LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w07 8/1/07 lup. 6-10
  • Oyonoonye eri Omwoyo Omutukuvu?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Oyonoonye eri Omwoyo Omutukuvu?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Okwenenya Kuvaamu Okusonyiyibwa
  • Baayonoona eri Omwoyo Omutukuvu
  • Tebaayonoona eri Omwoyo Omutukuvu
  • Okukendeeza ku Kweraliikirira ng’Oyonoonye
  • Oganyulwa Otya mu Kuba nti Yakuwa Asonyiwa?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Kkirizanga Okukangavvula kwa Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
w07 8/1/07 lup. 6-10

Oyonoonye eri Omwoyo Omutukuvu?

“Waliwo ekibi ekireeta okufa.”​—1 YOKAANA 5:16, NW.

1, 2. Tumanya tutya nti kisoboka okwonoona eri omwoyo omutukuvu?

“EKINTU kye ndowoozaako kyokka kye ky’okuba nti nnayonoona eri omwoyo omutukuvu.” Bw’atyo omukazi omu mu Bagirimaani bwe yayogera wadde nga yali muweereza wa Katonda. Ddala Omukristaayo asobola okwonoona eri omwoyo omutukuvu?

2 Yee, kisoboka okwonoona eri omwoyo gwa Yakuwa omutukuvu. Yesu yagamba nti: “Abantu balisonyiyibwa buli kibi n’eky’okuvvoola, naye okuvvoola [o]mwoyo [tekulisonyiyibwa].” (Matayo 12:31) Tulabulwa nti: “Bwe tugenderera okwonoona nga tumaze okuweebwa okutegeera amazima, tewasigaddeeyo nate ssaddaaka olw’ekibi, wabula okulindirira n’obuti omusango.” (Abaebbulaniya 10:26, 27) Omutume Yokaana yawandiika nti: “Waliwo ekibi ekireeta okufa.” (1 Yokaana 5:16, NW) Naye kiri eri oyo aba akoze ekibi eky’amaanyi okusalawo oba ng’ekibi ‘ky’akoze kireeta okufa’?

Okwenenya Kuvaamu Okusonyiyibwa

3. Emirundi egisinga kiba kiraga ki bwe tunakuwala olw’ekibi kye tuba tukoze?

3 Yakuwa ye Mulamuzi w’ababi ow’oku ntikko. Mu butuufu, ffenna tuvunaanyizibwa mu maaso ge, era ye buli ky’akola kiba kituufu. (Olubereberye 18:25; Abaruumi 14:12) Yakuwa y’asalawo obanga ekibi kye tuba tukoze tekisonyiyibwa, era asobola okutuggyako omwoyo gwe. (Zabbuli 51:11) Kyokka, bwe tunakuwala olw’okuba tukoze ekibi, emirundi egisinga kiba kiraga nti ddala twenenyezza. Naye kwo okwenenya okwa nnamaddala kwe kuruwa?

4. (a) Okwenenya kye ki? (b) Lwaki ebigambo ebiri mu Zabbuli 103:10-14 bizzaamu nnyo amaanyi?

4 Okwenenya kitegeeza okwejjusa ekintu kye tukoze oba kye twagala okukola. Kitegeeza okunakuwala oba okwekuba mu kifuba olw’ekibi ekyo era ne tumalirira obutaddamu kukikola. Singa tuba tukoze ekibi eky’amaanyi era ne tukola buli ekyetaagisa okulaga nti twenenyezza, ebigambo by’omuwandiisi wa zabbuli bino bisobola okutuzzaamu amaanyi: “[Yakuwa] tatukoze ng’ebibi byaffe bwe biri, so tatusasudde ng’ebikolwa byaffe ebitali bya butuukirivu bwe biri. Kuba eggulu nga bwe liri waggulu okusinga ensi, n’okusaasira kwe bwe kuli okungi bwe kutyo eri abo abamutya. Ebuvanjuba n’ebugwanjuba bwe biri ewala, bw’atyo bw’atutadde ewala ebyonoono byaffe. Nga kitaabwe bw’asaasira abaana be, ne Mukama bw’asaasira bw’atyo abamutya. Kubanga amanyi omubiri gwaffe; ajjukira nga ffe tuli nfuufu.”​—Zabbuli 103:10-14.

