Olina Endowooza ya Yakuwa ku Bintu Ebitukuvu?
“Nga mwegendereza nnyo . . . walemenga okubeerawo omwenzi, oba atasiima bintu bitukuvu.”—ABAEBBULANIYA 12:15, 16, NW.
1. Ndowooza ki eriwo abaweereza ba Yakuwa gye batagoberera?
OKUTWALIRA awamu ensi yeeyongera obutafaayo ku bintu ebitukuvu. Edgar Morin, omufalansa omukugu ku nsonga ezikwata ku bantu yagamba nti: “Ebintu byonna emitindo gy’empisa kwe gyesigamiziddwa—Katonda, obutonde, ensi, ebyafaayo, endowooza—bibuusibwabuusibwa. . . . Abantu be beesalirawo emitindo gy’empisa gye balina okugoberera.” Kino kyoleka ‘omwoyo gw’ensi,’ oba “omwoyo ogukoza kaakano mu baana abatawulira.” (1 Abakkolinso 2:12; Abaefeso 2:2) Abo abeewaayo eri Yakuwa era ne basalawo kyeyagalire okugondera obufuzi bwe, tebagoberera mwoyo ogwo ogw’obujeemu. (Abaruumi 12:1, 2) Abaweereza ba Katonda bamanyi bulungi nnyo ekifo ekikulu obutukuvu kye bulina mu kusinza kwabwe eri Yakuwa. Bintu ki mu bulamu bwaffe bye twanditutte ng’ebitukuvu? Ekitundu kino kijja kwogera ku bintu bitaano abaweereza ba Katonda bye batwala ng’ebitukuvu. Ekitundu ekiddako kijja kuteeka essira ku butukuvu bw’enkuŋŋaana zaffe ez’Ekikristaayo. Naye ekigambo “obutukuvu” ddala kitegeeza ki?
2, 3. (a) Ebyawandiikibwa biraga bitya obutukuvu bwa Yakuwa? (b) Tuyinza tutya okutwala erinnya lya Yakuwa ng’ekintu ekitukuvu?
2 Mu Lwebbulaniya olwakozesebwa okuwandiika Baibuli, ekigambo “obutukuvu” kirina amakulu g’okwawulibwawo. Mu kusinza, “obutukuvu” bukwata ku kintu ekyawuliddwa ku bintu ebya bulijjo. Yakuwa mutukuvu mu buli ngeri yonna. Ayitibwa “[Asingayo Okuba] Omutukuvu.” (Engero 9:10; 30:3) Mu Isiraeri ey’edda, kabona omukulu yateekanga akapande aka zzaabu ku kiremba kye nga kaliko ebigambo ‘Obutukuvu bwa Mukama.’ (Okuva 28:36, 37) Bakerubi ne basseraafi ab’omu ggulu abayimiridde okumpi n’entebe ya Yakuwa boogerwako mu Byawandiikibwa nga bagamba nti: “Mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu, Mukama.” (Isaaya 6:2, 3; Okubikkulirwa 4:6-8) Okudiŋŋana ekigambo ekyo kiraga nti Yakuwa mutukuvu ku kigero ekisingirayo ddala, muyonjo, era mulongoofu. Mu butuufu, ye Nsibuko y’obutukuvu.
3 Erinnya lya Yakuwa tukuvu. Omuwandiisi wa zabbuli yagamba: “Batendereze erinnya lyo ekkulu era ery’entiisa. Ye mutukuvu.” (Zabbuli 99:3) Yesu yatuyigiriza okusaba: “Kitaffe ali mu ggulu, Erinnya lyo litukuzibwe.” (Matayo 6:9) Maama wa Yesu, Malyamu, yagamba nti: “Emmeeme yange etendereza Mukama . . . Omuyinza ankoledde ebikulu; n’erinnya lye ttukuvu.” (Lukka 1:46, 49) Ng’abaweereza ba Yakuwa, erinnya lye tulitwala ng’ekintu ekitukuvu era twewala okukola ekintu kyonna ekiyinza okuleeta ekivume ku linnya eryo ettukuvu. Ate era, tulina endowooza ya Yakuwa ku butukuvu, kwe kugamba, ebintu by’atwala ng’ebitukuvu naffe tubitwala nga bitukuvu.—Amosi 5:14, 15.
