Okunoonyereza “Ebintu bya Katonda eby’Omunda”
“Omwoyo gunoonyereza mu bintu byonna, n’ebintu bya Katonda eby’omunda.”—1 ABAKKOLINSO 2:10, NW.
1. Njigiriza ki ezimu ez’omu Baibuli ezireetera abayizi ba Baibuli abapya okuwulira essanyu?
ABASINGA ku ffe mu kibiina Ekikristaayo tusobola okujjukira essanyu lye twawulira nga twakatandika okuyiga amazima. Twategeera amakulu g’erinnya lya Yakuwa, lwaki akkiriza abantu okubonaabona, lwaki abantu abamu bajja kugenda mu ggulu, n’obulamu abaweereza be abeesigwa bwe banaaba nabwo mu biseera eby’omu maaso. Nga bwe kiri eri abasinga obungi, naffe tuyinza okuba nga twali twasomako ku Baibuli naye ne tulemererwa okutegeera ebintu bino. Twalinga omusajja alengera amayinja ag’omuwendo mu nnyanja. Bw’aba talina kyuma kitangaaza, ebirungi ebiri wansi mu mazzi alabako bitono. Naye bw’assaako galubindi ezikozesebwa mu kuwuga oba bw’aba mu lyato eririna endabirwamu emusobozesa okulaba wansi, awulira essanyu omulundi gwe ogusooka bw’alaba amayinja ago amatwakaavu, ebyennyanja ebirabika obulungi, ssaako n’ebiramu ebirala bingi ebisanyusa. Mu ngeri y’emu, bwe baatuyamba okutegeera Ebyawandiikibwa, twatandika okulega ku ‘bintu bya Katonda eby’omunda.’—1 Abakkolinso 2:8-10.
2. Lwaki essanyu ery’okuyiga ebiri mu Kigambo kya Katonda terikoma?
2 Twandibadde bamativu n’enjigiriza entonotono ez’omu Baibuli ze twayigirizibwa mu ntandikwa? Ebigambo “ebintu bya Katonda eby’omunda” bizingiramu okutegeera amagezi agakwata ku Katonda omwoyo omutukuvu ge gubikkulira Abakristaayo naye nga gakwekeddwa eri abalala. (1 Abakkolinso 2:7) Amagezi ga Katonda nga mangi nnyo era nga tuba basanyufu bwe tugazuula! Tetujja kumanya byonna bikwata ku magezi agali mu kugoberera amakubo ga Katonda. Naye tusobola okweyongera okuwulira essanyu lye limu lye twawulira bwe twasooka okuyiga enjigiriza za Baibuli ezisookerwako singa tetuddirira mu kunoonyereza “ebintu bya Katonda eby’omunda.”
3. Lwaki twetaaga okutegeerera ddala bye tukkiriza n’ensonga lwaki tubikkiriza?
3 Lwaki twetaaga okutegeera ‘ebintu eby’omunda’? Okutegeera bye tukkiriza n’ensonga lwaki tubikkiriza—omusingi enzikiriza yaffe kwe yeesigamimye—kinyweza okukkiriza kwaffe. Ebyawandiikibwa bitukubiriza okukozesa “amagezi” gaffe ‘okukema Katonda by’ayagala obanga birungi, bisanyusa, era bituufu.’ (Abaruumi 12:1, 2) Bwe tutegeera ensonga lwaki Yakuwa ayagala tweyise mu ngeri emu kinyweza obumalirivu bwaffe okumugondera. N’olwekyo, okumanya ‘ebintu eby’omunda’ kuyinza okutuyamba okufuna amaanyi ne twewala okwenyigira mu bikolwa ebibi era kuyinza okutukubiriza ‘okunyiikirira mu bikolwa ebirungi.’—Tito 2:14.
4. Okwesomesa Baibuli kuzingiramu ki?
4 Okusobola okutegeera ebintu eby’omunda twetaaga okwesomesa. Kyokka okwesomesa si kye kimu n’okusoma obusomi ekintu. Kuzingiramu okwekenneenya ebyo by’osoma n’olaba engeri gye bikwataganamu n’ebyo by’omanyi. (2 Timoseewo 1:13) Kitwaliramu n’okutegeera lwaki ensonga eba ennyonnyoddwa bw’etyo. Okwesomesa Baibuli kuzingiramu okufumiitiriza ku ngeri gye tuyinza okukozesaamu ebyo bye tuyiga okusobola okusalawo mu ngeri ey’amagezi era n’okuyamba abalala. Ate era, okuva bwe kiri nti ‘buli Kyawandiikibwa kirina okuluŋŋamya kwa Katonda, era kigasa,’ tulina okwesomesa “buli kigambo ekiva mu kamwa ka Katonda.” (2 Timoseewo 3:16, 17; Matayo 4:4) Wadde ng’okwesomesa kuyinza okwetaagisa okufuba ennyo, kusobola okutuleetera essanyu, era si kizibu nnyo okutegeera “ebintu bya Katonda eby’omunda.”
