LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • cl sul. 3 lup. 30-41
  • “Mutukuvu, Mutukuvu, Mutukuvu Yakuwa”

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • “Mutukuvu, Mutukuvu, Mutukuvu Yakuwa”
  • Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Obutukuvu Kye Ki?
  • “Obutukuvu bwa Yakuwa”
  • Erinnya Ettukuvu, Omwoyo Omutukuvu
  • Obutukuvu bwa Yakuwa Butuleetera Okumusemberera
  • Noonya “Obutukuvu mu Kutya Katonda”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • “Mubenga Batukuvu”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2021
  • Weeyongere Okutambulira mu ‘Kkubo ery’Obutukuvu’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
  • Okuba Omutukuvu Kitegeeza Ki?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
See More
Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
cl sul. 3 lup. 30-41
Ekiyiriro ky’amazzi ekirabika obulungi nga kyetooloddwa emiti emiwanvu n’ensozi.

ESSUULA 3

‘Mutukuvu, Mutukuvu, Mutukuvu Yakuwa’

1, 2. Nnabbi Isaaya yafuna kwolesebwa ki, era kutuyigiriza ki ku Yakuwa?

ISAAYA yawuniikirira nnyo olw’ebyo Katonda bye yamwolesa. Byalabika nga bya ddala! Oluvannyuma Isaaya yawandiika nti ‘yalaba Yakuwa’ ku ntebe ye ey’ekitiibwa ey’Obwakabaka. Ebyambalo bya Yakuwa ebiwanvu byabuna yeekaalu ey’omu Yerusaalemi.—Isaaya 6:1, 2.

2 Era Isaaya yawuniikirira olw’ebyo bye yawulira. Yawulira okuyimba okw’amaanyi ennyo okwayuugumya ne yeekaalu. Okuyimba okwo kwali kwa basseraafi, ebitonde eby’omwoyo ebiri ku ddaala erya waggulu. Baayimba bulungi mu ddoboozi ery’omwanguka ebigambo bino: “Mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu, Yakuwa ow’eggye. Ensi yonna ejjudde ekitiibwa kye.” (Isaaya 6:3, 4) Ekigambo “mutukuvu” kyaggumizibwa bwe kyaddibwamu emirundi esatu. Ekyo kyali kituukirawo, kubanga Yakuwa mutukuvu ku kigero ekisingirayo ddala. (Okubikkulirwa 4:8) Obutukuvu bwa Yakuwa bwogerwako nnyo Bayibuli. Mu Bayibuli mulimu ebikumi n’ebikumi by’ennyiriri ezikwataganya erinnya lye ‘n’obutukuvu.’

3. Endowooza enkyamu ku butukuvu bwa Katonda zireetera zitya abamu okwesamba Katonda mu kifo ky’okufuna enkolagana ennungi naye?

3 N’olwekyo, ekimu ku bintu ebikulu Yakuwa by’ayagala tutegeere kiri nti mutukuvu. Kyokka bangi ekyo tekibasikiriza. Abamu mu bukyamu bakwataganya obutukuvu n’abeetwala okuba abatuukirivu oba abanyiikivu mu by’eddiini. Abantu abeetwala nti tebalina mugaso, obutukuvu bwa Katonda buyinza okubamalamu amaanyi mu kifo ky’okubasikiriza. Bayinza okulowooza nti tebayinza kuba na nkolagana nnungi ne Katonda oyo omutukuvu. Bwe kityo, bangi beesamba Katonda olw’okuba mutukuvu. Ekyo kya nnaku, kubanga obutukuvu bwa Katonda bwandibadde buleetera omuntu okwagala okufuna enkolagana ennungi naye. Lwaki? Nga tetunaddamu kibuuzo ekyo, ka twekenneenye obutukuvu obwa nnamaddala kye butegeeza.

Obutukuvu Kye Ki?

4, 5. (a) Obutukuvu butegeeza ki, era kiki kye butategeeza? (b) Yakuwa ‘yeeyawudde’ mu ngeri ki ebbiri enkulu?