5, 6. Makulu ki agali mu 1 Yokaana 3:19-22, era nnyonnyola ebigambo by’omutume ebyo kye bitegeeza.

5 Ebigambo by’omutume Yokaana bino nabyo bizzaamu amaanyi: “Ku kino kwe tunaategeereranga nga tuli ba mazima ne tukkakkanya omutima gwaffe mu maaso ge, mu buli kigambo omutima gwaffe kye gutusalira okutusinga; kubanga Katonda asinga obukulu omutima gwaffe, era ategeera byonna. Abaagalwa, emitima gyaffe bwe giba tegitusalira musango, tuba n’obuvumu nga tutuukirira Katonda; era buli kye tusaba akituwa, kubanga tukwata ebiragiro bye era tukola ebintu ebisiimibwa mu maaso ge.”​—1 Yokaana 3:19-22, NW.

6 ‘Tutegeera nga tuli ba mazima’ bwe tulaga ab’oluganda okwagala era bwe twewala okukola ekibi mu bugenderevu. (Zabbuli 119:11) Singa tuwulira nga waliwo ekintu kyonna ekitulumiriza, kiba kirungi okujjukira nti “Katonda asinga obukulu omutima gwaffe, era ategeera byonna.” Yakuwa atukwatirwa ekisa olw’okuba amanyi ‘okwagala okutaliimu bunnanfuusi kwe tulina eri ab’oluganda,’ amanyi nti tufuba okukola by’ayagala, era nti twewala okukola ebibi. (1 Peetero 1:22) Omutima gwaffe ‘tegujja kutusalira musango’ singa twesiga Yakuwa, twagala ab’oluganda, era twewala okukola ekibi mu bugenderevu. Tujja kuba ‘n’obuvumu nga tutuukirira Katonda’ mu kusaba, era okusaba kwaffe kujja kuddibwamu kubanga tukwata ebiragiro bye.

Baayonoona eri Omwoyo Omutukuvu

7. Ekibi okuba nti kisonyiyibwa oba nedda kisinziira ku ki?

7 Bibi ki ebitasonyiyibwa? Okuddamu ekibuuzo kino, ka tulabeyo ebyokulabirako okuva mu Baibuli. Kino kijja kutuzzaamu amaanyi bwe tuba nga twenenya olw’ebibi eby’amaanyi bye twakola naye ne tusigala nga tukyalumirizibwa. Tujja kukizuula nti ekibi okuba nti kisonyiyibwa oba nedda tekisinziira ku kibi ki muntu ky’aba akoze kyokka, wabula ne ku kiki ekiri mu mutima gwe, era ne ku kuba nti yayonoona mu bugenderevu oba nedda.

8. Abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya ab’omu kyasa ekyasooka baayonoona batya eri omwoyo omutukuvu?

8 Abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya ab’omu kyasa ekyasooka abaawakanya Yesu mu bugenderevu baayonoona eri omwoyo omutukuvu. Baali bakimanyi nti omwoyo gwa Katonda gwe gwasobozesa Yesu okukola ebyamagero ebyaweesa Yakuwa ekitiibwa. Wadde nga kyali kityo, abalabe ba Kristo abo baagamba nti yali akozesa maanyi ga Setaani Omulyolyomi. Okusinziira ku Yesu, abantu abo abavvoola omwoyo gwa Katonda baakola ekibi ekyali kitayinza kusonyiyibwa mu “mirembe egya kaakano, newakubadde mu mirembe egigenda okujja.”​—Matayo 12:22-32.