Yakuwa Ayamba Abawombeefu Okutegeera
5. B’ani abayinza okutegeera “ebintu bya Katonda eby’omunda”?
5 Ne bwe kiba nti toli muyigirize nnyo era nga tomanyiridde kwesomesa, tosaanidde kulowooza nti tosobola kutegeera ‘bintu bya Katonda eby’omunda.’ Mu kiseera ky’obuweereza bwa Yesu obw’oku nsi, Yakuwa yabikkula okutegeera okukwata ku kigendererwa Kye, si eri abagezigezi, naye eri abo abaali batwalibwa okuba nti si bayivu era nga bantu ba bulijjo abaali abawoombefu okusobola okuyigirizibwa omuweereza wa Katonda. Baalabika ng’abaana abato bw’oba obageraageranyizza n’abo abaali abayigirize. (Matayo 11:25; Ebikolwa 4:13) Ng’ayogera ku “bintu Katonda by’ategekedde abo abamwagala,” omutume Pawulo yawandiikira bakkiriza banne nti: “Ffe Katonda abitubikkulidde okuyitira mu mwoyo gwe, kubanga omwoyo gunoonyereza mu bintu byonna, n’ebintu bya Katonda eby’omunda.”—1 Abakkolinso 2:9, 10, NW.
6. Abakkolinso Ekisooka 2:10 lutegeeza ki?
6 Omwoyo gwa Katonda gunoonyereza gutya “mu bintu byonna, n’ebintu bya Katonda eby’omunda”? Mu kifo ky’okuwa buli Mukristaayo okubikkulirwa okukwe yekka, Yakuwa akozesa omwoyo gwe okuwa ekibiina kye obulagirizi okuyamba abantu ba Katonda abali obumu okutegeera Baibuli. (Ebikolwa 20:28; Abaefeso 4:3-6) Okwetooloola ensi, ebibiina byonna birina programu y’emu ey’okusoma Baibuli. Buli luvannyuma lw’emyaka, abali mu bibiina ebyo bayiga enjigiriza zonna ez’omu Baibuli. Omwoyo omutukuvu gukolera mu kibiina okuyamba abantu okufuna endowooza eyeetaagisa okutegeera “ebintu bya Katonda eby’omunda.”—Ebikolwa 5:32.
Ebizingirwa mu ‘Bintu bya Katonda eby’Omunda’
7. Lwaki abantu bangi tebategeera “ebintu bya Katonda eby’omunda”?
7 Tetusaanidde kulowooza nti ‘ebintu eby’omunda’ birina kuba nga bizibu okutegeera. Okumanya okukwata ku ‘bintu bya Katonda eby’omunda’ kukwekeddwa eri abantu abasinga obungi, si lwa kuba nti amagezi ga Katonda mazibu nnyo okutegeera, naye lwa kuba Setaani alimba abantu n’abaleetera okugaana obuyambi Yakuwa bw’awa okuyitira mu kibiina Kye.—2 Abakkolinso 4:3, 4.
8. Bintu ki eby’omunda Pawulo bye yali ayogerako mu ssuula ey’okusatu ey’ebbaluwa ye eri Abaefeso?
8 Essuula ey’okusatu ey’ebbaluwa ya Pawulo eri Abaefeso eraga nti “ebintu bya Katonda eby’omunda” bizingiramu amazima mangi abantu ba Yakuwa ge bategeera obulungi, gamba ng’okutegeera Ezzadde, okulonda abantu abanaagenda mu ggulu, n’Obwakabaka bwa Masiya. Pawulo yawandiika nti: “[Ekyama] ekitaategeezebwa mu mirembe egy’edda abaana b’abantu, nga kaakano bwe kibikkuliddwa abatume be abatukuvu ne bannabbi mu [m]woyo; ab’amawanga okubeera abasikira awamu, era ab’omubiri ogumu, era abassa ekimu ekyasuubizibwa mu Kristo Yesu.” Pawulo yagamba nti yali aweereddwa omulimu ‘ogw’okumulisizanga bonna balabe okugaba kw’ekyama bwe kuli, ekyakwekebwa okuva edda n’edda lyonna mu Katonda.’—Abaefeso 3:5-9.
