“Omwoyo Gunoonyereza mu . . . Bintu bya Katonda eby’Ebuziba”
“Omwoyo gunoonyereza mu bintu byonna, ne mu bintu bya Katonda eby’ebuziba.”—1 KOL. 2:10.
1. Kintu ki omwoyo omutukuvu kye gukola Pawulo kye yayogerako mu 1 Abakkolinso 2:10, era ekyo kireetawo bibuuzo ki?
NGA kitusanyusa nnyo okukimanya nti Yakuwa akozesa omwoyo gwe omutukuvu! Ebyawandiikibwa byogera ku mwoyo omutukuvu ng’omuyambi, ng’ekirabo, ng’oguwa obujulirwa, era ng’ogwegayirira ku lwaffe. (Yok. 14:16; Bik. 2:38; Bar. 8:16, 26, 27) Omutume Pawulo yayogera ku kintu ekirala omwoyo omutukuvu kye gukola ng’agamba nti: “Omwoyo gunoonyereza mu bintu byonna, ne mu bintu bya Katonda eby’ebuziba.” (1 Kol. 2:10) Mu butuufu, Yakuwa akozesa omwoyo gwe omutukuvu okubikkula amazima ag’eby’omwoyo. Singa tebwali buyambi bwa mwoyo mutukuvu, twandisobodde tutya okutegeera ebigendererwa bya Yakuwa? (Soma 1 Abakkolinso 2:9-12.) Kyokka waliwo ebibuuzo bye tuyinza okwebuuza: Mu ngeri ki ‘omwoyo gye gunoonyereza mu bintu bya Katonda eby’ebuziba’? Baani Yakuwa be yayitiramu okubikkula ebintu bino mu kyasa ekyasooka E.E.? Omwoyo gunoonyereza gutya mu bintu eby’ebuziba mu kiseera kyaffe era guyitira mu baani?
2. Ngeri ki ebiri omwoyo gye gwandikozeemu?
2 Yesu yalaga engeri biri omwoyo gye gwandikozeemu. Bwe yali anaatera okuttibwa, yagamba abatume be nti: “Omuyambi, omwoyo omutukuvu, Kitange gw’alisindika mu linnya lyange, oyo ajja kubayigiriza ebintu byonna era abajjukize ebintu byonna bye nnabagamba.” (Yok. 14:26) N’olwekyo, omwoyo omutukuvu gwandikoze ng’omuyigiriza era ng’omujjukiza. Ng’omuyigiriza, omwoyo gwandiyambye Abakristaayo okutegeera ebintu ebyali bitategeerekeka mu kusooka. Ng’omujjukiza, omwoyo ogwo gwandibayambye okujjukira n’okulaba engeri ebintu ebyali binnyonnyoddwa gye bikwataganamu.
Mu Kyasa Ekyasooka
3. Bigambo ki Yesu bye yayogera ebiraga nti ‘ebintu bya Katonda eby’ebuziba’ byandigenze bibikkulwa mpolampola?
3 Yesu yayigiriza abayigirizwa be ebintu bingi ebyali ebipya gye bali. Kyokka waaliwo bingi bye baali beetaaga okutegeera. Yesu yagamba abatume nti: “Nkyalina ebintu bingi eby’okubabuulira naye temuyinza kubitegeera kaakano. Naye oyo bw’alijja, omwoyo ow’amazima, alibawa obulagirizi ng’abayamba okutegeerera ddala amazima.” (Yok. 16:12, 13) Bw’atyo Yesu yakiraga nti omwoyo omutukuvu gwandigenze gubikkula mpolampola ebintu bya Katonda eby’ebuziba.