9. Okuvvoola kye ki, era Yesu yakwogerako atya?

9 Okuvvoola kwe kwogera ebigambo ebivuma, ebirumya oba ebyonoona erinnya ly’omuntu. Olw’okuba omwoyo omutukuvu guva eri Katonda, okugwogerako obubi kuba kwogera bubi ku Yakuwa kennyini. Omuntu bw’ayogera mu ngeri eyo n’ateenenya, aba tayinza kusonyiyibwa. Ebigambo bya Yesu ebikwata ku kibi eky’engeri eyo biraga nti yali ayogera ku abo abaawakanya mu bugenderevu ebikolwa by’omwoyo gwa Katonda omutukuvu. Abaziyiza bano bavvoola omwoyo omutukuvu kubanga baawakanya ebyo omwoyo gwa Yakuwa bye gwasobozesa Yesu okukola, nga bagamba nti yali akozesa maanyi ga Mulyolyomi. Yesu kwe yava agamba nti: “Oyo yenna anavvoolanga [o]mwoyo [o]mutukuvu talina kusonyiyibwa emirembe n’emirembe, naye azzizza omusango ogw’ekibi eky’emirembe n’emirembe.”​—Makko 3:20-29.

10. Lwaki Yesu yayita Yuda “omwana w’okuzikirira”?

10 Lowooza ne ku Yuda Isukalyoti. Yalina omuze omubi ogw’okubba ensimbi ezamuteresebwanga. (Yokaana 12:5, 6) Oluvannyuma Yuda yatuukirira Abayudaaya abafuzi ne bakkiriziganya okumuwa ebitundu bya ffeeza 30, alye mu Yesu olukwe. Kituufu nti Yuda yamala n’akiraba nti yali akoze bubi, naye ekibi ekyo kye yali akoze mu bugenderevu teyakyenenya. N’olwekyo, Yuda tasaana kuzuukizibwa. Eno ye nsonga lwaki Yesu yamuyita “omwana w’okuzikirira.”​—Yokaana 17:12, NW; Matayo 26:14-16.

Tebaayonoona eri Omwoyo Omutukuvu

11-13. Kabaka Dawudi yakola kibi ki ne Basuseba, era engeri Katonda gye yakwatamu ensonga etuzzaamu etya amaanyi?

11 Oluusi, Abakristaayo bayinza okusigala nga bakyalumirizibwa wadde nga beenenya ekibi eky’amaanyi kye baakola era ne bayambibwa n’abakadde mu kibiina. (Yakobo 5:14) Bwe tuba n’ekizibu kino, tuyinza okuganyulwa bwe twetegereza Ebyawandiikibwa kye byogera ku abo abaasonyiyibwa ebibi byabwe.

12 Kabaka Dawudi yakola ekibi eky’amaanyi ne Basuseba muka Uliya. Bwe yali waggulu ku nnyumba ye n’alaba omukazi oyo omulungi ng’anaaba, Dawudi n’alagira ne bamuleeta mu lubiri lwe ne yeebaka naye. Oluvannyuma lw’okumanya nti yali amufunyisizza olubuto, yasala amagezi omukazi oyo yeebake ne bbaawe Uliya, ekibi kireme kumanyika. Kino bwe kyagaana, kabaka yakolera Uliya olukwe ne bamuttira mu lutalo. Oluvannyuma, Basuseba yafuuka muka Dawudi era n’amuzaalira omwana eyamala n’afa.​—2 Samwiri 11:1-27.

13 Ensonga za Dawudi ne Basuseba Yakuwa yazikolako. Kirabika Katonda yasonyiwa Dawudi olw’okuba yeenenya, n’olw’endagaano y’Obwakabaka gye yali akoze naye. (2 Samwiri 7:11-16; 12:7-14) Basuseba ateekwa okuba nga naye yeenenya kubanga yaweebwa enkizo ey’okuzaala Kabaka Sulemaani era bw’atyo n’afuuka jjajja wa Yesu Kristo. (Matayo 1:1, 6, 16) Bwe tuba tukoze ekibi, kirungi okukijjukira nti bwe twenenya Yakuwa atuddiramu.