Ensonga Lwaki Yesu Tumussaamu Nnyo Ekitiibwa
4. Lwaki Baibuli eyita Yesu ‘Omutukuvu wa Katonda’?
4 Okuva bw’ali omwana “eyazaalibwa omu yekka” owa Yakuwa Katonda omutukuvu, Yesu yatondebwa nga mutukuvu. (Yokaana 1:14; Abakkolosaayi 1:15; Abaebbulaniya 1:1-3) N’olwekyo, ayitibwa ‘Omutukuvu wa Katonda.’ (Yokaana 6:69) Yasigala nga mutukuvu bwe yava mu ggulu n’azaalibwa ku nsi ng’omuntu, kubanga amaanyi g’omwoyo omutukuvu ge gaasobozesa Malyamu okuzaala Yesu. Malayika yagamba Malyamu nti: “Omwoyo Omutukuvu alikujjira, . . . ekyo ekirizaalibwa kye kiriva kiyitibwa ekitukuvu, Omwana wa Katonda.” (Lukka 1:35) Abakristaayo mu Yerusaalemi bwe baali basaba Yakuwa , emirundi ebiri baayogera ku Mwana wa Katonda nga “[o]mulenzi wo omutukuvu Yesu.”—Ebikolwa 4:27, 30.
5. Mulimu ki omutukuvu Yesu gwe yatuukiriza ku nsi, era lwaki omusaayi gwe gwa muwendo?
5 Yesu yalina omulimu omutukuvu ogw’okukola ng’ali ku nsi. Ku kubatizibwa kwe mu mwaka 29 C.E., Yesu yafukibwako amafuta okuba Kabona Omukulu mu yeekaalu ya Yakuwa enkulu ey’eby’omwoyo. (Lukka 3:21, 22; Abaebbulaniya 7:26; 8:1, 2) Ate era yalina okuwaayo obulamu bwe nga ssaddaaka. Omusaayi gwe ogwayiibwa gwali gwa kuba ekinunulo abantu aboonoonyi mwe bandiyitidde okulokolebwa. (Matayo 20:28; Abaebbulaniya 9:14) N’olw’ekyo, omusaayi gwa Yesu tugutwala ng’ekintu ekitukuvu, ‘eky’omuwendo.’—1 Peetero 1:19.
6. Ndowooza ki gye tulina ku Yesu Kristo, era lwaki?
6 Ng’alaga nti Yesu Kristo tumussaamu nnyo ekitiibwa nga Kabaka waffe era Kabona Asinga Obukulu, omutume Pawulo yagamba nti: “Katonda kyeyava amugulumiza ennyo n’amuwa erinnya liri erisinga amannya gonna; buli vviivi lifukaamirirenga erinnya lya Yesu, ery’eby’omu ggulu n’eby’oku nsi n’ebya wansi w’ensi, era buli lulimi lwatulenga nga Yesu Kristo ye Mukama waffe, Katonda kitaffe aweebwe ekitiibwa.” (Abafiripi 2:9-11) Tulaga nti tulina endowooza ya Yakuwa ku bintu ebitukuvu nga tugondera Omukulembeze waffe era Kabaka, Yesu Kristo, Omutwe gw’ekibiina Ekikristaayo.—Matayo 23:10; Abakkolosaayi 1:18.
7. Tulaga tutya nti tugondera Kristo?
7 Okugondera Kristo era kuzingiramu okussa ekitiibwa mu basajja b’akozesa okutwala obukulembeze mu mulimu ye kennyini gw’akulembera. Omulimu ogukolebwa abo abaafukibwako amafuta abali ku Kakiiko Akafuzi era n’ogw’abo be balonda okuweereza ku matabi, ng’abalabirizi ba disitulikiti, ng’abalabirizi ab’ebitundu era ng’abakadde mu bibiina, gulina okutwalibwa nga mutukuvu. N’olwekyo, tugwanidde okubassaamu ekitiibwa n’okubagondera.—Abaebbulaniya 13:7, 17.
Abantu Abatukuvu
8, 9. (a) Mu ngeri ki Abaisiraeri gye baali abantu abatukuvu? (b) Yakuwa yayamba atya Abaisiraeri okutegeera omusingi gw’obutukuvu?
8 Yakuwa yakola endagaano ne Isiraeri. Endagaano eno yafuula eggwanga eryo okuba ery’enjawulo. Baatukuzibwa, oba baayawulibwawo. Yakuwa kennyini yabagamba: “Munaabanga batukuvu: kubanga nze Mukama Katonda wammwe ndi mutukuvu; era nabaawula mu mawanga mubeere abange.”—Eby’Abaleevi 19:2; 20:26.