4. Ku lunaku lwa Pentekooti mu mwaka gwa 33 E.E., omwoyo omutukuvu gwakola gutya ng’omuyigiriza era ng’omujjukiza?
4 Ku lunaku lwa Pentekooti mu mwaka gwa 33 Embala Eno (E.E.), “omwoyo ow’amazima” yajja, omwoyo omutukuvu bwe gwafukibwa ku Bakristaayo nga 120 abaali bakuŋŋaanidde mu Yerusaalemi. Ebyo ebyalabibwa n’ebyawulirwa ku olwo byakakasa nti omwoyo ogwo gwali guzze. (Bik. 1:4, 5, 15; 2:1-4) Abayigirizwa baayogera “ku bintu bya Katonda eby’ekitalo” mu nnimi ez’enjawulo. (Bik. 2:5-11) Ekiseera kyali kituuse ekintu ekipya okubikkulwa. Nnabbi Yoweeri yali yalagula ku kufukibwa kw’omwoyo omutukuvu kuno. (Yo. 2:28-32) Abo abaaliwo baalaba obunnabbi obwo nga butuukirizibwa mu ngeri gye baali tebasuubira, era omutume Peetero yannyonnyola amakulu g’ebyo ebyali bibaddewo. (Soma Ebikolwa 2:14-18.) Bwe kityo, omwoyo omutukuvu gwakola ng’omuyigiriza nga guyamba Peetero okutegeera nti ebyo abayigirizwa bye baali balabye byali bituukiriza obunnabbi obwayogerwa edda. Era omwoyo gwakola ng’omujjukiza, kubanga Peetero teyakoma ku kujuliza mu bunnabbi bwa Yoweeri naye era yajuliza ne mu zabbuli za Dawudi bbiri. (Zab. 16:8-11; 110:1; Bik. 2:25-28, 34, 35) Ebyo byonna abo abaali bakuŋŋaanye bye baawulira ne bye baalaba byali bintu bya Katonda eby’ebuziba.
5, 6. (a) Oluvannyuma lwa Pentekooti mu mwaka gwa 33 E.E., bibuuzo ki ebikulu ebikwata ku ndagaano empya ebyali byetaaga okuddibwamu? (b) Ensonga ezaalina okwekenneenyezebwa zaaleetebwa kuyitira mu baani, era zaasalibwawo zitya?
5 Kyokka Abakristaayo mu kyasa ekyasooka baalina ebintu bingi bye baali beetaaga okutegeera obulungi. Ng’ekyokulabirako, baalina bingi bye baali beebuuza ku ndagaano empya eyali etandise okukola ku lunaku lwa Pentekooti. Endagaano empya yali ekwata ku Bayudaaya n’abo abaali bakyuse okuyingira eddiini y’Ekiyudaaya bokka? Ab’amawanga nabo baali ba kuba mu ndagaano eyo era bafukibweko omwoyo omutukuvu? (Bik. 10:45) Abasajja Ab’amawanga kyandibeetaagisizza okukomolebwa n’okukwata Amateeka ga Musa? (Bik. 15:1, 5) Ebibuuzo ebyo byali bikulu nnyo. Kyali kyetaagisa omwoyo gwa Yakuwa okunoonyereza mu bintu ebyo eby’ebuziba. Kati olwo gwandiyitidde mu baani okubikkula ebintu ebyo?
6 Buli emu ku nsonga ezo ezaalina okwekenneenyezebwa yaleetebwa okuyitira mu b’oluganda abaali batwala obukulembeze. Bwe baali mu lukuŋŋaana lw’akakiiko akafuzi, Peetero, Pawulo, ne Balunabba baayogera ebintu Yakuwa bye yali akoze mu B’amawanga abataali bakomole. (Bik. 15:7-12) Oluvannyuma lw’okwetegereza ebintu ebyo awamu n’ebyo ebyayogerwako mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya, akakiiko akafuzi kaasalawo nga kagoberera obulagirizi bw’omwoyo omutukuvu. Ebyo ebyali bisaliddwawo byategeezebwa ebibiina okuyitira mu mabaluwa.—Soma Ebikolwa 15:25-30; 16:4, 5; Bef. 3:5, 6.
