Semberera Katonda
“Katonda ow’Okubudaabuda Kwonna”
2 Abakkolinso 1:3, 4, NW.
EBINTU bingi mu bulamu, gamba ng’okubonaabona, okuyisibwa obubi, oba ekiwuubaalo, bisobola okutuleeta omuntu ennaku n’okuggwamu essuubi. Mu biseera ng’ebyo oyinza okwebuuza, ‘Ani ayinza okunnyamba?’ Mu 2 Abakkolinso 1:3, 4 (NW), omutume Pawulo atulaga ensibuko y’okubudaabuda eyeesigika—Yakuwa Katonda.
Mu lunyiriri 3, Katonda ayogerwako nga “Kitaffe ow’okusaasira.” Ekyo kitegeeza ki? Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa “okusaasira” kiyinza okutegeeza okukwatirwa abantu ababonaabona ekisa.a Ekitabo ekimu ekyogera ku Baibuli kigamba nti ekigambo ekyo kiyinza okutegeeza “okulumirirwa” oba “okufaayo ennyo.” “Okusaasira” kuleetera Katonda okutuyamba. Okukimanya nti Katonda afaanana bw’atyo, tekituleetera okwagala okumusemberera?
Pawulo ayogera ku Yakuwa nga “Katonda ow’okubudaabuda kwonna.” Wano Pawulo akozesa ekigambo ekitegeeza “okusaasira omuntu ali mu bizibu oba mu nnaku, n’okukola ekintu ekimuyamba oba ekimuzzaamu amaanyi.” Ekitabo ekiyitibwa The Interpreter’s Bible kigamba nti: “Omuntu bw’aba abonaabona, okumubudaabuda tuba tulina okumuyamba okugumira ennaku ye.”
Oyinza okwebuuza, ‘Katonda atubudaabuda atya era atuwa atya amaanyi okugumira ennaku yaffe?’ Okusinga akikola okuyitira mu Kigambo kye, Baibuli, ne mu kirabo ky’okusaba. Pawulo agamba nti Katonda yatuwa Ekigambo Kye ‘tusobole okuba n’essuubi okuyitira mu kubudaabuda okuva mu Byawandiikibwa.’ Ng’oggyeko ekyo, tusobola okufuna “emirembe gya Katonda, egisinga okutegeerwa kwonna” okuyitira mu kusaba.—Abaruumi 15:4, NW; Abafiripi 4:7.
Yakuwa abudaabuda abantu be kwenkana wa? Pawulo agamba nti Katonda “atubudaabuda mu kubonaabona kwaffe kwonna.” (2 Abakkolinso 1:4, NW) Ka kibe kizibu ki kye tuba twolekaganye nakyo, Katonda asobola okutuwa amaanyi n’obuvumu okukigumira. Ekyo tekikuzzaamu amaanyi?
Okubudaabuda okuva eri Katonda tekukoma ku muntu omu. Pawulo ayongera n’agamba nti Katonda atubudaabuda “naffe tusobole okubudaabuda abo abali mu kubonaabona okwa buli ngeri nga tuyitira mu kubudaabuda kwe tufuna okuva eri Katonda.” Bwe tubudaabudibwa nga tubonaabona, naffe tukwatirwa abalala ekisa era twagala okubayamba nga bali mu bwetaavu.
Wadde nga Yakuwa “Katonda ow’okubudaabuda kwonna,” ayinza obutamalaawo bizibu bye tulina oba nnaku etuluma. Naye tuli bakakafu nti bwe tumusaba okutubudaabuda, asobola okutuyamba okwaŋŋanga ebizibu n’okugumira ennaku mu bulamu. Awatali kubuusabuusa, olw’okuba Katonda musaasizi nnyo bw’atyo, tugwanidde okumusinza n’okumutendereza.
[Obugambo obuli wansi]
a Katonda ayitibwa ‘Kitaawe w’okusaasira,’ oba ensibuko y’okusaasira kubanga ekisa kisibuka ku ye era eyo ngeri ye.