4 Katonda okubeera omutukuvu tekitegeeza nti wa malala, oba anyooma abalala. Mu butuufu, akyawa engeri ezo. (Engero 16:5; Yakobo 4:6) Kati olwo, ekigambo ‘obutukuvu’ kitegeeza ki? Mu Lwebbulaniya olwakozesebwa mu Bayibuli, ekigambo ekyo kivvuunulwa okuva mu kigambo ekitegeeza “okwawulawo.” Mu kusinza, ekintu ‘ekitukuvu’ kiba kyawuliddwa ku bintu ebya bulijjo. Era ekigambo ‘obutukuvu’ kirimu amakulu g’obuyonjo n’obulongoofu. Ekigambo kino kikwataganyizibwa kitya ne Yakuwa? Kitegeeza nti ‘yeeyawudde’ ku bantu abatatuukiride, era nti abali wala nnyo?

5 N’akatono. Yakuwa “Omutukuvu wa Isirayiri,” yakakasa abantu be nti yali wakati mu bo, wadde nga baali boonoonyi. (Isaaya 12:6; Koseya 11:9) N’olwekyo, obutukuvu bwe tebumuleetera kutwesamba. Kati olwo, ‘yeeyawudde’ atya? Mu ngeri bbiri enkulu. Esooka: Yeeyawudde ku bitonde byonna mu ngeri nti y’Asingayo Okuba Waggulu. Obulongoofu n’obuyonjo bwe, bujjuvu era tebukoma. (Zabbuli 40:5; 83:18) Ey’okubiri: Yakuwa yeeyawudde ku butali butuukirivu bwonna, era ekyo kituzzaamu nnyo amaanyi. Lwaki?

6. Lwaki kituzzaamu amaanyi okukimanya nti Yakuwa yeeyawulidde ddala ku butali butuukirivu bwonna?

6 Obutukuvu obwa nnamaddala bwa kkekwa mu nsi gye tulimu. Mu ngeri emu oba endala, buli kintu ekikwatagana n’abantu abeeyawudde ku Katonda, kyonoonefu era tekituukiridde. Ffenna tumeggana n’ekibi kye twasikira. Era ffenna tuyinza okutwalirizibwa ekibi singa tetwegendereza. (Abaruumi 7:15-25; 1 Abakkolinso 10:12) Yakuwa ye bw’atyo si bw’ali. Olw’okuba yeeyawulidde ddala ku butali butuukirivu bwonna, tayinza n’akamu kutwalirizibwa kibi. Kino kyongera okukakasa nti Yakuwa Kitaffe mulungi, kubanga yeesigika mu buli kimu. Okwawukana ku bataata bangi, Yakuwa tayinza kwonooneka mpisa oba okulumya abalala, olw’okuba mutukuvu. Emirundi egimu Yakuwa yalayira ng’asinziira ku butukuvu bwe, era ekyo kifuula ebirayiro bye okuba ebyesigika. (Amosi 4:2) Ekyo nga kizzaamu nnyo amaanyi!

7. Lwaki kiyinza okugambibwa nti Yakuwa mutukuvu mu buli mbeera?

7 Yakuwa mutukuvu mu buli mbeera. Ekyo kitegeeza ki? Ng’ekyokulabirako, lowooza ku bigambo ‘omuntu’ ne ‘obutali butuukirivu.’ Toyinza kwogera ku bantu nga tolowoozezza ku butali butuukirivu. Obutali butuukirivu bweyoleka mu buli kintu kyonna kye tukola. Kati lowooza ku bigambo bino bibiri ebyawufu ennyo, “Yakuwa” ne “obutukuvu.” Obutukuvu bweyolekera mu Yakuwa. Buli ekimukwatako kiyonjo era kirongoofu. Tetuyinza kumanyira ddala Yakuwa ky’ali okuggyako nga tutegedde bulungi amakulu g’ekigambo “obutukuvu.”

“Obutukuvu bwa Yakuwa”

8, 9. Kiki ekiraga nti Yakuwa ayamba abantu abatatuukiridde okufuuka abatukuvu wadde nga si ku kigero ng’ekikye?

8 Okuva obutukuvu bwe bweyolekera mu Yakuwa, kiyinza okugambibwa nti ye nsibuko y’obutukuvu. Naye Yakuwa engeri eno ey’omuwendo agiwa n’abalala, era agibawa mu bungi. Katonda bwe yayogera ne Musa okuyitira mu malayika mu kisaka ekyali kyaka, n’ettaka eryali lyetooloddewo lyafuuka ttukuvu!—Okuva 3:5.

