LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w08 5/15 lup. 17-21
  • Salawo Okuweereza Yakuwa ng’Okyali Muto

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Salawo Okuweereza Yakuwa ng’Okyali Muto
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Okuweereza Yakuwa Kye Kintu Ekituufu Okukola
  • Bwe Bakubuuza Ebibuuzo oba Bwe Bakuziyiza
  • “Oluggi Olunene” Lukugguliddwawo
  • ‘Mulege Mutegeere nga Mukama Mulungi’
  • Ekigambo kya Yakuwa Tekiremererwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
  • Abavubuka, Musalewo ku Lwamwe Okuweereza Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • Kifuule Kiruubirirwa Kyo Okuweereza Katonda Emirembe Gyonna
    Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo
  • Abavubuka—Munaakozesa Mutya Obulamu Bwammwe?
    Abavubuka—Munaakozesa Mutya Obulamu Bwammwe?
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
w08 5/15 lup. 17-21

Salawo Okuweereza Yakuwa ng’Okyali Muto

“Beeranga mu ebyo bye wayiga n’otegeerera ddala.”​—2 TIM. 3:14.

1. Yakuwa atunuulira atya obuweereza bw’Abajulirwa be abavubuka?

YAKUWA yaluŋŋamya obunnabbi obukwata ku bavubuka olw’okuba obuweereza bwabwe obutukuvu abutwala ng’ekikulu. Omuwandiisi wa zabbuli yawandiika nti: ‘Abantu bo beewaayo n’omwoyo ogutawalirizibwa ku lunaku olw’obuyinza bwo: mu bulungi obw’obutukuvu, olina abavubuka bo ng’omusulo ogw’enkya.’ (Zab. 110:3) Yee, abavubuka abaweereza Yakuwa ba muwendo nnyo gy’ali.

2. Abavubuka boolekagana na kupikirizibwa ki mu nsi leero ku bikwata ku biseera byabwe eby’omu maaso?

2 Mmwe abavubuka abali mu kibiina Ekikristaayo, mwamala okwewaayo eri Yakuwa? Abavubuka bangi bazibuwalirwa okusalawo okuweereza Katonda ow’amazima. Bannabizineesi, abasomesa, ab’eŋŋanda n’ab’emikwano abamu bakubiriza abavubuka okuluubirira eby’obugagga. Abavubuka abalina ebiruubirirwa eby’eby’omwoyo abantu bangi mu nsi babayisaamu amaaso. Naye ekituufu kiri nti okuweereza Katonda ow’amazima kye kintu ekisingayo obulungi ky’oyinza okuluubirira mu bulamu. (Zab. 27:4) Ku nsonga eno, lowooza ku bibuuzo bino ebisatu: Lwaki osaanidde okuweereza Katonda? Osobola otya okutuukiriza okwewaayo kwo eri Katonda wadde ng’abalala bayinza okwogera oba okukola ebikulemesa? Nkizo ki ez’obuweereza z’oyinza okuluubirira?

Okuweereza Yakuwa Kye Kintu Ekituufu Okukola

3. Ebintu Yakuwa bye yatonda byandituleetedde kukola ki?

3 Lwaki osaanidde okuweereza Katonda omulamu era ow’amazima? Ensonga esinga obukulu esangibwa mu Okubikkulirwa 4:11: “Osaanidde ggwe, Mukama waffe, Katonda waffe, okuweebwanga ekitiibwa n’ettendo n’obuyinza: kubanga ggwe wabitonda byonna, era byabaawo lwa kusiima kwo, era byatondebwa.” Yakuwa ye Mutonzi wa buli kintu. Ng’ensi nnungi nnyo! Emiti, ebimuli, ebisolo, ennyanja, ensozi, n’ebiyira by’amazzi​—byonna Yakuwa ye yabikola. Zabbuli 104:24 wagamba nti: “Ensi ejjudde eby’obugagga [bya Katonda].” Nga twesiimye nnyo okuba nti Yakuwa yatuwa emibiri n’amagezi ebitusobozesa okunyumirwa ebirungi ebiri ku nsi! Tetwandiraze okusiima nga tumuweereza olw’ebintu bino byonna eby’ekitalo bye yatonda?

4, 5. Kiki Yakuwa kye yakola ekyaleetera Yoswa okumusemberera?