9 Ku kutondebwawo kw’eggwanga lya Isiraeri, Yakuwa yabayamba okutegeera omusingi gw’obutukuvu. Olw’okuba kyali kiyinza okubaviirako okuttibwa, baali tebayinza wadde okukwata ku lusozi kwe baaweerwa Amateeka Ekkumi. Mu kiseera ekyo, Olusozi Sinaayi lwali lutwalibwa ng’olutukuvu. (Okuva 19:12, 23) Obwakabona, eweema n’ebyalimu byonna byali birina okutwalibwa ng’ebitukuvu. (Okuva 30:26-30) Embeera eri etya mu kibiina Ekikristaayo?
10, 11. Lwaki kiyinza okugambibwa nti ekibiina ky’Abakristaayo abaafukibwako amafuta batukuvu, era ekyo kikwata kitya ku ‘b’endiga endala’?
10 Ekibiina ky’Abakristaayo abaafukibwako amafuta kitukuvu mu maaso ga Yakuwa. (1 Abakkolinso 1:2) Mu butuufu, ekibiina kyonna eky’Abakristaayo abaafukibwako amafuta ekiseera kyonna we babeerera ku nsi, bageraageranyizibwa ku yeekaalu entukuvu, wadde nga bo bennyini si ye yeekaalu ya Yakuwa enkulu ey’eby’omwoyo. Yakuwa abeera mu Yeekaalu eyo okuyitira mu mwoyo gwe omutukuvu. Omutume Pawulo yawandiika nti: “Mu oyo [Kristo Yesu] buli nnyumba yonna, bw’egattibwa obulungi, ekula okubeeranga yeekaalu entukuvu mu Mukama waffe; mu oyo era nammwe muzimbibwa wamu okubeeranga ekisulo kya Katonda mu Mwoyo.”—Abaefeso 2:21, 22; 1 Peetero 2:5, 9.
11 Ate era Pawulo yagamba bw’ati Abakristaayo abaafukibwako amafuta: “Temumanyi nga muli yeekaalu ya Katonda, era nga Omwoyo gwa Katonda abeera mu mmwe? . . . yeekaalu ya Katonda ntukuvu: ye mmwe.” (1 Abakkolinso 3:16, 17) Okuyitira mu mwoyo gwe, Yakuwa ‘abeera’ mu baafukibwako amafuta era ‘atambulira mu bo.’ (2 Abakkolinso 6:16) Bulijjo awa “omuddu” omwesigwa obulagirizi. (Matayo 24:45-47) ‘Ab’endiga endala’ basiima enkizo gye balina ey’okukolaganira awamu n’ekibiina ky’abaafukibwako amafuta.—Yokaana 10:16; Matayo 25:37-40.
Ebintu Ebitukuvu mu Bulamu Bwaffe obw’Ekikristaayo
12. Bintu ki ebitukuvu mu bulamu bwaffe era lwaki?
12 Tekyewuunyisa nti, ebintu bingi ebikwata ku bulamu bw’abaafukibwako amafuta abali mu kibiina Ekikristaayo ne bannaabwe ab’endiga endala bitwalibwa nga bitukuvu. Enkolagana yaffe ne Yakuwa kintu kitukuvu. (1 Ebyomumirembe 28:9; Zabbuli 36:7) Ya muwendo nnyo gye tuli ne kiba nti tetukkiriza kintu kyonna oba muntu yenna kugyonoona. (2 Ebyomumirembe 15:2; Yakobo 4:7, 8) Okusaba kukulu nnyo mu kunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa. Okusaba kwali kutukuvu nnyo eri nnabbi Danyeri ne kiba nti yeeyongera okusaba Yakuwa ng’empisa ye bwe yali, wadde ng’ekyo kyali kiteeka obulamu mu bwe mu kabi. (Danyeri 6:7-11) ‘Okusaba kw’abatukuvu,’ oba okw’Abakristaayo abaafukibwako amafuta, kugeraageranyizibwa ku bubaane obwakozesebwanga mu kusinza Yakuwa mu yeekaalu. (Okubikkulirwa 5:8; 8:3, 4; Eby’Abaleevi 16:12, 13) Olulimi olwo olw’akabonero lulaga nti okusaba kutukuvu nnyo. Nga nkizo ya maanyi okwogera n’omufuzi w’obutonde bwonna! Awatali kubuusabuusa, okusaba kintu kitukuvu mu bulamu bwaffe.