9 Yakuwa asobola okuyamba abantu abatatuukiridde nabo ne bafuuka abatukuvu? Yee, naye si ku kigero ky’aliko. Katonda yasuubiza Abayisirayiri nti baali basobola okufuuka “eggwanga ettukuvu.” (Okuva 19:6) Yateekerawo eggwanga eryo enteekateeka ey’okusinza eyali entukuvu, ennyonjo, era ennongoofu. Bwe kityo, obutukuvu bwogerwako enfunda n’enfunda mu Mateeka ga Musa. Mu butuufu, kabona asinga obukulu yateekanga akapande aka zzaabu ku kiremba kye, bonna we bandikalabidde nga kamasamasa. Ku kapande ako kwaliko ebigambo bino: “Obutukuvu bwa Yakuwa.” (Okuva 28:36) Mu ngeri eyo, omutindo ogwa waggulu ogw’obuyonjo n’obulongoofu gwandibaawuddewo ku balala bwe kituuka ku kusinza n’engeri gye bandyeyisizzaamu. Yakuwa yabagamba nti: “Mubenga batukuvu kubanga nze Yakuwa Katonda wammwe ndi mutukuvu.” (Eby’Abaleevi 19:2) Singa Abayisirayiri baakola kyonna ekisoboka okugoberera okubuulirira kwa Katonda, bandibadde batukuvu wadde nga si ku kigero Yakuwa ky’aliko.

10. Ku bikwata ku butukuvu, njawulo ki eyaliwo wakati w’Abayisirayiri n’amawanga agaali gabeetoolodde?

10 Essira eryateekebwa ku butukuvu lyayoleka enjawulo ey’amaanyi eyaliwo wakati w’okusinza kw’Abayisirayiri n’okw’amawanga agaali gabeetoolodde. Amawanga ago amakaafiiri gaasinzanga bakatonda ab’obulimba, abaayogerwako ng’abatemu, ab’omululu era abagwenyufu. Tebaali batukuvu n’akamu. Okusinza bakatonda ng’abo kyafuula abantu b’amawanga ago obutaba batukuvu. Bwe kityo, Yakuwa yagamba abaweereza be okweyawula ku bantu abo abaali abakaafiiri n’ebintu ebibi bye baakolanga mu kusinza kwabwe.—Eby’Abaleevi 18:24-28; 1 Bassekabaka 11:1, 2.

11. Okuba nti ekitundu eky’omu ggulu eky’ekibiina kya Yakuwa kitukuvu kyeyolekera kitya mu (a) bamalayika? (b) basseraafi? (c) Yesu?

11 Ne bwe lyali mu mbeera ennungi ennyo, eggwanga lya Isirayiri Yakuwa lye yali alonze lyali liyinza kwoleka kitono nnyo ku butukuvu bw’entegeka ya Katonda ey’omu ggulu. Obukadde n’obukadde bw’ebitonde eby’omwoyo ebiweereza Katonda n’obwesigwa byogerwako nga “bamalayika abatukuvu mitwalo na mitwalo.” (Ekyamateeka 33:2; Yuda 14) Ebitonde ebyo byoleka obutukuvu bwa Katonda mu ngeri etuukiridde. Lowooza ku basseraafi Isaaya be yalaba mu kwolesebwa. Bye baayimba mu luyimba lwabwe biraga nti ebitonde bino eby’omwoyo birina ekifo kikulu mu kumanyisa obutukuvu bwa Yakuwa mu butonde bwonna. Kyokka waliwo ekitonde kimu eky’omwoyo, ekisinga ebyo byonna, ng’ono ye Mwana wa Katonda eyazaalibwa omu yekka. Yesu y’asingayo okwoleka obulungi obutukuvu bwa Yakuwa. Kituukirawo okuba nti ayitibwa “Mutukuvu wa Katonda.”—Yokaana 6:68, 69.

Erinnya Ettukuvu, Omwoyo Omutukuvu

12, 13. (a) Lwaki kituukirawo okugamba nti erinnya lya Katonda ttukuvu? (b) Lwaki erinnya lya Katonda lirina okutukuzibwa?

12 Ate kiri kitya ku linnya lya Katonda? Nga bwe twalaba mu Ssuula 1, erinnya eryo si kitiibwa butiibwa oba ekigambo obugambo. Wabula, likiikirira Yakuwa Katonda, era lizingiramu engeri ze zonna. Bwe kityo, Bayibuli egamba nti ‘erinnya lye ttukuvu.’ (Isaaya 57:15) Okusinziira ku Mateeka ga Musa, omuntu yenna eyavvoolanga erinnya lya Katonda yalinanga okuttibwa. (Eby’Abaleevi 24:16) Era weetegereze Yesu kye yakulembeza mu kusaba. Yagamba nti: “Kitaffe ali mu ggulu, erinnya lyo litukuzibwe.” (Matayo 6:9) Okutukuza ekintu kitegeeza okukyawulawo ng’ekirongoofu n’okukiwa ekitiibwa. Naye lwaki kyetaagisa okutukuza erinnya lya Yakuwa ettukuvu?

