Abo ‘Abalina Endowooza Ennuŋŋamu’ Bawuliriza
“Bonna abaalina endowooza ennuŋŋamu ebasobozesa okufuna obulamu obutaggwaawo ne bafuuka bakkiriza.”—BIK. 13:48, NW.
1, 2. Abakristaayo abasooka baatuukiriza batya Yesu kye yalagula nti amawulire amalungi gandibuuliddwa mu mu nsi zonna?
EKITABO ky’Ebikolwa By’Abatume kiraga engeri Abakristaayo abaasooka gye baatuukirizaamu Yesu kye yalagula nti amawulire amalungi ag’Obwakabaka gandibuuliddwa mu nsi zonna. (Mat. 24:14) Ababuulizi abanyiikivu bassaawo ekyokulabirako ekyandigobereddwa abo bonna abandibaddidde mu bigere. Olw’okuba abayigirizwa ba Yesu baabuulira n’obunyiikivu mu Yerusaalemi, abantu bangi, omwali ‘n’ekibiina ekinene ekya bakabona,’ baayingira ekibiina Ekikristaayo mu kyasa ekyasooka.—Bik. 2:41; 4:4; 6:7.
2 Abaminsani b’omu kyasa ekyo baayamba abantu abalala bangi okufuuka Abakristaayo. Ng’ekyokulabirako, Firipo yagenda e Samaliya era bangi baamuwuliriza. (Bik. 8:5-8) Ng’awerekerwako abantu abatali bamu, Pawulo yabuulira obubaka bw’Ekikristaayo mu bitundu bingi omwali Kupulo, Makedoni, Buyonaani, Italiya ne Asiya. Era Abayudaaya n’Abayonaani bangi nnyo mu bibuga gye yabuulira baafuuka abakkiriza. (Bik. 14:1; 16:5; 17:4) Tito yabuulira mu Kuleete. (Tito 1:5) Peetero yabuulira n’amaanyi mu Babulooni, era yagenda okuwandiika ebbaluwa ye eyasooka, awo nga mu 62-64 C.E., ng’omulimu gw’Abakristaayo gumanyiddwa bulungi mu Ponto, Ggalatiya, Kapadokiya, Asiya, ne Bisuniya. (1 Peet. 1:1; 5:13) Ng’ekyo kyali kiseera kya byafaayo! Abakristaayo abo ab’omu kyasa ekyasooka baali babuulizi banyiikivu nnyo ne kiba nti abalabe baabwe baatuuka n’okugamba nti baali ‘bavuunise ensi.’—Bik. 17:6; 28:22.
3. Birungi ki ebivudde mu kulangirira amawulire g’Obwakabaka, era kino kikuleetera kuwulira otya?
3 Ne mu kiseera kino ekibiina Ekikristaayo kyeyongedde obunene mu ngeri eyeewunyisa. Gwe bw’osoma alipoota ekwata ku Bajulirwa ba Yakuwa eya buli mwaka toddamu amaanyi okumanya ebiba bikoleddwa mu nsi yonna? Tekikusanyusa okumanya nti ababuulizi b’Obwakabaka baayiga Baibuli n’abantu abasoba mu bukadde omukaaga mu mwaka gw’obuweereza 2007? Ng’oggyeko ekyo, omuwendo gw’abantu abaaliwo ku Kijjukizo ky’okufa kwa Yesu Kristo gulaga nti abantu ng’obukadde kkumi abatali Bajulirwa ba Yakuwa baalaga nti baagala amawulire amalungi era ne babaawo ku mukolo ogwo omukulu. Kino kiraga nti wakyaliwo omulimu munene nnyo ogw’okukola.
4. Bantu ba ngeri ki abakkiriza obubaka bw’Obwakabaka?
4 Leero, nga bwe kyali mu kyasa ekyasooka, obubaka bw’Obwakabaka busikiriza “abo bonna abalina endowooza ennuŋŋamu ebasobozesa okufuna obulamu obutaggwawo.” (Bik. 13:48, NW) Yakuwa aleeta abantu abalinga abo mu kibiina kye. (Soma Kaggayi 2:7.) Okusobola okwenyigira mu makungula gano mu bujjuvu, tulina kuba na ndowooza ki ku buweereza bw’Ekikristaayo?
Buulira Awatali Kusosola
5. Bantu ba ngeri ki abasiimibwa Yakuwa?
5 Abakristaayo b’omu kyasa ekyasooka baakitegeera nti “Katonda tasosola mu bantu: naye mu ggwanga lyonna lyonna amutya n’akola obutuukirivu amukkiriza.” (Bik. 10:34, 35) Okusobola okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa, omuntu ateekwa okukkiririza mu ssaddaaka y’ekinunulo kya Yesu. (Yok. 3:16, 36) Era Yakuwa ayagala “abantu bonna okulokoka, era okutuuka mu kutegeerera ddala amazima.”—1 Tim. 2:3, 4.