9. Lwaki nkizo ya maanyi okutegeera “ebintu bya Katonda eby’omunda”?
9 Pawulo yeeyongera okunnyonnyola ekigendererwa kya Katonda nti ‘n’ab’omu bifo eby’omu ggulu bategeezebwe mu kkanisa amagezi amangi aga Katonda ag’engeri ennyingi.’ (Abaefeso 3:10) Bamalayika baganyulwa bwe balaba era ne bategeera engeri ey’amagezi Yakuwa gy’akolaganamu n’ekibiina Ekikristaayo. Nga nkizo ya maanyi okuba nti tutegeera ebintu ne bamalayika bye baagala okutegeera! (1 Peetero 1:10-12) Pawulo addako n’agamba nti tusaanidde okufuba “okukwatanga n’amagezi awamu n’abatukuvu bonna obugazi n’obuwanvu n’obugulumivu n’okugenda wansi” eby’okukkiriza okw’Ekikristaayo. (Abaefeso 3:11, 18) Kati ka twetegereze ebimu ku bintu eby’omunda ebiyinza okwongera ku kumanya kwaffe.
Ebyokulabirako eby’Ebintu eby’Omunda
10, 11. Okusinziira ku Byawandiikibwa, ddi Yesu lwe yafuuka “ezzadde” ekkulu ‘ery’omukazi’ wa Katonda ow’omu ggulu?
10 Tumanyi nti Yesu ye ‘zzadde’ ekkulu ery’omukazi wa Katonda ow’omu ggulu eryogerwako mu Olubereberye 3:15. Okusobola okugaziya okutegeera kwaffe, tuyinza okwebuuza: ‘Ddi Yesu lwe yafuuka Ezzadde eryasuubizibwa? Nga tannajja ku nsi ng’omuntu, lwe yazaalibwa ng’omuntu, lwe yabatizibwa, oba lwe yazuukizibwa?’
11 Katonda yali yasuubiza nti enteekateeka ye ey’omu ggulu eyogerwako mu bunnabbi ‘ng’omukazi’ yandivuddemu ezzadde eryandibetense omutwe gw’omusota. Naye waayitawo enkumi z’emyaka ng’omukazi wa Katonda tannazaala zzadde eryandisobodde okuzikiriza Setaani n’okumalawo ebikolwa bye. Bwe kityo, obunnabbi bwa Isaaya bumuyita “omugumba” era ‘alina omwoyo oguliko obuyinike.’ (Isaaya 54:1, 5, 6) Kya ddaaki, Yesu yazaalibwa mu Besirekemu. Naye lwali luvannyuma lwa kubatizibwa, bwe yazaalibwa omwoyo ng’omwana wa Katonda ow’omwoyo, Katonda lwe yalangirira nti: “Oyo ye Mwana wange.” (Matayo 3:17; Yokaana 3:3) “Ezzadde” ekkulu ery’omukazi yalwa ddaaki n’alabika. Oluvannyuma, abagoberezi ba Yesu nabo baafukibwako amafuta era ne bazaalibwa omwoyo omutukuvu. “Omukazi” wa Yakuwa, edda eyalinga ‘omukazi atazaala,’ yalwa ddaaki ‘n’ayimba.’—Isaaya 54:1; Abaggalatiya 3:29.
12, 13. Byawandiikibwa ki ebiraga nti abaafukibwako amafuta bonna abali ku nsi be bakola ekibiina ‘ky’omuddu omwesigwa era ow’amagezi’?
12 Ekyokulabirako eky’okubiri eky’ebintu eby’omunda ebitubikkuliddwa kikwata ku kigendererwa kya Katonda eky’okulonda 144,000 okuva mu bantu. (Okubikkulirwa 14:1, 4) Tukimanyi era tukkiriza nti abaafukibwako amafuta bonna ababa bakyali abalamu ku nsi be bakola ekibiina ‘ky’omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ Yesu be yagamba nti bandibadde bawa ab’omu nju ye “emmere” etuukira mu kiseera kyayo. (Matayo 24:45) Byawandiikibwa ki ebikakasa nti ekyo kituufu? Yesu ayinza okuba nga yali ategeeza Mukristaayo yenna asobola okuzimba baganda be mu by’omwoyo?
