Noonya “Obutukuvu mu Kutya Katonda”
BAIBULI eraga nti Yakuwa Katonda mutukuvu ku kigero ekisingayo okuba ekya waggulu bw’egamba nti: “Mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu, Mukama.” (Is. 6:3; Kub. 4:8) Ekigambo ky’Olwebbulaniya n’eky’Oluyonaani ebyavvuunulwa “obutukuvu” bitegeeza obulongoofu oba obuyonjo mu by’eddiini, oba obutabaako bbala lyonna. Obutukuvu bwa Katonda bukwataganyizibwa n’eky’okuba nti atuukiridde mu buli ngeri era takola kikyamu.
Olw’okuba Yakuwa Katonda mutukuvu, asuubira abo abamusinza okuba abayonjo mu mubiri, mu mpisa ne mu by’omwoyo. Baibuli ekyogera kaati nti Yakuwa ayagala abantu be babeere batukuvu. Mu 1 Peetero 1:16 tusoma nti: “Munaabanga batukuvu; kubanga nze ndi mutukuvu.” Naye, abantu abatatuukiridde basobola okukoppa obutukuvu bwa Yakuwa? Yee, basobola, wadde ng’ekyo tebasobola kukikola mu ngeri etuukiridde. Katonda atutwala okuba abatukuvu bwe tumusinza nga tuli bayonjo mu by’omwoyo era bwe tuba n’enkolagana ennungi naye.
Kati olwo tuyinza tutya okusigala nga tuli bayonjo mu nsi etali nnyonjo mu bya mpisa? Bintu ki bye tulina okwewala? Kiyinza kutwetaagisa kukola nkyukakyuka ki mu njogera ne mu nneeyisa? Ku nsonga ezo, ka tulabe kye tuyiga mu ebyo Katonda bye yali yeetaagisa Abayudaaya mu 537 B.C.E. nga bava e Babulooni okudda ku butaka.
‘Walibaawo Ekkubo ery’Obutukuvu’
Yakuwa yalagula nti ekiseera kyandituuse abantu be ne bava mu buwambe e Babulooni ne baddayo ewaabwe. Obunnabbi buno bwalimu ekisuubizo kino: “Eribaayo oluguudo, n’ekkubo, era liyitibwa nti Kkubo lya butukuvu.” (Is. 35:8a) Ebigambo bino biraga nti Yakuwa teyakoma ku kuyamba Bayudaaya kuddayo ku butaka kyokka, naye era yabakuuma nga bali ku lugendo olwo.
Yakuwa yaggulawo ‘Ekkubo ery’Obutukuvu’ mu kiseera kyaffe bwe yasobozesa abaweereza be okuva mu Babulooni Ekinene, eddiini ez’obulimba mu nsi yonna. Mu 1919 yayamba Abakristaayo abaafukibwako amafuta okuva mu buwambe obw’eby’omwoyo obw’amadiini ag’obulimba, era okusinza kwabwe kwagenda kuggibwamu enjigiriza ez’obulimba. Ng’abasinza ba Yakuwa leero, tuli mu mbeera nnungi ddala mu by’omwoyo etusobozesa okusinza Yakuwa, n’okuba n’enkolagana ennungi naye, era embeera eyo tuyamba okukolagana ne bantu bannaffe.
‘Ab’ekisibo ekitono’ eky’Abakristaayo abaafukibwako amafuta ‘n’ab’ekibiina ekinene’ ‘eky’endiga endala’ basazeewo okutambulira mu kkubo ettukuvu era bayita abalala okubeegattako. (Luk. 12:32; Kub. 7:9; Yok. 10:16) Abo bonna abakkiriza ‘okuwaayo emibiri gyabwe nga ssaddaaka ennamu, entukuvu, era esanyusa Katonda’ basobola okutambulira mu ‘Kkubo ery’Obutukuvu.’—Bar. 12:1.