6. Kiki ababuulizi b’Obwakabaka kye balina okwewala, era lwaki?
6 Kyandibadde kikyamu abalangirizi b’amawulire amalungi okusosola abantu olwa langi, eddiini, oba endabika yaabwe, oba olw’ensonga endala yonna. Lowooza ku kino: Ggwe toli musanyufu nti omuntu eyasooka okukubuulira amazima ga Baibuli teyakusosola? Kati olwo lwaki wandiremye okubuulira omuntu yenna obubaka obusobola okuwonya obulamu bwe?—Soma Matayo 7:12.
7. Lwaki twandyewaze okusosola mu bantu nga tubuulira?
7 Yakuwa yalonda Yesu okuba omulamuzi; n’olwekyo, ffe tetulina kusosola muntu yenna. Kino bwe kityo bwe kirina okuba kubanga, obutafaananako Yesu, ffe abantu tubatunuulira okusinziira ku ‘kulaba kw’amaaso gaffe’ oba ku ‘kye tuwulidde n’amatu gaffe,’ so ng’ate ye Yesu asobola okulaba ekiri munda mu mutima.—Is. 11:1-5; 2 Tim. 4:1.
8, 9. (a) Sawulo yali muntu wa ngeri ki nga tannafuuka Mukristaayo? (b) Ekyokulabirako ky’omutume Pawulo kituyigiriza ki?
8 Abantu aba buli ngeri bafuuse abaweereza ba Yakuwa. Ekyokulabirako kimu eky’enkukunala kye kya Sawulo ow’e Talusiisi, eyafuuka omutume Pawulo. Sawulo, Omufalisaayo, yali mulabe w’Abakristaayo lukulwe. Yayigganyanga Abakristaayo olw’okuba yali alowooza nti ensinza yaabwe nkyamu. (Bag. 1:13) Mu kulaba kw’abantu, alina okuba nga yalabika ng’atayinza kufuuka Mukristaayo. Kyokka, Yesu alina ekintu ekirungi kye yalaba mu Sawulo, era yamulonda okukola omulimu ogw’enjawulo. Era Sawulo ye omu ku Bakristaayo b’omu kyasa ekyasooka abaali abanyiikivu ennyo.
9 Ekyokulabirako ky’omutume Pawulo kituyigiriza ki? Oboolyawo mu kitundu gye tubuulira waliwo abantu abalabika ng’abatayagala bubaka bwe tubuulira. Wadde nga tuyinza okulowooza nti tebayinza kufuuka Bakristaayo, tetwandirekedde awo kugezaako kubayamba. Oluusi n’abo be tulowooza nti tebaagala bubaka bwaffe n’akamu babukkiriza. Omulimu gwaffe kwe kweyongera okubuulira abantu bonna “awatali kuddirira.”—Soma Ebikolwa 5:42, NW.
Ababuulira ‘Awatali Kuddirira’ Bajja Kufuna Emikisa
10. Lwaki tetwandyewaze kubuulira bantu abalabika nga batiisa? Waayo ebyokulabirako mu kitundu kyo.
10 Endabika y’omuntu eyinza obutatulaga kituufu. Ng’ekyokulabirako, Ignacioa yatandika okuyiga Baibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa ng’ali mu kkomera mu nsi emu ey’omu Latini Amerika. Abantu baali bamutya olw’okuba yali ayagala nnyo okulwana. Olw’ekyo, abasibe abaaguzanga bannabwe ebintu baamukozesanga okubanja ssente zaabwe. Kyokka, Ignacio bwe yagenda akulaakulana mu by’omwoyo era ng’akolera ku by’ayiga, omusajja oyo eyali ow’akabi ennyo yafuuka wa kisa. Tewakyali amukozesa kubanja bantu, naye Ignacio musayufu nti amazima ga Baibuli n’omwoyo gwa Katonda byamuyamba okukyusa enneeyisa ye. Era musanyufu nti abalangirizi b’Obwakabaka abaasoma naye tebaamusosola.