13 Erinnya lya Katonda ettukuvu lisiigiddwa enziro. Mu Lusuku Edeni, Sitaani yayogera eby’obulimba ku Yakuwa era n’agezaako okulaga nti Yakuwa Mufuzi atali mwenkanya. (Olubereberye 3:1-5) Okuva ku olwo, Sitaani, omufuzi w’ensi eno etali ntukuvu, yeeyongeredde ddala okwogera eby’obulimba ku Katonda. (Yokaana 8:44; 12:31; Okubikkulirwa 12:9) Amadiini galeetedde abantu okulowooza nti Katonda nnaakyemalira, tafaayo ku balala, era nti wa ttima. Gagamba nti agawagira mu ntalo zaago. Abamu batuuse n’okugamba nti ebitonde tebyatondebwa wabula byajjawo byokka. Mazima ddala erinnya lya Katonda lyogeddwako eby’obulimba bingi nnyo. Liteekwa okutukuzibwa, kwe kugamba liteekwa okuweebwa ekitiibwa kyalyo ekituufu. Twesunga nnyo ekiseera Yakuwa lw’aliggya ekivume ku linnya lye. Ekyo ajja kukikola ng’ayitira mu Bwakabaka bw’Omwana we. Tufuna essanyu bwe tubaako kye tukola mu kutuukiriza ekigendererwa ekyo.

14. Lwaki omwoyo gwa Katonda guyitibwa omutukuvu, era lwaki okuvvoola omwoyo omutukuvu kibi kya maanyi?

14 Ekintu ekirala ekikwataganyizibwa ennyo ne Yakuwa gwe mwoyo gwe omutukuvu, oba amaanyi ge. (Olubereberye 1:2) Yakuwa akozesa amaanyi gano okutuukiriza ebigendererwa bye. Byonna Katonda by’akola biba bitukuvu, birongoofu, era biyonjo, n’olwekyo amaanyi ge gayitibwa omwoyo omutukuvu. (Lukka 11:13; Abaruumi 1:4) Okuvvoola omwoyo omutukuvu kizingiramu okuziyiza ebigendererwa bya Yakuwa mu bugenderevu, era kiba kibi ekitayinza kusonyiyibwa.—Makko 3:29.

Obutukuvu bwa Yakuwa Butuleetera Okumusemberera

15. Tukwatibwako tutya bwe tukimanya nti Yakuwa mutukuvu nnyo?

15 N’olwekyo, si kizibu kutegeera ensonga lwaki Bayibuli ekwataganya obutukuvu bwa Katonda n’okumutya. Ng’ekyokulabirako, Zabbuli 99:3 lugamba nti: “Ka batendereze erinnya lyo ekkulu kubanga lya ntiisa era ttukuvu.” Kino kitegeeza okumutya nga tumuwa ekitiibwa eky’amaanyi. Ekyo kituukirawo, olw’okuba obutukuvu bwa Katonda buli ku kigero ekisingayo okuba ekya waggulu. Buyonjo ddala era bwa kitiibwa. Kyokka ekyo tekyanditumazeemu maanyi. Mu kifo ky’ekyo, bwe tuba n’endowooza entuufu ku butukuvu bwa Katonda, kituleetera okwagala okufuna enkolagana ennungi naye. Lwaki?

16. (a) Obutukuvu bukwataganyizibwa butya n’ekitiibwa oba okulabika obulungi? Waayo ekyokulabirako. (b) Bayibuli eyogera etya ku ngeri Yakuwa gy’alabikamu?