7. Ebintu eby’ebuziba byabikkulwa bitya?
7 Waliwo n’ensonga endala nnyingi ezannyonnyolwa okuyitira mu ebyo Yokaana, Peetero, Yakobo, ne Pawulo bye baaluŋŋamizibwa okuwandiika. Naye oluvannyuma lw’Ebyawandiikibwa eby’Ekikristaayo okumalirizibwa, ebirabo gamba ng’okwogera obunnabbi n’okumanya ebintu mu ngeri ey’ekyamagero byakoma. (1 Kol. 13:8) Kati olwo omwoyo gwandyeyongedde okukola ng’omuyigiriza era ng’omujjukiza? Gwandyeyongedde okuyamba Abakristaayo okunoonyereza mu bintu bya Katonda eby’ebuziba? Obunnabbi bwalaga nti bwe kityo bwe kyandibadde.
Mu Nnaku ez’Oluvannyuma
8, 9. Baani ‘abandyakaayakanye’ mu by’omwoyo mu nnaku ez’oluvannyuma?
8 Ng’ayogera ku nnaku ez’oluvannyuma, malayika yalagula nti: “Abo abalina amagezi balyakaayakana ng’okumasamasa okw’omu bbanga: n’abo abakyusa abangi eri obutuukirivu ng’emmunyeenye emirembe n’emirembe. . . . N’okumanya [okutuufu] kulyeyongera.” (Dan. 12:3, 4) Baani abandibadde n’amagezi era abandyakaayakanye? Ebyo Yesu bye yayogera mu lugero lw’eŋŋaano n’omuddo bisobola okutuyamba okubategeera. Bwe yali ayogera ku ‘mafundikira g’enteekateeka eno ey’ebintu,’ yagamba nti: “Mu kiseera ekyo, abatuukirivu balyakaayakana ng’enjuba nga bali mu bwakabaka bwa Kitaabwe.” (Mat. 13:39, 43) Bwe yali annyonnyola olugero olwo, Yesu yalaga nti “abatuukirivu” “be baana bw’obwakabaka,” Abakristaayo abaafukibwako amafuta.—Mat. 13:38.
9 Abakristaayo bonna abaafukibwako amafuta ‘bandyakaayakanye’? Mu ngeri emu oba endala bandyakaayakanye; kubanga Abakristaayo bonna bandyenyigidde mu mulimu gw’okubuulira, mu kufuula abantu abayigirizwa, ne mu kuzimbagana nga bali mu nkuŋŋaana. Kyokka abaafukibwako amafuta bandibadde kyakulabirako. (Zek. 8:23) Ate era ebintu eby’ebuziba byali bya kubikkulwa mu nnaku ez’oluvannyuma. Obunnabbi bwa Danyeri bwe bumu ku bintu ‘ebyassibwako akabonero’ okutuusa mu kiseera ekyo. (Dan. 12:9) Kati olwo omwoyo gwandinoonyerezza gutya mu bintu eby’ebuziba era gwandiyitidde mu baani?
10. (a) Omwoyo omutukuvu guyitira mu baani okubikkula ebintu eby’ebuziba mu nnaku ez’oluvannyuma? (b) Nnyonnyola engeri amazima agakwata ku yeekaalu ya Yakuwa ey’eby’omwoyo gye gaatangaazibwamu.
10 Mu kiseera kyaffe bwe wabaawo ekintu ekyetaagisa okutangaazibwako, omwoyo omutukuvu guyamba ab’oluganda abali ku kitebe ekikulu abakiikirira “omuddu omwesigwa era ow’amagezi” okutegeera ebintu ebyali bitategeerekeka bulungi emabega. (Mat. 24:45; 1 Kol. 2:13) Ab’oluganda bonna abali ku Kakiiko Akafuzi batuula ne beekenneenya ebyo ebiba bikyusiddwamuko. (Bik. 15:6) Era oluvannyuma ne babifulumiza mu bitabo okusobola okuganyula ab’oluganda bonna. (Mat. 10:27) Ekiseera bwe kigenda kiyitawo, kiyinza okwetaagisa ebintu ebiba bifulumiziddwa okwongera okutangaazibwako, era ekyo nakyo ab’oluganda abo bafuba okukikola mu bwesimbu.—Laba akasanduuko “Engeri Omwoyo gye Gwabikkulamu Ebikwata ku Yeekaalu ey’eby’Omwoyo.”