4 Ensonga endala lwaki tusaanidde okuweereza Yakuwa esangibwa mu bigambo Yoswa eyali omukulembeze w’Abaisiraeri bye yayogera. Ng’anaatera okufa, Yoswa yagamba abantu ba Katonda nti: “Mumanyi mu mitima gyammwe gyonna ne mu mmeeme zammwe zonna, nga tewali kigambo kimu ekitatuuse mu birungi byonna Mukama Katonda wammwe bye yaboogerako; byonna bibatuukidde.” Yoswa yasinziira ku ki okwogera bw’atyo?​—Yos. 23:14.

5 Bwe yali ng’akyali mwana muto e Misiri, Yoswa alina okuba nga yawulira ku kisuubizo kya Yakuwa eky’okuwa Abaisiraeri ensi eyaabwe ku bwabwe. (Lub. 12:7; 50:24, 25; Kuv. 3:8) Era Yoswa yaliwo nga Yakuwa atandika okutuukiriza ekisuubizo ekyo bwe yaleeta Ebibonyoobonyo Ekkumi ku Misiri n’awaliriza Falaawo okuleka abaana ba Isiraeri okugenda. Yoswa yali omu ku abo abaanunulibwa nga bayita mu Nnyanja Emmyufu era yaliwo ng’ennyanja eyo emira Falaawo n’eggye lye. Bwe baali ku lugendo oluwanvu olubayisa mu Ddungu Sinaayi, ‘eddungu eddene era ery’entiisa,’ Yoswa yalaba engeri Yakuwa gye yalabiriramu Abaisiraeri mu byonna bye baali beetaaga. Tewali muntu n’omu yafa nnyonta oba njala. (Ma. 8:3-5, 14-16; Yos. 24:5-7) Ekiseera bwe kyatuuka Abaisiraeri okuwamba ensi z’Abakanani era batuule mu Nsi Ensuubize, Yoswa yalaba engeri Katonda oyo, ye ne Baisiraeri banne gwe baali basinza, gye yabayambamu.​—Yos. 10:14, 42.

6. Kiki ekinaakuleetera okwagala okuweereza Katonda?

6 Yoswa yakimanya nti Yakuwa yali atuukirizza ebisuubizo Bye. Yoswa kye yava agamba nti: “Nze n’ennyumba yange, ffe tunaaweerezanga Mukama.” (Yos. 24:15) Ate ggwe? Bw’ofumiitiriza ku bisuubizo Katonda ow’amazima by’amaze okutuukiriza era n’ebyo by’ajja okutuukiriza, tekikuleetera kwagala kumuweereza nga Yoswa bwe yakola?

7. Lwaki kikulu nnyo okubatizibwa?

7 Okufumiitiriza ku bintu Yakuwa bye yatonda ne ku bisuubizo bye eby’ekitalo era ebyesigika kyandikuleetedde okwewaayo eri Yakuwa n’okubatizibwa. Okubatizibwa ddaala kkulu nnyo eririna okutuukibwako buli ayagala okuweereza Katonda. Kino tukirabira ku Yesu, eyatuteerawo ekyokulabirako kye tulina okukoppa. Bwe yali agenda okutandika omulimu gwe nga Masiya, yagenda eri Yokaana Omubatiza n’abatizibwa. Lwaki Yesu yasalawo okubatizibwa? Yagamba nti: “Saava mu ggulu kukola kye njagala nze, wabula oli eyantuma ky’ayagala.” (Yok. 6:38) Yesu okubatizibwa kaali kabonero akalaga nti yali yeewaddeyo okukola Kitaawe by’ayagala.​—Mat. 3:13-17.

8. Lwaki Timoseewo yasalawo okusinza Katonda, era kiyinza kukwetaagisa kukola ki?

8 Lowooza ne ku Timoseewo, omuvubuka Omukristaayo Yakuwa gwe yawa obuvunaanyizibwa obw’amaanyi n’enkizo ennyingi. Lwaki Timoseewo yasalawo okusinza Katonda ow’amazima? Baibuli egamba nti ‘yali ayize ebintu era n’abitegeerera ddala.’ (2 Tim. 3:14) Bw’oba ng’obadde osoma Ekigambo kya Katonda era ng’otegedde nti bye kiyigiriza bituufu, ofaananako Timoseewo. Kati osigazza ekintu kimu​—kusalawo. Lwaki toyogerako ne bazadde bo ku kiruubirirwa kyo? Bazadde bo wamu n’abakadde mu kibiina bajja kukuyamba okutegeera ebisaanyizo by’omu Byawandiikibwa by’olina okutuukiriza osobole okubatizibwa.​—Soma Ebikolwa 8:12.