13 Katonda yagamba eggwanga lya Isiraeri nti: “Mwe muli bajulirwa bange . . . n’omuweereza wange gwe nnalonda.” (Isaaya 43:10) Naye nga Nisani 11 mu mwaka 33 C.E., Yesu yagamba abakulembeze b’Abaisiraeri nti Katonda yali yeegaanyi eggwanga lyabwe okuba omuweereza We. Yagamba nti: ‘Obwakabaka bwa Katonda bulibaggibwako mmwe, buliweebwa eggwanga eribala ebibala byabwo.’ Yesu yagamba ebibiina abaali bamuwuliriza nti: “Laba, ennyumba yammwe ebalekeddwa kifulukwa.” (Matayo 21:43; 23:38) Ng’omuddu wa Yakuwa, ennyumba ya Isiraeri tebaali beesigwa wadde ba magezi. (Isaaya 29:13, 14) Ku lunaku olwo lwe nnyini, Yesu bwe yabuuza nti: “Aluwa nate omuddu oyo omwesigwa ow’amagezi?” mu ngeri endala yali abuuza, ‘Ggwanga ki ery’amagezi erinadda mu bigere bya Isiraeri okubeera omuddu wa Katonda omwesigwa?’ Omutume Peetero yawa eky’okuddamu bwe yagamba ekibiina ky’Abakristaayo abaafukibwako amafuta nti: ‘Mwe muli ggwanga ttukuvu, bantu ba nvuma.’ (1 Peetero 1:4; 2:9) Eggwanga eryo ery’omwoyo, “Isiraeri wa Katonda,” lye lyafuuka omuddu wa Yakuwa omupya. (Abaggalatiya 6:16) Ng’abantu b’eggwanga lya Isiraeri bonna bwe baali “omuweereza” omu, bwe kityo Abakristaayo abaafukibwako amafuta bonna ababa ku nsi be bakola ekibiina ‘ky’omuddu omwesigwa era ow’amagezi.’ Nga tulina enkizo okufuna “emmere” okuyitira mu muddu wa Katonda!
Osobola Okunyumirwa Okwesomesa
14. Lwaki okwesomesa Baibuli kireeta essanyu lingi okusinga okugisoma obusomi?
14 Bwe wabaawo okutegeera okupya okw’Ebyawandiikibwa kwe tuba tufunye, tetuwulira essanyu olw’engeri okutegeera okwo gye kutuzzaamu amaanyi? Eno y’ensonga lwaki okwesomesa Baibuli, ng’oggyeko okugisoma obusomi, kuyinza okutuleetera essanyu lingi. N’olwekyo, bw’osoma ebitabo by’omuddu omwesigwa, weebuuze ebibuuzo nga bino: ‘Ennyinnyola eri mu kitabo kino ekwatagana etya n’eyo gye nnali mmanyi ku nsonga eno? Byawandiikibwa ki ebirala bye nnyinza okulowoozaako ebiwagira ensonga eziweereddwa mu kitundu kino?’ Bwe kiba kyetaagisa okweyongera okunoonyereza, baako w’owandiika ekibuuzo ekyo ky’oyagala okufuna eky’okuddamu, era okinoonyerezeeko olulala.