Okuganyulwa mu Ngeri Omwoyo gye Gukozesebwamu Leero
11. Abakristaayo bonna baganyulwa batya mu ngeri omwoyo omutukuvu gye gukozesebwa mu kubikkula ebintu bya Katonda eby’ebuziba?
11 Abakristaayo bonna abeesigwa baganyulwa mu ngeri omwoyo omutukuvu gye gukozesebwa mu kubikkula ebintu bya Katonda eby’ebuziba. Okufaananako Abakristaayo mu kyasa ekyasooka, naffe leero tusoma, ne tujjukira, era ne tukolera ku bintu omwoyo omutukuvu bye gutuyamba okutegeera. (Luk. 12:11, 12) Tekitwetaagisa kuba nga twasoma nnyo okusobola okutegeera ebintu eby’ebuziba ebiba bifulumidde mu bitabo byaffe. (Bik. 4:13) Tuyinza tutya okweyongera okutegeera ebintu bya Katonda eby’ebuziba? Lowooza ku magezi gano wammanga.
12. Ddi lwe tusaanidde okusaba Katonda atuwe omwoyo omutukuvu?
12 Saba Katonda akuwe omwoyo gwe omutukuvu. Bwe tuba tugenda okwesomesa, tusaanidde okusooka okusaba obulagirizi bw’omwoyo omutukuvu. Kino twetaaga okukikola ka tube nga tuli ffekka oba nga tulina obudde butono. Tewali kubuusabuusa nti bwe tukola tutyo, kisanyusa nnyo Kitaffe ow’omu ggulu. Nga Yesu bwe yagamba, Yakuwa mwetegefu okutuwa omwoyo gwe omutukuvu bwe tumusaba.—Luk. 11:13.
13, 14. Okwetegekera enkuŋŋaana kituyamba kitya mu kutegeera ebintu bya Katonda eby’ebuziba?
13 Weetegekere enkuŋŋaana. Tufuna ‘emmere mu kiseera ekituufu’ okuyitira mu muddu omwesigwa. “Omuddu” oyo atuukiriza obuvunaanyizibwa bwe ng’akozesa ebitabo ebinnyonnyola Ebyawandiikibwa era ng’ateekateeka programu z’okuyigiriza n’enkuŋŋaana. Waliwo ensonga ez’amaanyi lwaki ‘ab’oluganda bonna’ bakubirizibwa okwekenneenya ebitundu ebitali bimu ebiri mu bitabo byaffe. (1 Peet. 2:17; Bak. 4:16; Yud. 3) Tugoberera obulagirizi bw’omwoyo omutukuvu nga tukolera ku magezi agaba gatuweereddwa.—Kub. 2:29.
14 Bwe tuba twetegekera enkuŋŋaana z’Ekikristaayo, kiba kirungi okusoma ebyawandiikibwa ebiba bituweereddwa era ne tugezaako okulaba engeri gye bikwatagana n’ensonga eba eyogerwako mu kitundu kye tusoma. Okukola ekyo kijja kutuyamba okwongera okutegeera obulungi Baibuli. (Bik. 17:11, 12) Bwe tusoma ebyawandiikibwa ebiba bituweereddwa, tuba tuteekawo omusingi omwoyo omutukuvu kwe gunaasinziira okutuyamba okubijjukira. Ate era okusoma ebyawandiikibwa butereevu okuva mu Baibuli, kituyamba okubizuula amangu nga tutuuse mu mbeera mwe tubyetaagira.