9. Abantu bayinza kuwulira batya ng’obatiziddwa?

9 Okubatizibwa kujja kukuwa entandikwa ennungi mu kuweereza Katonda ow’amazima. Olwo ojja kuba weegasse mu mpaka z’okudduka embiro empanvu ezinaakutuusa ku kirabo ky’obulamu obutaggwaawo ne ku kufuna essanyu kati eriva mu kukola Katonda by’ayagala. (Beb. 12:2, 3) Era okukola ekyo kijja kusanyusa nnyo ab’eŋŋanda zo abeegatta edda mu mbiro zino, ne mikwano gyo abali mu kibiina Ekikristaayo. N’ekisingira ddala obukulu, ojja kusanyusa omutima gwa Yakuwa. (Soma Engero 23:15.) Kituufu nti abamu bayinza obutategeera lwaki osazeewo okuweereza Yakuwa, era bayinza okugamba nti ky’osazeewo okukola si kya magezi. Bayinza n’okutandika okukuziyiza. Naye, osobola okuvvuunuka embeera eyo enzibu.

Bwe Bakubuuza Ebibuuzo oba Bwe Bakuziyiza

10, 11. (a) Bw’osalawo okuweereza Katonda, abantu bayinza kukubuuza bibuuzo ki? (b) Kiki ky’oyigira ku ngeri Yesu gye yaddamu ebibuuzo ebikwata ku kusinza okw’amazima?

10 Bayizi bano, baliraanwa bo, n’ab’eŋŋanda zo bayinza obutategeera nsonga lwaki osazeewo okuweereza Yakuwa. Bayinza okukubuuza ekikuleetedde okusalawo bw’otyo na biki by’okkiririzaamu. Oyinza kubaddamu otya? Weetaaga okusooka okusengeka ebirowoozo byo osobole okunnyonnyola ensonga kw’ovudde okusalawo bw’otyo. Era bw’oba oddamu ebibuuzo ebikwata ku nzikiriza yo, lwaki tokoppa Yesu eyatuteerawo ekyokulabirako ekisingayo obulungi?

11 Abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya bwe babuuza Yesu ebikwata ku kuzuukira, yabaddamu ng’akozesa ekyawandiikibwa kye baali batalowoozezzaako. (Kuv. 3:6; Mat. 22:23, 31-33) Omu ku bawandiisi bwe yamubuuza etteeka erisingayo obukulu, Yesu yamulaga ennyiriri eziryogerako mu Baibuli. Era omusajja oyo yasiima Yesu bye yamuddamu. (Leev. 19:18; Ma. 6:5; Mak. 12:28-34) Engeri Yesu gye yakozesamu Ebyawandiikibwa ne gye yayogeramu byaleetawo “okwawukana mu kibiina ku lulwe,” bwe kityo abalabe be baali tebaasobola kumukola kabi. (Yok 7:32-46) Bw’oba oddamu ebibuuzo ebikwata ku nzikiriza yo, kozesa Baibuli era yogera ‘n’obuwombeefu ng’obawa ekitiibwa.’ (1 Peet. 3:15, NW) Bwe wabaawo ekibuuzo ky’otoyinza kuddamu, bagambe nti ojja kukiddamu ng’omaze okukinoonyerezaako. Oluvannyuma noonyereza ng’okozesa ekitabo ekiyitibwa Watch Tower Publications Index oba Watchtower Library ku kompyuta. Bw’onooteekateeka obulungi, ojja ‘kumanya bw’ogwanidde okwanukula.’​—Bak. 4:6.

