Abasomi Baffe Babuuza
Twandikozesezza Erinnya lya Katonda nga Tetumanyi Bulungi Njatula Yaalyo?
Tewali muntu yenna leero amanyi ngeri linnya lya Katonda gye lyayatulwangamu mu Lwebbulaniya olw’edda. Naye, kikulu okukimanya nti erinnya lya Katonda lisangibwa mu Baibuli emirundi nga 7,000. Yesu yamanyisa erinnya lya Katonda bwe yali ku nsi, era yalagira abayigirizwa be okusaba nti erinnya eryo litukuzibwe. (Matayo 6:9; Yokaana 17:6) N’olwekyo, okukozesa erinnya lya Katonda kintu kikulu nnyo eri Abakristaayo. Kati olwo lwaki enjatula y‘erinnya eryo temanyiddwa bulungi leero? Waliwo ensonga enkulu bbiri.
Esooka, emyaka nga nkumi bbiri emabega, Abayudaaya baatandikawo akalombolombo nti kikyamu okwatula erinnya lya Katonda. Omuntu bwe yabanga asoma Baibuli n’atuka awali erinnya eryo nga mu kifo kyalyo ayogera “Mukama.” Mu ngeri eno, erinnya lya Katonda lyamala ebbanga ddene nnyo nga terikozesebwa, era abantu ne beerabira bwe lirina okwatulwa.
Eyokubiri, Olwebbulaniya olw’edda lwawandiikibwanga nga temuli nnukuta mpeerezi. Omuntu bwe yabanga alusoma ye yeeteerangamu ennukuta empeerezi n’asobola okwatula ebigambo. Bwe waayita ekiseera, waatandikibwawo enkola eyambe abantu obuteerabira ngeri bigambo gye birina kwatulwa mu Lwebbulaniya. Buli kigambo ekyali mu Baibuli y’Olwebbulaniya kyateekebwamu obubonero obulaga bwe kirina okwatulwa. Kyokka, bwe kyatuuka ku linnya lya Katonda, temwateekebwamu kabonero ka njatula konna, oba obubonero obwateekebwamu bwali bulaga njatula ya kigambo “Mukama.”
Bwe kityo, mu byawandiikibwa mwalekebwamu ennukuta ennya ensirifu eziyitibwa Tetragrammaton, enkuluze emu z’eyita “ennukuta ennya ez’Olwebbulaniya YHWH oba JHVH ezikola erinnya lya Katonda eriri mu Baibuli.” Kino kituyamba okulaba lwaki erinnya JHVH bwe liteekebwamu obubonero bw’ennukuta empeerezi, lifuuka “Jehovah,” oba “Yakuwa,” mu Luganda.
Abeekenneenya ba Baibuli abamu bagamba nti erinnya eryo lirina kwatulwa “Yahweh.” Enjatula eno y’esinga okufaananako eri ey’edda? Tewali amanyi. Abekenneenya abalala bawa ensonga lwaki si kirungi kukozesa njatula eyo. Kya lwatu nti engeri amannya g’omu Baibuli gye gaatulwamu mu nnimi zaffe leero ya njawulo nnyo ku y’Olwebbulaniya olw’edda, era ekyo abantu tebakifaako. Tebakifaako kubanga amannya ago tumanyidde okugakozesa mu nnimi zaffe era tumanyi ba nnyini go. Bwe kityo bwe kiri ne ku linnya Yakuwa.
Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka baali bayitibwa abantu ab’erinnya lya Katonda. Baabuuliranga abalala ebikwata ku linnya eryo era baabakubirizanga okulikoowoola. (Ebikolwa 2:21; 15:14; Abaruumi 10:13-15) Awatali kubuusabuusa, kikulu eri Katonda okuba nti tukozesa erinnya lye mu nnimi zaffe, tutegeera bulungi okukulu bwalyo, era nti tutuukanya obulamu bwaffe n’amakulu gaalyo.
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 32]
Kikulu okukimanya nti erinnya lya Katonda lisangibwa mu Baibuli emirundi nga 7,000