13. Maanyi ki amatukuvu, era tuyinza tutya okugaleka ne gakolera mu bulamu bwaffe?
13 Waliwo amaanyi Abakristaayo abaafukibwako amafuta ne bannaabwe ab’endiga endala ge beeyambisa era bagatwala nga matukuvu—omwoyo omutukuvu. Omwoyo ogwo ge maanyi Yakuwa Katonda g’akozesa era okuva bwe kiri nti Katonda omutukuvu g’akozesa okukola by’ayagala, gasaanidde okuyitibwa “[o]mwoyo [o]mutukuvu,” oba “omwoyo gw’obutukuvu.” (Yokaana 14:26; Abaruumi 1:4) Okuyitira mu mwoyo omutukuvu, Yakuwa awa abaweereza be amaanyi okubuulira amawulire amalungi. (Ebikolwa 1:8; 4:31) Yakuwa awa omwoyo gwe abo “abamugondera [ng’omufuzi],” n’abo ‘abatambula ku bw’omwoyo,’ naye taguwa abo abalina okwegomba okw’omubiri. (Ebikolwa 5:32; Abaggalatiya 5:16, 25; Abaruumi 8:5-8) Amaanyi gano gayamba Abakristaayo okubala “ebibala by’[o]mwoyo”—engeri ennungi—era ‘n’empisa entukuvu n’okutyanga Katonda.’ (Abaggalatiya 5:22, 23; 2 Peetero 3:11) Singa tutwala omwoyo omutukuvu ng’ekintu ekitukuvu, tujja kwewala okukola ekintu kyonna ekiyinza okugunakuwaza oba okugulemesa okukolera mu bulamu bwaffe.—Abaefeso 4:30.
14. Nkizo ki abaafukibwako amafuta gye batwala ng’entukuvu, era ab’endiga endala bagabana batya enkizo eyo?
14 Enkizo gye tulina ey’okuyitibwa erinnya lya Yakuwa Katonda omutukuvu, era n’okubeera Abajulirwa be, kye kintu ekirala kye twanditutte ng’ekitukuvu. (Isaaya 43:10-12, 15) Abakristaayo abaafukibwako amafuta, Yakuwa yabalonda okubeera “abaweereza b’endagaano empya.” (2 Abakkolinso 3:5, 6) N’olwekyo, baaweebwa omulimu gw’okubuulira ‘amawulire amalungi ag’obwakabaka’ era ‘n’okufuula amawanga gonna abayigirizwa.’ (Matayo 24:14; 28:19, 20) Omulimu ogwo bagukola n’obwesigwa era obukadde n’obukadde bw’abantu abalinga endiga, mu ngeri ey’akabonero bagamba abaafukibwako amafuta nti: “Tuligenda nammwe; kubanga tuwulidde nti Katonda ali nammwe.” (Zekkaliya 8:23) Mu ngeri ey’eby’omwoyo, bakola ‘ng’abalimi’ era ‘abalongoosa emizabbibu’ ku ‘lw’abaweereza ba Katonda’ abaafukibwako amafuta. Mu ngeri eyo, ab’endiga endala bayamba nnyo abaafukibwako amafuta okutuukiriza obuweereza bwabwe mu nsi yonna.—Isaaya 61:5, 6.
15. Mulimu ki Pawulo gwe yatwala ng’omutukuvu era lwaki naffe tulina okuba n’endowooza y’emu?
15 Omutume Pawulo yatwala obuweereza obw’omu lujjudde ng’ekintu ekitukuvu. Yeeyogerako nga ‘omuweereza wa Kristo eri ab’amawanga akola omulimu omutukuvu ogw’okubuulira enjiri ya Katonda.’ (Abaruumi 15:16) Ng’awandiikira Abakristaayo ab’omu Kkolinso, Pawulo yayogera ku buweereza bwe ng’ekintu ‘eky’obugagga.’ (2 Abakkolinso 4:1, 7) Okuyitira mu buweereza bwaffe tumanyisa abantu ‘ebiragiro bya Katonda ebitukuvu.’ (1 Peetero 4:11) N’olwekyo, ka tube nga tuli abaafukibwako amafuta oba ab’endiga endala, tugitwala nga nkizo okwenyigira mu mulimu ogw’okuwa obujulirwa.