16 Bayibuli era ekwataganya obutukuvu n’okulabika obulungi. Mu Isaaya 63:15, eggulu lyogerwako ‘ng’ekifo Katonda ky’abeeramu ekitukuvu era eky’ekitiibwa.’ Ekintu ekirabika obulungi kiba kisikiriza. Ng’ekyokulabirako, tunuulira ekifaananyi ekiri ku lupapula 33. Tekikulabikira bulungi? Kiki ekikireetera okulabika obulungi? Amazzi mayonjo era n’empewo eteekwa okuba nga nnyonjo, kubanga eggulu lya bbululu era n’ekitangaala kirungi. Naye singa ekifaananyi ekyo kikyusibwa, amazzi ne gaba nga galimu kasasiro, emiti n’enjazi nga bikolobozeddwako, n’empewo ng’ejjudde omukka, kyandibadde tekirabika bulungi. Ekintu ekirabika obulungi oba eky’ekitiibwa tutera okukikwataganya n’obuyonjo, obulongoofu, era n’ekitangaala. Ebigambo ebyo bye bimu biyinza okukozesebwa okunnyonnyola obutukuvu bwa Yakuwa. N’olwekyo, tekyewuunyisa nti okwolesebwa okukwata ku Yakuwa kutuwuniikiriza! Bayibuli bw’eba eyogera ku Yakuwa ng’ali mu ntebe ye ey’omu ggulu, eraga nti amasamasa ng’ekitangaala, ng’amayinja ag’omuwendo, era nti ayakaayakana ng’omuliro oba ebintu ebitemagana eby’omuwendo ennyo.—Ezeekyeri 1:25-28; Okubikkulirwa 4:2, 3.

Ng’ekifo ekirabika obulungi bwe kitusikiriza, obutukuvu nabwo butusikiriza

17, 18. (a) Mu kusooka, Isaaya yakwatibwako atya okwolesebwa? (b) Yakuwa yakozesa atya sseraafi okubudaabuda Isaaya, era ekyo sseraafi kye yakola kyalina makulu ki?

17 Naye obutukuvu bwa Katonda bwandituleetedde okuwulira nga tuli ba wansi ku ye? Eky’okuddamu kiri nti, Yee. Ekituufu kiri nti tuli ba wansi nnyo ku Yakuwa. Okumanya ekyo kyandituleetedde obutaba mikwano gye? Lowooza ku ebyo Isaaya bye yayogera bwe yawulira nga basseraafi balangirira obutukuvu bwa Yakuwa. Yagamba nti: “Awo ne ŋŋamba nti: ‘Zinsanze! Nfudde nze, kubanga ndi muntu alina emimwa egitali mirongoofu, era mbeera mu bantu abalina emimwa egitali mirongoofu; amaaso gange galabye Kabaka, Yakuwa ow’eggye yennyini!’” (Isaaya 6:5) Yee, obutukuvu bwa Yakuwa bwajjukiza Isaaya nti yali mwonoonyi era muntu atatuukiridde. Mu kusooka omusajja oyo omwesigwa yaggwaamu amaanyi. Naye Yakuwa teyamuleka mu mbeera eyo.

18 Mangu ddala sseraafi yabudaabuda nnabbi oyo. Mu ngeri ki? Ekitonde ekyo eky’omwoyo kyabuuka ne kigenda ku kyoto, ne kiggyako eryanda, ne kirikoonya ku mimwa gya Isaaya. Ekyo kiyinza okulabika ng’ekireeta obulumi mu kifo ky’okubudaabuda. Kyokka, jjukira nti kuno kwali kwolesebwa, okwalina amakulu ag’akabonero. Isaaya, Omuyudaaya omwesigwa, yali akimanyi bulungi nti ssaddaaka zaawebwangayo buli lunaku ku kyoto eky’oku yeekaalu okusobola okutangirira ebibi. Era sseraafi yajjukiza nnabbi nti wadde yali tatuukiridde, ‘ng’alina emimwa egitali mirongoofu,’ yali asobola okubeera n’enkolagana ennungi ne Katonda.a Yakuwa yali mwetegefu okutunuulira omuntu atatuukiridde era omwonoonyi ng’omutukuvu, wadde nga si ku kigero ng’ekikye.—Isaaya 6:6, 7.