“Abatali Balongoofu Tebaliriyitamu”
Mu 537 B.C.E., waaliwo ekisaanyizo ekikulu Abayudaaya kye baalina okutuukiriza nga bava mu buwambe. Isaaya 35:8b woogera bwe wati ku abo abanditambulidde mu ‘Kkubo ery’Obutukuvu’ nti: “Abatali balongoofu tebaliriyitamu; naye liriba lya bali: abatambuze, weewaawo abasirusiru, tebaliriwabiramu.” Olw’okuba Abayudaaya baali baddayo e Yerusaalemi basobole okuzzaawo okusinza okulongoofu, abo abaali baagala okukola ebyabwe ku bwabwe, abaali batassa kitiibwa mu bintu bitukuvu, oba abataali bayonjo mu bya mwoyo, tebaalina kifo mu nteekateeka ya Katonda. Abaava mu buwambe bonna baalina okunywerera ku mitindo gya Yakuwa egy’empisa. Abo abaagala okusiimibwa Katonda leero balina kukola kye kimu. Balina okunoonya “obutukuvu mu kutya Katonda.” (2 Kol. 7:1) Kati olwo bintu ki ebitali biyonjo bye tulina okwewala?
Omutume Pawulo yawandiika nti: “Ebikolwa by’omubiri bya lwatu era bye bino: obwenzi, obutali bulongoofu, obugwenyufu.” (Bag. 5:19, NW) Ekigambo ky’Oluyonaani ekivvuunulwa obwenzi kitwaliramu okwetaba okw’engeri yonna ebweru w’obufumbo. Obugwenyufu butwaliramu “obugwagwa; obuseegu; n’ebikolwa ebirala ebibi ebiraga obutabaamu nsonyi n’akamu.” Kyeyoleka bulungi nti obwenzi n’obugwenyufu byombi bikontana n’obutukuvu bwa Yakuwa. N’olwekyo abo bonna abakola ebintu ng’ebyo tebakkirizibwa kwegatta ku kibiina oba bagobwa mu kibiina. Kye kimu n’abo abenyigira mu bikolwa ebitali bya bulongoofu n’akamu, kwe kugamba, abalina ‘amaddu ag’okukola obutali bulongoofu obwa buli ngeri.’—Bef. 4:19, NW.
“Obutali bulongoofu” buzingiramu ebibi bya ngeri nnyingi. Ebigambo ebyo bivvuunulwa okuva mu kigambo ky’Oluyonaani ekitegeeza obukyafu obwa buli ngeri—mu nneeyisa, mu njogera, ne mu by’omwoyo. Kitwaliramu ebikolwa ebitali birongoofu ebiyinza obuteetaagisa muntu kukangavvulwa.a Naye abo abakola ebintu ng’ebyo ddala baba bafuba okunoonya obutukuvu?
Watya singa Omukristaayo atandika okulaba ebifaananyi eby’obuseegu mu nkukutu? Okwegomba okubi bwe kugenda kukula, aba takyafaayo ku kuba muyonjo mu maaso ga Yakuwa. Omuze gwe guyinza okuba nga tegunnafuuka butali bulongoofu bwa maanyi, naye aba takyalowooza ‘ku bintu birongoofu, ebisiimibwa, ebirungi, era eby’ettendo’ byokka. (Baf. 4:8) Okulaba ebifaananyi eby’obuseegu kye kimu ku bintu ebitali birongoofu, era awatali kubuusabuusa kyonoona enkolagana y’omuntu ne Katonda. N’okwogera obwogezi ku bintu ebitali birongoofu eby’engeri zonna tekisaana.—Bef. 5:3.
Lowooza ku kyokulabirako ekirala. Omukristaayo ayinza okuba ng’alina omuze gw’okutigatiga ebitundu bye eby’ekyama—ng’akikola okufuna essanyu ery’okwetaba—oboolyawo ng’eno bw’alaba n’ebifaananyi eby’obuseegu. Wadde ng’omuze guno tegwogerwako mu Baibuli, waliwo okubuusabuusa kwonna nti gwonoona ebirowoozo by’omuntu? Omuntu bwe yeeyonoona mu ngeri eno, ayonoona enkolagana ye ne Yakuwa era afuuka omuntu atali mulongoofu mu maaso ge? Ka tufube okukola ekyo omutume Pawulo kye yagamba, ‘okwenaazaako obugwagwa bwonna obw’omubiri n’omwoyo,’ ‘n’okufiisa ebitundu byaffe eby’omubiri ebiri ku nsi bwe kituuka ku bwenzi, obutali bulongoofu, okwagala ennyo okwetaba, okwagala okukola ebibi, n’okwegomba okubi.’—2 Kol. 7:1; Bak. 3:5, NW.