11. Lwaki tuddiŋŋana abantu?
11 Ensonga emu lwaki tuddiŋŋana abantu be twayogerako nabo eri nti embeera n’endowooza zaabwe oluusi bikyuka. Okuva lwe twasemba okubakyalira, abamu bayinza okuba nga baalwala, tebakyalina mulimu, oba nga baafiirwa omwagalwa. (Soma Omubuulizi 9:11.) Ebizibu ebiriwo mu nsi biyinza okuleetera abantu okulowooza ennyo ku biseera byabwe eby’omu maaso. Ebintu ng’ebyo biyinza okuleetera omuntu eyali teyeefiirayo, oba eyali atuwakanya, okuwuliriza. N’olwekyo, tufube okubuulira abalala amawulire amalungi buli lwe tufuna omukisa.
12. Abantu be tubuulira twandibatunuulidde tutya, era lwaki?
12 Kya bulijjo okulowooza nti abantu bwe baba mu ttuluba erimu bonna baba balowooza kimu era nga beeyisa kimu. Kyokka, ye Yakuwa abantu abatunuulira kinnoomu. Alaba obusobozi buli omu bw’alina. (Soma 1 Samwiri 16:7.) Twandifubye okukola kye kimu mu buweereza bwaffe. Ebyokulabirako bingi biraga ebirungi ebiva mu kuba n’endowooza ennuŋŋamu ku buli muntu nga tubuulira.
13, 14. (a) Kyava ku ki payoniya omu okulekera awo okuyiga n’omukyala gwe yasanga mu nnimiro? (b) Ekyo kituyigiriza ki?
13 Payoniya omu ayitibwa Sandra yali abuulira nnyumba ku nnyumba ku kizinga ekimu mu Caribbean n’asanga Ruth eyali anyumirwa ennyo okwenyigira mu bikujjuko by’oku nguudo omuba okuyimba n’okuzina. Emirundi ebiri Ruth yali alondeddwa ku bwa Kwiini bw’ebikujjuko ebyo mu ggwanga lye. Olw’okuba yanyumirwa nnyo Sandra bye yali amubuulidde, baakola enteekateeka okusoma Baibuli. Sandra agamba nti: “Olwali okuyingira mu ddiiro lye ne ndaba ekifaananyi ekinene omwali Ruth ng’ali mu byambalo by’ekikujjuko, ne ndaba n’ebikopo bye yali awangudde. Nnalowooza nti omuntu oyo eyali omwatiikirivu ennyo era ayagala ebikujjuko bw’atyo yali tayinza kuyiga mazima. N’olwekyo nnalekera awo okusoma naye.”
14 Nga wayise ekiseera, Ruth yajja mu nkuŋŋaana, era bwe zaggwa yabuuza Sandra, “Lwaki tokyajja kunsomesa?” Sandra yamwetondera era n’akola enteekateeka okuddamu okusoma naye. Ruth yakulaakulana mangu, yatimbula ebifaananyi bye eby’ebikujjuko, yatandika okwenyigira mu mirimu gy’ekibiina gyonna era ne yeewaayo eri Yakuwa. Tewali kubuusabuusa nti oluvannyuma Sandra yakiraba nti endowooza ye mu kusooka yali nkyamu.
15, 16. (a) Kiki ekyaliwo omubuulizi omu bwe yabuulira kizibwe we? (b) Lwaki bye tumanyi ku muntu gwe tulinako oluganda tebisaanidde kutulemesa kumubuulira mazima?
15 Bangi basobodde okuyamba ab’eŋŋanda zaabwe wadde n’abo abaali balabika nga tebatayinza kukkiriza mazima. Lowooza ku kyokulabirako kya Joyce, mwanyinnaffe ow’omu Amerika. Yalina mulamu we eyali tava mu makomera okuva nga muvubuka. Joyce agamba: “Abantu baali bagamba nti talina kya magezi ky’ayinza kukola mu bulamu kubanga yali atunda njaga, nga mubbi era ng’akola n’ebintu ebirala ebibi bingi. Wadde yali bw’atyo, nnamubuulira amazima ga Baibuli okumala emyaka 37.” Okufuba kwa mwannyinaffe kwavaamu ebirungi, mulamu we oyo bwe yakkiriza okuyiga Baibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa era n’akola enkyukakyuka ez’amaanyi mu bulamu bwe. Gye buvuddeko awo, ku myaka 50, mulamu wa Joyce yabatizibwa mu lukuŋŋaana lwa disitulikiti olwali mu California, mu Amerika. Joyce agamba: “Nnakaaba olw’essanyu lingi. Ndi musanyufu nnyo nti ssaalekayo kumubuulira!”