19. Kisoboka kitya ffe okubeera abatukuvu wadde nga tetutuukiridde?

19 Ne leero Yakuwa bw’atyo bw’atwala abaweereza be. Ssaddaaka zonna ezaaweebwangayo ku kyoto mu Yerusaalemi zaali zisonga ku ssaddaaka etuukiridde eya Yesu Kristo eyaweebwayo mu mwaka gwa 33 E.E. (Abebbulaniya 9:11-14) Bwe twenenya ebibi byaffe, ne tutereeza ekkubo lyaffe ekkyamu, era ne tukkiririza mu ssaddaaka eyo, tusonyiyibwa. (1 Yokaana 2:2) Naffe tuyinza okubeera n’enkolagana ennungi ne Katonda. Eyo ye nsonga lwaki omutume Peetero yagamba nti: “Kyawandiikibwa nti: ‘Mubenga batukuvu, kubanga ndi mutukuvu’” (1 Peetero 1:16) Kyetegereze nti Yakuwa teyagamba nti tuteekwa okuba abatukuvu nga ye. Tatusuubira kukola kye tutasobola. (Zabbuli 103:13, 14) Wabula Yakuwa atugamba okubeera abatukuvu kubanga naye mutukuvu. “Ng’abaana abaagalwa,” twagala okufuba okumukoppa nga bwe kisoboka. (Abeefeso 5:1) N’olwekyo, kyetaagisa okufuba buli kiseera okusobola okufuuka abatukuvu. Bwe tugenda tukula mu by’omwoyo, mpolampola tufuba ‘okutuukirira mu butukuvu.’—2 Abakkolinso 7:1.

20. (a) Lwaki kikulu okutegeera nti tusobola okubeera abayonjo mu maaso ga Katonda waffe omutukuvu? (b) Isaaya yakwatibwako atya bwe yamanya nti ebibi bye byali bitangiriddwa?

20 Yakuwa ayagala ebintu ebirungi era ebirongoofu. Akyawa ekibi. (Kaabakuuku 1:13) Naye tatukyawa. Yakuwa atusonyiwa ebibi byaffe kasita tutwala ekibi nga bw’akitwala, kwe kugamba, kasita tukyawa ekibi era ne twagala ekirungi, ate era ne tugezaako okutambulira mu bigere bya Kristo Yesu. (Amosi 5:15; 1 Peetero 2:21) Bwe tukitegeera nti tusobola okubeera abayonjo mu maaso ga Katonda waffe omutukuvu, kirina kye kitukolako. Kijjukire nti mu kusooka obutukuvu bwa Yakuwa bwaleetera Isaaya okukijjukira nti teyali mulongoofu. Yagamba nti: “Zinsanze!” Naye bwe yamanya nti ebibi bye byali bitangiriddwa, endowooza ye yakyuka. Yakuwa bwe yabuuza ani gwe yanditumye okukola omulimu gwe, Isaaya yakkiririzaawo wadde nga yali tamanyi byali bizingirwamu. Yagamba nti: “Nzuuno! Ntuma!”—Isaaya 6:5-8.

21. Kiki ekitukakasa nti tusobola okubeera abatukuvu?

21 Twatondebwa mu kifaananyi kya Katonda omutukuvu, nga tusobola okwawula ekituufu n’ekikyamu era nga tuyinza okusiima ebintu eby’eby’omwoyo. (Olubereberye 1:26) Ffenna tusobola okubeera abatukuvu. Bwe tufuba okubeera abatukuvu, Yakuwa mwetegefu okutuyamba. Bwe tukola bwe tutyo, tujja kufuna enkolagana ennungi ne Katonda waffe omutukuvu. Ate era, nga twekenneenya engeri za Yakuwa mu ssuula eziddako, tujja kulaba nti waliwo ensonga nnyingi ennungi ezandituleetedde okufuna enkolagana ennungi naye!

a Ebigambo ‘emimwa egitali mirongoofu’ bituukirawo, kubanga emimwa gikozesebwa mu Bayibuli okutegeeza okwogera oba olulimi. Abantu abatatuukiridde, ebibi ebisinga obungi bye bakola biva ku ebyo bye boogera.—Engero 10:19; Yakobo 3:2, 6.

Ebibuuzo eby’Okufumiitirizaako

  • Eby’Abaleevi 19:1-18 Empisa zaffe okusobola okubeera entukuvu, egimu ku misingi gye tuteekwa okugoberera gye giruwa?

  • Ekyamateeka 23:9-14 Obuyonjo bulina kakwate ki n’obutukuvu? Ekyo kyandikutte kitya ku ngeri gye twambalamu, gye twekolako, era ne ku maka gaffe?

  • Abaruumi 6:12-23; 12:1-3 Nga tufuba okuba abatukuvu, twanditunuulidde tutya ekibi n’ebintu ebibi ebiri mu nsi?

  • Abebbulaniya 12:12-17 Tuyinza tutya okunoonya obutukuvu?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share