Ebikolwa ebitali birongoofu ensi eno efugibwa Setaani tebitwala kuba bikyamu era ebikubiriza. Okwewala ebikolwa ng’ebyo kiyinza okuba ekizibu. Naye Abakristaayo ab’amazima tebateekwa ‘kutambula ng’ab’amawanga bwe batambula mu birowoozo byabwe ebitaliimu.’ (Bef. 4:17) Bwe tukola ebintu bitali birongoofu, ka tube mu nkukutu, Yakuwa tajja kutukkiriza kweyongera kutambulira ku “Kkubo lya butukuvu.”
“Teribaayo Mpologoma”
Abamu kiyinza okubeetaagisa okukola enkyukakyuka ez’amaanyi mu njogera ne mu nneeyisa yaabwe basobole okusanyusa Yakuwa Katonda omutukuvu. Isaaya 35:9 wagamba nti: “Teribaayo mpologoma, so tekulirinnyako nsolo yonna ey’amaddu,” kwe kugamba, liriba “Kkubo lya Butukuvu.” Abantu abakambwe boogerwako ng’ensolo ez’omu nsiko. Tebajja kuba na kifo kyonna mu nsi ya Katonda empya ey’obutuukirivu. (Is. 11:6; 65:25) N’olwekyo, abo bonna abaagala okusanyusa Katonda balina okulekera awo okweyisa ng’ensolo era bafube okutambulira mu kkubo ery’obutukuvu.
Ebyawandiikibwa bitugamba nti: “Okukaawa kwonna n’obusungu n’obukambwe n’okukaayana n’okuvuma bibavengako, awamu n’ettima lyonna.” (Bef. 4:31) Abakkolosaayi 3:8 wagamba: “Muggyeewo byonna, obusungu, ekiruyi, ettima, okuvuma, okunyumya eby’ensoyi mu kamwa kammwe.” “Okuvuma” okwogerwako mu nnyiriri zino zombi kwe kwogera ebigambo ebirumya abalala, ebibafeebya, oba ebivvoola.
Leero, okuvuma n’enjogera embi bicaase nnyo, era bikozesebwa ne mu maka. Abafumbo bawaanyisiganya, oba boolekeza abaana baabwe ebigambo ebisongovu, ebirumya n’ebibamalamu ekitiibwa. Kino tekisaana kuba mu maka Makristaayo.—1 Kol. 5:11.
Okunoonya “Obutukuvu mu Kutya Katonda” Kireeta Emikisa!
Nga nkizo ya maanyi okuweereza Yakuwa, Katonda omutukuvu! (Yos. 24:19) Olusuku lw’eby’omwoyo Yakuwa lw’atuwadde lwa muwendo nnyo. Awatali kubuusabuusa, obulamu obw’okusigala nga tuli bayonjo mu maaso ga Yakuwa bwe busingayo okuba obulungi.
Mu bbanga si ddene, Katonda ajja kufuula ensi Olusuku lwe nga bwe yasuubiza. (Is. 35:1, 2, 5-7) Abo abeesunga olusuku olwo era abafuba okutambulira mu bulamu obw’okutya Katonda bajja kubeera omwo. (Is. 65:17, 21) Ka tukole kyonna kye tusobola tweyongere okusinza Katonda nga tuli bayonjo mu by’omwoyo, era tunyweze enkolagana yaffe naye.
[Obugambo obuli wansi]
a Okutegeera enjawulo eriwo wakati ‘w’obutali bulongoofu’ n’okuba ‘n’amaddu ag’okukola obutali bulongoofu obwa buli ngeri,’ laba Watchtower eya Jjulaayi 15, 2006, olupapula 29-31.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 26]
Abayudaaya baalina kukola ki okusobola okutambulira mu ‘Kkubo ery’Obutukuvu’?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 27]
Okulaba ebifaananyi eby’obuseegu kyonoona enkolagana y’omuntu ne Yakuwa
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 28]
“Okukaayana n’okuvuma bibavengako”