddewo. Temugenda Misiri. Mukimanye nti mbalabudde leero nti 20 ensobi yammwe ejja kubaleetera okufiirwa obulamu bwammwe. Kubanga mwantuma eri Yakuwa Katonda wammwe nga mugamba nti, ‘Tusabire eri Yakuwa Katonda waffe, era otubuulire buli kimu Yakuwa Katonda waffe ky’anaagamba, era tujja kukikola.’+ 21 Olwa leero mbabuulidde mmwe, naye temujja kugondera ddoboozi lya Yakuwa Katonda wammwe, wadde okukola ekintu kyonna kye yantuma okubagamba.+ 22 Kale mukimanye nti mujja kufa ekitala, enjala, n’endwadde eyo gye mwagala okugenda okubeera.”+