12. Lwaki okuyigganyizibwa tekulina kukumalamu maanyi?

12 Kiyinza obutakoma ku kukubuuza bibuuzo bikwata ku ky’osazeewo kukola oba bikwata ku nzikiriza yo. Jjukira nti Setaani Omulyolyomi, omulabe wa Katonda, y’afuga ensi eno. (Soma 1 Yokaana 5:19.) Tosuubira nti buli omu ajja kusanyukira ky’okoze, era oyinza n’okutandika okuziyizibwa. Abamu bayinza ‘okukuvuma,’ era kino bayinza okukikola okumala ebbanga. (1 Peet. 4:4) Naye jjukira nti kino tekituuse ku ggwe wekka. Yesu Kristo naye yayigganyizibwa. Omutume Peetero naye yayigganyizibwa, era yawandiika nti: “Abaagalwa, temwewuunyanga olw’okwokebwa [olw’okubonaabona] okuli mu mmwe, okujja gye muli olw’okubakema, ng’abalabye eky’ekitalo: naye kubanga mussa kimu mu bibonoobono bya Kristo, musanyukenga.”​—1 Peet. 4:12, 13.

13. Lwaki Abakristaayo bandisanyuse nga bayigganyizibwa?

13 Omukristaayo bw’agumira okuziyizibwa oba okuyigganyizibwa kiba kya ssanyu. Lwaki? Kubanga ensi bw’esiima by’okola kiba kiraga nti otambulira ku mitindo gya Setaani, so si ku gya Katonda. Yesu yalabula nti: “Zibasanze, abantu bonna bwe balibasiima! kubanga bwe batyo bajjajjaabwe bwe baakolanga bannabbi ab’obulimba.” (Luk. 6:26) Bw’oyigganyizibwa kiba kiraga nti Setaani n’ensi ye banyiivu olw’okuba oweereza Yakuwa. (Soma Matayo 5:11, 12.) Era ‘okuvumibwa olw’erinnya lya Kristo’ kintu ekireeta essanyu.​—1 Peet. 4:14.

14. Omuntu bw’akuuma obwesigwa bwe eri Yakuwa ng’ayigganyizibwa kiyinza kuvaamu miganyulo ki?

14 Bw’okuuma obwesigwa bwo eri Yakuwa ng’oyigganyizibwa kivaamu emiganyulo ng’ena. Oba owadde obujulirwa ku Katonda n’Omwana we. Obugumiikiriza bwo n’obwesigwa bizzaamu Bakristaayo bano amaanyi. Kiyinza okuleetera abamu ku bakulaba okwagala okumanya ebikwata ku Yakuwa. (Soma Abafiripi 1:12-14.) Era weeyongera okwagala ennyo Yakuwa olw’engeri gy’akuyambamu okugumira okugezesebwa.

“Oluggi Olunene” Lukugguliddwawo

15. Omutume Pawulo yaggulirwawo atya “Oluggi olunene”?

15 Ng’ayogera ku buweereza bwe mu Efeso, omutume Pawulo yawandiika nti: “Oluggi olunene era olw’emirimu emingi lunziguliddwawo.” (1 Kol. 16:8, 9) Oluggi olwo lwamutuusa ku kubuulira amawulire amalungi n’okufuula abantu abayigirizwa mu kibuga ekyo. Okuyita mu luggi olwo kyawa Pawulo omukisa okuyamba abantu bangi okumanya Yakuwa n’Okumusinza.

16. Mu 1919, ensigalira y’abaafukibwako amafuta baayita batya mu ‘luggi oluggule’?

16 Ng’amaze okugulumizibwa, Yesu Kristo mu 1919 yateerawo ensigalira y’abaafukibwako amafuta ‘oluggi oluggule.’ (Kub. 3:8) Baayita mu luggi olwo ne batandika okubuulira amawulire amalungi n’okuyigiriza amazima ga Baibuli n’obunyiikivu ku kigero ekyali kitabangawo. Birungi ki ebivudde mu buweereza bwabwe? Amawulire amalungi kati gabunye mu nsi yonna, era abantu ng’obukadde musanvu balina essuubi ly’okufuna obulamu obutaggwaawo mu nsi ya Katonda empya.

17. Oyinza otya okuyita mu ‘luggi olunene olw’emirimu emingi’?

17 ‘Oluggi olunene olw’emirimu emingi’ na kati lukyali luggule eri abaweereza ba Yakuwa bonna. Abo abaluyitamu bafuna essanyu olw’okukola ekisingawo mu mulimu gw’okubuulira amawulire amalungi. Mwe abavubuka abaweereza Yakuwa, mukiraba nti okuyamba abantu ‘okukkiriza enjiri’ nkizo ya muwendo nnyo? (Mak. 1:14, 15) Mulowoozezza ku ky’okuweereza nga bapayoniya aba bulijjo oba bapayoniya abawagizi? Abamu ku mmwe muyinza okufuna enkizo okuweereza ku Beseri, okufuuka abaminsani, oba okuyamba mu kuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka. Olw’okuba ensi ya Setaani esigazza ekiseera kitono ddala, buli lukya weeyongera okubaawo obwetaavu bw’okuyingira mu buweereza bw’Obwakabaka buno obw’enjawulo. Onooyita mu ‘luggi olunene’ olwo ng’ekiseera tekinnaggwayo?