14. Ebyo ebyatuuka ku Kabaka Manase biraga bitya nti Katonda asonyiwa nnyo?

14 Ebyo ebyatuuka ku Kabaka Manase owa Yuda nabyo biraga nti Yakuwa asonyiwa nnyo. Yakola ebintu bingi ebibi mu maaso ga Yakuwa. Manase yazimbira Baali ebyoto, n’asinza “eggye lyonna ery’omu ggulu,” era n’azimbira bakatonda ab’obulimba ebyoto mu mpya bbiri eza yeekaalu. Yayisa batabani be mu muliro, yakubiriza abantu okwenyigira mu by’obusamize, era yaleetera abantu b’omu Yuda ne Yerusaalemi ‘okukola ebibi okusinga amawanga bwe gaakolanga, Mukama ge yazikiriza mu maaso g’abaana ba Isiraeri.’ Manase teyawuliriza kulabula kwa bannabbi ba Katonda. Oluvannyuma kabaka wa Bwasuli yamutwala mu buwaŋŋanguse. Ng’ali eyo, Manase yeenenya n’asaba Katonda n’obuwoombeefu n’amusonyiwa era n’amuzza ku bwakabaka e Yerusaalemi n’atumbula okusinza okw’amazima.​—2 Ebyomumirembe 33:2-17.

15. Kiki ekyatuukawo mu bulamu bw’omutume Peetero ekiraga nti Yakuwa asonyiyira “ddala nnyo”?

15 Nga wayise ebyasa ebiwerako, omutume Peetero yakola ekibi eky’amaanyi bwe yeegaana Yesu. (Makko 14:30, 66-72) Kyokka, Yakuwa yalaga Peetero nti asonyiyira “ddala nnyo.” (Isaaya 55:7) Lwaki? Kubanga Peetero yeenenya mu bwesimbu. (Lukka 22:62) Ku lunaku lwa Pentekoote nga wayise ennaku 50, kyeyoleka bulungi nti Katonda yali asonyiye Peetero, bwe yaweebwa enkizo ey’okuwa obujulirwa n’obuvumu ku Yesu. (Ebikolwa 2:14-36) Waliwo ensonga yonna lwaki twandirowoozezza nti Katonda tajja kukola kye kimu eri Abakristaayo ababa beenenyezza? Omuwandiisi wa zabbuli yagamba nti: “Singa wali otunuulira bibi byaffe, Ai Ya, Ai Yakuwa ani yandisobodde okuyimirira? Naye gwe osonyiyira ddala.”​—Zabbuli 130:3, 4, NW.

Okukendeeza ku Kweraliikirira ng’Oyonoonye

16. Katonda asinziira ku ki okutusonyiwa?

16 Ebyokulabirako ebyo waggulu bituyamba okukendeeza ku kweraliikirira bwe tuba nga tutya nti twayonoona eri omwoyo omutukuvu. Bitulaga nti Yakuwa asonyiwa aboonoonyi bwe beenenya. Kikulu nnyo okunyiikirira okusaba Katonda. Bwe tuba tukoze ekibi, tusobola okusaba Yakuwa okutusonyiwa olw’obusaasizi bwe, olw’okuba tetutuukiridde, olw’ebbanga lye tumaze nga tumuweereza n’obwesigwa n’olw’okuba nti tukkiririza mu ssaddaaka y’ekinunulo kya Yesu. Olw’okuba Yakuwa wa kisa nnyo, tuli bakakafu nti bwe tunaamusaba okutusonyiwa ajja kutuwuliriza.​—Abaefeso 1:7.

17. Tusaanidde kukola ki bwe tuba tukoze ekibi era nga twetaaga okuyambibwa mu by’omwoyo?

17 Ate kiri kitya singa tukola ekibi ne tuba nga tetusobola na kusaba Katonda olw’okuba tuwulira nti tetusaanira mu maaso ge? Ku nsonga eno, omutume Yakobo yawandiika: “[Omuntu ng’oyo] ayitenga abakadde b’ekkanisa; bamusabirenga, nga bamusiigako amafuta mu linnya lya Mukama waffe: n’okusaba kw’okukkiriza kulirokola omulwadde, ne Mukama waffe alimuyimusa: era oba nga yakola ebibi birimuggibwako.”​—Yakobo 5:14, 15.