‘Okutuukiriza Obutukuvu mu Kutya Katonda’
16. Kiki ekijja okutuyamba okwewala okubeera ‘abantu abatasiima bintu bitukuvu’?
16 Omutume Pawulo yalabula Bakristaayo banne obutabeera bantu ‘abatasiima bintu bitukuvu.’ Naye, yabakubiriza ‘okugoberera obutukuvu,’ era ‘n’okwegendereza waleme okubalukawo ekikolo eky’obusagwa mu bo ne kireetawo emitawaana era ne kiviirako bangi okwonoonebwa.’ (Abaebbulaniya 12:14-16, NW) Ebigambo ‘ekikolo eky’obusagwa’ kitegeeza abantu abamu mu kibiina Ekikristaayo abeemulugunya olw’engeri ebintu gye bikolebwamu. Ng’ekyokulabirako, bayinza okuwakanya endowooza ya Yakuwa ku butukuvu bw’obufumbo oba obwetaavu bw’okubeera abayonjo mu mpisa. (1 Abasessaloniika 4:3-7; Abaebbulaniya 13:4) Oba bayinza okwogera oba okusaasaanya endowooza za bakyewaggula, kwe kugamba, ‘ebigambo ebitaliimu ebitassaamu Katonda kitiibwa,’ eby’abo ‘abaakyama ne bava ku mazima.’—2 Timoseewo 2:16-18.
17. Lwaki kyetaagisa abaafukibwako amafuta okufuba buli kiseera okusobola okwoleka endowooza ya Yakuwa ku butukuvu?
17 Pawulo yawandiikira bw’ati baganda be abaafukibwako amafuta: “Abaagalwa, twenaazengako obugwagwa bwonna obw’omubiri n’obw’omwoyo, nga tutuukiriza obutukuvu mu kutya Katonda.” (2 Abakkolinso 7:1) Ebigambo ebyo biraga nti Abakristaayo abaafukibwako amafuta, “abalina omugabo mu kuyitibwa okw’omu ggulu,” bateekwa okufuba buli kiseera okulaga nti booleka endowooza ya Yakuwa ku butukuvu mu mbeera zonna ez’obulamu bwabwe. (Abaebbulaniya 3:1) Mu ngeri y’emu, omutume Peetero yakubiriza bw’ati baganda be abaafukibwako amafuta: “Ng’abaana abagonda, nga temwefaananya okwegomba okw’edda okw’omu butamanya bwammwe: Naye ng’oyo eyabayita bw’ali omutukuvu era nammwe mubeerenga batukuvu mu mpisa zonna.”—1 Peetero 1:14, 15.
18, 19. (a) ‘Ab’ekibiina ekinene’ balaga batya nti balina endowooza ya Yakuwa ku bintu ebitukuvu? (b) Kintu ki ekirala ekitukuvu mu bulamu bw’Abakristaayo ekijja okwogerwako mu kitundu ekiddako?
18 Kiri kitya eri ‘ab’ekibiina ekinene,’ abajja okuwonawo ku ‘kibonyoobonyo ekinene’? Nabo balina okulaga nti balina endowooza ya Yakuwa ku bintu ebitukuvu. Mu kitabo ky’Okubikkulirwa boogerwako ng’abeenyigira mu ‘kuweereza okutukuvu’ mu luggya lwa yeekaalu ye ey’eby’omwoyo ku nsi. Bakkiririza mu kinunulo kya Kristo, era mu ngeri ey’akabonero “bayoza ebyambalo byabwe, ne babitukuza mu musaayi gw’Omwana gw’endiga.” (Okubikkulirwa 7:9, 14, 15) Kino kibasobozesa okuba n’ennyimirira ennungi mu maaso ga Yakuwa era kibawa n’obuvunaanyizibwa ‘okwenaazangako obugwagwa bwonna obw’omubiri n’obw’omwoyo, nga batuukiriza obutukuvu mu kutya Katonda.’
19 Ekintu ekikulu mu bulamu bw’Abakristaayo abaafukibwako amafuta ne bannaabwe ab’ekibiina ekinene, bwe butayosa kukuŋŋaana wamu kusinza Yakuwa n’okusoma Ekigambo kye. Yakuwa atwala enkuŋŋaana z’abantu be ng’ekintu ekitukuvu. Mu kitundu ekiddako tujja kulaba mu ngeri ki era lwaki twandibadde n’endowooza ya Yakuwa ku nkuŋŋaana.
Okwejjukanya
• Ndowooza ki ey’ensi abaweereza ba Yakuwa gye batalina?
• Lwaki Yakuwa y’Ensibuko ya buli kintu ekitukuvu?
• Tulaga tutya nti tussa ekitiibwa mu butukuvu bwa Kristo?
• Bintu ki bye tusaanidde okutwala ng’ebitukuvu mu bulamu bwaffe?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]
Mu Isiraeri ey’edda obwakabona, weema n’ebyagirimu byatwalibwa nga bintu bitukuvu
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 24]
Abakristaayo abaafukibwako amafuta abali ku nsi be bakola yeekaalu entukuvu
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 25]
Okusaba n’obuweereza obw’omu lujjudde bintu bitukuvu