15. Biki by’oyinza okwesomesa ebiyinza okukuwa essanyu, era miganyulo ki egy’olubeerera gy’oyinza okufuna?
15 Biki by’oyinza okwesomesa ebiyinza okukuleteera essanyu ery’okutegeera ebintu ebipya? Tusobola okunoonyereza ebisingawo ku ndagaano ez’enjawulo Katonda ze yakola olw’okuganyula olulyo lw’omuntu. Osobola okunyweza okukkiriza kwo ng’osoma ku bunnabbi obukwata ku Yesu Kristo oba ekimu ku bitabo ebinnyonnyola obunnabbi bwa Baibuli lunyiriri ku nnyiriri. Ekirala ekinyweza okukkiriza kwe kwekkaanya ebyafaayo by’Abajulirwa ba Yakuwa ab’omu kiseera kyaffe, ng’okozesa ekitabo ekiyitibwa Jehovah’s Witnesses—Proclaimers of God’s Kingdom, bwe kiba gye kiri mu lulimi lwo.a N’okuddamu okusoma “Ebibuuzo Ebiva mu Basomi” ebyafulumira mu Omunaala gw’Omukuumi awatali kubuusabuusa kijja kukuyamba okwongera okutegeera obulungi ebyawandiikibwa ebitali bimu. Naddala, weetegereze engeri Ebyawandiikibwa gye binnyonnyoddwamu. Kino kijja kukuyamba okutendeka “amagezi” go okusobola okwawulawo ekirungi n’ekibi. (Abaebbulaniya 5:14) Bw’oba weesomesa, baako by’owandiika mu Baibuli yo oba awalala ku lupapula osobole okuganyulwa mu kwesomesa kwo n’okuyamba abalala.
Yamba Abaana Okunyumirwa Okwesomesa Baibuli
16. Osobola otya okuyamba abaana okunyumirwa okwesomesa Baibuli?
16 Abazadde balina kinene kye basobola okukola okuleetera abaana baabwe okwagala okufuna enkolagana ennungi ne Katonda. Togaya busobozi bw’abaana obw’okuyiga ebintu eby’omunda. Singa owa abaana eky’okunoonyerezaako mu kwetegekera okusoma Baibuli okw’amaka, osobola okubabuuza bye baayize. Okusoma kw’amaka kuyinza okuzingiramu okwegezaamu nga muyamba abaana okuyiga engeri y’okuddamu oyo aba ababuuziza ebikwata ku nzikiriza yaabwe era n’okulaga nti ebyo bye bayigiriziddwa basobola okubinnyonnyola. Okugatta ku ekyo, osobola okukozesa ka brocuwa “Laba Ensi Ennungi”b okubalaga ebifo ebyogerwako mu Baibuli, n’okwongera okunnyonnyola ebyo bye muba musomye mu kusoma Baibuli okwa buli wiiki.
17. Lwaki twetaaga obutagwa lubege bwe tuba twesomesa Baibuli?
17 Okwesomesa Baibuli kusobola okunyuma n’okunyweza okukkiriza kwo, naye weegendereze kuleme kukumalako biseera bye wandikozesezza okwetegekera enkuŋŋaana z’ekibiina. Enkuŋŋaana y’emu ku ngeri Yakuwa z’akozesa okutuyigiriza ng’ayitira mu ‘muddu omwesigwa era ow’amagezi.’ Kyokka, bwe weeyongera okunoonyereza kiyinza okukuyamba okuwa eby’okuddamu ebizimba mu nkuŋŋaana gamba nga mu Kusoma Ekitabo okw’Ekibiina oba mu kunokolayo ebikulu ebiri mu kusoma Baibuli okwa buli wiiki mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda.
18. Lwaki kirungi okufuba okwesomesa “ebintu bya Katonda eby’omunda”?
18 Bwe weesomesa ennyo Ekigambo kya Katonda kiyinza okukuyamba okufuna enkolagana ey’okulusegere ne Yakuwa. Ng’eraga omugaso oguli mu kwesomesa ng’okwo, Baibuli egamba nti: “Amagezi kigo, nga ffeeza bw’eri ekigo: naye okumanya kyekuva kusinga obulungi, kubanga amagezi gakuuma obulamu bwa nnyini go.” (Omubuulizi 7:12) N’olwekyo, bw’ofuba okweyongera okutegeera ebintu eby’omwoyo ojja kuganyulwa nnyo. Baibuli esuubiza oyo eyeeyongera okunoonyereza nti: ‘Ojja kuvumbula okumanya Katonda.’—Engero 2:4, 5.
[Obugambo obuli wansi]
a Kyakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
b Kaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
Osobola Okunnyonnyola?
• “Ebintu bya Katonda eby’omunda” bye biruwa?
• Lwaki okuyiga ebintu eby’omunda tekusaanidde kukoma?
• Lwaki buli Mukristaayo asobola okufuna essanyu eriva mu kutegeera “ebintu bya Katonda eby’omunda”?
• Osobola otya okweyongera okuganyulwa mu kuyiga “ebintu bya Katonda eby’omunda”?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 28]
Ddi Yesu lwe yafuuka Ezzadde eryasuubizibwa?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]
Abazadde basobola okuwa abaana eby’okunoonyerezaako nga beetegekera okusoma Baibuli okw’amaka