18. Omuntu ne bw’aba nga yagobebwa mu kibiina, lwaki ekyo tekitegeeza nti yakola ekibi ekitasonyiyibwa?

18 Wadde ng’omuntu teyeenenyezza era n’agobebwa mu kibiina, ekyo ku bwakyo tekitegeeza nti ekibi kye yakola tekisonyiyibwa. Ng’ayogera ku muntu eyafukibwako amafuta eyali agobeddwa mu kibiina ky’e Kkolinso, Pawulo yawandiika: “Kunaamumala ali bw’atyo okubonerezebwa okwo okw’abangi; kye kivudde kibagwanira mmwe okumusonyiwa obusonyiyi n’okumusanyusa, afaanana bw’atyo mpozzi aleme okumirwa ennaku ze nga ziyinze obungi.” (2 Abakkolinso 2:6-8; 1 Abakkolinso 5:1-5) Kyokka, okusobola okutereera mu by’omwoyo, omuntu eyakola ekibi alina okukkiriza okubuulirira kwa Baibuli okuva eri abakadde n’okukiraga mu bikolwa nti ddala yeenenyezza. Ateekwa ‘okubala ebibala ebisaanira okwenenya.’​—Lukka 3:8.

19. Kiki ekinaatuyamba okusigala nga tuli ‘balamu mu kukkiriza’?

19 Kiki ekiyinza okutuviirako okulowooza nti twonoonye eri omwoyo omutukuvu? Kiyinza okuva ku kukirowoozaako ekisusse oba ku buteewulira bulungi mu mubiri. Bwe kiba kityo, okusaba n’okuwummula ekimala biyinza okuyamba. Naddala tetulina kuleka Setaani kutumalamu maanyi ne tutuuka n’okulekayo okuweereza Katonda. Okuva Yakuwa lwatasanyukira kufa kwa babi, tasobola kuba nti asanyuka ng’omu ku baweereza be amwabulidde. N’olwekyo, bwe tuba abeeraliikirivu nti twayonoona eri omwoyo omutukuvu, tulina okwongera okwesomesa Ekigambo kya Katonda, naddala ebitundu ebizzaamu amaanyi nga Zabbuli. Twetaaga okunyiikira okubaawo mu nkuŋŋaana z’ekibiina n’okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira Obwakabaka. Ekyo kijja kutuyamba okubeera ‘abalamu mu kukkiriza’ n’obuteeraliikirira nti tuyinza okuba nga twakola ekibi ekitasonyiyibwa.​—Tito 2:2.

20. Omuntu ayinza atya okutegeera nti teyayonoona eri omwoyo omutukuvu?

20 Abo bonna abatya nti baayonoona eri omwoyo omutukuvu bayinza okwebuuza: ‘Nnavvoola omwoyo omutukuvu? Nneenenya ekibi kyange mu bwesimbu? Nzikiriza nti Katonda asonyiwa? Ndi kyewaggula asambazze ekitangaala eky’eby’omwoyo?’ Emirundi egisinga abantu ng’abo bajja kukitegeera nti tebavvoolanga mwoyo gwa Katonda wadde okufuuka ba kyewaggula. Beenenya era bakkiriza nti ddala Yakuwa asonyiwa. Bwe kiba kityo, tebaayonoona eri omwoyo gwa Yakuwa omutukuvu.

21. Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu mu kitundu ekinaddako?

21 Nga kizzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti tetwayonoona eri omwoyo omutukuvu! Kyokka, waliwo ebibuuzo ebikwata ku nsonga eno bye tujja okwetegereza mu kitundu ekinaddako. Gamba tuyinza okwebuuza nti: ‘Ddala omwoyo omutukuvu gwe gunkulembera? Bye nkola mu bulamu bwange byoleka ebibala by’omwoyo?’

Wandizzeemu Otya?

• Lwaki tuyinza okugamba nti kisoboka okwonoona eri omwoyo omutukuvu?

• Okwenenya kye ki?

• Yesu bwe yali ku nsi, baani abaayonoona eri omwoyo omutukuvu?

• Kiki ekiyinza okutuyamba okuggwaamu okutya nti twayonoona eri omwoyo omutukuvu?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 8]

Wadde nga yeegaana Yesu, Peetero teyayonoona eri omwoyo omutukuvu

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share