15. Lwaki tusaanidde okusoma ebitundu byonna ebiba bifulumidde mu bitabo byaffe, era kino ggwe okikola otya?
15 Fuba okusoma ebitundu byonna. Wadde ng’ebitundu ebimu ebifulumira mu bitabo byaffe tebisomebwa mu nkuŋŋaana zaffe, nabyo biba bitegekeddwa okusobola okutuganyula. Era n’ebitabo ebiba bitegekeddwa okugabibwa mu nnimiro nabyo bya muganyulo gye tuli. Mu nsi ya kakyo kano, tutera okwesanga mu mbeera nga tulinako ekintu oba omuntu gwe tulinda. Singa tufuba okutambula n’ebitabo bye tuba tetunnasoma oba bye tuba tetunnamala kusoma, tusobola okukozesa ebiseera ng’ebyo okubisoma. Abamu basazeewo okukozesa ebiseera nga batambula oba nga bali mu mmotoka okuwuliriza ebitundu ebiri mu bitabo byaffe nga bisomebwa ku butambi. Ebitundu byonna ebiba mu bitabo byaffe biba binoonyerezeddwako bulungi era nga biwandiikiddwa mu ngeri ennyangu okutegeera okusobola okutuyamba okweyongera okusiima ebintu eby’omwoyo.—Kaab. 2:2.
16. Bwe wabaawo ebibuuzo ebitujjira nga tusoma, lwaki kya muganyulo okubaako we tubiwandiika era ne tubinoonyerezaako oluvannyuma?
16 Fumiitiriza. Bw’oba osoma Baibuli oba ebitabo ebiginnyonnyola, fuba okufumiitiriza ku bintu by’oba osoma. Ng’osoma, wayinza okubaawo ebibuuzo ebikujjira. Kiba kirungi n’obaako w’obiwandiika osobole okubinoonyerezaako oluvannyuma. Gye tukoma okunoonyereza ku nsonga, gye tukoma okweyongera okugitegeera obulungi. Okumanya okwo kwe tufuna kuba ng’ebintu bye tutadde mu tterekero lyaffe, era nga tusobola okubiggyamu ne tubikozesa buli we tuba tubyetaagira.—Mat. 13:52.
17. Nteekateeka ki gy’otaddewo okwesomesa oba okusoma ng’amaka?
17 Teekawo ekiseera eky’okusinza kw’amaka. Akakiiko Akafuzi kaatukubiriza okuteekawo akawungeezi oba ekiseera ekirala kyonna okwesomesa oba okusoma ng’amaka buli wiiki. Enkyukakyuka ezaakolebwa mu nkuŋŋaana zaffe zitusobozesa okufuna ekiseera ekyo. Bintu ki bye musoma mu kawungeezi ak’Okusinza kw’Amaka? Abamu basoma Baibuli, ne banoonyereza ku nnyiriri ze batategeera bulungi, era ne babaako bye bawandiika mu Baibuli zaabwe. Bangi bafuba okulaba engeri ebyo bye basoma gye bibakwatako ng’amaka. Emitwe gy’amaka abamu balonda ebintu bye basuubira nti bituukana n’ebyetaago by’ab’omu maka gaabwe oba ebyo ab’omu maka gaabwe bye baba baagala okuyigako. Ekiseera bwe kinaagenda kiyitawo, ojja kulabayo n’ebintu ebirala bingi bye musobola okuyigako.a
18. Lwaki tetusaanidde kutya kuyiga ku bintu eby’ebuziba ebiri mu Kigambo kya Katonda?
18 Yesu yagamba nti omwoyo gwandikoze ng’omuyambi. N’olwekyo, tetusaanidde kutya kuyiga ku bintu eby’ebuziba ebiri mu Kigambo kya Katonda. Ebintu ng’ebyo, bizingirwa mu ‘kumanya okukwata ku Katonda’ kwe tukubirizibwa okwongera okunoonya. (Soma Engero 2:1-5.) Okubisoma kituyamba okutegeera ‘ebintu Katonda by’ategekedde abo abamwagala.’ Bwe tufuba okuyiga ebisingawo ebiri mu Kigambo kya Yakuwa, omwoyo omutukuvu gujja kutuyamba, kubanga “omwoyo gunoonyereza mu bintu byonna, ne mu bintu bya Katonda eby’ebuziba.”—1 Kol. 2:9, 10.
[Obugambo obuli wansi]
a Laba Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Okitobba 2008, olupapula 8.
Wandizzeemu Otya?