‘Mulege Mutegeere nga Mukama Mulungi’

18, 19. (a) Lwaki Dawudi yali ayagala nnyo okuweereza Yakuwa? (b) Kiki ekiraga nti Dawudi teyejjusa kuweereza Katonda?

18 Omuwandiisi wa zabbuli yakubiriza abalala ‘balege bategeere nga Mukama mulungi.’ (Zab. 34:8) Kabaka Dawudi owa Isiraeri ey’edda bwe yali alunda endiga ng’akyali muto, Yakuwa yamutaasa ensolo enkambwe. Katonda yamuyamba bwe yali alwana ne Goliyaasi era yamununula ne mu bizibu ebirala bingi. (1 Sam. 17:32-51; Zab. 18, obugambo obuli waggulu) Olw’okwagala okungi Katonda kwe yamulaga, Dawudi yawandiika: “Ebikolwa eby’ekitalo bye wakola, ai Mukama Katonda wange, bingi, N’ebirowoozo byo ebiri gye tuli: Tebiyinzika kukulongookera kinnakimu.”​—Zab. 40:5.

19 Dawudi yeeyongera okwagala ennyo Yakuwa era yayagala okumutendereza n’omutima gwe gwonna n’amagezi ge gonna. (Soma Zabbuli 40:8-10.) Emyaka bwe gy’agenda giyitawo, Dawudi teyejjusa kuba nti asinzizza Katonda ow’amazima obulamu bwe bwonna. Okutambulira mu bulamu obw’okutya Katonda kye kyali kimusingirayo okuba eky’omuwendo, era kyamuleetera essanyu lya nsusso. Mu myaka gye egy’obukadde, Dawudi yagamba: “Ggwe oli ssuubi lyange, ai Mukama Katonda: ggwe gwe nneesiga okuva mu buto bwange. Weewaawo, bwe ndiba nkaddiye era nga mmeze envi, ai Katonda, tondekanga.” (Zab. 71:5, 18) Dawudi gye yakoma okugenda ng’anafuwa mu mubiri, gye yakoma okwesiga Yakuwa n’okunyweza omukwano gwe naye.

20. Lwaki okuweereza Katonda y’engeri esingayo obulungi ey’okukozesaamu obulamu bwo?

20 Obulamu bwa Yoswa, Dawudi, ne Timoseewo bulaga nti okuweereza Yakuwa kye kintu ekisingayo obulungi. Emiganyulo egiri mu kuba n’eby’obugagga by’ensi eno eby’akaseera obuseera toyinza kugigeraageranya ku miganyulo egy’olubeerera egiva mu ‘kuweereza Yakuwa n’omutima gwo gwonna n’emmeeme yo yonna.’ (Yos. 22:5) Bw’oba nga tonnaba kwewaayo eri Yakuwa mu kusaba, weebuuze, ‘Kiki ekindobera okufuuka Omujulirwa wa Yakuwa?’ Bw’oba oli muweereza wa Yakuwa omubatize, wandyagadde okwongera ku ssanyu lyo mu bulamu? Bwe kiba kityo, gaziya obuweereza bwo, era weeyongere okukulaakulana mu by’omwoyo. Ekitundu ekiddako kijja kukuyamba okulaba engeri gy’oyinza okukulaakulana mu by’omwoyo ng’olabira ku mutume Pawulo.

Wandizzeemu Otya?

• Waayo ensonga biri lwaki tusaanidde okuweereza Katonda.

• Kiki ekyayamba Timoseewo okusalawo okuweereza Katonda?

• Lwaki osaanidde okuba omunywevu ng’oyigganyizibwa?

• Nkizo ki ez’obuweereza z’oyinza okuluubirira?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 18]

Obulamu obw’okuweereza Yakuwa bwe busingayo obulungi

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 19]

Osobola okuddamu ebibuuzo ebikwata ku nzikiriza yo?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share