16 Oyinza okutya okubuulira abamu ku b’eŋŋanda zo amazima ga Baibuli olw’ebyo by’obamanyiiko. Kyokka ekyo tekyalemesa Joyce kubuulira mulamu we. Ggwe ate ani ayinza okumanya ekiri mu mutima gw’omuntu omulala? Oyinza okwesanga ng’omuntu oyo abadde anoonya ddiini ey’amazima. N’olwekyo, tomufiiriza mukisa kugizuula.—Soma Engero 3:27.
Ekitabo Ekituyamba mu Kusomesa Baibuli
17, 18. (a) Alipoota eziva mu nsi nnyingi ziraga ki ku bulungi bw’akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? (b) Birungi ki by’ofunye mu kukozesa akatabo kano?
17 Alipoota eziva mu mawanga mangi ziraga nti abantu abeesimbu kibanguyira okuyiga Baibuli nga bakozesa akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? Penni, payoniya omu mu Amerika yatandika okuyiga n’abayizi abawerako ng’akozesa akatabo kano. Babiri ku bo baali bakulu mu myaka era nga bajjuumbize mu kkanisa zaabwe. Penni yali tamanyi ngeri gye banaatwalamu mazima ga mu Byawandiikibwa agannyonnyolwa mu katabo Baibuli Ky’Eyigiriza. Kyokka agamba nti, “Olw’okuba ebintu binnyonnyolwa mu bufunze era nga bitegeerekeka, kyabanguyira okukkiriza nti bye bayiga ge mazima awatali kuwakana.”
18 Pat, omubuulizi omu mu Bungereza yatandika okuyiga Baibuli n’omukyala omunoonyi w’obubudamu eyava mu ggwanga erimu mu Asiya. Omukyala oyo yadduka mu nsi ye oluvannyuma lwa batabani be ne bbaawe okuwambibwa abayeekera era ne bataddamu kulabika. Obulamu bwe bwali mu kabi, ennyumba ye yali eyokeddwa, era abasajja baali baamusobyako kirindi. Oluvannyuma lwa bino byonna yawulira ng’obulamu bwe tebukyalimu makulu, era emirundi egiwerako yalowooza okwetta. Kyokka okuyiga Baibuli kwamuwa essuubi. Pat agamba nti: “Olw’okuba ebintu binnyonnyolwa mu ngeri etegeerekeka mu katabo Baibuli Ky’Eyigiriza era n’ebyokulabirako ebikalimu byangu, yalaba mangu ekituufu.” Omuyizi oyo yakulaakulana mangu n’afuuka omubuulizi atali mubatize, era n’asaba abatizibwe mu lukuŋŋaana olwali luddako. Nga kya ssanyu okuyamba abantu abeesimbu okutegeera essuubi eriri mu Byawandiikibwa n’okulitwala nga lya muwendo!
“Tuleme Okuddirira mu Kukola Obulungi”
19. Lwaki obwangu bwetaagisa mu mulimu gw’okubuulira?
19 Buli lunaku oluyita, omulimu ogw’okubuulira n’okufuula abalala abayigirizwa gweyongera kwetaaga kukolebwa mu bwangu. Buli mwaka, enkumi n’enkumi z’abantu ab’emitima emirungi bakkiriza obubaka bwe tubuulira. Naye, “olunaku olukulu olwa Mukama luli kumpi,” era kino kitegeeza nti abo abakyali mu kizikiza eky’eby’omwoyo ‘bagenda kuttibwa.’—Zef. 1:14; Nge. 24:11.
20. Buli omu ku ffe alina kuba mumalirivu kukola ki?
20 Tusobola okuyamba abantu ng’abo. Naye okusobola okubayamba, tulina okukoppa Abakristaayo b’omu kyasa ekyasooka ‘abataayosanga kuyigiriza n’okubuulira nti Yesu ye Kristo.’ (Bik. 5:42) Koppa ekyokulabirako kyabwe ng’ogumira ebizibu, ng’ofaayo ku ngeri ‘gy’oyigirizamu,’ era ng’obuulira bonna awatali kusosola. Ka “tuleme okuddirira mu kukola obulungi,” kubanga bwe tutaddirira, Katonda ajja kutuwa emikisa mingi.—2 Tim. 4:2; Soma Abaggalatiya 6:9.
[Obugambo obuli wansi]
a Amannya agamu gakyusiddwa.
Wandizzeemu Otya?
• Baani abakkiriza amawulire amalungi?
• Lwaki tusaanidde okwewala okusosola mu bantu nga tubuulira?
• Birungi ki ebivudde mu kukozesa akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 13]
Abantu abeesimbu bangi bawuliriza
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]
Tuyigira ki ku nkyukakyuka omutume Pawulo ze yakola?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 16]
Abalangirizi b’amawulire amalungi tebasosola mu bantu