• Mu ngeri ki ebbiri omwoyo gye gutuyambamu okunoonyereza mu “bintu bya katonda eby’ebuziba”?
• Mu kyasa ekyasooka, omwoyo omutukuvu gwayitira mu baani okubikkula ebintu eby’ebuziba?
• Omwoyo omutukuvu gutangaaza gutya ku bintu mu kiseera kyaffe?
• Oyinza kukola ki okusobola okuganyulwa mu ngeri omwoyo gye gukozesebwamu?
[Akasanduuko akali ku lupapula 22]
Engeri Omwoyo gye Gwabikkulamu Ebikwata ku Yeekaalu ey’eby’Omwoyo
Mu “bintu bya Katonda eby’ebuziba” ebyabikkulwa mu kyasa ekyasooka mwe mwali eky’okuba nti weema entukuvu ne yeekaalu byali bisonga ku kintu ekisingawo, Pawulo kye yayita “weema yennyini eyateekebwawo Yakuwa, so si muntu.” (Beb. 8:2) Eno ye yeekaalu ey’eby’omwoyo, enteekateeka esobozesa abantu okutuukirira Katonda okusinziira ku ssaddaaka ya Yesu Kristo ne ku bwakabona bwe.
“Weema yennyini” yatandikibwawo mu 29 E.E., Yesu bwe yabatizibwa era Yakuwa n’amukkiriza ng’oyo eyandibadde ssaddaaka etuukiridde. (Beb. 10:5-10) Oluvannyuma lw’okufa n’okuzuukira kwe, Yesu yayingira Awasinga Obutukuvu mu yeekaalu ey’eby’omwoyo n’awaayo omuwendo gwa ssaddaaka ye “mu maaso ga Katonda.”—Beb. 9:11, 12, 24.
Mu Abeefeso, omutume Pawulo yawandiika ku kibiina ky’Abakristaayo abaafukibwako amafuta ‘ng’ekikula okufuuka yeekaalu ya Yakuwa entukuvu.’ (Bef. 2:20-22) Kyandiba nti yeekaalu eno y’emu ne “weema yennyini” gye yayogerako mu bbaluwa ye eri Abebbulaniya? Okumala emyaka mingi, abaweereza ba Yakuwa baali balowooza bwe batyo. Kyali kirowoozebwa nti Abakristaayo abaafukibwako amafuta baali bategekebwa wano ku nsi okufuuka “amayinja” ga yeekaalu ya Yakuwa ey’omu ggulu.—1 Peet. 2:5.
Kyokka ng’omwaka gwa 1971 gunaatera okutuuka, ab’oluganda abakiikirira omuddu omwesigwa baatandika okukitegeera nti yeekaalu Pawulo gye yayogerako mu Abeefeso si ye yeekaalu ya Yakuwa ey’eby’omwoyo. Singa Abakristaayo abaafukibwako amafuta abandizuukiziddwa ge mayinja ga “weema yennyini,” olwo weema eyo yandibadde etandika okubaawo nga batandise okuzuukizibwa mu “kiseera ky’okubeerawo kwa Mukama waffe.” (1 Bas. 4:15-17) Naye bwe yali ayogera ku weema eyo, Pawulo yagamba nti: “Eweema eno yennyini kabonero ka kiseera ekigereke ekiriwo kati.”—Beb. 9:9.
Oluvannyuma lw’okwetegereza ebyawandiikibwa ebyo awamu n’ebirala, kyeyoleka bulungi nti yeekaalu ey’eby’omwoyo teri mu kuzimbibwa era nti Abakristaayo abaafukibwako amafuta si ‘mayinja’ agategekebwa wano ku nsi gakozesebwe mu kugizimba. Mu kifo ky’ekyo, Abakristaayo abaafukibwako amafuta baweerereza mu luggya era Awatukuvu mu yeekaalu ey’eby’omwoyo, nga buli lunaku bawaayo eri Katonda “ssaddaaka ez’okutendereza.”—Beb. 13:15.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]
Tuyinza tutya okweyongera okutegeera “ebintu bya Katonda eby’ebuziba”?